Yakuwa Ye Musumba Waffe
“Mukama ye musumba wange; seetaagenga.”—ZABBULI 23:1.
1-3. Lwaki tekyewuunyisa nti Dawudi yageraageranya Yakuwa ku musumba?
WANDINNYONNYODDE otya engeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be? Era kyakulabirako ki kye wandikozesezza okulaga nti afaayo nnyo ku baweereza be abeesigwa? Emyaka egisukka mu 3,000 emabega Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika ku Yakuwa ng’akozesa ekyokulabirako ky’omulimu gwe yakolanga ng’akyali muto.
2 Olw’okuba Dawudi mu buto bwe yali musumba, yali amanyi bulungi ebikwata ku kulunda endiga. Yali akimanyi nti singa endiga teziba na musumba, ziyinza okubula, okubbibwa, oba okuliibwa ebisolo. (1 Samwiri 17:34-36) Ate era yali akimanyi nti, bwe zitabeera na musumba azifaako, ziyinza obutafuna muddo. Ng’akuze, Dawudi ateekwa okuba nga yali akyajjukira bulungi ebiseera bye yamalanga ng’alabirira endiga ku ttale.
3 N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Dawudi bwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku ngeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be, yakozesa ekyokulabirako ky’omusumba. Zabbuli eya 23 Dawudi gye yawandiikibwa etandika n’ebigambo nti: “Mukama ye musumba wange; seetaagenga.” Ka twetegereze ensonga lwaki kyali kituukirawo Dawudi okuyita Yakuwa omusumba we. Oluvannyuma tujja kulaba mu Zabbuli eya 23 engeri Yakuwa gy’alabiriramu abaweereza be ng’omusumba bw’alabirira endiga ze.—1 Peetero 2:25.
Ekyokulabirako Ekituukirawo
4, 5. Okusinziira ku Baibuli endiga zitera kweyisa zitya?
4 Wadde Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa alina ebitiibwa bingi, eky’okumuyita “Omusumba” kye kisinga okulaga nti afaayo ku baweereza be. (Zabbuli 80:1) Okusobola okutegeera obulungi ensonga lwaki kituukirawo okuyita Yakuwa Omusumba, kitwetaagisa okusooka okwetegereza ebintu bino ebibiri: ekisooka, engeri endiga gye zeeyisaamu, n’eky’okubiri, obuvunaanyizibwa omusumba bw’alina, n’engeri z’asaanidde okuba nazo.
5 Baibuli etera okulaga engeri endiga gye zeeyisaamu: omusumba waazo bw’aziraga okwagala nazo zisobola okulaga nti zimwagala (2 Samwiri 12:3), si nkambwe (Isaaya 53:7), era tezisobola kwetaasa. (Mikka 5:8) Omwami omu eyali omulunzi w’endiga okumala emyaka egiwerako yagamba nti: “Endiga tezisobola kwerabirira ng’abamu bwe bayinza okulowooza. Obutafaananako nsolo ndala zonna, endiga zeetaaga okufiibwako n’okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo.” Mazima ddala, ensolo zino zeetaaga omusumba azifaako ennyo.—Ezeekyeri 34:5.
6. Okusinziira ku nkuluze ennyonnyola ebigambo by’omu Baibuli, biki omusumba ow’edda bye yakolanga buli lunaku?
6 Bintu ki omusumba ow’omu biseera eby’edda bye yakolanga buli lunaku? Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo by’omu Baibuli egamba nti: “Ku makya yaggyanga endiga mu kisibo, n’azikulembera okuzitwala ku ttale. Bwe yazituusanga eyo, yazikuumanga olunaku lwonna era n’akakasa nti tewabaawo n’emu ebula. Bwe yakitegeeranga nti waliwo ebuze, yalinanga okuginoonya okutuusa lw’agiraba n’agikomyawo. . . . Obudde bwe bwazibanga, yazikomyangawo eka n’aziyingiza mu kisibo ng’abala emu ku emu okukakasa nti tewali ebuze. . . . Emirundi mingi yalinanga okuzikuuma ekiro kyonna zireme kulumbibwa bisolo, oba okubbibwa.”a
7. Ddi lwe kyetaagisanga omusumba okuba omugumiikiriza n’okufaayo ku ndiga mu ngeri ey’enjawulo?
7 Waabangawo ebiseera endiga lwe zaabanga zeetaaga okukwata n’obugumiikiriza n’okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo, naddala ezo ezaalinanga amawako oba ezo ezaalinga ento. (Olubereberye 33:13) Ekitabo ekimu ekyogera ku biri mu Baibuli kigamba nti: “Endiga zitera okuzaalira ku nsozi. Omusumba alina okubeerawo ng’endiga ezaala era bw’emala okuzaala n’asitula akaliga ako n’akatwala awali endiga endala. Omusumba kimwetaagisa okusitula omwana ogwo okutuusa lwe gutandika okutambula.” (Isaaya 40:10, 11) N’olwekyo, omusumba kyamwetaagisanga okuba ow’amaanyi era ng’afaayo ku ndiga ze.
8. Nsonga ki Dawudi z’awa ezaamuleetera okuba n’obwesige nti Yakuwa ajja kulabirira bulungi endiga ze?
8 “Mukama ye Musumba wange”—ebigambo ebyo tebituukirawo bulungi ku Kitaffe ow’omu ggulu? Bwe weekeneenya Zabbuli eya 23, ojja kulaba nti okufaananako omusumba, Katonda atufaako era wa maanyi. Mu lunyiriri 1, Dawudi yalina obwesige nti Katonda ajja kulabirira bulungi endiga ze ‘zireme kubulwa kye zeetaaga.’ Mu nnyiriri eziddirira, Dawudi awa ensonga ssatu lwaki yali mukakafu ku nsonga eyo ng’agamba nti: Yakuwa akulembera endiga ze, aziriisa era azikuuma. Ka twetegereza ensonga zino emu ku emu.
“Ankulembera”
9. Dawudi bw’ayogera ku ndiga eziwummulidde mu kifo awali omuddo omuto n’amazzi amateefu aba ategeeza ki, era endiga ziyinza zitya okutuuka mu kifo ng’ekyo?
9 Ensonga esooka, Yakuwa akulembera abantu be. Dawudi yawandiika nti: “Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto: antwala ku mabbali ag’amazzi amateefu. Akomyawo emmeeme yange: anuŋŋamya [“ankulembera,” NW] mu makubo ag’obutuukirivu ku lw’erinnya lye.” (Zabbuli 23:2, 3) Wano Dawudi bw’ayogera ku ndiga eziwummulidde mu kifo awali omuddo omuto n’amazzi amateefu, aba alaga obumativu, emirembe n’obukuumi bye yalina. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘omuddo omuto’ kiyinza okutegeeza “ekifo ekirungi.” Kirabika endiga tezisobola kwezuulira wa kuwummulira. N’olwekyo, omusumba waazo y’alina okuzinoonyeza “ekifo ekirungi.”
10. Lwaki Katonda akimanyi nti tusobola okumukoppa?
10 Mu ngeri ki Yakuwa gy’atukulemberamu leero? Akikola ng’atuteerawo ekyokulabirako. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okumukoppa.’ (Abaefeso 5:1, NW) Ennyiriri eziriraanye ekyawandiikibwa ekirimu okukubiriza okwo zoogera ku ngeri ng’ekisa, okusonyiwa, n’okwagala. (Abaefeso 4:32; 5:2) Mazima ddala, Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo mu kwoleka engeri ezo ennungi. Kati olwo, tuyinza okugamba nti bw’atusaba okumukoppa aba atusabye kye tutasobola kukola? Nedda. Bw’atuukubiriza okumukoppa kiba kiraga nti akimanyi nti tusobola okukikola. Lwaki? Olw’okuba twakolebwa mu kifaananyi kye, tusobola okwoleka engeri ze n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’eby’omwoyo. (Olubereberye 1:26) N’olwekyo Yakuwa akimanyi nti tulina obusobozi bw’okwoleka engeri ze wadde nga tetutuukiridde. Kirowoozeko—Katonda waffe omwagazi akimanyi nti tusobola okumukoppa. Bwe tumukoppa, mu ngeri ey’akabonero ajja kutukulembera atutwale mu ‘kifo ekirungi.’ Wadde tuli mu nsi eno embi, tujja ‘kufuna emirembe’ egiva mu kumanya nti tusiimibwa Katonda.—Zabbuli 4:8; 29:11.
11. Yakuwa akulembera atya endiga ze, era kyeyolekera kitya mu ebyo by’atusaba?
11 Yakuwa bw’aba atukulembera atufaako era atukwata n’obugumiikiriza. Olw’okuba omusumba aba amanyi obusobozi bw’endiga ze, azitwala mpola mpola ‘ng’okutambula kwazo’ bwe kuli. (Olubereberye 33:14) Mu ngeri y’emu, Yakuwa akulembera endiga ze ng’asinziira ku ‘kutambula kwazo.’ Afaayo ku busobozi bwaffe n’embeera zaffe. Tatusaba kukola kye tutasobola. Ky’atusaba kyokka kwe kumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Abakkolosaayi 3:23) Kiri kitya singa oba okaddiye nga tokyasobola kukola nga bwe wakolanga edda? Ate kiri kitya singa obulwadde bukulemesa okukola nga bwe wandyagadde? Mu mbeera ng’eyo, kizzaamu amaanyi okumanya nti Katonda ayagala tukole ekyo kye tusobola. Kya lwatu nti ffenna tulina obusobozi bwa njawulo. Okuweereza Katonda n’omutima gwo gwonna kitegeeza okumuweereza n’amaanyi go gonna. Wadde ng’obunafu bw’omubiri buyinza okutulemesa okukola nga bwe twakolanga edda, Yakuwa atusiima bwe tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna.—Makko 12:29, 30.
12. Okusinziira ku Mateeka ga Musa kiki ekiraga nti Yakuwa akulembera endiga ze ng’asinziira ku ‘kutambula kwazo’?
12 Okusobola okumanya obulungi engeri Yakuwa gy’akulemberamu endiga ze ng’asinziira ku ‘kutambula kwazo,’ weetegereze kye yayogera mu Mateeka ga Musa singa omuntu yabanga akoze ekibi. Yagamba nti omuntu yalinanga okuwaayo ekisingayo obulungi era ng’akikola n’essanyu. Ate era ekyo omuntu kye yawangayo kyalinanga kusinziira ku busobozi bwe. Amateeka gaali gagamba nti: “[Singa omuntu tayinza kuwaayo] mwana gwa ndiga kale anaaleetanga . . . bukamumukuukulu bubiri oba amayiba amato abiri.” Ate kiri kitya singa omuntu yali tasobola kufuna mayiba abiri? Olwo yalinanga okuwaayo ‘obutta obulungi.’ (Eby’Abaleevi 5:7, 11) Kino kiraga nti Katonda teyasabanga muntu kyatasobola kuwaayo. Okuva bwe kiri nti Katonda takyuka, kituzzaamu amaanyi nti ne leero tatusaba kukola kye tutasobola; wabula, asanyuka bwe tukola ekyo kye tusobola. (Malaki 3:6) Nga kizzaamu amaanyi okumanya nti tukulemberwa Omusumba atufaako!
“Siritya Kabi Konna Kubanga Ggwe Oli Nange”
13. Mu Zabbuli 23:4, Dawudi alaga atya nti yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era lwaki tekyewuunyisa?
13 Ensonga ey’okubiri, Dawudi yagamba nti Yakuwa akuuma endiga ze. Yagamba: “Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: oluga lwo n’omuggo gwo bye binsanyusa.” (Zabbuli 23:4) Wano Dawudi ayogera ne Yakuwa ng’omuntu bw’ayogera ne mukwano gwe, ng’akozesa ebigambo “ggwe oli nange.” Kino tekyewuunyisa kubanga Dawudi ayogera ku ngeri Katonda gye yamuyambamu ng’ali mu mbeera enzibu. Dawudi yaliko mu biwonvu bingi ebikutte enzikiza—ekiseera obulamu bwe we bwabeerera mu kabi. Kyokka, teyatya kintu kyonna kubanga yali amanyi nti Katonda mwetegefu okukozesa ‘omuggo’ oba ‘oluga lwe’ okumukuuma. Dawudi kyamuzzaamu amaanyi okumanya nti Yakuwa amukuuma era kyamuleetera okuba n’enkolagana ey’okulusegere naye.b
14. Kiki Baibuli ky’etukakasa ku ngeri Yakuwa gy’akuumamu endiga ze era kiki kye kitategeeza?
14 Mu ngeri ki Yakuwa gy’akuumamu endiga ze leero? Baibuli etukakasa nti tewali asobola kumalawo ndiga ze ku nsi, ka babe badayimooni. Ekyo Yakuwa tasobola kukikkiriza kubaawo. (Isaaya 54:17; 2 Peetero 2:9) Kyokka, kino tekitegeeza nti Omusumba waffe ajja kutangira buli kizibu kyonna okututuukako. Okufaananako abantu abalala naffe tufuna ebizibu, ate era ng’Abakristaayo ab’amazima fenna tuyigganyizibwa. (2 Timoseewo 3:12; Yakobo 1:2) Waliwo ebiseera lwe tuyinza okuba ng’omuntu atambulira “mu kiwonvu eky’ekisiikirize ky’olumbe.” Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukoma ku mugo gw’entaana olw’obulwadde obw’amaanyi oba okuyigganyizibwa. Ate oluusi, omwagalwa waffe y’ayinza okutuuka mu mbeera ng’eyo oba ayinza n’okufa. Mu mbeera ng’eyo enzibu ennyo, Omusumba waffe tatulekerera era atukuuma. Mu ngeri ki?
15, 16. (a) Yakuwa atuyamba atya okugumiikiriza ebizibu bye tuba twolekaganye nabyo? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ekyo.
15 Wadde Yakuwa tatusuubiza kutukuuma mu ngeri ya ky’amagero, tuli bakakafu nti ajja kutuyamba okuvvuunuka ekizibu kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo.c Asobola okutuwa amagezi ne tumanya engeri y’okwaŋŋangamu ‘ebizibu ebya buli ngeri.’ (Yakobo 1:2-5) Ng’oggyeko okuba nti omusumba akozesa omuggo oba oluga lwe okugoba ebisolo, alukozesa n’okulaga endiga ze ekkubo ettuufu. Yakuwa atulaga ekkubo ettuufu ng’akozesa basinza bannaffe okutuyamba okussa mu nkola okubuulirira okuli mu Baibuli okuyinza okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Ate era Yakuwa asobola okutuwa amaanyi agatusobozesa okugumira embeera gye tuba twolekaganye nayo. (Abafiripi 4:13) Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, atuwa “amaanyi agatali ga bulijjo.” (2 Abakkolinso 4:7) Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okugumiikiriza ebigezo byonna Setaani by’ayinza okutuleetera. (1 Abakkolinso 10:13) Tekizzaamu amaanyi okumanya nti Yakuwa mwetegefu okutuyamba?
16 Yee, ka kibe nti twolekaganye na kizibu ki, Omusumba waffe tatulekerera. Abeera naffe era atuyamba mu ngeri ez’enjawulo. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Mukristaayo omu aweereza ng’omukadde mu kibiina. Bwe baamukebera kyazuulibwa nti yalina ekizimba ku bwongo. Yagamba: “Wadde okusooka nnalowooza nti Yakuwa yali anyiigidde oba nti takyanjagala, nnali mumalirivu okumunywererako. Nnamubuulira ku kizibu kyange. Emirundi mingi Yakuwa yakozesa baganda bange ne bannyinaze okunzizaamu amaanyi. Bangi abaali bayiseeko mu mbeera ng’eyange bampa amagezi ku ngeri gye nnyinza okwolekaganamu n’obulwadde bwange. Bye baayogeranga byandaga nti si nze nzekka eyali ayolekaganye n’ekizibu ng’ekyo. Okufaayo kwe baandaga n’ebyo bye bankoleranga byandeetera okukakasa nti Yakuwa yali tanyiigidde. Kyo kituufu nti, nkyatawanyizibwa obulwadde buno era simanyi obanga nnaawona. Wadde kiri kityo, ndi mukakafu nti Yakuwa ali nange era nti ajja kweyongera okunnyamba okugumiikiriza ekizibu kino.”
“Onteekerateekera Emmeeza”
17. Bigambo ki ebiri mu Zabbuli 23:5 Dawudi bye yakozesa ng’ayogera ku Yakuwa, era lwaki kituukirawo okubikozesa ku musumba afaayo?
17 Ensonga ey’okusatu, Dawudi yali mukakafu nti: Yakuwa aliisa endiga ze ng’aziwa eby’okulya mu bungi. Dawudi yawandiika nti: “Onteekerateekera emmeeza mu maaso g’abalabe bange: onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.” (Zabbuli 23:5) Mu lunyiriri luno, Dawudi ayogera ku Musumba we ng’oyo amuteekerateekera emmere n’eby’okunywa ebingi. Ebigambo—omusumba afaayo, n’oyo amuteekerateekera emmere n’eby’okunywa—birina akakwate. Kino kiri bwe kityo kubanga omusumba omulungi alina okunoonyeza endiga ze omuddo, n’amazzi agamala, ‘zireme kubulwa kye zeetaaga.’—Zabbuli 23:1, 2.
18. Kiki ekiraga nti Yakuwa alabirira bulungi endiga ze?
18 Omusumba waffe naye atuwa eby’okulya bingi? Awatali kubuusabuusa! Lowooza ku mmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa. Okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, Yakuwa atuwa ebitabo era atuteerawo enkuŋŋaana ennene n’entono gye tufunira emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. (Matayo 24:45-47) Mazima ddala tulina emmere ey’eby’omwoyo etumala. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atukubidde obukadde n’obukadde bwa Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola mu nnimi 413. Yakuwa atuwa emmere eno mu bungi—okuviira ddala ku “mata,” nga zino ze njigiriza za Baibuli ezisookerwako, okutuuka ku “mmere enkalubo,” nga zino ze njigiriza za Baibuli enzibu okutegeera. (Abaebbulaniya 5:11-14) N’olwekyo bwe tufuna ebizibu oba nga twolekaganye n’eby’okusalawo, tusobola okufuna amagezi agasobola okutuyamba okuvvuunuka embeera eyo. Singa tetwalina mmere ya bya mwoyo ng’eyo twandibadde tutya? Mazima ddala Omusumba waffe atuwa emmere nnyingi!—Isaaya 25:6; 65:13.
“N[n]aatuulanga mu Nnyumba ya Mukama”
19, 20. (a) Okusinziira ku Zabbuli 23:6 Dawudi yali mukakafu ku ki, era naffe tulina bukakafu ki? (b) Kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?
19 Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ngeri z’Omusumba we, Dawudi yawunzika bw’ati: “Obulungi n’ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez’obulamu bwange: nange [n]naatulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.” (Zabbuli 23:6) Ebyo Dawudi bye yayogera byayoleka okusiima n’okukkiriza okw’amaanyi kwe yalina—yalaga okusiima olw’ebyo Yakuwa bye yamukolera era yalina okukkiriza nti ajja kumukolera kye kimu mu biseera eby’omu maaso. Dawudi eyaliko omusumba yali mukakafu nti singa atuula mu nnyumba ya Mukama, kwe kugamba, n’abeera n’enkolagana ennungi n’Omusumba we ow’omu ggulu, Yakuwa yandimulabiridde ebbanga lyonna.
20 Nga tuli basanyufu nnyo olw’ebigambo ebirungi ebiri mu Zabbuli eya 23! Ekyokulabirako Dawudi kye kozesa kyali kiraga bulungi engeri Yakuwa gy’akulemberamu endiga ze, gy’azikuumamu n’engeri gy’azifuniramu eby’okulya. Ebigambo bya Dawudi byawandiikibwa mu Baibuli okutulaga nti naffe tusobola okutunuulira Yakuwa ng’Omusumba waffe. Yee, singa tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, ajja kutulabirira ng’Omusumba omwagazi “ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,” kwe kugamba, emirembe gyonna. Kyokka, ng’endiga ze, naffe tulina obuvunaanyizibwa obw’okutambula n’Omusumba waffe omukulu, Yakuwa. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ngeri gye tuyinza okukikolamu.
[Obugambo obuli wansi]
b Dawudi yawandiika zabbuli nnyingi ng’atendereza Yakuwa olw’okumukuuma ng’ali mu mbeera enzibu.—Ng’ekyokulabirako, laba obugambo obuli waggulu wa Zabbuli 18, 34, 56, 57, 59, ne 63.
c Laba ekitundu ekirina omutwe “Divine Intervention—What Can We Expect?” mu The Watchtower aka Okitobba 1, 2003.
Ojjukira?
• Lwaki kyali kituukirawo Dawudi okuyita Yakuwa omusumba?
• Yakuwa atukulembera atya?
• Yakuwa atuyamba atya okugumiikiriza ebizibu bye tuba twolekaganye nabyo?
• Kiki ekiraga nti Yakuwa agaba emmere mu bungi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Okufaananako omusumba mu Isiraeri, Yakuwa akulembera endiga ze