Lwaki Tubonaabona, Tukaddiwa, era Tufa?
Omutonzi waffe atutwala ng’abaana be, era tayagala tuboneebone. Kyokka waliwo okubonaabona kungi. Lwaki kiri bwe kityo?
Bazadde Baffe Abaasooka be Baatuleetera Okubonaabona
“Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna.”—ABARUUMI 5:12.
Katonda yatonda bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, nga batuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo. Era yabawa amaka amalungi ag’okubeeramu, agaali gayitibwa olusuku Edeni. Yabagamba nti baali basobola okulya ku miti gyonna egyali mu lusuku olwo, okujjako omuti gumu gwokka. Kyokka Adamu ne Kaawa baasalawo okulya ku bibala by’omuti Katonda gwe yali abagaanye, era mu ngeri eyo baakola ekibi. (Olubereberye 2:15-17; 3:1-19) Oluvannyuma lw’okujeema, Katonda yabagoba mu lusuku Edeni, era ne batandika okubonaabona. Oluvannyuma baazaala abaana, era n’abaana abo ne batandika okubonaabona. Bonna baakaddiwa ne bafa. (Olubereberye 3:23; 5:5) Naffe tulwala, tukaddiwa, era tufa, olw’okuba twava mu Adamu ne Kaawa.
Bamalayika Abaajeemera Katonda Nabo Batuviirako Okubonaabona
“Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”—1 YOKAANA 5:19.
‘Omubi oyo’ ye Sitaani. Sitaani yali malayika mulungi naye n’ajeemera Katonda. (Yokaana 8:44; Okubikkulirwa 12:9) Oluvannyuma bamalayika abalala nabo baamwegattako mu kujeemera Katonda. Bamalayika abo bayitibwa badayimooni. Bamalayika abo ababi babuzaabuza abantu ne babaleetera okukola ebintu ebibi. (Zabbuli 106:35-38; 1 Timoseewo 4:1) Sitaani ne badayimooni banyumirwa nnyo okulaba ng’abantu babonaabona.
Oluusi Ffe Twereetera Okubonaabona
“Ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.”—ABAGGALATIYA 6:7.
Ebiseera ebimu tubonaabona olw’ekibi kye twasikira, n’olw’ebyo Sitaani by’aleetera abantu abamu okukola. Naye oluusi abantu be beereetera okubonaabona. Mu ngeri ki? Bwe bakola ebintu ebibi, oba bwe basalawo obubi, bakungula bye basiga. Ku luuyi olulala abantu bwe bakola ebintu ebirungi, ebivaamu biba birungi. Ng’ekyokulabirako, omwami oba taata omwesigwa akola n’obunyiikivu era ayagala ab’omu maka ge, aba asobola okubalabirira ne kibayamba okuba abasanyufu. Naye omusajja omukubi wa zzaala, omutamiivu, oba omugayaavu, ayinza okwavuwala ne kiviirako ab’omu maka ge okubonaabona. N’olwekyo kya magezi okukolera ku ebyo Omutonzi waffe by’atugamba. Ayagala tubeere bulungi, era tube ‘n’emirembe mingi.’—Zabbuli 119:165.
Tuli mu “Nnaku ez’Enkomerero”
“Mu nnaku ez’enkomerero, . . . abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga tebagondera bazadde baabwe, . . . nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi.”—2 TIMOSEEWO 3:1-5.
Leero abantu bangi beeyisiza ddala nga bwe tusoma mu kyawandiikibwa ekyo. Engeri gye beeyisaamu eyongera okukakasa nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero” ez’ensi eno. Ebyawandiikibwa era biraga nti mu kiseera kyaffe, wandibaddewo entalo, enjala, musisi ow’amaanyi, n’endwadde. (Matayo 24:3, 7, 8; Lukka 21:10, 11) Ebintu ebyo biviiriddeko abantu bangi okubonaabona n’okufa.