‘Basanyufu Abo Abamanyi Obwetaavu Bwabwe obw’Eby’Omwoyo’
BULI ebinyonyi lwe bizuukuka ku makya, biyimbamu oluvannyuma ne bigenda okunoonya emmere. Bwe bikomawo olweggulo, era biyimbamu, ate ne biddayo mu bisu byabyo okwebaka. Ebiseera ebimu mu mwaka, bibiika amagi ne bikuza abaana baabyo. N’ebisolo ebirala nabyo byeyisa mu ngeri y’emu.
Kyokka, ffe abantu tuli ba njawulo. Wadde nga naffe tulya, twebaka, era ne tuzaala, abasinga obungi tuwulira nga waliwo ekitubulako. Twagala okumanya ensonga lwaki weetuli. Twagala okumanya ekigendererwa ky’obulamu. Ate era twagala okuba n’essuubi ery’omu biseera eby’omu maaso. Ebyo byonna biraga nti omuntu alina obwetaavu obw’eby’omwoyo.
Twakolebwa mu Kifaananyi kya Katonda
Baibuli ennyonnyola ensonga lwaki abantu balina obwetaavu obw’eby’omwoyo. Egamba: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n’omukazi bwe yabatonda.” (Olubereberye 1:27) Olw’okuba twakolebwa mu ‘kifaananyi kya Katonda,’ kitegeeza nti tusobola okwoleka engeri za Katonda wadde nga twasikira ekibi n’obutali butuukirivu. (Abaruumi 5:12) Ng’ekyokulabirako, tusobola okuyiiya, tulina amagezi, tusobola okwoleka obwenkanya, n’okwagala. Ate era, tusobola okujjukira ebyayita n’okweteekerateekera ebiseera eby’omu maaso.—Engero 4:7; Omubuulizi 3:1, 11; Mikka 6:8; Yokaana 13:34; 1 Yokaana 4:8.
Obwetaavu bwe tulina obw’eby’omwoyo bweyolekera mu kuba nti twagala okusinza Katonda. Tetusobola kufuna ssanyu lya nnamaddala okuggyako nga tulina enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe. Yesu yagamba: ‘Basanyufu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3, NW) N’olwekyo, okusobola okukola ku bwetaavu bwe tulina obw’eby’omwoyo, tulina okukakasa nti tuyiga amazima agakwata ku Katonda, emisingi gye, n’ekigendererwa kye eri olulyo lw’omuntu. Naye, amazima ago tuyinza kugasanga wa? Gasangibwa mu Baibuli.
“Ekigambo Kyo Ge Mazima”
Omutume Pawulo yawandiika: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga.” (2 Timoseewo 3:16) Ebigambo bya Pawulo bituukana n’ebyo Yesu bye yakozesa ng’asaba Katonda. Yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” Leero, Ekigambo ekyo kimanyiddwa nga Baibuli, era kiba kya magezi okukakasa nti ebyo bye tukkiririzaamu n’emisingi gye tugoberera bituukana n’ebyo ebiri mu Baibuli.—Yokaana 17:17.
Bwe tugeraageranya enjigiriza n’ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, tuba tukoppa abantu b’omu Beroya eky’edda, abaakakasa nti enjigiriza za Pawulo zituukana n’Ebyawandiikibwa. Mu kifo ky’okuvumirira Ababeroya, Lukka yabasiima busiimi. Yagamba: “Bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.” (Ebikolwa 17:11) Okuva bwe kiri nti amadiini gayigiriza ebikontana, kiba kirungi okukoppa Ababeroya.
Ekirala ekiyinza okutuyamba okutegeera amazima, kwe kulaba engeri gye gakutte ku bulamu bw’abantu. (Matayo 7:17) Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’atuukanya obulamu bwe n’enjigiriza za Baibuli, afuuka omwami mulungi, taata mulungi, omukyala omulungi, oba maama omulungi ne kisobozesa amaka okubaamu essanyu, era naye kennyini afuna emirembe. Yesu yagamba: ‘Basanyufu abo abawulira ekigambo kya Katonda era ne bakigoberera.’—Lukka 11:28, NW.
Ebigambo bya Yesu ebyo bitujjukiza ebyo Kitaawe ow’omu ggulu bye yagamba Abaisiraeri ab’edda nti: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” (Isaaya 48:17, 18) Abo bonna abaagala obulungi n’obutuukirivu bandikoledde ku kubuulira okwo okw’okwagala!
Abamu Baagala ‘Kuyigirizibwa Ebyo Bye Baagala’
Katonda yabuulirira bw’atyo Abaisiraeri olw’okuba baali batwaliriziddwa obulimba bw’amadiini. (Zabbuli 106:35-40) Naffe tulina okwekuuma enjigiriza ez’obulimba. Ng’ayogera ku abo abaali beetwala okuba Abakristaayo, Pawulo yawandiika: ‘Ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, balikuŋŋaanya ababayigiriza okubayigiriza ebyo bye baagala; baliziba amatu gaabwe okulekanga amazima.’—2 Timoseewo 4:3, 4.
Abakulembeze b’amadiini bayigiriza abantu bye baagala nga tebafaayo ku bikolwa bibi ng’obwenzi, okulya ebisiyaga, n’okwekatankira omwenge. Baibuli ekyoleka kaati nti abo ababikkirira ebikolwa ng’ebyo n’abo ababyenyigiramu, “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abaruumi 1:24-32.
Kyo kituufu nti, singa omuntu aba muvumu, asobola okutambuliza obulamu bwe ku misingi gya Baibuli ne bwe wabaawo abamusekerera. Bangi bwe baali tebannafuuka Bajulirwa ba Yakuwa baalinga banywi ba njaga, batamiivu, benzi, bayaaye, bakkondo, era nga balimba. Kyokka, bwe baayiga Ekigambo kya Katonda omwoyo omutukuvu gwabayamba okukola enkyukakyuka basobole ‘okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa.’ (Abakkolosaayi 1:9, 10; 1 Abakkolinso 6:11) Oluvannyuma lw’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda baafuna emirembe, era nga bwe tugenda okulaba, baafuna n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.
Essuubi ly’Obwakabaka
Ekisuubizo kya Baibuli nti abantu abawulize bajja kubeera mu mirembe kijja kutuukirizibwa mu Bwakabaka bwa Katonda. Bwe yali ayigiriza abayigirizwa be okusaba, Yesu yagamba: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi. Lwaki? Kubanga Obwakabaka obwo obw’omu ggulu—gavumenti ekulemberwa Yesu Kristo—Katonda gy’ayitiramu okulaga nti alina obwannannyini okufuga ensi.—Zabbuli 2:7-12; Danyeri 7:13, 14.
Yesu Kristo, nga Kabaka w’Obwakabaka obwo obw’omu ggulu, ajja kununula abantu abawulize okuva mu buddu obw’engeri yonna, nga mw’otwalidde obulwadde n’okufa ebyava mu kibi kya Adamu. Okubikkulirwa 21:3, 4 wagamba: “Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, . . . [Era Yakuwa] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”
Ensi yonna ejja kubaamu emirembe egy’olubeerera. Ekyo tukikakasiza ku ki? Eky’okuddamu kisangibwa mu Isaaya 11:9, awagamba: “[Abatuuze b’omu Bwakabaka tebalikola kabi] newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” Yee, abantu bonna ku nsi bajja kutegeera Katonda era babe bawulize. Tewandyagadde okubeerawo mu kiseera ekyo? Bwe kiba bwe kityo, kati kye kiseera okutandika ‘okuyiga ebikwata ku Yakuwa.’
Onoowuliriza Obubaka bw’Obwakabaka?
Okuyitira mu Bwakabaka, Katonda ajja kumalawo ebikolwa bya Setaani byonna era ayigirize abantu amakubo ge ag’obutuukirivu. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yesu yassa essira ku Bwakabaka mu kuyigiriza kwe. Yagamba: “Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.” (Lukka 4:43) Kristo yalagira abagoberezi be okubuulira abalala obubaka bwe bumu. (Matayo 28:19, 20) Yagamba: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Enkomerero eyo eri kumpi nnyo. N’olwekyo, nga kikulu nnyo okuba nti abantu abeesimbu bawuliriza amawulire amalungi agawa essuubi ery’obulamu!
Albert, eyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, yasooka okuwulira amawulire g’Obwakabaka mukazi we ne mutabani we bwe baatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kusooka Albert yali tayagala kuwuliriza. Yatuuka n’okusaba omukulembeze w’eddiini yaabwe akyalire mukazi we ne mutabani we, abalage obukyamu obuli mu Bajulirwa ba Yakuwa. Naye omukulembeze w’eddiini oyo yagaana. Bw’atyo Albert yasalawo okubaawo nga basoma Baibuli asobole okubakwata ensobi. Omulundi ogwaddako, Albert yabeegattako ng’ayagala okumanya ebisingawo. Oluvannyuma yayogera ensonga lwaki yakyusa endowooza ye. Yagamba: “Kino kye mbaddenga nnoonya.”
Kyaddaaki, Albert yatandika okukola ku bwetaavu bwe obw’eby’omwoyo, era teyejjusangako n’akamu. Amazima ga Baibuli gaamuyamba okufuna ekyo kye yali anoonya ebbanga lino lyonna, kwe kugamba, okumanya engeri obutali bwenkanya n’obulyi bw’enguzi ebicaase ennyo mu nsi gye binaggwaawo, n’okufuna essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Amazima ga Baibuli gaamuyamba okufuna emirembe. Naawe oli mumativu mu by’omwoyo? Tukusaba oweeyo akadde osome ebibuuzo ebiri mu kasanduuko akali ku lupapula 6. Bw’oba wandyagadde okumanya ebisingawo, Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba beetegefu okukuyamba.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
OLI MUMATIVU MU BY’OMWOYO?
Oli mumativu n’emmere ey’eby’omwoyo gy’ofuna? Tukusaba osome ebibuuzo ebiddirira era olambe ku ebyo by’osobola okuddamu obulungi.
□ Katonda y’ani, era erinnya lye y’ani?
□ Yesu Kristo y’ani? Lwaki yalina okufa? Okufa kwe kuyinza kutya okukuganyula?
□ Waliwo Omulyolyomi? Bwe kiba bwe kityo yava wa?
□ Kiki ekitutuukako bwe tufa?
□ Ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’olulyo lw’omuntu kye kiruwa?
□ Obwakabaka bwa Katonda kye ki?
□ Emitindo gya Katonda egy’empisa gye giruwa?
□ Buvunaanyizibwa ki Katonda bwe yawa omusajja n’omukazi mu maka? Egimu ku misingi gya Baibuli egituyamba okuba n’obulamu bw’amaka obw’essanyu gye giruwa?
Bwe kiba nti waliwo ebibuuzo ebimu byotosobola kuddamu, oyinza okusaba akatabo Katonda Atwetaagisa Ki? Akatabo ako kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa era kali mu nnimi nga 300. Kalimu emitwe 16 era kawa eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo byonna ebiri waggulu nga keesigama ku Byawandiikibwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Okwawukana ku nsolo, abantu balina obwetaavu bw’eby’omwoyo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
‘Balikuŋŋaanya abayigiriza okubayigiriza ebyo bye baagala.’—2 Timoseewo 4:3
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okuleeta emirembe egya nnamaddala