‘Ndeetera Emizingo Naddala egy’Amaliba’
OMUTUME Pawulo yayogera ebigambo ebyo ng’asaba muminsani munne Timoseewo amuleetere egimu ku mizingo gye. Mizingo ki Pawulo gye yali ayogerako? Lwaki yasaba bagimuleetere? Era kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo?
Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo awo nga mu makkati g’ekyasa ekyasooka E.E., ebitabo 39 eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byali bigabanyiziddwamu ebitabo 22 oba 24, era nga kirabika ebisinga obungi ku byo buli kimu kyali ku muzingo gwakyo. Profesa Alan Millard agamba nti wadde nga mu kiseera ekyo emizingo egyo gyali gigula ssente nnyingi, “abantu abaalina ku ssente baasobolanga okugigula.” Abamu baagulangayo waakiri omuzingo ogumu. Ng’ekyokulabirako, Omwesiyopiya omulaawe yalina omuzingo mu ggaali lye era yali “asoma mu ddoboozi eriwulikika ekitabo kya nnabbi Isaaya.” Omusajja ono yali ‘mukungu wa Kandake kabaka omukazi owa Esiyopiya, era ye yali omuwanika w’ebintu bye byonna.’ Bwe kityo ateekwa okuba nga yali mugagga ekimala okusobola okwegulira egimu ku mizingo gy’Ebyawandiikibwa.—Bik. 8:27, 28.
Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Bw’obanga ojja ndeetera ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo era oleetanga n’emizingo naddala egy’amaliba.” (2 Tim. 4:13) Kino kiraga nti Pawulo yalina ebitabo ebiwerako. Kyokka mu bitabo byonna Pawulo bye yalina, Ekigambo kya Katonda kye yali asinga okutwala ng’eky’omuwendo. Ng’ayogera ku bigambo ‘emizingo egy’amaliba’ ebiri mu lunyiriri olwo, omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa A. T. Robertson yagamba nti: “Gino giyinza okuba nga gyali mizingo gy’ebitabo eby’Endagaano Enkadde, okuva bwe kiri nti amaliba ga bbeeyi [era gawangaala] okusinga ebitoogo.” Okuva mu buvubuka bwe, Pawulo ‘yasomesebwa Gamalyeri,’ eyayigirizanga Amateeka ga Musa era abantu bonna gwe baali bassaamu ekitiibwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Pawulo yali alina emizingo egigye ku bubwe egy’Ekigambo kya Katonda.—Bik. 5:34; 22:3.
Engeri Abakristaayo gye Baakozesangamu Emizingo
Kyokka, abantu abasinga obungi tebaalina mizingo gya Byawandiikibwa Ebitukuvu gyabwe ku bwabwe. Kati olwo Abakristaayo abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo baasobolanga batya okusoma Ekigambo kya Katonda? Ebyo Pawulo bye yayogera mu bbaluwa ye eri Timoseewo bisobola okutuyamba okufuna eky’okuddamu. Yawandiika nti: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, . . . nga nange bwe nzija.” (1 Tim. 4:13) Okusoma mu lujjudde kye kimu ku bintu ebyabanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, era ng’okusoma mu lujjudde kyakolebwanga abantu ba Katonda okuviira ddala mu kiseera kya Musa.—Bik. 13:15; 15:21; 2 Kol. 3:15.
Ng’omukadde mu kibiina, Timoseewo yalina ‘okunyiikiriranga’ okusoma mu lujjudde, asobole okuganyula n’abo abataalina mizingo gya Byawandiikibwa. Ekigambo kya Katonda bwe kyabanga kisomebwa mu lujjudde, abantu bonna bateekwa okuba nga bassangayo nnyo omwoyo okulaba nti bawulira buli kigambo ekisomebwa, era abazadde n’abaana bateekwa okuba nga baayogeranga ku ebyo bye baabanga bayize mu nkuŋŋaana nga bazzeeyo eka.
Omuzingo gw’ekitabo kya Isaaya ogw’Ennyanja Enfu ogumanyiddwa ennyo, gwa mita nga musanvu n’ekitundu obuwanvu. Okuva bwe kiri nti emizingo gyabangako obuti eruuyi n’eruuyi era ng’emirundi egisinga gyateekebwanga mu nsawo ez’olugoye oba mu busuwa, gyabanga gizitowa. Kirabika Abakristaayo abasinga obungi bwe baabanga bagenda okubuulira baatwalangako mitono nnyo. Wadde nga Pawulo yalina emizingo gye yasomanga, kirabika teyasobolanga kugitwala gyonna bwe yabanga agenda ku ŋŋendo ze. Eyo ye nsonga lwaki egimu yagireka ewa mukwano gwe Kappo e Tulowa.
Kiki Kye Tuyigira ku Mutume Pawulo?
Bwe yali tannaba kusaba mizingo egyo, Pawulo, mu kiseera ekyo eyali asibiddwa omulundi ogw’okubiri mu Rooma, yawandiika nti: “Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza . . . Okuva mu kiseera kino, nterekeddwa engule ey’obutuukirivu.” (2 Tim. 4:7, 8) Pawulo yawandiika ebigambo bino awo nga mu 65 E.E. mu kiseera Nero we yayigganyiza Abakristaayo. Mu kiseera ekyo Pawulo yali asibiddwa era nga tasuubira kuteebwa. Mu butuufu, yali akiraba nti yali anaatera okuttibwa. (2 Tim. 1:16; 4:6) Eyo y’ensonga lwaki yali ayagala emizingo gye gimubeere kumpi awo. Wadde nga yali mukakafu nti yali alwanye okulwana okulungi era n’akumaliriza, yali ayagala okweyongera okusoma Ekigambo kya Katonda kimuyambe obutaggwaamu maanyi.
Timoseewo ayinza okuba nga yali akyali mu Efeso Pawulo we yamusabira okumutwalira emizingo egyo. (1 Tim. 1:3) Okuva mu Efeso okutuuka e Rooma ng’oyitidde e Tulowa waliwo mayiro nga 1,000. Mu bbaluwa y’emu Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Fuba nnyo okujja ng’ekiseera ky’obutiti tekinnatuuka.” (2 Tim. 4:21) Bayibuli teraga obanga Timoseewo yakozesa eryato okugenda e Rooma asobole okutuukira mu kiseera Pawulo kye yali amwetaagiramu.
Pawulo okusaba “emizingo naddala egy’amaliba” kituyigiriza ki? Yasigala yettanira Ekigambo kya Katonda ne mu kiseera ekyali ekizibu ennyo mu bulamu bwe. Kino tekikuyamba okulaba nti okwagala kwe yalina eri Ekigambo kya Katonda kwe kwamuyamba okusigala nga munywevu mu by’omwoyo, nga munyiikivu, era ng’azzaamu abalala amaanyi?
Leero bangi ku ffe tulina enkizo ya maanyi nnyo okuba nti tulina Bayibuli ezaffe ku bwaffe mu bulambalamba! Abamu ku ffe tulina Bayibuli eziwerako n’enkyusa ez’enjawulo. Okufaananako Pawulo, naffe twetaaga okwagala ennyo okufuna okumanya okuli mu Byawandiikibwa. Ebbaluwa ey’okubiri Pawulo gye yawandiikira Timoseewo ye bbaluwa eyasembayo mu bbaluwa 14 ze yaluŋŋamizibwa okuwandiika. Emizingo egyo yagisaba ng’anaatera okukomekkereza ebbaluwa eyo. Mu butuufu, Pawulo okusaba Timoseewo ‘okumuleetera emizingo naddala egy’amaliba,’ kye kimu ku bintu bye yasembayo okusaba ebyogerwako mu Byawandiikibwa.
Naawe ofuba okulwana okulwana okulungi okw’okukkiriza okutuusiza ddala ku nkomerero, nga Pawulo bwe yakola? Oyagala okusigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo era ng’oli mwetegefu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ekiseera kyonna Mukama waffe ky’anakkiriza tugukoleremu? Kati olwo lwaki tokola ekyo Pawulo kye yakubiriza Abakristaayo okukola? “Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo” ng’ofuba okwesomesa Bayibuli obutayosa, ekitabo kati bangi kye basobola okufuna era ekyangu okutambula nakyo okusinga emizingo.—1 Tim. 4:16.
[Mmaapu/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18, 19]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Efeso
Tulowa
Rooma