“Mubenga n’Amaanyi mu Mukama Waffe”
“Mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.”—ABAEFESO 6:10.
1. (a) Lutalo ki olutali lwa bulijjo olwaliwo emyaka nga 3,000 egiyise? (b) Lwaki Dawudi yawangula?
EMYAKA nga 3,000 egiyise, abalwanyi babiri okuva mu magye ag’enjuyi ebbiri baayolekaganya obwanga. Omuto ku balwanyi abo yali Dawudi omulunzi w’endiga. Gwe yali agenda okwaŋŋanga yali Goliyaasi, omusajja eyalina amaanyi amangi ennyo era nga muwagguufu. Ekizibaawo kye kyali kizitowa kilo 57, era ng’alina effumu erizitowa ennyo n’ekitala ekinene ddala. Dawudi yali tayambadde kyambalo kyonna eky’ekijaasi, era eky’okulwanyisa kyokka kye yalina yali nvuumuulo. Goliyaasi, Omufirisuuti omuwagguufu, yawulira ng’anyoomeddwa nnyo olw’okuba Omuisiraeri eyavaayo okulwana naye kaali kalenzi bulenzi. (1 Samwiri 17:42-44) Eri abalabi ku njuyi zombi, eyandiwangudde yalabika ng’eyeeyolekerawo. Naye, bulijjo ab’amaanyi si be bawangula olutalo. (Omubuulizi 9:11) Dawudi yawangula olw’okuba yeesiga Yakuwa okumuwa amaanyi. Yagamba: “Olutalo lwa Mukama.” Ebyaliwo Baibuli ebyogerako bw’eti: “Dawudi n’awangula bw’atyo Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja.”—1 Samwiri 17:47, 50.
2. Lutalo lwa ngeri ki Abakristaayo lwe balimu?
2 Abakristaayo tebeenyigira mu ntalo. Wadde nga batabagana n’abantu bonna, bali mu lutalo olw’eby’omwoyo nga bameggana n’abalwanyi ab’amaanyi ennyo. (Abaruumi 12:18) Mu ssuula esembayo ey’ebbaluwa ye eri Abaefeso, Pawulo yannyonnyola olutalo buli Mukristaayo lw’alimu. Yagamba: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.”—Abaefeso 6:12.
3. Okusinziira ku Abaefeso 6:10, kiki ekyetaagisa okusobola okuwangula olutalo?
3 ‘Emyoyo egyo emibi’ ye Setaani ne badayimooni be abaagala okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Okuva bwe bali ab’amaanyi ennyo okutusinga, twesanga nga tuli mu mbeera efaananako n’eyo Dawudi gye yalimu, era tetusobola kutuuka ku buwanguzi okuggyako nga twesigamye ku Katonda okutuwa amaanyi. Mu butuufu, Pawulo atukubiriza ‘okufunanga amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.’ (Abaefeso 6:10) Oluvannyuma lw’okutukubiriza bw’atyo, omutume ayogera ku bintu eby’omwoyo awamu n’engeri ez’Ekikristaayo ebitusobozesa okuwangula olutalo.—Abaefeso 6:11-17.
4. Bintu ki ebibiri ebikulu bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
4 Kati ka twekenneenye Ebyawandiikibwa kye byogera ku maanyi g’omulabe waffe era n’obukodyo bw’akozesa. Oluvannyuma tujja kulaba engeri gye tuyinza okwerwanako okusobola okubeera n’obukuumi. Bwe tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, tusobola okuba abakakafu nti abalabe baffe tebajja kutuwangula.
Tumeggana n’Emyoyo Emibi
5. Ekigambo ‘okumeggana’ ekikozesebwa mu Abaefeso 6:12 kituyamba kitya okutegeera ekigendererwa kya Setaani?
5 Pawulo atutegeeza nti “tumeggana . . . n’emyoyo [emibi] mu bifo ebya waggulu.” Kya lwatu, omukulu w’emyoyo emibi ye Setaani Omulyolyomi, ‘omufuzi wa badayimooni.’ (Matayo 12:24-26) Olutalo lwe tulimu Baibuli erwogerako ‘ng’okumeggana.’ Mu mizannyo egy’okumeggana mu Buyonaani ey’edda, buli muzannyi yagezangako okusiba munne enkalu okusobola okumukuba ennume y’ekigwo. Mu ngeri y’emu, Omulyolyomi ayagala kutumegga mu by’omwoyo. Kino ayinza kukikola atya?
6. Kozesa Ebyawandiikibwa okulaga engeri Omulyolyomi gy’ayinza okukozesaamu obukodyo obw’enjawulo okunafuya okukkiriza kwaffe.
6 Omulyolyomi asobola okweyisa ng’omusota, ng’empologoma ewuluguma, oba nga malayika ow’ekitangaala. (2 Abakkolinso 11:3, 14; 1 Peetero 5:8) Asobola okukozesa abantu okutuyigganya oba okutumalamu amaanyi. (Okubikkulirwa 2:10) Okuva ensi yonna bw’eri mu buyinza bwa Setaani, asobola okukozesa ebintu byayo ebisikiriza okutusuula mu kyambika. (2 Timoseewo 2:26; 1 Yokaana 2:16; 5:19) Asobola okukozesa endowooza y’ensi oba eya bakyewaggula okutuwabya nga bwe yalimba Kaawa.—1 Timoseewo 2:14.
7. Badayimooni balina kkomo ki, era bintu ki ebirungi bye tulina?
7 Wadde nga Setaani ne badayimooni be balabika ng’abalina amaanyi amangi n’eby’okulwanyisa eby’ekitalo, baliko ekkomo. Emyoyo gino emibi tegisobola kutukaka kukola bintu bibi ebinyiiza Kitaffe ow’omu ggulu. Twatondebwa nga tulina obusobozi bw’okusalawo ekituufu n’ekikyamu, era tusobola okufuga ebirowoozo byaffe n’ebikolwa byaffe. Ate era tetulekeddwa ttayo mu lutalo luno. Nga bwe kyali mu kiseera kya Erisa, bwe kiri ne leero: “Abali naffe bangi okusinga abali nabo.” (2 Bassekabaka 6:16) Baibuli etukakasa nti bwe twesiga Katonda ne tuziyiza Omulyolyomi, ajja kutudduka.—Yakobo 4:7.
Tumanyi Obukodyo bwa Setaani
8, 9. Bizibu ki Setaani bye yaleetera Yobu ng’ayagala okumenya obugolokofu bwe, era bintu ki eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo bye twolekagana nabyo leero?
8 Tumanyi enkwe za Setaani olw’okuba Ebyawandiikibwa bitutegeeza obumu ku bukodyo bw’akozesa. (2 Abakkolinso 2:11) Ng’alwanyisa Yobu omusajja omutuukirivu, Omulyolyomi yakozesa ebizibu by’eby’enfuna, okufiirwa abaagalwa, okuyigganyizibwa ab’omu maka, okulwala, ne mikwano gye okumulumiriza eby’obulimba. Yobu yennyamira nnyo era n’alowooza nti Katonda yali amwabulidde. (Yobu 10:1, 2) Wadde nga leero Setaani ayinza obutatutuusaako bizibu bino butereevu, Abakristaayo bangi boolekagana n’ebizibu ng’ebyo, era Omulyolyomi asobola okubikozesa okutuukiriza ebigendererwa bye.
9 Ebintu eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo byeyongedde nnyo mu kiseera kino eky’enkomerero. Tuli mu nsi ekulembeza okunoonya eby’obugagga mu kifo ky’ebiruubirirwa eby’omwoyo. Emikutu gy’eby’empuliziganya giraga nti obukaba buleeta essanyu, ng’ate mu butuufu buleeta bulumi. Era abantu abasinga obungi ‘baagala ssanyu okusinga Katonda.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Singa ‘tetulwanirira kukkiriza kwaffe,’ endowooza y’ensi esobola okutunafuya mu by’omwoyo.—Yuda 3.
10-12. (a) Kulabula ki okumu Yesu kwe yawa mu lugero lw’omusizi? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ebiruubirirwa eby’omwoyo gye biyinza okubuutikirwa.
10 Akamu ku bukodyo Setaani bw’asinga okukozesa kwe kutuleetera okwemalira ku bintu by’ensi eno n’okuluubirira okufuna eby’obugagga. Mu lugero olukwata ku musizi, Yesu yalabula nti mu mbeera ezimu “okweraliikirira kw’ensi, n’obulimba bw’obugagga bizisa ekigambo [ky’Obwakabaka].” (Matayo 13:18, 22) Wano ekigambo ky’Oluyonaani ekivuunuddwa ‘okuzisa’ kitegeeza “okutugira ddala ekintu.”
11 Mu bibira ebimu, eriyo ekika ky’omuti ogumera ku ginne waagwo. Gukula mpolampola ng’eno bwe gugenda gwezingirira omuti kwe guba gumeze. Mpolampola emirandira gyagwo ggikka mu ttaka era ne gyeyongera okunywera n’okugejja. Oluvannyuma emirandira egyo ginyuunyuunta ekiriisa ekiri mu ttaka awali ekikolo ky’omuti kwe guli ng’eno ebikoola byagwo n’amatabi bwe biziyiza omuti okufuna ekitangaala. Oluvannyuma lw’ekiseera omuti kwe guli gufa.
12 Mu ngeri y’emu, okweraliikirira kw’ensi eno, okunoonya eby’obugagga n’okuluubirira okuba mu bulamu obusanyusa mpolampola bisobola okutwala ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe. Ng’ebirowoozo byaffe biwuguddwa ebintu by’ensi eno, kiba kyangu nnyo okulagajjalira okwesomesa Baibuli era ne tutandika okwosaayosanga enkuŋŋaana, bwe tutyo ne tuba nga tetukyaliisibwa mu bya mwoyo. Mu kifo ky’okuluubirira ebintu eby’omwoyo tutandika okuluubirira okufuna eby’obugagga, n’ekivaamu kibeera kyangu nnyo Setaani okutukwasa.
Twetaaga Okuyimirira nga Tuli Banywevu
13, 14. Kiki kye tulina okukola nga Setaani atulumbye?
13 Pawulo yakubiriza bakkiriza banne ‘okuyimirira nga banywevu eri enkwe za Setaani.’ (Abaefeso 6:11) Kya lwatu nti tetusobola kuzikiriza Omulyolyomi ne badayimooni be. Obuvunaanyizibwa obwo Katonda abuwadde Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 20:1, 2) Okutuusiza ddala nga Setaani amaze okuggibwawo, tulina ‘okuyimirira nga tuli banywevu’ aleme okutuwangula.
14 Omutume Peetero naye yaggumiza obwetaavu bw’okuyimirira nga tuli banywevu okusobola okuziyiza Setaani. Yagamba: “Mutamiirukukenga, mutunulenga; omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya: oyo mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza kwammwe, nga mumanyi ng’ebibonoobono ebyo bituukirira eri baganda bammwe abali mu nsi.” (1 Peetero 5:8, 9) Mu butuufu, obuyambi baganda baffe ne bannyinaffe ab’eby’omwoyo bwe batuwa bwetaagisa nnyo okusobola okuyimirira nga tuli banywevu Omulyolyomi bw’atulumba ng’alinga empologoma ewuluguma.
15, 16. Waayo ekyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa okulaga engeri obuyambi bwa bakkiriza bannaffe gye buyinza okutuyamba okuyimirira nga tuli banywevu.
15 Empologoma bw’ewulugumira ku ttale mu Afirika, obuweewo budduka emisinde egy’ekitalo okutuusiza ddala nga buvudde mu kifo awali akabi. Kyokka, zo enjovu ziyambagana. Ekitabo ekiyitibwa Elephants—Gentle Giants of Africa and Asia kigamba: “Akakoddyo enjovu ke zikozesa okusobola okwerwanako, kwe kuyimirira awamu nga zeetoolodde obwana bwazo ng’obwanga zibwolekezza awava akabi.” Enjovu bwe zikola bwe zityo, empologoma tezitera na kulumba bwana bwazo.
16 Mu ngeri y’emu, naffe bwe tulumbibwa Setaani ne badayimooni be, twetaaga okubeera awamu ne baganda baffe abanyweredde mu kukkiriza. Pawulo yagamba nti abamu ku Bakristaayo banne ‘baamuzzaamu amaanyi’ mu kiseera kye yamala mu Rooma nga musibe. (Abakkolosaayi 4:10, 11) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa ‘okuzzaamu amaanyi,’ kisangibwa mu lunyiriri olwo lwokka mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Okusinziira ku nkuluze eyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words, “ekigambo kino kisibuka mu kigambo ekitegeeza eddagala eriweweeza obulumi.” Okufaananako akazigo akaweweeza obulumi, obuyambi obutuweebwa abaweereza ba Yakuwa abakuze mu by’omwoyo busobola okutuweweeza nga tulumizibwa mu nneewulira oba mu mubiri.
17. Biki ebiyinza okutusobozesa okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda?
17 Bakristaayo bannaffe bwe batuzzaamu amaanyi, kituyamba okusigala nga tuli bamalirivu okuweereza Katonda n’obwesigwa. Naddala, abakadde mu kibiina Ekikristaayo baagala nnyo okutuyamba mu by’omwoyo. (Yakobo 5:13-15) Ebintu ebituyamba okusigala nga tuli beesigwa kwe kwesomesa Baibuli obutayosa n’okubeerangawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, kituyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Mazima ddala, ka tube nga tulya, nga tunywa, oba nga tukola ekintu ekirala kyonna, tusaanidde okubikola olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. (1 Abakkolinso 10:31) Okussa obwesige mu Yakuwa awamu n’okusaba, bikulu nnyo okusobola okweyongera okutambulira mu kkubo erimusanyusa.—Zabbuli 37:5.
18. Lwaki tetusaanidde kulekulira ka kibe nti ebizibu bitumalamu amaanyi?
18 Oluusi Setaani atulumba mu kiseera lwe twewulira nga tetulina maanyi mu by’omwoyo. Empologoma erumba nsolo erabika nga nnafu. Ebizibu by’amaka, obuzibu bw’embeera y’eby’enfuna, oba obulwadde bisobola okutumalamu amaanyi mu by’omwoyo. Naye ka tulemenga okulekulira okukola Katonda ky’ayagala. Omutume Pawulo yagamba: “Bwe mba omunafu, lwe mba n’amaanyi.” (2 Abakkolinso 12:10; Abaggalatiya 6:9; 2 Abasessaloniika 3:13) Yali ategeeza ki? Yali ategeeza nti wadde nga tuli banafu, tusobola okufuna amaanyi okuva eri Katonda, kasita tumusaba okugatuwa. Ekya Dawudi okuwangula Goliyaasi kiraga nti Katonda asobola okuwa abantu be amaanyi era nti agabawa. Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bakikakasizza nti Katonda abawadde amaanyi mu biseera ebizibu.—Danyeri 10:19.
19. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yakuwa gy’awaamu abaweereza be amaanyi.
19 Ku bikwata ku buyambi Katonda bwe yali abawadde, omugogo ogumu ogw’abafumbo gwawandiika: “Okumala emyaka mingi, tuweererezza wamu Yakuwa era tufunye emikisa mingi ssaako n’okumanya abantu bangi abalungi. Ate era Yakuwa atutendese era n’atuwa amaanyi okusobola okugumiikiriza ebizibu. Okufaananako Yobu, emirundi mingi tetwamanyanga nsonga lwaki twafunanga ebizibu, naye twakimanyanga nti bulijjo Yakuwa yalinga mwetegefu okutuyamba.”
20. Bukakafu ki okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti Yakuwa ayamba abantu be?
20 Yakuwa tasobola kulemererwa kuyamba bantu be abeesigwa n’okubazzaamu amaanyi. (Isaaya 59:1) Dawudi omuwandiisi wa zabbuli yayimba: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.” (Zabbuli 145:14) Mazima ddala, Kitaffe ow’omu ggulu “atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku” era atuwa bye twetaaga.—Zabbuli 68:19.
Twetaaga ‘Okwambala eby’Okulwanyisa Byonna Katonda by’Atuwa’
21. Pawulo yaggumiza atya obukulu bw’okwambala eby’okulwanyisa eby’omwoyo?
21 Tulabye obumu ku bukodyo bwa Setaani n’ensonga lwaki tusaanidde okuyimirira nga tuli banywevu ng’atulumbye. Kaakati tugenda kwekenneenya ekintu ekirala ekyetaagisa okusobola okubeera abanywevu mu kukkiriza kwaffe. Emirundi ebiri mu bbaluwa ye eri Abaefeso, omutume Pawulo yayogera ekintu ekikulu ekyetaagisa okusobola okwaŋŋanga enkwe za Setaani era n’okusobola okuwangula olutalo lwe tulimu olw’okumeggana n’emyoyo emibi. Pawulo yawandiika: “Mwambalenga eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. . . . Mutwalenga eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.”—Abaefeso 6:11, 13.
22, 23. (a) Eby’okulwanyisa byaffe eby’eby’omwoyo bizingiramu ki? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
22 Yee, twetaaga okwambala eby’okulwanyisa ‘byonna Katonda by’atuwa.’ Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abaefeso, yali akuumibwa omuserikale wa Rooma era ng’omuserikale oyo ayinza okuba yayambalanga eby’okulwanyisa byonna ebyetaagisa. Kyokka, Katonda ye yaluŋŋamya Pawulo okwogera ku by’okulwanyisa eby’omwoyo ebikulu ennyo eri buli muweereza wa Yakuwa.
23 Eby’okulwanyisa bino Katonda by’atuwa bizingiramu engeri buli Mukristaayo z’ateekwa okuba nazo awamu n’enteekateeka ez’eby’omwoyo Yakuwa z’atukolera. Mu kitundu ekiddako, tugenda kwekenneenya buli kimu ku by’okulwanyisa eby’omwoyo. Kino kijja kutusobozesa okulaba engeri gye tweteekeddeteekedemu olutalo lwaffe olw’eby’omwoyo. Mu kiseera kye kimu, tujja kulaba engeri ekyokulabirako kya Yesu Kristo ekirungi gye kituyamba okuziyiza Setaani Omulyolyomi.
Wandizzeemu Otya?
• Abakristaayo bali mu lutalo ki?
• Nokolayo obumu ku bukodyo bwa Setaani.
• Obuyambi bwa bakkiriza banaffe busobola butya okutuzzaamu amaanyi?
• Tuteekeddwa kwesigama ku maanyi g’ani, era lwaki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Abakristaayo ‘bameggana n’emyoyo emibi’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Bakristaayo bannaffe basobola ‘okutuzzaamu amaanyi’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Osaba Katonda okukuwa amaanyi?