Bayibuli Evumirira Okukuba Zzaala?
FIRIMU eŋŋanzi zitera okulaga abantu abalabika obulungi, abagagga, era ab’obuvunaanyizibwa nga bakuba zzaala mu biseera byabwe eby’eddembe, nga bali mu bifo ebya lukale ebikubirwamu zzaala. Kya lwatu abantu abalaba firimu ezo baba bakimanyi nti ebyo bye baba balabye tebiba bya ddala.
Leero, ng’oggyeko okukubira zzaala mu bifo ebya lukale, abantu bamukubira ku intaneeti, bagula obululu obw’okuwangula ebintu, era basiba ne ssente ku by’emizannyo. Ekitabo ekiyitibwa Internet Gambling kigamba nti ‘okukuba zzaala kubunye buli wamu era kulanda mangu ng’omuliro.’ Ng’ekyokulabirako, okukuba amatatu ga ssente gwe gumu ku mizannyo egiragibwa ennyo ku ttivi ne ku intaneeti. Okusinziira ku lupapula lw’amawulire olumu, okunoonyereza kwalaga nti mu myezi 18 egiyise gye buvuddeko awo omuwendo gw’abantu abakuba amatatu ga ssente mu Amerika gweyongera ne gukubisaamu emirundi ebiri.
Okukuba zzaala kwe kusibawo ssente ng’osuubira okufunamu ezisingawo naye nga toli mukakafu ku ebyo ebinaavaamu. Abantu bangi bagamba nti si kikyamu kukuba zzaala kasita kiba nti oyo amukuba tagufuula muze era nga ne ssente z’asibawo ziba zize. N’ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti okukuba zzaala ‘si kibi mu maaso ga Katonda kasita kiba nti tekiremesa muntu kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe.’ Kyokka, tekirina kyawandiikibwa na kimu kye kijuliza kuwagira nsonga eyo. Kati olwo Omukristaayo asaanidde kutunuulira atya okukuba zzaala? Bayibuli ekuwagira oba ekuvumirira?
Ebyawandiikibwa Ebitukuvu tebyogera butereevu ku kukuba zzaala. Naye ekyo tekitegeeza nti tebituwa bulagirizi ku nsonga eyo. Mu kifo ky’okutuwa olukalala lw’ebiragiro ku buli kimu kye tulina okukola, Bayibuli etukubiriza ‘okutegeeranga Yakuwa ky’ayagala.’ (Abeefeso 5:17) Okusinziira ku mwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa E. W. Bullinger, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okutegeera,” kitegeeza ‘okukwataganya ebintu eby’enjawulo ng’ofumiitiriza ku nsonga.’ Bwe kityo, Omukristaayo asobola okutegeera ekyo Katonda ky’ayagala ku bikwata ku kukuba zzaala ng’akwataganya era ng’afumiitiriza ku misingi egiri mu Bayibuli. Ng’osoma ebyawandiikibwa ebiweereddwa wammanga, oyinza okwebuuza nti: ‘Ekyawandiikibwa kino kiwagira okukuba zzaala? Ekigambo kya Katonda kiraga kitya endowooza ya Katonda ku nsonga eno?’
Okulowooleza mu Lukisakisa
Okuva bwe kiri nti okukuba zzaala kizingiramu okusiba ssente nga toli mukakafu ku ebyo ebinaavaamu, okukkiririza mu lukisakisa kwe kugamba amaanyi agatali ga bulijjo agalowoozebwa okuba nga ge galeetera ebintu ebimu okubaawo kulina kinene kye kukola ku bakubi ba zzaala. Ng’ekyokulabirako, abamu balonda ennamba ezitwalibwa okuba ez’omukisa nga bagula obululu bwa zzaala; abalala balina ebigambo bye beewala okwogera nga bakuba zzaala ate abalala bo bafuuwa ku dayisi nga tebannagizannyisa. Lwaki? Baba balowooza nti olukisakisa lujja kubakwata bafune kye basuubira.
Ddala omuntu okulowooleza mu lukisakisa tekiriimu kabi konna? Abantu abamu mu Isiraeri ey’edda bwe batyo bwe baali balowooza. Baalowoozanga nti olukisakisa lwe lwabasobozesanga okufuna bye baagala. Ekyo Yakuwa Katonda kyamuyisa kitya? Ng’ayitira mu nnabbi Isaaya, Katonda yabagamba nti: “Mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera [katonda ow’Olukisakisa] emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule.” (Isaaya 65:11) Mu maaso ga Katonda okukkiririza mu lukisakisa kuba kusinza bifaananyi era tekulina kakwate n’okusinza okw’amazima. Omuntu bw’alukkiririzaamu aba yeesize maanyi malala amateebereze obuteebereza mu kifo ky’okwesiga Katonda ow’amazima. Tewali nsonga yonna yandituleetedde kulowooza nti Katonda yakyusa endowooza ye ku nsonga eno.
Engeri Ebirabo gye Biwangulwamu
Abakubi ba zzaala ka babe nga bamukubira ku intaneeti, bagula bululu, basiba ssente ku by’emizannyo, oba nga bamuzannyira mu bifo bya lukale mw’akubirwa, tebatera kulowooza ku wa ekirabo kye baluubirira okuwangula gye kinaava. Okukuba zzaala tekulinga kugula kintu kubanga omukubi wa zzaala ye aba ayagala kuwangula buwanguzi ssente banne ze baba bafiiriddwa.a Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa aba Canada’s Centre for Addiction and Mental Health, “omuntu okusobola okuwangula obukadde n’obukadde bwa ssente mu kalulu, walina okubaawo obukadde n’obukadde bw’abantu abafiirwa ssente zaabwe!” Misingi ki egiri mu Bayibuli egisobola okuyamba Omukristaayo okutegeera endowooza ya Katonda ku nsonga eno?
Ekiragiro ekisembayo mu Mateeka Ekkumi agaaweebwa Abaisiraeri kigamba nti: ‘Teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.’ (Okuva 20:17) Okwegomba ebintu bya muntu munno—eby’obugagga bwe, oba ssente ze—kibi kya maanyi ekiri mu ttuluba lye limu n’okwegomba mukazi we. Nga wayiseewo ebyasa ebiwerako, omutume Pawulo yaddamu okwogera ku kiragiro ekyo ng’agamba Abakristaayo nti: “Teweegombanga.” (Abaruumi 7:7) Kyandiba nti Omukristaayo aba ayagala okuwangula ssente omulala z’aba afiiriddwa aba yeegombye?
Omuwandiisi wa magazini eyogera ku kukuba zzaala ayitibwa J. Phillip Vogel, yawandiika nti, “Ka bakikkirize oba bakigaane [abakubi ba zzaala abasinga obungi] nga tebannakuba zzaala baba basuubira nti ssente zonna ze banaakozesa—ka zibe ntono zitya—zijja kuvaamu omudidi gw’ensimbi.” Abakubi ba zzaala ng’abo baba balowooza nti bajja kufuna ssente nnyingi mu kaseera katono ate nga tebazikoleredde. Awatali kubuusabuusa, ekyo kikontana n’okubuulirira okuli mu Bayibuli nti Omukristaayo asaanidde ‘okukola n’emikono gye omulimu omulungi asobole okubaako ne ky’awa omuntu ali mu bwetaavu.’ (Abeefeso 4:28) Ate era omutume Pawulo yagamba nti: “Singa omuntu yenna tayagala kukola, n’okulya talyanga.” Yaggatako nti: “[Basaanidde] okulya emmere gye bakoleredde.” (2 Abasessaloniika 3:10, 12) Naye okukuba zzaala guyinza okuba omulimu?
Wadde nga okukuba zzaala kuyinza okubaamu okufuba, ssente zonna omuntu z’afuna aba tazikoleredde wabula aba aziwangudde buwanguzi. Mu kukuba zzaala, omuntu asibawo ssente nga si mukakafu nti anaawangula, era aba asuubira nti oboolyawo binaamugendera bulungi. Mu bufunze, omukubi wa zzaala aba anoonya kufuna bya bwereere. Ku luuyi olulala, Abakristaayo ab’amazima bakubirizibwa okutwala ssente ze baba bakoleredde. Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n’okunywa n’okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe.” Ate era yagattako nti: “Ekyo . . . kiva eri omukono gwa Katonda.” (Omubuulizi 2:24) Yee, abaweereza ba Katonda tebateeka ssuubi lyabwe mu bintu ebiteesigika oba okunoonya engeri ennyangu ey’okufunamu ssente wabula beesiga Katonda okusobola okufuna essanyu n’emikisa.
“Akatego” k’Osaanidde Okwewala
Omukubi wa zzaala ne bw’aba awangudde, kyandibadde kirungi n’atalowooza ku ssanyu ery’akaseera obuseera ly’afunye wabula n’alowooza ku bizibu eby’amaanyi ebinaava mu kukuba zzaala. Engero 20:21 wagamba nti, “Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye; naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa.” Abantu bangi abaawangula ssente mu kukuba obululu n’abakubi ba zzaala abalala, bakitegedde nti obugagga bwe baafuna tebwabaleetera ssanyu wabula okwejusa oba ennaku. Nga kiba kirungi okukolera ku kubuulirira Bayibuli kw’ewa obutassa ssuubi lyaffe mu “by’obugagga ebitali bya lubeerera, wabula mu Katonda atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa.”—1 Timoseewo 6:17.
Ng’oggyeko okuwangula n’okufiirwa, waliwo akabi ak’amaanyi akayinza okutuuka ku muntu akuba zzaala. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.” (1 Timoseewo 6:9) Omutego gukolebwa n’ekigendererwa eky’okukwasa ekintu. Abantu bangi batandiikiriza mpolampola okuzannya zzaala nga basooka kusibawo ssente ntonotono oba nga balowooza nti bajja kumuzannya okumala ekiseera kitono, naye oluvannyuma beesanga ng’akatego k’okukuba zzaala kabakwasizza era nga gufuuse muze. Okukuba zzaala kuviiriddeko abantu okufiirwa emirimu gyabwe, okulumya abaagalwa baabwe, n’amaka okusasika.
Oluvannyuma lw’okwekenneenya ebyawandiikibwa bingi ebikwataganyizibwa n’okukuba zzaala, otegedde endowooza Katonda gy’alina ku nsonga eyo? Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Mulekere awo okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mukakase ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Abaruumi 12:2) Omukristaayo asaanidde kugoberera ekyo Katonda ky’ayagala so si abantu abasinga obungi kye balowooza. Olw’okuba ye “Katonda omusanyufu,” Yakuwa ayagala tunyumirwe obulamu nga tetufunye bizibu biva mu kukuba zzaala.—1 Timoseewo 1:11.
[Obugambo obuli wansi]
a Magazini ya Awake!, eya Okitobba 8, 2000, olupapula 25 okutuuka ku 27, eyakubibwa abajulirwa ba Yakuwa, yannyonnyola enjawulo eriwo wakati w’okugula emigabo mu kampuni n’okukuba zzaala.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 23]
Ssente abaweereza ba Katonda ze bafuna baba bazikoleredde
[Akasanduuko akali ku lupapula 22]
Engeri Omuntu gy’Acamuukiriramu ng’Awangudde
Omuntu bw’atandika okukuba zzaala, kiba kyangu okumufuukira omuze? Oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza ku ngeri abakubi ba zzaala gye bawuliramu nga bawangudde oba nga bafiiriddwa ssente zaabwe, omusawo ayitibwa Hans Breiter yagamba nti “ssente omuntu z’awangula ng’akubye zzaala zimuleetera okucamuukirira ng’omunywi w’enjaga nga yaakaginywa.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Ssente omukubi wa zzaala z’aba asuubira okuwangula ziva wa?