Ssa Omutima Gwo ku Buweereza Bwo!
OWULIRA otya ng’ofunye ebbaluwa ezzaamu amaanyi okuva eri mukwano gwo akwagala ennyo? Omukristaayo ayitibwa Timoseewo yafuna ebbaluwa ng’eyo okuva eri omutume Pawulo, era ebbaluwa eyo kati emanyiddwa nga 2 Timoseewo. Timoseewo ateekwa okuba nga yanoonya akafo akasirifu asobole okusoma ebyo mukwano gwe bye yali amuwandiikidde. Oboolyawo Timoseewo yali yeebuuza nti: ‘Oba Pawulo ali atya? Alina amagezi g’ampadde ku ngeri gye nsaanidde okutunuuliramu obuweereza bwange? Ebbaluwa eno esobola okunnyamba okulaba engeri gye nnyinza okutuukirizaamu obuweereza bwange era n’okuyamba abalala?’ Nga bwe tugenda okulaba, Timoseewo yafuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, era waliwo n’ebintu ebirala ebikulu bye yategeezebwa mu bbaluwa eyo. Tugenda kulabayo agamu ku magezi amalungi agali mu bbaluwa eyo.
“NGUMIIKIRIZA EBINTU BYONNA”
Timoseewo bwe yasoma ebigambo ebisooka mu bbaluwa eyo, yakirabirawo nti Pawulo yali amwagala nnyo. Pawulo yayita Timoseewo “omwana wange omwagalwa.” (2 Tim. 1:2) Wadde nga Timoseewo ayinza okuba nga yali mu myaka nga 30 we yafunira ebbaluwa eyo, awo nga mu mwaka gwa 65 E.E., yali amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza ng’omukadde. Yali aweererezza wamu ne Pawulo okumala emyaka egisukka mu kkumi, era yali ayize ebintu bingi.
Timoseewo ateekwa okuba nga yaddamu amaanyi bwe yakimanya nti wadde nga Pawulo yali ayise mu kubonaabona kungi, yali akyali mwesigwa. Pawulo yali asibiddwa mu kkomera e Rooma era ng’anaatera okuttibwa. (2 Tim. 1:15, 16; 4:6-8) Timoseewo yakiraba nti Pawulo yali muvumu nnyo kubanga Pawulo yagamba nti: “Ngumiikiriza ebintu byonna.” (2 Tim. 2:8-13) Okufaananako Timoseewo, naffe tuzzibwamu amaanyi bwe tusoma ku bugumiikiriza Pawulo bwe yayoleka.
‘KISEESE NG’ASEESA OMULIRO’
Pawulo yakubiriza Timoseewo okutwala obuweereza bwe eri Katonda nga bwa muwendo. Yali ayagala Timoseewo ‘aseese ng’aseesa omuliro ekirabo kya Katonda’ ekyamulimu. (2 Tim. 1:6) Pawulo yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani khaʹri·sma okutegeeza “ekirabo.” Ekigambo ekyo kitegeeza ekirabo omuntu ky’afunye nga kimuweereddwa buwa era nga takikoleredde. Timoseewo yafuna ekirabo ekyo bwe yalondebwa okuweereza ekibiina mu ngeri ey’enjawulo.—1 Tim. 4:14.
Kiki Pawulo kye yali akubiriza Timoseewo okukola? Timoseewo bwe yasoma ebigambo ‘kiseese ng’aseesa omuliro,’ ayinza okuba nga yalowooza ku muliro ogukumibwa awaka oguzikira, amanda gokka ne gasigala nga ge gaaka. Omuliro ogwo guba gulina okuseesebwamu okusobola okuddamu okwaka. Enkuluze emu egamba nti ekigambo ky’Oluyonaani (a·na·zo·py·reʹo) Pawulo kye yakozesa kitegeeza “okuddamu okukoleeza, okukumamu, oba okufuuwamu omuliro gwake.” N’olwekyo ekigambo ekyo kitegeeza okukyamuka n’okola n’obunyiikivu. Mu ngeri endala Pawulo yali agamba Timoseewo nti: ‘Ssa omutima gwo ku buweereza bwo!’ Tewali kubuusabuusa nti naffe tulina okukola kye kimu leero. Tulina okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.
“EKINTU KINO EKY’OMUWENDO EKYAKUKWASIBWA KIKUUME”
Timoseewo bwe yeeyongera okusoma ebbaluwa mukwano gwe gye yamuwandiikira, yasanga ebigambo ebirala ebyandimuyambye ennyo mu buweereza bwe. Pawulo yamuwandiikira nti: “Ekintu kino eky’omuwendo ekyakukwasibwa kikuume okuyitira mu mwoyo omutukuvu oguli mu ffe.” (2 Tim. 1:14) Kintu ki ekyo? Kiki Timoseewo kye yali akwasiddwa? Mu lunyiriri olwa 13, Pawulo yayogera ku ‘bigambo eby’omuganyulo,’ kwe kugamba, amazima agali mu Byawandiikibwa. (2 Tim. 1:13) Ng’omuweereza wa Katonda, Timoseewo yalina okuyigiriza amazima munda n’ebweru w’ekibiina. (2 Tim. 4:1-5) Ate era Timoseewo yali alondeddwa okuweereza ng’omukadde, okulabirira ekisibo kya Katonda. (1 Peet. 5:2) Timoseewo yali asobola okukuuma ekirabo ekyamukwasibwa, kwe kugamba, amazima ge yalina okuyigiriza, nga yeesigama ku mwoyo gwa Katonda ne ku Byawandiikibwa.—2 Tim. 3:14-17.
Leero naffe tukwasiddwa amazima ge tuyigiriza abantu. (Mat. 28:19, 20) Ekintu ekyo ekyatukwasibwa tusobola okusigala nga tukitwala nga kya muwendo nga tunyiikirira okusaba era nga tuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda. (Bar. 12:11, 12; 1 Tim. 4:13, 15, 16) Ate era tuyinza okuba nga tulina enkizo ey’okuweereza ng’abakadde oba okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Enkizo ng’ezo zisaanidde okutuleetera okuba abeetoowaze, nga tukimanyi nti twetaaga Katonda okutuyamba okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe. N’olwekyo, tusobola okukuuma ekirabo ekyatukwasibwa nga tukitwala nga kya muwendo era nga twesiga Yakuwa okutuyamba.
“BITEGEEZE ABASAJJA ABEESIGWA”
Obuweereza Timoseewo bwe yali akwasiddwa bwali tebukwata ku ye yekka. Waliwo n’abalala abaali bakwatibwako. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakubiriza Timoseewo nti: “Ebintu bye wawulira okuva gye ndi . . . , bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.” (2 Tim. 2:2) Timoseewo yali wa kuyigiriza n’ab’oluganda abalala ebintu bye yali ayize. Kikulu nnyo abakadde bonna mu bibiina okukola kye kimu. Omukadde omulungi tatuulira kumanya kw’alina okukwata ku mulimu ogumu. Mu kifo ky’ekyo, ayigiriza abalala nabo bamanye engeri y’okukolamu omulimu ogwo. Tatya nti bwe banaamanya, bayinza okukola omulimu ogwo obulungi okumusinga bamuyiteko. N’olwekyo omukadde bw’aba ayigiriza abalala okukola omulimu, tabayigirizaako bya kungulu byokka. Afuba okuyamba abo b’atendeka okumanya obulungi eky’okukola nabo bakule mu by’omwoyo. N’ekivaamu, “abasajja abeesigwa” b’aba atendese, baganyula nnyo ekibiina.
Tewali kubuusabuusa nti Timoseewo yasiima nnyo ebbaluwa eyo Pawulo gye yamuwandiikira. Ayinza okuba nga yagisomanga enfunda n’enfunda ne yejjukanya okubuulirira okulungi okwagirimu era n’afumiitiriza ku ngeri gye yali ayinza okukukolerako mu buweereza bwe.
Naffe tusaanidde okukolera ku kubuulirira okwo. Tusaanidde kukukolerako tutya? Nga tufuba okuseesa ng’abaseesa omuliro ekirabo ekyatukwasibwa, nga tukuuma ekirabo ekyo, era ng’ebyo bye tumanyi tubiyigiriza abalala. Bwe tukola bwe tutyo, nga Pawulo bwe yagamba Timoseewo, tusobola ‘okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe.’—2 Tim. 4:5.