Osobola Okulwanyisa Sitaani n’Omuwangula!
“[Muziyizenga Sitaani] nga muli banywevu mu kukkiriza.”—1 PEET. 5:9.
1. (a) Lwaki kikulu nnyo leero okuziyiza Sitaani? (b) Kiki ekiraga nti tusobola okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula?
SITAANI alwanyisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Omulyolyomi ayagala okulya abaweereza ba Yakuwa bangi nga bwe kisoboka mu kaseera akatono k’asigazza. (Soma Okubikkulirwa 12:9, 12.) Naye ddala tusobola okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula? Yee, kubanga Bayibuli egamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”—Yak. 4:7.
2, 3. (a) Lwaki Sitaani ayagala abantu balowooze nti taliiyo? (b) Kiki ekiraga nti Sitaani gy’ali?
2 Abantu abamu balowooza nti Sitaani taliiyo. Balowooza nti ebintu ebikwata ku Sitaani ne badayimooni byasigalira kubeera mu bitabo ne mu firimu naye nga tebaliiyo. Abantu ng’abo balowooza nti teri muntu ategeera asobola kukkiriza nti waliyo emyoyo emibi. Olowooza Sitaani afaayo abantu bwe balowooza nti ye ne badayimooni tebaliiyo? Nedda! Sitaani kimwanguyira okubuzaabuza abantu abalowooza nti taliiyo. (2 Kol. 4:4) Sitaani y’aleetera abantu okuba n’endowooza ng’eyo asobole okubabuzaabuza.
3 Ffe abaweereza ba Yakuwa tetuli mu abo ababuzaabuziddwa. Tukimanyi nti Sitaani gy’ali, kubanga ye yayogera ne Kaawa ng’ayitira mu musota. (Lub. 3:1-5) Sitaani yayogera ne Yakuwa ng’abuusabuusa obwesigwa bwa Yobu. (Yob. 1:9-12) Sitaani ye yagezaako okukema Yesu. (Mat. 4:1-10) Ate Obwakabaka bwa Katonda bwe bwateekebwawo mu 1914, Sitaani yatandika “okulwanyisa” ensigalira y’abaafukibwako amafuta. (Kub. 12:17) N’okutuusa leero, Sitaani akyalwanyisa ensigalira y’abaafukibwako amafuta awamu n’ab’endiga endala. Okusobola okuwangula Sitaani, tulina okuba abanywevu mu kukkiriza. Ekitundu kino kiraga engeri ssatu ekyo gye tuyinza okukikolamu.
WEEWALE AMALALA
4. Sitaani akiraze atya nti alina amalala mangi nnyo?
4 Sitaani alina amalala mangi nnyo. Eky’okuba nti Sitaani yasalawo okuwakanya obufuzi bwa Yakuwa era n’ayagala n’okusinzibwa kiraga nti y’asingayo okuba ow’amalala. N’olwekyo, engeri emu gye tusobola okuziyizaamu Sitaani kwe kwewala amalala era ne tufuba okuba abeetoowaze.—Soma 1 Peetero 5:5.
5, 6. (a) Bulijjo kiba kibi okwenyumiririza mu muntu oba mu kintu? Nnyonnyola. (b) Lwaki tusaanidde okwewala amalala, era waayo ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa eby’abantu abaayoleka amalala?
5 Naye kiba kikyamu okwenyumiririza mu muntu oba mu kintu? Enkuluze emu egamba nti okwenyumiriza “kwe kuwulira ng’oli wa kitiibwa era nga teweenyooma” era “kwe kuba omumativu olw’ekintu ekirungi ky’okoze oba ky’olina, oba olw’ebintu ebirungi abantu bo bye bakoze oba bye balina.” Okwenyumiriza mu ngeri eyo tekiba kibi. Omutume Pawulo yagamba Abassessaloniika nti: “Tubeenyumiririzaamu mu bibiina bya Katonda olw’okugumiikiriza n’okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna ne mu bibonoobono bye mugumira.” (2 Bas. 1:4) N’olwekyo, okwenyumiririza mu ebyo abalala bye bakoze oba mu ebyo by’okoze kiyinza obutaba kibi. Kya lwatu nti tetusaanidde kuswala kwogera ku b’eŋŋanda zaffe, ku buwangwa bwaffe, oba ku bitundu gye twakulira.—Bik. 21:39.
6 Wadde ng’okwenyumiriza mu ngeri eyo tekiba kibi, tusaanidde okwewala okufuna amalala kubanga ekyo kisobola okwonoona enkolagana yaffe n’abalala era kisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tuweebwa amagezi amalungi, amalala gasobola okutuleetera okunyiiga oba okugaana okugakolerako. (Zab. 141:5) Omuntu ow’amalala aba yeerowoozaako yekka era emirundi mingi aba alowooza nti wa waggulu ku balala. Yakuwa akyawa abantu ab’amalala. (Ez. 33:28; Am. 6:8) Naye Sitaani kimusanyusa nnyo okulaba abantu nga booleka amalala nga ye. Nga Sitaani ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okulaba nga Nimuloodi, Falaawo, ne Abusaalomu boolese amalala! (Lub. 10:8, 9; Kuv. 5:1, 2; 2 Sam. 15:4-6) Amalala era ge gaaleetera Kayini okufiirwa enkolagana ye ne Katonda. Katonda yamuwabula naye n’agaana okuwuliriza. Ekyo kyamuviirako ebizibu eby’amaanyi.—Lub. 4:6-8.
7, 8. (a) Obusosoze kye ki, era lwaki omuntu omusosoze aba wa malala? (b) Amalala gayinza gatya okutabangula emirembe mu kibiina.
7 Leero abantu booleka amalala mu ngeri ezitali zimu. Emirundi egimu amalala geeyolekera mu busosoze. Enkuluze emu egamba nti obusosoze “bwe bukyayi eri abantu ab’amawanga amalala” era “kwe kulowooza nti abantu ab’amawanga ag’enjawulo balina engeri za njawulo n’obusobozi bwa njawulo era nti abantu b’amawanga agamu ba waggulu ku b’amawanga amalala.” Okwoleka amalala mu ngeri eyo kivuddeko obwegugungo, entalo, n’ekittabantu mu bitundu by’ensi ebitali bimu.
8 Kya lwatu nti ebintu ng’ebyo tebirina kubaawo mu kibiina Ekikristaayo. Wadde kiri kityo, ebiseera ebimu amalala gayinza okuleetera ab’oluganda okufuna obutategeeragana. Ekyo kyatuuka ne ku Bakristaayo abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka era eyo ye nsonga lwaki Yakobo yababuuza nti: “Entalo n’okulwana ebiri mu mmwe bisibuka [ku ki]?” (Yak. 4:1) Bwe tusibira abalala ekiruyi oba bwe tutandika okulowooza nti tuli ba waggulu ku balala, ekyo kiyinza okutuleetera okwogera oba okukola ebintu ebiyinza okulumya abalala. (Nge. 12:18) Tewali kubuusabuusa nti amalala gasobola okutabangula emirembe mu kibiina.
9. Bayibuli etuyamba etya okwewala obusosoze n’amalala aga buli ngeri? (Laba ekifaananyi ku lupapula 14.)
9 Bwe kiba nti ebiseera ebimu tuwulira nti tuli ba waggulu ku balala, tusaanidde okukijjukira nti “buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama.” (Nge. 16:5) Buli omu ku ffe asaanidde okulowooza ku ngeri gy’atwalamu abantu ab’amawanga amalala oba abava mu bitundu ebirala. Bwe tuba nga tulinamu obusosoze, tusaanidde okukijjukira nti Katonda “yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu.” (Bik. 17:26) Mu butuufu, okuva bwe kiri nti ffenna twava mu muntu omu, Adamu, tuyinza okugamba nti ffenna tuli ba ggwanga limu. N’olwekyo, kiba kikyamu okulowooza nti amawanga agamu ga waggulu oba ga wansi ku malala. Bwe tuba n’endowooza ng’eyo, tuba tukkirizza Sitaani okutulemesa okwagalana n’okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. (Yok. 13:35) Bwe tuba ab’okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula, tuba tulina okwewala amalala aga buli ngeri.—Nge. 16:18.
WEEWALE OMWOYO OGW’OKWAGALA EBINTU N’OKWAGALA ENSI
10, 11. (a) Lwaki kiyinza okuba ekyangu okutandika okwagala ensi ya Sitaani? (b) Mu ngeri ki Dema gy’ayinza okuba nga yayagala ensi?
10 Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi eno,’ era ensi yonna eri mu buyinza bwe. (Yok. 12:31; 1 Yok. 5:19) N’olwekyo, ebintu ebisinga obungi ebiri mu nsi eno bikontana n’emisingi gya Bayibuli. Kya lwatu nti si buli kintu ekiri mu nsi nti kibi. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti Sitaani ayagala okukozesa ensi ye okutuleetera okukola ekibi oba okwagala ebintu ebiri mu nsi, ekintu ekiyinza okutuviirako okulagajjalira ebintu eby’omwoyo.—Soma 1 Yokaana 2:15, 16.
11 Abamu ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baatandika okwagala ensi. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba nti: “Dema yandekawo olw’okuba yayagala ebintu by’ensi eno.” (2 Tim. 4:10) Bayibuli tetubuulira kiki kyennyini ekyatwaliriza Dema, ne kimuleetera okwabulira Pawulo. Kiyinzika okuba nti Dema yatandika okwagala eby’obugagga okusinga ebintu eby’omwoyo. Ekyo kyamuleetera okufiirwa enkizo nnyingi ze yandifunye ng’aweereza Katonda. Naye ddala ekyo Dema kye yakola kyali kya magezi? Nedda. Dema yandisigadde ng’akolera wamu ne Pawulo. Ensi yali tesobola kumuwa kintu kyonna kisinga mikisa Yakuwa gye yandimuwadde.—Nge. 10:22.
12. “Obulimba bw’obugagga” buyinza butya okututwaliriza?
12 Ekyo ekyatuuka ku Dema naffe kisobola okututuukako. Ffenna Abakristaayo, twagala okweyimirizaawo n’okulabirira ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Yakuwa ayagala tubeere mu bulamu obulungi. Ekyo kyeyolekera mu ky’okuba nti yateeka Adamu ne Kaawa mu lusuku olulabika obulungi ennyo. (Lub. 2:9) Kyokka Sitaani ayagala tutwalirizibwe “obulimba bw’obugagga.” (Mat. 13:22) Abantu bangi balowooza nti omuntu okusobola okuba omusanyufu, alina okuba ng’alina ssente nnyingi oba ebintu bingi. Endowooza eyo nkyamu nnyo, era esobola okutuleetera okufiirwa ekintu ekisingayo okuba eky’omuwendo, ng’eno ye nkolagana yaffe ne Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; akyawa omu n’ayagala omulala, oba anywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kubeera baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” (Mat. 6:24) Bwe tumalira ebiseera byaffe byonna ku by’obugagga, tuba tulekedde awo okuweereza Yakuwa, ate ng’ekyo kyennyini Sitaani ky’ayagala tukole! N’olwekyo, tetusaanidde kukkiriza ssente oba ebintu okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusobola okulwanyisa Sitaani, tulina okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bintu.—Soma 1 Timoseewo 6:6-10.
WEEWALE EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU
13. Ensi ya Sitaani erina ndowooza ki ku bufumbo n’okwegatta?
13 Akatego akalala Sitaani k’akozesa bye bikolwa eby’obugwenyufu. Leero, abantu bangi bakitwala nti okuba abeesigwa eri bannaabwe mu bufumbo tekikyasoboka era nti kibamalako eddembe lyabwe. Ng’ekyokulabirako, omukazi omu munnakatemba yagamba nti: “Tekisoboka musajja kuba na mukazi omu yekka era n’omukazi tasobola kuba na musajja omu yekka. Simanyiiyo muntu yenna mwesigwa eri munne mu bufumbo.” Ate omusajja omu munnakatemba yagamba nti: “Sirowooza nti kiri mu butonde bwaffe okuba mu bufumbo n’omuntu omu yekka ebbanga lyonna ery’obulamu bwaffe.” Kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Sitaani okulaba abantu ng’abo abaatiikirivu nga batyoboola ekirabo ky’obufumbo Katonda kye yatuwa. Omulyolyomi tassa kitiibwa mu nteekateeka y’obufumbo era tayagala kulaba ng’abafumbo batuuka ku buwanguzi. N’olwekyo, okusobola okulwanyisa Sitaani era ne tumuwangula, tulina okutunuulira obufumbo nga Katonda bw’abutunuulira.
14, 15. Tuyinza tutya okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?
14 Ka tube nga tuli bafumbo oba nga tuli bwannamunigina, tulina okufuba ennyo okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu ebya buli ngeri. Naye ekituufu kiri nti ekyo si kyangu! Bw’oba ng’oli muvubuka, oyinza okuba ng’otera okuwulira bayizi banno nga beewaana olw’okuba beegatta na buli omu gwe baba baagadde oba olw’okuba basindikira abalala obubaka, ebifaananyi, ne vidiyo omuli ebintu eby’obuseegu. Bayibuli egamba nti omuntu eyeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, “akola ekibi ku mubiri gwe.” (1 Kol. 6:18) Abantu bangi abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu balwala endwadde z’obukaba, era ekyo kibaviirako okubonaabona n’okufa. Abavubuka bangi abeegatta nga tebannafumbirwa bejjusa lwaki baakikola. Ebintu ebimu ebifulumira ku mikutu gy’empuliziganya bireetera abantu okulowooza nti si kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era nti okumenya amateeka ga Katonda tekivaamu kabi konna. Ebintu ng’ebyo bireetedde abantu bangi okutwalirizibwa “obulimba bw’ekibi.”—Beb. 3:13.
15 Bw’okemebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, kiki ky’olina okukola? Manya obunafu bwo. (Bar. 7:22, 23) Saba Katonda akuwe amaanyi. (Baf. 4:6, 7, 13) Weewale embeera eziyinza okukuleetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Nge. 22:3) Era ekikemo bwe kijja, baako ky’okolawo mu bwangu.—Lub. 39:12.
16. Kiki Yesu kye yakola nga Sitaani agezaako okumukema, era ekyo kituyigiriza ki?
16 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kuziyiza ebikemo. Teyakkiriza kulimbibwa Sitaani, era teyadda awo na kulowooza ku ebyo Sitaani bye yali amusuubiza. Mu kifo ky’ekyo, yamugambirawo nti: “Kyawandiikibwa nti.” (Soma Matayo 4:4-10.) Yesu yali amanyi bulungi Ekigambo kya Katonda, era ekyo kyamusobozesa okujuliza ebyawandiikibwa amangu ddala nga Sitaani yaakamukema. N’olwekyo, bwe tuba ab’okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula, tulina okukola kyonna ekisoboka okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.—1 Kol. 6:9, 10.
BA MUGUMIIKIRIZA OWANGULE SITAANI
17, 18. (a) Bintu ki ebirala Sitaani by’akozesa okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa, era lwaki ekyo tekitwewuunyisa? (b) Kiki ekijja okutuuka ku Sitaani, era ekyo kikuyamba kitya okuba omugumiikiriza?
17 Amalala, omwoyo ogw’okwagala ebintu, n’ebikolwa eby’obugwenyufu bye bimu ku bintu Sitaani by’akozesa ng’agezaako okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Kyokka waliwo n’ebintu ebirala Sitaani by’akozesa. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abamu bayigganyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe, abalala basekererwa bayizi bannaabwe, ate abalala ab’obuyinza bakugira omulimu gwabwe ogw’okubuulira. Ebintu ng’ebyo tebitwewuunyisa kubanga Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mulikyayibwa abantu bonna ku lw’erinnya lyange; naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”—Mat. 10:22.
18 Tuyinza tutya okulwanyisa Sitaani ne tumuwangula? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Olw’okugumiikiriza kwammwe mulirokolebwa.” (Luk. 21:19) Tewali kintu kyonna abantu kye bayinza kukola ekisobola okututuusaako akabi ak’olubeerera. Tewali n’omu asobola kutuggyako nkolagana yaffe ne Yakuwa okuggyako nga ffe tukikkirizza okubaawo. (Bar. 8:38, 39) Abaweereza ba Yakuwa ne bwe bafa kiba tekitegeeza nti Sitaani abawangudde, kubanga Yakuwa ajja kubazuukiza! (Yok. 5:28, 29) Ku luuyi olulala, ebiseera bya Sitaani eby’omu maaso bibi nnyo. Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’enteekateeka ye, Sitaani ajja kusuulibwa mu bunnya amaleyo emyaka 1,000. (Kub. 20:1-3) Ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, Sitaani ajja ‘kusumululwa okuva mu kkomera lye’ okumala akaseera katono agezeeko okubuzaabuza abantu abatuukiridde. Oluvannyuma lw’ekyo, Omulyolyomi ajja kuzikirizibwa. (Kub. 20:7-10) Wadde ng’ebiseera bya Sitaani eby’omu maaso bibi nnyo, ebibyo bisobola okuba ebirungi! Ziyiza Sitaani, ng’oba munywevu mu kukkiriza. Ba mukakafu nti osobola okulwanyisa Sitaani n’omuwangula!