ESSOMO 52
Okukubiriza Abalala Obulungi
ABAKADDE Abakristaayo balina okuba nga basobola ‘okukubiriza abalala nga bayigiriza ebigambo eby’obulamu.’ (Tito 1:9) Oluusi baba balina okukikola mu mbeera enzibu ennyo. Kikulu okuwa okubuulirira okutuukagana n’obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa. N’olwekyo, abakadde balina okugoberera okubuulirira kuno okugamba nti: “Nyiikiriranga . . . okukubiriza abalala.” (1 Tim. 4:13, NW) Wadde ng’ebigenda okwogerwako mu ssomo lino bisinga kukwata ku bakadde oba abo abaluubirira okufuuka abakadde, abazadde awamu n’abo abalina be bayigiriza Baibuli nabo bakwatibwako kubanga wabaawo ebiseera abaana oba abayizi ba Baibuli lwe beetaaga okukubirizibwa. Mu mbeera ng’eyo, abakubiriza bayinza okweyambisa obulagirizi obuli mu ssomo lino.
Lwe Kyetaagisa Okukubiriza. Okusobola okumanya we kyetaagisiza okukubiriza abalala, kiba kirungi okwekenneenya ebyokulabirako ebiri mu Baibuli eby’abantu abaakubiriza abalala. Omutume Peetero yakubiriza abakadde okufaayo ku buvunaanyizibwa bwabwe ng’abasumba b’ekisibo kya Katonda. (1 Peet. 5:1, 2) Pawulo yasaba Tito akubirize abavubuka ‘okubeera abeegendereza.’ (Tito 2:6) Ate era yakubiriza Bakristaayo banne ‘okwogeranga obumu’ n’okwewalanga abo abaali baagala okuleetawo enjawukana mu b’oluganda. (1 Kol. 1:10; Bar. 16:17; Baf. 4:2) Wadde nga Pawulo yasiima ab’omu kibiina ky’e Ssessaloniika olw’ebirungi bye baali bakola, yabakubiriza okweyongera okukolera ku kubuulirira kwe baali bafunye. (1 Bas. 4:1, 10) Peetero yakuutira Bakristaayo banne “okwewalanga okwegomba kw’omubiri.” (1 Peet. 2:11) Yuda naye yakubiriza baganda be ‘okulwanirira ennyo okukkiriza’ baleme okutwalirizibwa abantu abatatya Katonda abaali beenyigira mu bikolwa ebibi. (Yuda 3, 4) Abakristaayo bonna baakubirizibwa okuyambagananga waleme kubaawo n’omu atwalirizibwa obulimba bw’ekibi. (Beb. 3:13) Peetero yakubiriza Abayudaaya abaali batannakkiririza mu Kristo ng’agamba nti: ‘Mulokolebwe okuva mu mulembe guno omubi.’—Bik. 2:40.
Ngeri ki ze twetaaga okuba nazo okusobola okukubiriza bannaffe mu ngeri efaananako bw’etyo? Oyo akubiriza banne ayinza atya okubayamba okulaba obukulu bw’ebyo by’ayogera nga tabakase bukasi era nga tabakambuwalidde?
‘Mu Ngeri ey’Okwagala.’ Singa tetukubiriza balala ‘mu ngeri ey’okwagala,’ tuyinza okuwulikika ng’abakambwe. (Fir. 9) Kyo kituufu nti bwe wabaawo ekyetaagisa okukolebwako mu bwangu, engeri omwogezi gy’ayogeramu erina okukyoleka. Singa ayogera mu ddoboozi eggonvu ennyo ayinza okuwulikika ng’eyeetonda. Wabula, abamuwuliriza yandibadde abakubiriza mu ngeri eraga obukulu bw’ekyo ky’ayogerako era mu ngeri ey’okubalumirirwa. Okukubiriza abalala mu ngeri ey’okwagala kijja kubaleetera okubaako kye bakolawo. Bwe yali ayogera ku ekyo ye ne banne kye baakola, Pawulo yagamba bw’ati Abassesaloniika: “Mukimanyi bulungi nti nga taata bw’akubiriza abaana be, naffe bwe tutyo bwe twabakubirizanga.” (1 Bas. 2:11, NW) Abalabirizi abo Abakristaayo baakubiriza ab’oluganda mu ngeri ey’okwagala. By’oyogera birina okwoleka nti ofaayo ku bakuwuliriza.
Ba mwegendereza ng’okubiriza abalala. Bw’oba okubiriza abalala tobakambuwalira. Kyokka, tolema kubawa ‘kubuulirira kwonna okuva eri Katonda.’ (Bik. 20:27) Abo abaagala okukola ekituufu tebajja kuyisibwa bubi oba okukukyawa olw’okuba obakubirizza okubaako kye bakolawo.—Zab. 141:5.
Emirundi egisinga, kiba kirungi okusooka okusiima abakuwuliriza nga tonnabaako ky’obakubiriza kukola. Lowooza ku bikolwa bya baganda bo ebirungi era ebisanyusa Yakuwa, gamba ebyo ebyoleka okukkiriza, okwagala okubakubiriza okukola n’amaanyi, n’obugumiikiriza bwe booleka mu mbeera enzibu. (1 Bas. 1:2-8; 2 Bas. 1:3-5) Bw’onookola bw’otyo, kijja kuleetera baganda bo okumanya nti obasiima era nti otegeera embeera yaabwe, era bajja kussaayo omwoyo ng’obakubiriza okubaako kye bakolawo.
“N’Okugumiikiriza Kwonna.” Okukubiriza abalala kirina okukolebwa “n’okugumiikiriza.” (2 Tim. 4:2) Kino kizingiramu ki? Okugumiikiriza kitwaliramu obutaggwaamu maanyi. Omuntu agumiikiriza aba n’essuubi nti abamuwuliriza bajja kussa mu nkola by’ayogera. Bw’oyoleka obugumiikiriza ng’okubiriza abalala, kijja kubayamba okumanya nti obasuubira okukolera ku ebyo by’oyogera. Ab’oluganda bwe bakimanya nti oli mukakafu nti baagala okuweereza Yakuwa ng’obusobozi bwabwe bwe buli, bajja kukubirizibwa okukola ekituufu.—Beb. 6:9.
‘N’Okuyigiriza okw’Obulamu.’ Omukadde ayinza atya okukubiriza abalala mu ‘kuyigiriza okw’obulamu’? ‘Ng’anywerera ku bigambo eby’amazima mu kuyigiriza kwe.’ (Tito 1:9, NW) Mu kifo ky’okuwa endowooza yo, kozesa Ekigambo kya Katonda ng’okubiriza abalala. By’oyogera byesigamye ku Baibuli. Laga emiganyulo egiva mu kukolera ku Baibuli ky’egamba. Laga abakuwuliriza ebizibu omuntu by’ayinza okufuna kati era ne mu biseera eby’omu maaso singa takolera ku bulagirizi bw’Ekigambo kya Katonda, era obayambe okulaba obukulu bw’okukola ekituufu.
Abakuwuliriza bannyonnyole bulungi kye balina okukola era n’engeri gye bayinza okukikolamu. Balage nti by’obabuulira byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Bwe kiba nti Ebyawandiikibwa birekera abantu eddembe ery’okwesalirawo eky’okukola, balage eddembe eryo we likoma. Ng’ofundikira, bakubirize mu ngeri eneebasobozesa okumalirira okubaako kye bakolawo.
‘Ng’Oyogera n’Obuvumu.’ Okusobola okukubiriza abalala obulungi, omuntu alina ‘okwogera n’obuvumu.’ (1 Tim. 3:13) Kiki ekisobozesa omuntu okwogera n’obuvumu? Bwe kiba nti ‘ekyokulabirako ky’ataddewo mu bikolwa ebirungi’ kituukagana n’ebyo by’akubiriza baganda be okukola. (Tit. 2:6, 7; 1 Peet. 5:3) Bwe kibeera bwe kityo, b’akubiriza bajja kumanya nti by’abagamba okukola naye kennyini abikola. Bajja kukiraba nti basobola okukoppa okukkiriza kwe nga naye bw’afuba okukoppa Kristo.—1 Kol. 11:1; Baf. 3:17.
Okukubiriza okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda era okuweebwa mu ngeri ey’okwagala kuvaamu ebirungi. Abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okukubiriza abalala, balina okukikola mu ngeri ennungi.—Bar. 12:8.