-
Totunuulira Bintu Bye Waleka EmabegaOmunaala gw’Omukuumi—2012 | Maaki 15
-
-
12. Pawulo yatwala atya ebintu bye yali alese emabega?
12 Omutume Pawulo yeefiiriza ebintu bingi okusobola okufuuka omugoberezi wa Kristo. (Baf. 3:4-6) Yatwala atya ebintu bye yaleka emabega? Agamba nti: “Ebintu ebyali amagoba gye ndi nnabyefiiriza olwa Kristo. N’olw’ensonga eyo, ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo.”a (Baf. 3:7, 8) Omuntu bw’amala okusuulayo ebisasiro oluvannyuma teyejjusa lwaki yabisudde. Mu ngeri y’emu ne Pawulo teyejjusa bintu bye yali alese emabega. Yali takyabirabamu mugaso gwonna.
13, 14. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo?
13 Kiki ekiyinza okutuyamba singa twesanga nga tutandise okwegomba ebintu bye twefiiriza mu biseera eby’emabega? Kiba kirungi okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tulowooza ku bintu eby’omuwendo bye tulina kati. Tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa era Yakuwa atutwala nga mikwano gye. (Beb. 6:10) Waliwo ekintu kyonna ekiri mu nsi kye tuyinza okugeraageranya ku mikisa egy’ekitalo Katonda gy’atuwadde kati n’egyo gy’agenda okutuwa mu biseera eby’omu maaso?—Soma Makko 10:28-30.
-
-
Totunuulira Bintu Bye Waleka EmabegaOmunaala gw’Omukuumi—2012 | Maaki 15
-
-
a Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ebisasiro” era kisobola okutegeeza ebintu “bye basuulira embwa,” “obusa,” oba “empitambi.” Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti Pawulo yakozesa ekigambo ekyo ng’ayogera ku kintu omuntu ky’akyayira ddala, nga takyakirabamu mugaso gwonna, era nga takyayagala na kuddamu kukitunulako.
-