Okulabirira Bannamukadde—Buvunaanyizibwa bwa Kikristaayo
“N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi n[n]aabasitulanga.”—ISAAYA 46:4.
1, 2. Okufaayo kwa Kitaffe ow’omu ggulu kwawukana kutya ku kw’abazadde baffe ab’omubiri?
ABAZADDE abafaayo balabirira abaana baabwe okuviira ddala mu buwere n’okutuukira ddala mu myaka egy’obuvubuka bwabwe. Abaana ne bwe baba nga bakuze era nga balina n’amaka gaabwe, bazadde baabwe beeyongera okubafaako.
2 Wadde ng’abantu babaako we bakoma mu ebyo bye basobola okukolera abaana baabwe, ye Kitaffe ow’omu ggulu buli kiseera aba asobola okulabirira n’okuyamba abaweereza be abeesigwa. Bwe yali ayogera n’abantu be yali alonze mu biseera eby’edda, Yakuwa yagamba: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi n[n]aabasitulanga: nze nakola era nze n[n]aaweekanga.” (Isaaya 46:4) Ebigambo ebyo nga bizzaamu nnyo amaanyi Abakristaayo abakaddiye! Yakuwa tayinza kwabulira abo abasigala nga beesigwa gy’ali. Mu butuufu, asuubiza nti ajja kubalabirira, kubawanirira era n’okubawa obulagirizi mu bulamu bwabwe bwonna, era ne mu myaka gyabwe egy’obukadde.—Zabbuli 48:14.
3. Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
3 Tusobola tutya okukoppa engeri Yakuwa gy’afaayo ku bannamukadde? (Abaefeso 5:1, 2) Ka twekenneenye engeri abaana baabwe, abakadde mu kibiina, n’Abakristaayo abalala gye basobola okulabiriramu bannamukadde be tulina mu luganda lwaffe olw’ensi yonna.
Obuvunaanyizibwa Bwaffe ng’Abaana
4. Buvunaanyizibwa ki abaana Abakristaayo bwe balina eri bazadde baabwe?
4 “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.” (Abaefeso 6:2; Okuva 20:12) Ng’ajuliza ebigambo ebyo ebitonotono naye nga bya makulu nnyo okuva mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, omutume Pawulo yajjukiza abaana obuvunaanyizibwa bwe balina eri bazadde baabwe. Naye ebigambo ebyo bikwatagana bitya n’eky’okulabirira bannamukadde? Ekyokulabirako ekibuguumiriza ekikwata ku ekyo ekyaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo kijja kutuyamba okuddamu ekibuuzo ekyo.
5. (a) Kiki ekiraga nti Yusufu yali teyeerabidde buvunaanyizibwa bwe eri kitaawe? (b) Kitegeeza ki okussaamu bazadde baffe ekitiibwa, era kyakulabirako ki ekirungi Yusufu kye yateekawo mu nsonga eno?
5 Okumala emyaka egisukka mu 20, Yusufu teyalina mpuliziganya yonna ne kitaawe Yakobo eyali akaddiye. Kyokka, kyeraga bulungi nga Yusufu yali akyayagala nnyo Yakobo. Mu butuufu, Yusufu bwe yali amaze okwemanyisa eri baganda be, yababuuza: “Kitange akyali mulamu?” (Olubereberye 43:7, 27; 45:3) Mu kiseera ekyo, ensi ya Kanani yali eguddemu enjala. N’olwekyo, Yusufu yaweereza kitaawe obubaka ng’amugamba: “Oserengete ojje gye ndi, tolwawo: era onootuulanga mu nsi ey’e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, . . . era n[n]aakuliisizanga eyo.” (Olubereberye 45:9-11; 47:12) Yee, okussa ekitiibwa mu bazadde baffe abakaddiye kizingiramu okubakuuma era n’okubawa ebintu bye beetaaga bwe baba nga tebakyasobola kubyetuusaako. (1 Samwiri 22:1-4; Yokaana 19:25-27) Yusufu yayagala nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.
6. Yusufu yalaga atya kitaawe okwagala okwa nnamaddala, era tusobola tutya okumukoppa?
6 Olw’omukisa Yakuwa gwe yali amuwadde, Yusufu yali afuuse omu ku bantu abasingayo obugagga n’obuyinza mu Misiri. (Olubereberye 41:40) Naye teyeetwala kuba wa waggulu nnyo oba okuba ng’eyali talina biseera bya kulabirira kitaawe eyali aweza emyaka 130. Bwe yamanya nti Yakobo (oba Isiraeri) yali ali kumpi okutuuka, ‘Yusufu yateekateeka eggaali lye, n’ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy’ali, n’amuwambatira ekiseera kinene.’ (Olubereberye 46:28, 29) Engeri gye yayanirizaamu kitaawe eraga nti yali tatuusa butuusa luwalo. Yusufu yali ayagala nnyo kitaawe eyali akaddiye era teyakwatibwa nsonyi okumulaga okwagala ng’okwo. Bwe tuba nga tulina bazadde baffe abakaddiye, naffe tubalaga okwagala okw’engeri eyo?
7. Lwaki Yakobo yayagala okuziikibwa mu Kanani?
7 Yakobo yeemalira ku Yakuwa okutuukira ddala ku nkomerero y’obulamu bwe. (Abaebbulaniya 11:21) Olw’okuba yali akkiririza mu bisuubizo bya Katonda, Yakobo yasaba Yusufu nti amagumba ge gaziikibwe mu Kanani. Yusufu yassaamu kitaawe ekitiibwa ng’akolera ddala ekyo kye yamusaba, wadde nga kyamwetaagisa okufuba ennyo era n’okukozesa ensimbi eziwerako.—Olubereberye 47:29-31; 50:7-14.
8. (a) Kiki ekyandisingidde ddala okutukubiriza okulabirira bazadde baffe abakaddiye? (b) Omuweereza omu ow’ekiseera kyonna yakola ki okusobola okulabirira bazadde be abaali bakaddiye? (Laba akasanduuko ku lupapula 15.)
8 Kiki ekyakubiriza Yusufu okulabirira kitaawe? Wadde ng’okwagala awamu n’okusiima okungi kwe yalina eri kitaawe eyamuzaala era n’amulabirira bye bimu ku ebyo ebyamukubiriza okumufaako, awatali kubuusabuusa, Yusufu era yayagala nnyo okusanyusa Yakuwa. Naffe tusaanidde okuba n’okwagala ng’okwo. Pawulo yawandiika: “Nnamwandu yenna bw’aba n’abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab’omu nnyumba zaabwe, n’okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.” (1 Timoseewo 5:4) Mazima ddala, okwagala Yakuwa era n’okumuwa ekitiibwa bijja kutukubiriza okulabirira bazadde baffe abakaddiye, ekyo ka kibe nga kiyinza okutubeerera kizibu ennyo.a
Engeri Abakadde mu Kibiina Gye Balagamu nti Bafaayo
9. Baani Yakuwa b’alonze okulabirira ekisibo nga mw’otwalidde ne bannamukadde Abakristaayo?
9 Ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe, Yakobo yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero.” (Olubereberye 48:15) Leero Yakuwa alabirira abaweereza be ab’oku nsi ng’ayitira mu balabirizi oba abakadde Abakristaayo, abakolera wansi w’obulagirizi bw’Omwana we Yesu Kristo, “omusumba omukulu.” (1 Peetero 5:2-4) Abalabirizi basobola batya okukoppa Yakuwa nga balabirira bannamukadde abali mu kibiina?
10. Biki ebikoleddwa okusobola okuyamba bannamukadde Abakristaayo? (Laba akasanduuko ku lupapula 17.)
10 Ng’ekibiina Ekikristaayo kyakatandikibwawo, abatume baalonda “abantu abasiimibwa musanvu . . . abajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi” ne babakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ‘eby’engabanya y’emmere eya buli lunaku’ eri bannamwandu. (Ebikolwa 6:1-6) Oluvannyuma, Pawulo yalagira omulabirizi Timoseewo okuwandiika amannya ga bannamwandu abakaddiye abaalina empisa ennungi era nga bagwanira okuyambibwa. (1 Timoseewo 5:3, 9, 10) Mu ngeri y’emu leero, abalabirizi mu kibiina bakolera Abakristaayo abakaddiye enteekateeka ez’okufuna obuyambi bwe kiba nga kyetaagisa. Kyokka, waliwo ebirala bingi ebizingirwa mu kulabirira bannamukadde abeesigwa.
11. Kiki Yesu kye yayogera ku nnamwandu omwavu eyawaayo obusente obw’omuwendo omutono ennyo?
11 Ng’anaatera okumaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yatuula mu yeekaalu “n’alaba ebibiina bwe bisuula effeeza mu ggwanika.” Mu kiseera ekyo, waliwo omuntu gwe yeekaliriza. Ebyawandiikibwa bigamba: ‘Nnamwandu omu omwavu n’ajja, n’asuulamu obusente bubiri obusembayo okuba obw’omuwendo omutono.’ Awo Yesu n’ayita abatume be n’abagamba: “Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika: kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by’ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.” (Makko 12:41-44) Ssente nnamwandu ze yasuulamu zaali ntono nnyo, naye Yesu yali akimanyi nti Kitaawe ow’omu ggulu asiima nnyo okuwaayo ng’okwo okuviira ddala ku mutima. Wadde nga nnamwandu oyo omwavu yali akaddiye, Yesu teyabuusa maaso kye yakola.
12. Abalabirizi basobola batya okulaga nti basiima ebyo ebikolebwa Abakristaayo abakaddiye?
12 Okufaananako Yesu, abalabirizi Abakristaayo tebabuusa maaso ebyo bannamukadde bye bakola okuwagira okusinza okw’amazima. Abakadde balina ensonga nnyingi ezibaleetera okusiima bannamukadde olw’ebyo bye bakola mu buweereza, olw’okwenyigira mu nkuŋŋaana, olw’ebintu ebizimba bye boogera mu kibiina, era n’olw’obugumiikiriza bwabwe. Ebigambo ebizzaamu amaanyi ebyogeddwa mu bwesimbu biyinza okuleetera bannamukadde “okwenyumiriza” mu buweereza bwabwe obutukuvu, mu ngeri eyo ne batageraageranya bye bakola n’ebyo Abakristaayo abalala bye bakola oba okugeraageranya bye bakola kati ne bye baakolanga edda.—Abaggalatiya 6:4.
13. Abakadde mu kibiina bayinza batya okweyambisa obumanyirivu n’ebitone bannamukadde bye balina?
13 Abakadde mu kibiina basobola okulaga nti basiima Abakristaayo abakaddiye nga beeyambisa obumanyirivu bwabwe n’ebitone bye balina. Bannamukadde abateekawo ekyokulabirako ekirungi basobola okukozesebwa emirundi egimu okulaga ebyokulabirako ne mu ku buuzibwa ebibuuzo. Omukadde omu mu kibiina yagamba: “Ab’oluganda bassaayo nnyo omwoyo era bawuliriza bulungi nga mbuuza ebibuuzo ow’oluganda akaddiye akulizza abaana be mu mazima.” Abakadde ab’omu kibiina ekirala bagamba nti mwannyinaffe aweza emyaka 71 egy’obukulu era ng’aweereza nga payoniya, asobodde okuyamba ababuulizi b’Obwakabaka abalala okubeeranga mu buweereza bw’ennimiro obutayosa. Era abakubiriza okukola ebintu “ebyetaagisa ennyo,” gamba ng’okusoma Baibuli n’ekyawandiikibwa ekya buli lunaku era n’okufumiitiriza ku bintu bye basoma.
14. Abakadde ab’omu kibiina ekimu baalaga batya nti basiima mukadde munnaabwe eyali akaddiye?
14 Ate era abakadde mu kibiina basiima balabirizi bannaabwe abakaddiye bye bakola. José, atemera mu myaka 70 egy’obukulu era ng’amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omukadde mu kibiina, gye buvuddeko awo yalongoosebwa. Olw’okuba yalwawo nnyo okuwona, yayagala okulekera awo okuweereza ng’omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde. José agamba: “Engeri abakadde abalala gye baakitwalamu yanneewuunyisa nnyo. Mu kifo ky’okukkiriza kye nnali nteekateeka okukola, bambuuza bubuuza obanga nnandyetaaze obuyambi okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.” Ng’ayambibwako omukadde akyali omuto mu myaka, José yasobola okweyongera okuweereza n’essanyu ng’omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde era ekyo kibadde kya muganyulo ennyo eri ekibiina. Omukadde omulala agamba: “Ab’oluganda basiima nnyo ebyo José by’akola ng’omukadde. Bamwagala era bamussaamu ekitiibwa olw’obumanyirivu n’ekyokulabirako eky’okukkiriza ky’assaawo. Mazima ddala wa mugaso nnyo mu kibiina kyaffe.”
Okufaayo ku Balala
15. Lwaki Abakristaayo bonna balina okufaayo ku byetaago bya bannamukadde abali mu kibiina?
15 Tekiri nti bakadde bokka mu kibiina n’abaana abalina bazadde baabwe nga bakaddiye be balina okufaayo ku bannamukadde. Ng’ageraageranya ekibiina Ekikristaayo ku mubiri gw’omuntu, Pawulo yagamba: “Katonda yagattira ddala wamu omubiri, ekitundu ekyabulako ng’akiwa ekitiibwa ekisinga obungi; walemenga okubeera okwawula mu mubiri; naye ebitundu biyambaganenga bumu byokka na byokka.” (1 Abakkolinso 12:24, 25) Enzivuunula endala egamba: “Ebitundu ebirala byonna [eby’omubiri] birina okufaayo ku byetaago bya binnaabyo.” (Knox) Ekibiina Ekikristaayo okusobola okubeera obumu, buli omu akirimu alina okufaayo ku bakkiriza banne, nga mw’otwalidde ne bannamukadde.—Abaggalatiya 6:2.
16. Tusobola tutya okulaga nti tufaayo ku bannamukadde nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?
16 Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zituwa akakisa okulaga nti tufaayo ku bannamukadde. (Abafiripi 2:4; Abaebbulaniya 10:24, 25) Tufuna akadde ne tunyumyako ne bannamukadde mu biseera ng’ebyo? Wadde nga kiyinza okuba ekirungi okubabuuza bwe bali, tetwandibawaddeyo ku ‘kirabo eky’omwoyo,’ oboolyawo nga tubanyumizaayo ekintu ekizimba oba ekyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa? Okuva bannamukadde abamu bwe bakaluubirirwa okutambula, kyandibadde kirungi okugenda gye bali mu kifo ky’okubasuubira okujja gye tuli. Bwe baba nga tebakyawulira bulungi, kiyinza okutwetaagisa okwogera nga tetwanguyiriza era nga twatula bulungi ebigambo. Ate era bwe tuba ‘ab’okuzziŋŋanamu amaanyi,’ tulina okuwuliriza obulungi nga nnamukadde alina ky’atugamba.—Abaruumi 1:11, 12.
17. Tusobola tutya okulaga nti tufaayo ku bannamukadde abatasobola okuva waka?
17 Ate kiba kitya singa bannamukadde abamu tebasobola kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? Yakobo 1:27 walaga nti buvunaanyizibwa bwaffe “okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe.” Amakulu agamu ag’ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okulambula” kwe “kukyalira.” (Ebikolwa 15:36) Era nga bannamukadde basiima nnyo bwe tubakyalira! Bwe yali ng’asibiddwa mu Rooma eyo nga mu mwaka gwa 65 C.E., Pawulo yali yekka mu kiseera ekyo ng’ate yali ‘akaddiye.’ Yayagala nnyo okulaba mukozi munne Timoseewo era n’amuwandiikira ng’amugamba nti: “Fuba okujja gye ndi mangu.” (Firemooni 9; 2 Timoseewo 1:3, 4; 4:9) Wadde nga bannamukadde tebali mu kkomera nga Pawulo bwe yali, abamu tebasobola kuva waka olw’obulwadde. Nga bali mu mbeera ng’eyo, baba nga abatugamba nti ‘Mufube okunkyalira amangu ddala.’ Tubakyalira?
18. Miganyulo ki egiyinza okuva mu kukyalira bannamukadde?
18 Tobuusanga maaso miganyulo egiyinza okuva mu kukyalira ab’oluganda abakaddiye. Omukristaayo ayitibwa Onesifolo bwe yali e Rooma, yafuba nnyo okunoonya Pawulo, n’amuzuula, era ‘n’amuzzangamu amaanyi.’ (2 Timoseewo 1:16, 17) Mwannyinaffe omu akaddiye agamba bw’ati: “Njagala nnyo okubeera awamu n’abakyali abato. Kye nsinga okwagala, kwe kuba nti bantwala ng’ow’omu maka gaabwe. Kinzizzaamu nnyo amaanyi.” Nnamukadde omulala Omukristaayo agamba: “Nsiima nnyo bwe wabaawo ampeerezzaayo kaadi, ankubidde ku ssimu ne bwe ziba ddakiika ntonotono oba ankyaliddeko akatono. Kinzizzaamu nnyo amaanyi.”
Yakuwa Asasula Abo Abafaayo
19. Miganyulo ki egiva mu kulabirira bannamukadde?
19 Okulabirira bannamukadde kivaamu emiganyulo mingi. Bwe tubeerako awamu nabo era ne tuganyulwa mu ebyo bye bamanyi, ku bwakyo eba nkizo ya maanyi nnyo. Abo ababalabirira bafuna essanyu ppitirivu nnyo eriva mu kugaba era bafuna emirembe mu mutima olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’omu Byawandiikibwa. (Ebikolwa 20:35) Ate era, abo abalabirira bannamukadde tebeeraliikirira nti tebajja kufiibwako nga bakaddiye. Ekigambo kya Katonda kitukakasa: “Emmeeme egabagaba ennegejjanga: n’oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini.”—Engero 11:25.
20, 21. Yakuwa atunuulira atya abo abalabirira bannamukadde, era kiki ekisaanidde okubeera ekiruubirirwa kyaffe?
20 Yakuwa asasula abaana abo abamutya, abakadde mu kibiina, n’Abakristaayo abalala abafaayo ku byetaago bya bakkiriza bannaabwe abakaddiye. Ekyo kikwatagana n’ebigambo ebiri mu lugero luno: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” (Engero 19:17) Okwagala bwe kutukubiriza okufaayo ku baavu, ekikolwa ng’ekyo Katonda akitwala ng’ekintu ekimuwoleddwa era ng’alina okukisasula. Era atusasula bwe tulabirira basinza bannaffe abakaddiye, nga bangi ku bo ‘baavu mu nsi naye nga bagagga mu kukkiriza.’—Yakobo 2:5.
21 Nga Katonda ky’atusasula kya muwendo nnyo! Kizingiramu obulamu obutaggwaawo. Abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi, obulamu obutaggwaawo bajja kubufunira mu lusuku lwa Katonda ku nsi omutaabeere mbeera yonna esibuka ku kibi ekisikire era nga ne bannamukadde abeesigwa bajja kuzzibwa mu bulamu obw’ekivubuka. (Okubikkulirwa 21:3-5) Nga tukyalindirira ekiseera ekyo okutuuka, ka tweyongere okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’Ekikristaayo obw’okulabirira bannamukadde.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okufuna ebisingawo ku ngeri y’okulabiriramu bazadde baffe abakaddiye, laba Awake! aka Febwali 8, 1994, empapula 3-10.
Wandizzeemu Otya?
• Abaana basobola batya okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe abakaddiye?
• Abakadde mu kibiina balaga batya nti bafaayo ku bannamukadde abakirimu?
• Kiki Abakristaayo kinnoomu kye basobola okukola okulaga nti bafiirayo ddala ku bannamukadde?
• Miganyulo ki egiva mu kulabirira Abakristaayo abakaddiye?
[Akasanduuko akali ku lupapula 15]
Bazadde Be Bwe Baali nga Beetaaga Okuyambibwa
Philip yali akola nga nnakyewa mu mulimu gw’okuzimba mu Liberia mu 1999 we yafunira amawulire nti kitaawe yali mulwadde nnyo. Bwe yakimanya nti maama we yali tajja kusobola kwaŋŋanga mbeera eyo yekka, yasalawo okuddayo eka asobole okukola enteekateeka ez’okujjanjaba kitaawe.
Philip agamba nti “tekyali kyangu okuddayo eka, naye nnakiraba nti obuvunaanyizibwa bwange obusooka bwali bwa kulabirira bazadde bange.” Mu myaka esatu egyaddirira, yakola enteekateeka ey’okusengula bazadde be era n’abatwala mu maka amalala agaali gasingawo obulungi, era ng’ayambibwako Abakristaayo abalala, alina bye yakyusakyusaamu mu maka ago gasobole okutuukagana n’embeera ya kitaawe.
Kati maama we asobola bulungi okuyamba taata we mu mbeera eyo gy’alimu. Gye buvuddeko awo, Philip yasobola okukkiriza bwe yayitibwa okukola nga nnakyewa ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Macedonia.
[Akasanduuko akali ku lupapula 17]
Tebamusuuliridde
Ada Omukristaayo aweza emyaka 85 egy’obukulu ng’abeera mu Australia, bwe yali nga takyasobola kuva waka olw’obulwadde, abakadde mu kibiina baakola enteekateeka okumuyamba. Baakunga ab’oluganda okumuyamba. Ab’oluganda abo baali basanyufu okukola emirimu ng’okuyonja awaka, okwoza, okufumba n’ebirala ebyali byetaagisa.
Enteekateeka eyo yatandikibwawo emyaka nga kkumi egiyise. Na guno gujwa, Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 30 bayambye Ada. Beeyongera okumukyalira, okumusomera ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, okumutegeeza ebifa mu kibiina, era n’okusaba naye obutayosa.
Omukadde omu ow’omu kitundu ekyo agamba: “Abo abalabirira Ada bagitwala nga nkizo okumuyamba. Obwesigwa bw’alaze okumala emyaka mingi bukubirizza bangi okumuyamba era ne baba nga tebasobola kumusuulirira ng’ali mu bwetaavu.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Ebikolwa byaffe biraga nti twagala nnyo bazadde baffe abakaddiye?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Bonna abali mu kibiina basobola okwoleka okwagala kwe balina eri bakkiriza bannaabwe abakaddiye