ESSUULA 18
Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’
1, 2. Yakuwa atuwandiikidde “bbaluwa” ki, era lwaki?
OJJUKIRA lwe wasembayo okufuna ebbaluwa okuva eri omwagalwa wo ali mu kifo ekiri ewala? Tufuna essanyu lingi nnyo bwe tufuna ebbaluwa okuva eri omuntu gwe twagala ennyo. Tusanyuka okumanya bw’ali, ebimutuuseeko, n’enteekateeka ze. Okuwuliziganya mu ngeri ng’eyo kitusobozesa okumanya ebikwata ku baagalwa baffe, wadde nga bali wala nnyo.
2 Waliwo ekiyinza okutuleetera essanyu erisinga eryo lye tufuna nga tufunye obubaka okuva eri Katonda waffe gwe twagala? Mu ngeri emu, Yakuwa atuwandiikidde “ebbaluwa,” nga kye Ekigambo kye Baibuli. Mu yo, atutegeeza ky’ali, by’akoze, by’ateekateeka okukola, era n’ebirala bingi nnyo. Yakuwa atuwadde Ekigambo kye kubanga ayagala tube mikwano gye. Katonda waffe ow’amagezi ag’ensusso, yalonda engeri esingayo obulungi ey’okwogera naffe. Engeri Baibuli gye yawandiikibwamu era n’ebigirimu, byoleka amagezi agatageraageranyizika.
Lwaki Yateeka Ekigambo Kye mu Buwandiike?
3. Yakuwa yatuusa atya Amateeka eri Musa?
3 Abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa teyakozesa nkola ey’ekyewuunyo, gamba, ng’okwogera n’abantu ng’ayima mu ggulu?’ Mu butuufu, emirundi egimu Yakuwa yayogera n’abantu ng’ayima mu ggulu ng’ayitira mu bamalayika. Ng’ekyokulabirako, yakola bw’atyo ng’awa Isiraeri Amateeka. (Abaggalatiya 3:19) Eddoboozi okuva mu ggulu lyali lya ntiisa nnyo ne kiviirako Abaisiraeri okusaba Yakuwa alekere awo okwogera nabo mu ngeri eyo, wabula ayogere nabo okuyitira mu Musa. (Okuva 20:18-20) N’olwekyo, Amateeka agaalimu ebiragiro nga 600 agaaweebwa Musa, tegaali mu buwandiike.
4. Nnyonnyola lwaki okutuusa amateeka ga Katonda ku bantu okuyitira mu kwogera obwogezi teyandibadde nkola eyeesigika.
4 Kyandibadde kitya singa Amateeka ago oluvannyuma tegaateekebwa mu buwandiike? Musa yandisobodde okujjukira amateeka ago gonna era n’agabuulira abalala mu ggwanga eryo nga talina ky’asobezzaamu? Ate bo ab’emirembe egyandizzeewo bandibitegedde batya? Banditegeezeddwa amateeka okuyitira mu kwogera obwogezi? Eyo teyandibadde nkola eyeesigika ey’okutuusa amateeka ga Katonda eri abantu. Kuba ekifaananyi ku ekyo ekyandibaddewo singa ebintu by’oyagala okutegeeza abantu, osooka kubibuulira muntu omu, naye n’abibuulira omulala okutuusa bwe bituuka ku muntu asembayo. Ebyo asembyeyo by’awulira tebiyinza kufaanagana n’ebyo eyasooka bye yawulira. Kyokka, Amateeka ga Katonda tegaali mu kabi ng’ako.
5, 6. Kiki Yakuwa kye yalagira Musa ku bikwata ku bigambo Bye, era lwaki tuganyulwa nnyo olw’okuba Ekigambo kya Yakuwa kiri mu buwandiike?
5 Yakuwa yasalawo okuteeka ebigambo bye mu buwandiike. Yalagira Musa: “Wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.” (Okuva 34:27) Bwe kityo, mu 1513 B.C.E., okuwandiika Baibuli kwatandika. Mu myaka 1,610 egyaddirira, Yakuwa ‘yayogera mu ngeri nnyingi,’ eri abantu 40 abaawandiika Baibuli. (Abebbulaniya 1:1) Mu kiseera ekyo kye kimu, abakoppolozi abeesigwa baakoppololanga n’obwegendereza ebyali biwandiikiddwa basobole okukuuma obutuufu bw’Ebyawandiikibwa.—Ezera 7:6; Zabbuli 45:1.
6 Mazima ddala, tuganyuddwa nnyo Yakuwa bw’atutuusizzaako obubaka bwe mu buwandiike. Wali ofunyeko ebbaluwa ey’omuwendo ennyo, oboolyawo eyakubudaabuda n’otuuka n’okugitereka osobole okugisoma enfunda n’enfunda? Bwe kityo bwe kiri bwe kituuka ku “bbaluwa” Yakuwa gye yatuwandiikira. Olw’okuba Yakuwa yateeka ebigambo bye mu buwandiike, tusobola okubisoma emirundi n’emirundi era n’okufumiitirizanga ku kye bigamba. (Zabbuli 1:2) Tusobola ‘okubudaabudibwa Ebyawandiikibwa’ buli lwe tuba tukyetaaga.—Abaruumi 15:4.
Lwaki Yakozesa Abantu Okuwandiika?
7. Amagezi ga Yakuwa geeyoleka gatya bwe yakozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye?
7 Yakuwa yayoleka amagezi bwe yakozesa abantu okuwandiika Ekigambo kye. Lowooza ku kino: Singa Yakuwa yakozesa bamalayika, Baibuli yandibadde esikiriza mu ngeri y’emu? Kyo kituufu, bamalayika bandisobodde okuwandiika ebikwata ku Yakuwa mu ngeri ey’ekika ekya waggulu ne bakiraga nti bamwagala nnyo era ne bawandiika ne ku baweereza ba Katonda abeesigwa ku nsi. Naye twandisobodde okutegeera obulungi ebintu ebiwandiikiddwa ebitonde eby’omwoyo ebituukiridde, ebirina okumanya, obumanyirivu n’amaanyi ebisingira ewala eby’omuntu?—Abebbulaniya 2:6, 7.
‘Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda’
8. Mu ngeri ki abawandiisi ba Baibuli gye baalekebwa okukozesa obwongo bwabwe? (Laba obugambo obutono wansi.)
8 Mu kukozesa abantu okuwandiika Baibuli, Yakuwa yatuwa ekyo kye twetaaga—ekitabo ‘ekyaluŋŋamizibwa’ kyokka nga kyoleka engeri z’obuntu. (2 Timoseewo 3:16) Ekyo yakikola atya? Emirundi mingi, kirabika yaleka abawandiisi okukozesa obwongo bwabwe okulonda “ebigambo ebisanyusa era n’okuwandiika ebigambo ebituufu eby’amazima.” (Omubuulizi 12:10, 11) Kino kiraga lwaki engeri Baibuli gye yawandiikibwamu ya njawulo; empandiika yaayo eyoleka embeera y’obulamu n’engeri z’abantu abaakozesebwa okuwandiika.a Kyokka, abasajja bano “baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa [o]mwoyo [o]mutukuvu.” (2 Peetero 1:21) N’olwekyo, bye baawandiika kye biva biyitibwa ‘ekigambo kya Katonda.’ —1 Abasessalonika 2:13.
9, 10. Lwaki okukozesa abantu okuwandiika Baibuli kigireetera okusikiriza?
9 Olw’okuba abantu be baakozesebwa okuwandiika Baibuli, kigireetera okusikiriza. Abaagiwandiika baali bantu abalina enneewulira ng’ezaffe. Olw’okuba baali tebatuukiridde, baayolekagana n’okugezesebwa awamu n’okupikirizibwa ebifaananako ebyaffe. Mu mbeera ezimu, omwoyo gwa Yakuwa gwabaluŋŋamya okuwandiika ku nneewulira zaabwe n’obuzibu bwabwe. (2 Abakkolinso 12:7-10) N’olwekyo, baawandiika ebintu ebibakwatako bo bennyini, ebintu bamalayika bye batandisobodde kuwandiika.
10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Dawudi, Kabaka wa Isiraeri. Oluvannyuma lw’okukola ebibi eby’amaanyi, alina zabbuli gye yawandiika n’ayogera byonna ebyamuli ku mutima, ng’asaba Katonda okumusonyiwa. Yawandiika: “Onnaalize ddala mu bubi bwange, onnongoose mu kwonoona kwange. Kubanga njatula ebyonoono byange; n’ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo. Laba, nze natondebwa mu bubi; ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira. Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.” (Zabbuli 51:2, 3, 5, 11, 17) Olaba ennaku y’omuwandiisi wa Zabbuli? Omuntu atatuukiridde si y’ayinza okwoleka enneewulira ng’eyo eviira ddala ku mutima?
Lwaki Kitabo Ekikwata Ku Bantu?
11. Bintu ki ebyaliwo ddala mu bulamu bw’abantu ebyawandiikibwa mu Baibuli ‘okutuyigiriza’?
11 Waliwo ekintu ekirala ekireetera Baibuli okusikiriza. Okutwalira awamu, kitabo ekikwata ku bantu—abantu aba ddala—abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza. Tusoma ku byabatuukako, gamba ng’ebizibu bye baayitamu n’essanyu lye baafuna. Tulaba ebyava ne mu ebyo bye baasalawo. Ebintu ng’ebyo byawandiikibwa ‘okutuyigiriza.’ (Abaruumi 15:4) Okuyitira mu bintu bino ebyaliwo ddala, Yakuwa atuyigiriza mu ngeri etuukira ddala ku mitima gyaffe. Lowooza ku byokulabirako bino.
12. Ebiri mu Baibuli ebikwata ku bantu abataali beesigwa bituyamba mu ngeri ki?
12 Baibuli etutegeeza ku bantu abataali beesigwa n’abo abaali ababi ennyo era n’ebyabatuukako. Mu by’eboogerako, etulaga engeri embi ze baayoleka, ne kituyamba okuzitegeera. Ng’ekyokulabirako, ekikolwa kya Yuda eky’okulya mu Yesu olukwe tekituyamba okulaba akabi akali mu butaba beesigwa? (Matayo 26:14-16, 46-50; 27:3-10) Ebyogerwako mu Baibuli ng’ebyo, bituuka mangu ku mitima gyaffe, ne bituyamba okumanya era n’okwesambira ddala engeri embi.
13. Baibuli etuyamba etya okutegeera engeri ennungi?
13 Baibuli era eyogera ku baweereza ba Katonda abeesigwa bangi. Tusoma ku ngeri gye baalagamu obwesigwa. Okusinziira ku byogerwa ku bantu ng’abo tulaba engeri ennungi ze tulina okukulaakulanya okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, ka tutwale okukkiriza. Baibuli etunnyonnyola okukkiriza kye kuli, n’ensonga lwaki kukulu nnyo bwe tuba ab’okusanyusa Katonda. (Abebbulaniya 11:1, 6) Naye era Baibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abaalaga okukkiriza. Lowooza ku kukkiriza Ibulayimu kwe yalaga bwe yakkiriza okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka. (Olubereberye, essuula 22; Abebbulaniya 11:17-19) Okusinziira ku byokulabirako ng’ebyo, ekigambo ‘okukkiriza’ kifuna amakulu agasingawo, era ne kifuuka kyangu okutegeera. Mu magezi ge amangi ennyo, Yakuwa tatukubiriza bukubiriza kukulaakulanya ngeri ezo ennungi kyokka, naye era atuwa ebyokulabirako ebyoleka engeri ezo!
14, 15. Baibuli etutegeeza ki ku mukazi omu eyajja mu yeekaalu, era kiki kye tuyiga ku Yakuwa okuva ku kyokulabirako kino?
14 Ebintu ebyaliwo ddala ebiri mu Baibuli emirundi mingi birina kye bituyigiriza ku Yakuwa. Lowooza ku kye tuyiga ku mukazi Yesu gwe yalaba mu yeekaalu. Ng’atudde okumpi n’ekifo awateekebwa ebirabo, Yesu yalaba abantu abaali basuula effeeza mu ggwanika. Abagagga bangi bajja ne basuulamu ‘ebibafikkiridde.’ Naye Yesu yeetegereza nnamwandu eyali omwavu. Yawaayo ‘ebitundu by’eppeesa bibiri.’b Bye byokka bye yalina. Yesu yayoleka bulungi endowooza ya Yakuwa ku nsonga, n’agamba: “Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika.” Okusinziira ku bigambo ebyo, nnamwandu yasuulamu bingi okusinga abalala bonna ng’obagasse awamu.—Makko 12:41-44; Lukka 21:1-4; Yokaana 8:28.
15 Tekyewuunyisa nti mu bantu bonna abajja mu yeekaalu ku lunaku olwo, nnamwandu ono ye yekka eyayogerwako bw’atyo mu Baibuli? Okuyitira mu kyokulabirako kino, Yakuwa atuyigiriza nti asiima nnyo. Akkiriza bye tumuwa n’omutima gwaffe gwonna, ka bibe nga byenkana wa ng’obigeraageranyizza n’eby’abalala. Kino nga kyakulabirako kirungi nnyo Yakuwa kye yakozesa okutuyigiriza amazima ago!
Ebyo Baibuli by’Etayogerako
16, 17. Amagezi ga Yakuwa galabibwa gatya ne mu ebyo bye yalondawo obutawandiikibwa mu Kigambo kye?
16 Bw’owandiikira omwagalwa ebbaluwa, toyinza kuwandiika byonna by’oyagala. N’olwekyo, okozesa amagezi mu kulonda by’onoowandiika. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalondawo okwogera ku bantu abamu n’ebintu ebimu mu Kigambo kye. Kyokka, n’ebyo Baibuli by’eyogerako, tewa kalonda yenna. (Yokaana 21:25) Ng’ekyokulabirako, Baibuli bw’eyogera ku misango Katonda gy’asaze, by’eyogera biyinza obutaddamu buli kibuuzo kyonna kye tuyinza okuba nakyo. Amagezi ga Yakuwa galabibwa ne mu ebyo bye yalondawo obutawandiika mu Kigambo kye. Mu ngeri ki?
17 Engeri Baibuli gye yawandiikibwamu esobola okwoleka kye tuli mu mitima gyaffe. Abebbulaniya 4:12, lugamba: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, . . . era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” Obubaka obuli mu Baibuli butuukira ddala munda mu ffe, ne bwoleka endowooza n’ebiruubirirwa byaffe. Abo abakisoma nga banoonya ensobi emirundi mingi beemulugunya bwe bakisanga nti bye basomye tebibamatizza bulungi. Abalinga abo bayinza n’okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa wa kwagala, wa magezi era wa bwenkanya.
18, 19. (a) Lwaki tetwanditerebuse singa bye tusoma mu Baibuli bireetawo ebibuuzo bye tutayinza kuddamu mu kiseera ekyo? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda, era kino kyoleka kitya amagezi ga Yakuwa ag’ekitalo?
18 Okwawukana ku ekyo, bwe twekenneenya Baibuli mu bwesimbu, tufuna ekifaananyi ekituufu ky’ewa ku Yakuwa. N’olwekyo, tetuterebuka singa ebintu ebimu bye tusoma bireetawo ebibuuzo bye tutayinza kuddamu mu kiseera ekyo. Tukimanyi nti bwe tusoma Baibuli, mpolampola tuyiga Yakuwa Katonda ky’ali. Ne bwe kiba nti mu kusooka tetutegeera bintu ebimu bye tusoma, oba tetulaba ngeri gye bikwatagana n’engeri za Katonda, bye twayiga edda ku Yakuwa mu Baibuli biba bitusobozesa okulaba nti wa kwagala era mwenkanya.
19 N’olwekyo, okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda, tuteekwa okukisoma n’okukyekenneenya mu bwesimbu. Obwo si bujulizi obwoleka amagezi ga Yakuwa ag’ekitalo? Abantu abagezi ennyo bawandiika ebitabo ebirimu ebintu ebiyinza okutegeerwa abantu ‘abagezi’ bokka. Naye okuwandiika ekitabo ekiyinza okutegeerwa abo bokka abalina ebiruubirirwa ebirungi, kiba kyetaagisa amagezi ga Katonda!—Matayo 11:25.
Ekitabo ‘eky’Amagezi Ag’Omuganyulo’
20. Lwaki Yakuwa yekka y’ayinza okututegeeza engeri esingayo obulungi ey’okweyisaamu mu bulamu, era Baibuli erimu ki ekiyinza okutuyamba?
20 Mu Kigambo kye, Yakuwa atutegeeza engeri esingayo obulungi ey’okweyisaamu mu bulamu. Olw’okuba ye Mutonzi waffe, amanyi ebyetaago byaffe okutusinga. Era ebintu abantu bye beetaaga, gamba okwagalibwa, okusanyuka, n’okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, bikyali bye bimu. Baibuli erimu ‘amagezi ag’omuganyulo’ agayinza okutuyamba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri ey’amakulu. (Engero 2:7, NW) Buli kitundu mu kitabo kino kirimu essuula eraga engeri gye tuyinza okussa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli okw’amagezi, naye ka twekenneenyeyo ekyokulabirako kimu kyokka.
21-23. Kubuulirira ki okw’amagezi okuyinza okutuyamba okwewala okusiba ekiruyi?
21 Wali okyetegerezza nti abantu abasiba ekiruyi n’obusungu ku mutima baba beerumya bokka? Okusiba ekiruyi kya kabi nnyo. Kitwala ebirowoozo by’omuntu byonna era ne kimumalako emirembe n’essanyu. Okunoonyereza kwa sayansi kulaga nti okusiba ekiruyi kiyinza okuleetera omuntu okulwala omutima awamu n’endwadde endala nnyingi. Dda nnyo, ng’okunoonyereza okwo mu sayansi tekunnabaawo, Baibuli yagamba: “Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi.” (Zabbuli 37:8) Ekyo tuyinza kukikola tutya?
22 Ekigambo kya Katonda kituwa okubuulirira kuno okw’amagezi: “Okuteesa [“okutegeera,” NW] kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.” (Engero 19:11) Okutegeera bwe busobozi bw’okulaba eby’omunda, ebyekusifu. Okutegeera kutuyamba okumanya lwaki omuntu yayogedde oba yeeyisizza mu ngeri emu. Bwe tufuba okutegeera ebiruubirirwa by’omuntu oyo, enneewulira ye, n’embeera ye, kiyinza okutuyamba obutamulowoozaako bubi.
23 Baibuli erimu okubuulirira kuno okulala: ‘Mweyongere okuzibiikirizagananga n’okusonyiwagananga mmwekka na mmwekka.’ (Abakkolosaayi 3:13) Ebigambo ‘mweyongere okuzibiikirizagananga’ bitegeeza okugumiikiriza engeri z’abalala eziyinza okuba nga tezitusanyusa. Okugumiikiriza ng’okwo kuyinza okutuyamba obutasiba kiruyi. ‘Okusonyiwa’ kulina amakulu ag’obutasiba kiruyi. Katonda waffe ow’amagezi amanyi nti twetaaga okusonyiwa abalala bwe wabaawo ensonga esinziirwako okusonyiwa. Kino tekiganyula bo bokka naye era naffe kituleetera emirembe mu birowoozo ne mu mutima. (Lukka 17:3, 4) Amagezi ago agasangibwa mu Kigambo kya Katonda nga ga kitalo!
24. Kiki ekibaawo bwe tutuukanya obulamu bwaffe n’amagezi agava eri Katonda?
24 Olw’okwagala kwe okungi, Yakuwa yayagala okututuusaako obubaka bwe. Yalonda engeri esingayo obulungi—“ebbaluwa” eyawandiikibwa abantu nga baluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa ge gasangibwamu. Amagezi gano ‘geesigika.’ (Zabbuli 93:5) Bwe tutuukanya obulamu bwaffe ne Baibuli, ne tubuulira abalala ebigirimu, tujja kufuna enkolagana ennungi ne Katonda waffe ow’amagezi amangi. Mu ssuula eddako, tujja kwekenneenya ekintu ekirala ekikwata ku magezi ga Yakuwa amangi ennyo: obusobozi bwe obw’okulagula ebiri mu biseera eby’omu maaso era n’obw’okutuukiriza ekigendererwa kye.
a Ng’ekyokulabirako, Dawudi, eyali omusumba, akozesa ebyokulabirako eby’obulunzi. (Zabbuli 23) Matayo, eyali omuwooza, ayogera bingi nnyo ebikwata ku ssente. (Matayo 17:27; 26:15; 27:3) Lukka eyali omusawo, akozesa ebigambo ebiraga nti yali amanyi eby’ekisawo.—Lukka 4:38; 14:2; 16:20.
b Buli kitundu kya ppeesa, yali ssente y’Abayudaaya esingayo obutono, eyali ekozesebwa mu kiseera ekyo. Ebitundu by’eppeesa bibiri byali byenkanankana ekitundu kimu kya nkaaga mu bina eky’empeera y’olunaku. Ebitundu by’eppeesa bino ebibiri byali tebiyinza na kugula enkazaluggya emu, akanyonyi akaali kasingayo okuba ak’ebbeeyi entono akaaliibwanga abaavu.