Abakristaayo—Mugoberere Ekyokulabirako kya Yesu mu Maka Gammwe!
‘Kristo yabalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulire mu bigere bye.’—1 PEET. 2:21.
1. (a) Omwana wa Katonda yakola ki mu kutondebwa kw’ebintu byonna? (b) Yesu awulira atya eri abantu?
KATONDA bwe yali atonda eggulu n’ensi, yali wamu n’Omwana we omubereberye eyakola ‘ng’omukozi omukugu.’ Omwana wa Katonda oyo era yakolera wamu ne Kitaawe nga Yakuwa atonda ebisolo n’ebimera ebya buli ngeri ku nsi, era ng’ateekateeka Olusuku mwe yali agenda okuteeka abantu abaatondebwa mu kifaananyi kye. Omwana wa Katonda, oluvannyuma eyayitibwa Yesu, yali ayagala nnyo abaana b’abantu.—Nge. 8:27-31, NW; Lub. 1:26, 27.
2. (a) Kiki Yakuwa kye yakola okuyamba olulyo lw’omuntu? (b) Ekimu ku bintu Baibuli mw’etuwa obulagirizi kye kiruwa?
2 Abantu ababiri abaasooka bwe baayonoona, Yakuwa yakola enteekateeka okununula olulyo lw’omuntu. Kino okusobola okukituukiriza, Yakuwa yawaayo Kristo ng’ekinunulo. (Bar. 5:8) Ate era, Yakuwa yawa abantu Ekigambo kye, Baibuli, basobole okumanya engeri y’okutambuzaamu obulamu bwabwe wadde nga tebatuukiridde. (Zab. 119:105) Mu Kigambo kye, Yakuwa alaga abantu engeri gye bayinza okunywezaamu enkolagana wakati waabwe era n’okufuna essanyu mu maka. Nga kyogera ku bufumbo, ekitabo ky’Olubereberye kigamba nti omusajja alina ‘okunywerera ku mukazi we ne bafuuka omubiri gumu.’—Lub. 2:24, NW.
3. (a) Yesu yayigiriza ki ku bufumbo? (b) Tugenda kulaba ki mu kitundu kino?
3 Bwe yali mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yakiraga nti obufumbo bulina kuba bwa lubeerera. Yayigiriza abantu emisingi egyali giyinza okubayamba okwewala endowooza n’empisa ebyandyonoonye obufumbo bwabwe n’okubamalako essanyu mu maka. (Mat. 5:27-37; 7:12) Mu kitundu kino tugenda kwetegereza engeri ebyo Yesu bye yayigiriza n’ekyokulabirako kye yateekawo gye biyinza okuyamba abaami, abakyala, abazadde, n’abaana okuba n’obulamu obw’essanyu era obumatiza.
Engeri Omusajja gy’Awa Mukazi We Ekitiibwa
4. Kiki omusajja Omukristaayo ky’afaanaganya ne Yesu?
4 Katonda yalonda omusajja okuba omutwe gw’amaka, nga Yesu bw’ali Omutwe gw’ekibiina. Omutume Pawulo yagamba nti: “Omusajja gwe mutwe gwa mukazi we era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina, era nga ye mulokozi w’omubiri guno. Abaami mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:23, 25) Mu butuufu, engeri Yesu gye yayisaamu abagoberezi be eraga abasajja Abakristaayo bwe basaanidde okuyisa bakyala baabwe. Kati ka tulabe engeri Yesu gye yakozesaamu obuyinza Katonda bwe yamuwa.
5. Yesu yakwatanga atya abayigirizwa be?
5 Yesu yali “muteefu era muwombeefu mu mutima.” (Mat. 11:29) Yalinga mwetegefu okukola kyonna ekyetaagisa era teyalagajjaliranga buvunaanyizibwa bwe. (Mak. 6:34; Yok. 2:14-17) Bwe yabanga awabula abayigirizwa be yabakwatanga bulungi, ne bwe kyabanga kyetaagisa okukikola enfunda n’enfunda. (Mat. 20:21-28; Mak. 9:33-37; Luk. 22:24-27) Teyabakambuwaliranga wadde okubaweebuula, era teyakola kintu kyonna kibaleetera kulowooza nti tabaagala, oba nti tebasobola kutuukiriza bye yali abayigiriza. Mu kifo ky’ekyo, yalaganga abayigirizwa be okusiima era yabakubirizanga okukola ekituufu. (Luk. 10:17-21) Tekyewuunyisa nti abayigirizwa be baamuwanga nnyo ekitiibwa olw’okubakwata mu ngeri ey’ekisa n’okwagala!
6. (a) Abasajja bayigira ki ku ngeri Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be? (b) Abasajja Peetero abakubiriza kukola ki?
6 Ekyokulabirako kya Yesu kiyigiriza abasajja nti tebasaanidde kukozesa buyinza bwabwe kuyisa bubi bakazi baabwe, wabula basaanidde okubalaga okwagala n’okubawa ekitiibwa. Omutume Peetero yakubiriza abasajja okukoppa okwagala kwa Yesu mu ngeri gye bayisaamu bakazi baabwe, ‘nga babassaamu ekitiibwa.’ (Soma 1 Peetero 3:7.) Kati olwo omusajja ayinza atya okukozesa obuyinza bwe ng’omutwe gw’amaka, mu kiseera kye kimu n’aba ng’awa mukazi we ekitiibwa?
7. Omusajja ayinza atya okulaga nti awa mukazi we ekitiibwa? Waayo ekyokulabirako.
7 Engeri emu omusajja gy’alaga nti awa mukazi we ekitiibwa kwe kumwebuuzaako nga tannasalawo ku nsonga ezikwata ku maka gaabwe. Ayinza okuba ng’ayagala basenguke, oba ng’ayagala kukyusa mulimu. Ayinza n’okuba ng’ayagala kusalawo ku bintu ebitonotono gamba ng’ekifo we bayinza okugenda okuwummulako, oba ng’ayagala bakendeeze ku nsasaanya olw’ebintu okulinnya ebbeeyi. Olw’okuba ab’omu maka bonna baba bajja kukwatibwako, kiba kirungi omusajja okwebuuza ku mukazi we, kubanga kino kiyinza okumuyamba okusalawo obulungi, era ne mukazi we kimwanguyira okumuwagira. (Nge. 15:22) Abasajja Abakristaayo bwe bawa bakazi baabwe ekitiibwa, n’abakyala basikirizibwa okubaagala n’okubawa ekitiibwa. N’ekisinga obukulu, basanyusa Yakuwa.—Bef. 5:28, 29.
Engeri Omukazi gy’Alaga nti Awa Bba Ekitiibwa
8. Lwaki si kirungi okukoppa ekyokulabirako kya Kaawa?
8 Yesu yateerawo abakazi Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga obuwulize. Ng’engeri Yesu gy’atunuuliramu obuyinza ya njawulo nnyo ku y’omukazi eyasooka! Kaawa yateerawo abakazi ekyokulabirako ekibi. Yakuwa yali yamuteerawo Adamu ng’omutwe, era gwe yayitirangamu okumuwa obulagirizi. Kyokka enteekateeka eno Kaawa teyagissaamu kitiibwa era yasambajja ekiragiro ekyamutuusibwako Adamu. (Lub. 2:16, 17; 3:3; 1 Kol. 11:3) Kituufu nti Kaawa yalimbibwa, naye yandibadde asooka kwebuuza ku bba alabe obanga kyali kisaana okuwuliriza oyo eyali agamba nti amubuulira ‘Katonda ky’amanyi.’ Mu kifo ky’okukola atyo, yeeyitiriza n’agamba bbaawe eky’okukola.—Lub. 3:5, 6; 1 Tim. 2:14.
9. Yesu yateekawo kyakulabirako ki mu kuba omuwulize?
9 Okwawukana ku ekyo, Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera Omutwe gwe. Mu bulamu bwe bwonna Yesu “teyalowooza ku kya kwezza buyinza asobole okwenkankana ne Katonda.” Mu butuufu “yeggyako buli kye yalina n’afuuka ng’omuddu.” (Baf. 2:5-7) Na kati ng’afuga nga Kabaka, Yesu alina endowooza y’emu. Muwulize eri Kitaawe mu buli kimu era awagira obukulembeze Bwe.—Mat. 20:23; Yok. 5:30; 1 Kol. 15:28.
10. Omukazi ayinza atya okulaga nti awagira obukulembeze bwa bba?
10 Omukazi Omukristaayo asaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yesu ng’awagira obukulembeze bwa bba. (Soma 1 Peetero 2:21; 3:1, 2.) Lowooza ku mbeera emu mw’ayinza okukolera kino. Mutabani we ayinza okumutuukirira ng’alina ky’ayagala okukola, naye ng’alina kusooka kufuna lukusa okuva mu bazadde be. Kyokka olw’okuba ky’ayagala okukola abazadde tebakyogerangako, kiba kirungi maama okubuuza omwana nti, “Taata wo wamusabye?” Omwana bw’aba nga teyasabye kitaawe, maama asaanidde okwogerako ne bba nga tewannabaawo kisalibwawo. Ate era, si kirungi omukazi Omukristaayo okuwakanya oba okugaana bba ky’aba asazeewo ng’abaana weebali. Bw’aba takkiriziganyizza na bba ku nsonga yonna, asaanidde okwogera naye nga bali bokka.—Bef. 6:4.
Ekyokulabirako Yesu Kye Yateerawo Abazadde
11. Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abazadde?
11 Wadde nga Yesu teyawasa era teyazaala baana, yateerawo abazadde Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi. Mu ngeri ki? Yalaga okwagala n’obugumiikiriza mu bigambo ne mu bikolwa ng’ayigiriza abayigirizwa be. Yabalaga engeri y’okukolamu omulimu gwe yabakwasa. (Luk. 8:1) Engeri Yesu gye yakwatamu abayigirizwa be yalaga engeri buli omu gye yalina okuyisaamu munne.—Soma Yokaana 13:14-17.
12, 13. Abazadde balina kukola ki okusobola okukuza abaana abatya Katonda?
12 Abaana batera nnyo okukoppa bazadde baabwe, ka babe nga beeyisa bulungi oba bubi. N’olwekyo abazadde basaanidde okwebuuza: ‘Abaana baffe tubawa kifaananyi ki bwe kituuka ku biseera bye tumala ku ttivi ne mu kwesanyusaamu, n’ebyo bye tumala nga twesomesa Baibuli n’okukola omulimu gw’okubuulira? Ddala bintu ki bye tutwala ng’ebikulu mu maka gaffe? Tuteerawo abaana ekyokulabirako ekirungi nga tukulembeza okusinza okw’amazima mu bulamu bwaffe?’ Abazadde bwe baba ab’okukuza abaana abatya Katonda, bo bennyini balina okusooka okuteeka amateeka ga Katonda mu mitima gaabwe.—Ma. 6:6.
13 Abazadde bwe batambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Baibuli, kino abaana bakiraba mangu era bye babayigiriza babitwala nga bikulu. Naye singa abaana bakiraba nti abazadde bye babayigiriza bo si bye bakola, bayinza okulowooza nti emisingi gya Baibuli si mikulu nnyo mu bulamu era si gya mugaso. Ekyo kiyinza okuviirako abaana okwekkiriranya nga boolekaganye n’okupikirizibwa.
14, 15. Biruubirirwa ki abazadde bye basaanidde okukubiriza abaana baabwe okweteerawo, era kino bayinza kukikola batya?
14 Abazadde Abakristaayo balina okukimanya nti omwana teyeetaaga byetaago bya mubiri byokka. N’olwekyo, okukubiriza abaana okunoonya eby’obugagga byokka tekiba kya magezi. (Mub. 7:12) Yesu yayigiriza abayigirizwa be okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe mu bulamu bwabwe. (Mat. 6:33) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo basaanidde okukoppa Yesu nga bafuba okukubiriza abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo.
15 Kino abazadde bayinza okukikola nga bafuba okuyamba abaana baabwe okukola omukwano n’abantu abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Lowooza ku ngeri abatiini gye bayinza okuganyulwa nga bakoze omukwano ne bapayoniya oba n’omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we. Abaminsani, Ababeseri, n’ab’oluganda abakola ogw’okuzimba mu nsi ezitali zimu boogera nnyo ku ssanyu lye bafuna mu buweereza bwabwe eri Yakuwa, era balina bingi ebizzaamu amaanyi bye bayinza okunyumiza abatiini. Omwoyo gw’okwefiiriza gwe booleka guyinza okuyamba abaana bo okusalawo mu ngeri ey’amagezi, ne beeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, era ne basoma ebintu ebinaabayamba okweyimirizaawo nga bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
Ekinaayamba Abaana Okugoberera Ekyokulabirako kya Kristo
16. Yesu yawa atya ekitiibwa bazadde be era ne Kitaawe ow’omu ggulu?
16 Abaana, nammwe Yesu yabateerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yesu yakulira mu maka ga Yusufu ne Malyamu, era yabagonderanga. (Soma Lukka 2:51.) Wadde nga baali tebatuukiridde, yali akimanyi nti Katonda yabawa obuvunaanyizibwa okumulabirira. Olw’ensonga eyo, Yesu yalina okubawa ekitiibwa. (Ma. 5:16; Mat. 15:4) Bwe yakula, Yesu bulijjo yakolanga ebintu ebisanyusa Kitaawe ow’omu ggulu. Kino kyali kizingiramu okuziyiza ebikemo. (Mat. 4:1-10) Mmwe abavubuka, oluusi muwulira nga temwagala okugondera bazadde bammwe. Kiki ekinaakuyamba okugoberera ekyokulabirako kya Yesu?
17, 18. (a) Kupikirizibwa ki abavubuka kwe boolekagana nakwo ku ssomero? (b) Kiki ekinaayamba abavubuka obutekkiriranya?
17 Oboolyawo banno abasinga b’osoma nabo tebassa kitiibwa mu mitindo gya Baibuli. Bayinza okugezaako okukupikiriza obeegatteko mu kukola ebintu ebibi, era bayinza okukusekerera bw’ogaana. Oluusi bayinza n’okukutuuma amanya olw’okuba ogaanye okweyisa nga bo? Bwe kiba kityo, oyinza kukola ki? Okimanyi nti okwekkiriranya n’okola nga bwe baagala kijja kunyiiza bazadde bo awamu ne Yakuwa. Kiki ekivaamu bw’ogoberera bayizi banno? Oyinza okuba nga weeteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka payoniya, okuba omuweereza mu kibiina, okuweereza mu kitundu ewali obwetaavu obusingako, oba okuweereza ku Beseri. Okuba n’emikwano egy’engeri eyo kinaakuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo ebyo?
18 Mmwe abavubuka, bwe mwesanga mu mbeera ezigezesa okukkiriza kwammwe muzikwata mutya? Mulowooze ku kyokulabirako kya Yesu. Yagaanira ddala okwekkiriranya ng’akemebwa era yanywerera ku kituufu. Kino okukijjukira kijja kubayamba obutatya kugamba bayizi bannammwe nti temuyinza kubeegattako nga bakola ebintu bye mumanyi nti bikyamu. Okufaananako Yesu, omutima gwammwe mugusse ku kiruubirirwa kyammwe eky’okuweereza Yakuwa n’okumugondera obulamu bwammwe bwonna.—Beb. 12:2.
Ensibuko y’Essanyu mu Maka
19. Kiki ekinaatuyamba okuba n’essanyu erya nnamaddala mu bulamu?
19 Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo baagala abantu babeere n’obulamu obusingayo okuba obulungi. Ne mu kiseera kino tusobola okuba abasanyufu wadde nga tetutuukiridde. (Is. 48:17, 18; Mat. 5:3) Yesu teyakoma ku kuyigiriza bayigirizwa be mazima agaleetera essanyu mu bulamu, naye era yabayigiriza engeri gye basobola okuba n’obulamu obusingayo obulungi. Ng’oggyeko ekyo, yabateerawo ekyokulabirako ekibayamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri esaanira. Ffenna, ka tube na buvunaanyizibwa ki mu maka, tuganyulwa mu kugoberera ekyokulabirako kya Yesu. N’olwekyo, abaami, abakyala, abazadde, n’abaana, mugoberere ekyokulabirako kya Yesu! Okutambulira ku bintu Yesu bye yayigiriza n’okukoppa ekyokulabirako kye ye nsibuko y’essanyu n’obulamu obumatiza mu maka.
Wandizzeemu Otya?
• Abasajja basaanidde kukozesa batya obuyinza Katonda bwe yabawa?
• Omukazi ayinza atya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
• Abazadde bayiga ki ku ngeri Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be?
• Abavubuka bayiga ki ku kyokulabirako kya Yesu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Omusajja asaanidde kukola ki nga tannasalawo kintu kyonna kikwata ku ba mu maka ge?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Mbeera ki omukazi mw’ayinza okulagira nti awagira obukulembeze bwa bba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abaana bakoppa empisa za bazadde baabwe ennungi