Koppa Oyo Asuubiza Obulamu Obutaggwaawo
“Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa.”—BEF. 5:1.
1. Busobozi ki bwe tulina obusobola okutuyamba okwoleka engeri za Katonda?
YAKUWA yatutonda nga tulina obusobozi obw’okweteeka mu mbeera z’abalala. Mu ngeri emu oba endala, tulina obusobozi obw’okutegeera n’embeera ze tutayitangamu. (Soma Abeefeso 5:1, 2.) Tuyinza tutya okukozesa obulungi obusobozi obwo Katonda bwe yatuwa? Era tuyinza tutya okwewala okukozesa obubi obusobozi obwo?
2. Yakuwa awulira atya bw’alaba nga tubonaabona?
2 Tuli basanyufu okuba nti Katonda asuubizza okuwa abaafukibwako amafuta obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu ate ‘ab’endiga endala’ obulamu obutaggwaawo ku nsi. (Yok. 10:16; 17:3; 1 Kol. 15:53) Kya lwatu nti abo abanaafuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu n’abo abanaafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi tebajja kuddamu kufuna bizibu ebiriwo mu nsi leero. Yakuwa amanyi obulumi bwe tulimu, nga bwe yali amanyi obulumi Abaisiraeri bwe baalimu nga bali mu buddu e Misiri. Bayibuli egamba nti Abaisiraeri bwe baali babonaabona, Yakuwa yalumwanga. (Is. 63:9) Nga wayise emyaka mingi, Abayudaaya baali beeraliikirivu olw’okuba abalabe baali baziyiza omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu, naye Katonda n’abagamba nti: “Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.” (Zek. 2:8, NW ) Nga maama bw’afaayo ennyo ku mwana we omuwere, ne Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be era eyagala nnyo okubayamba. (Is. 49:15) Mu butuufu, Yakuwa yeeteeka mu mbeera z’abalala, era naffe atuwadde obusobozi obwo.—Zab. 103:13, 14.
ENGERI YESU GYE YAYOLEKAMU OKWAGALA KWA KATONDA
3. Kiki ekiraga nti Yesu yakwatirwanga abalala ekisa?
3 Yesu yategeeranga obulumi abalala bwe baabanga bayitamu, nga mw’otwalidde n’abo abaali mu mbeera gy’atabeerangamuko. Ng’ekyokulabirako, Yesu yali akimanyi nti abantu aba bulijjo baali batya abakulembeze b’eddiini, abaabalimbalimbanga era abaabakakaatikangako olukunkumuli lw’amateeka. (Mat. 23:4; Mak. 7:1-5; Yok. 7:13) Wadde nga Yesu yali tatya bakulembeze b’eddiini abo era nga tebasobola kumulimba, yali ategeera bulungi embeera abantu aba bulijjo gye baalimu. Bayibuli egamba nti Yesu “bwe yalaba ekibiina ky’abantu n’abasaasira kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Okufaananako Kitaawe, Yesu yayagalanga nnyo abantu era yabakwatirwanga ekisa.—Zab. 103:8.
4. Okulaba engeri abantu gye baali babonaabonamu, kyakwata kitya ku Yesu?
4 Yesu bwe yalabanga abantu ababonaabona, yakwatibwangako nnyo n’abalaga okwagala. Bwe kityo, Yesu yayoleka okwagala kwa Kitaawe mu ngeri etuukiridde. Lumu Yesu n’abatume be bwe baali bamaze ekiseera kiwanvu nga babuulira, baasalawo okugenda mu kifo eteri bantu bawummuleko. Naye Yesu bwe yalaba ekibiina ky’abantu nga bamulindiridde, yabakwatirwa ekisa n’atandika “okubayigiriza ebintu bingi.”—Mak. 6:30, 31, 34.
ENGERI GYE TUYINZA OKWOLEKA OKWAGALA NGA YAKUWA
5, 6. Bwe tuba ab’okwoleka okwagala ng’okwa Katonda, tulina kukola ki? Waayo ekyokulabirako. (Laba ekifaananyi ku lupapula 24.)
5 Tusobola okwoleka okwagala ng’okwa Katonda mu ngeri gye tuyisaamu abalala. Ng’ekyokulabirako: Kuba akafaananyi ng’omuvubuka gwe tujja okuyita Alan alowooza ku w’oluganda nnamukadde akaluubirirwa okusoma olw’okuba amaaso ge tegakyalaba bulungi. Era ow’oluganda oyo tekimwanguyira kutambula ng’abuulira nnyumba ku nnyumba. Alan ajjukira ebigambo bya Yesu bino: “Nga bwe mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.” (Luk. 6:31) Mu kiseera ekyo, Alan yeebuuza nti, ‘Kiki kye nnandyagadde abalala okunkolera?’ Yeddamu nti, ‘Nnandyagadde abalala bazannye nange omupiira!’ Naye Alan akiraba nti ow’oluganda oyo nnamukadde takyasobola kuzannya mupiira? Akiraba nti ebigambo bya Yesu ebyo bitegeeza nti, ‘Tukolere abalala ekyo kye twandyagadde batukolere singa tubadde mu mbeera ng’eyo gye balimu.’
6 Alan si nnamukadde, naye alina obusobozi okutegeera embeera gy’atabeerangamuko. Yeetegereza ow’oluganda nnamukadde era bw’aba ayogera naye amuwuliriza bulungi. Mpolampola, Alan ategeera embeera nnamukadde oyo gy’ayitamu. Alan bwe yeeteeka mu mbeera nnamukadde oyo gy’alimu, kimwanguyira okulaba ky’ayinza okukola okumuyamba. Naffe tusobola okukola kye kimu. Bwe tuba ab’okwoleka okwagala ng’okwa Katonda, tulina okweteeka mu bigere bya bakkiriza bannaffe.—1 Kol. 12:26.
7. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera embeera abalala gye bayitamu?
7 Emirundi mingi tekiba kyangu kutegeera bulungi bulumi abalala bwe bayitamu. Abantu bangi boolekagana n’ebizibu bye tutafunangako. Abamu balwadde, bakosefukosefu, oba bakaddiye. Abalala bennyamivu, beeraliikirivu nnyo, oba balina ennaku ku mutima olw’ebintu ebibi ebyabatuukako emabega. Ate abalala babeera mu maka agatali bumu mu kukkiriza oba omuli omuzadde omu. Abantu baba n’ebizibu bya njawulo ate ng’emirundi mingi ebizibu ebyo tuba tetubifunangako. Tuyinza tutya okwoleka okwagala ng’okwa Katonda mu mbeera ng’eyo? Nga tufuba okuwuliriza obulungi abalala tusobole okutegeera embeera yaabwe. Ekyo kisobola okutuyamba okwoleka okwagala ng’okwa Yakuwa nga tubawa obuyambi obwetaagisa. Wadde ng’obwetaavu bw’abantu bwa njawulo, tusobola okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo n’okubayamba mu ngeri endala.—Soma Abaruumi 12:15; 1 Peetero 3:8.
YOLEKA EKISA NGA YAKUWA
8. Kiki ekyayamba Yesu okwoleka ekisa?
8 Omwana wa Katonda yagamba nti: “Oyo Ali Waggulu Ennyo . . . wa kisa eri abateebaza n’ababi.” (Luk. 6:35) Mu butuufu, Yesu yayoleka ekisa nga Katonda. Kiki ekyamuyamba okwoleka ekisa? Yalowoozanga ku ngeri ebyo bye yabanga agenda okwogera oba okukola gye byandikutte ku balala. Ng’ekyokulabirako, omukazi omu eyali amanyiddwa okuba omukozi w’ebibi yamutuukirira n’atandika okukaaba ng’amaziga ge bwe gatonnya ku bigere bya Yesu. Yesu yakiraba nti omukazi oyo yali yeenenyezza era yalowooza ne ku ngeri omukazi oyo gye yandiwuliddemu singa yasalawo okumugoba. Bwe kityo Yesu yamusiima era n’amugamba nti ebibi bye byali bisonyiyiddwa. Omufalisaayo bwe yanenya Yesu olw’ekyo kye yali akoze, naye Yesu yamuddamu mu ngeri ey’ekisa.—Luk. 7:36-48.
9. Kiki ekisobola okutuyamba okwoleka ekisa nga Katonda? Waayo ekyokulabirako.
9 Tuyinza tutya okwoleka ekisa nga Katonda? Omutume Pawulo yagamba nti: “Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.” (2 Tim. 2:24) Omuntu omukkakkamu aba mwegendereza ne mu mbeera enzibu ne yeewala okulumya abalala. Lowooza ku ngeri gye tuyinza okwoleka ekisa mu mbeera zino: Ku mulimu, nga mukama waffe takola bulungi mirimu gye. Tuneeyisa tutya? Mu kibiina, ow’oluganda amaze emyezi egiwerako nga tajja mu nkuŋŋaana alabikako mu nkuŋŋaana. Kiki kye tunaamugamba? Nga tubuulira, omuntu atugamba nti, “Nnina eby’okukola bingi, sirina budde kwogera nammwe kati.” Tunaategeera embeera ye? Mu maka, munnaffe mu bufumbo agamba nti, “Lwaki tewambuulidde nga bukyali kye wateeseteese okukola leero?” Tunaamuddamu mu ngeri ey’ekisa? Bwe tweteeka mu bigere by’abalala era ne tulowooza ne ku ngeri ebigambo byaffe oba ebikolwa byaffe gye binaakwata ku balala, kiyinza okutuyamba okwoleka ekisa nga Yakuwa.—Soma Engero 15:28.
KOPPA KATONDA MU KWOLEKA AMAGEZI
10, 11. Tuyinza tutya okukoppa Katonda mu kwoleka amagezi? Waayo ekyokulabirako.
10 Yakuwa alina amagezi mangi nnyo era asobola okusalawo okumanya ebintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Wadde nga tetusobola kumanya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naffe tusobola okwoleka amagezi. Mu ngeri ki? Bwe tuba tetunnasalawo kukola kintu kyonna, kikulu okulowooza ku ebyo ebiyinza okuvaamu. Tetusaanidde kuba nga Baisiraeri abataalowooza ku ebyo ebyandivudde mu kujeemera Katonda. Wadde nga Katonda yali abakoledde ebirungi bingi, Musa yali akimanyi nti bandibadde bakola ebibi mu maaso ga Yakuwa. Musa yagamba nti: “Isirayiri ggwanga eritalina magezi, era mu bo temuli kutegeera. Kale singa baalina amagezi! Kino bandibadde bakifumiitirizaako. Bandibadde balowooza ku ebyo ebyandivuddemu.”—Ma. 31:29, 30; 32:28, 29, NW.
11 Bwe tuba ab’okukoppa Katonda mu kwoleka amagezi, tusaanidde okufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuva mu bikolwa byaffe. Ng’ekyokulabirako, bw’oba olina omuntu gw’oyogerezeganya naye, kikulu okukijjukira nti enneewulira ey’amaanyi gy’oba nayo eri omuntu oyo eyinza okukifuula ekizibu gy’oli okwefuga ne kibaviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, weewale okulowooza oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa! Mu kifo ky’ekyo, fuba okukolera ku bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.”—Nge. 22:3.
WEEWALE OKUFUMIITIRIZA KU BINTU EBIBI
12. Okufumiitiriza kuyinza kutya okuba okw’obulabe gye tuli?
12 Omuntu ow’amagezi aba akimanyi nti okufumiitiriza kulinga omuliro. Bwe tukozesa obulungi omuliro, gusobola okutuyamba, gamba nga tufumba emmere. Kyokka singa tugukozesa bubi, gusobola okuba ogw’obulabe, ne gwokya ennyumba yaffe oboolyawo naffe ne gutwokeramu. Mu ngeri y’emu, okufumiitiriza kuba kwa muganyulo singa kutuyamba okukoppa Yakuwa. Kyokka okufumiitiriza kuyinza okuba okw’obulabe singa kutuleetera okukulaakulanya okwegomba okubi. Ng’ekyokulabirako, bwe tufumiitiriza ku bikolwa eby’obugwenyufu era ne tukuba akafaananyi nga tubyenyigiramu, tujja kutandika okubyagala oboolyawo tutuuke n’okubikola. Mu butuufu, okufumiitiriza ku bintu ebibi kisobola okutuviirako okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa!—Soma Yakobo 1:14, 15.
13. Kiki Kaawa ky’ayinza okuba nga yafumiitirizaako?
13 Lowooza ku ekyo ekyaleetera omukazi eyasooka, Kaawa, okwegomba okulya ku muti “ogw’okumanya obulungi n’obubi.” (Lub. 2:16, 17) Omusota gwamugamba nti: “Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” Kaawa “yalaba ng’omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso.” Biki ebyavaamu? “[Yanoga] ku bibala byagwo n’alya, n’awa era ne ku musajja we naye n’alya.” (Lub. 3:1-6) Kaawa ayinza okuba nga yafumiitiriza ku ngeri obulamu bwe gye bwandibaddemu nga ye yeesalirawo ekirungi n’ekibi, ekyo ne kimuleetera okujeemera Yakuwa. Nga yakozesa bubi nnyo obusobozi bwe obw’okufumiitiriza! Okuyitira mu mwami we Adamu, “ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.”—Bar. 5:12.
14. Kulabula ki Bayibuli kw’ewa okusobola okutuyamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?
14 Kya lwatu nti ekibi Kaawa kye yakola kyali tekizingiramu bikolwa bya bugwenyufu. Wadde kiri kityo, Yesu yakubiriza abagoberezi be okwewala okudda awo okukuba akafaananyi nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Mat. 5:28) Era ne Pawulo yagamba nti: “Temweteekerateekera kukola omubiri bye gwegomba.”—Bar. 13:14.
15. Bya bugagga ki bye tusaanidde okweterekera, era lwaki?
15 Ate era Bayibuli etukubiriza okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okuweerezaamu Katonda mu kifo ky’okudda awo okulowooza ku ngeri gye tuyinza okugaggawalamu. Mu butuufu, ebintu omugagga by’aba nabyo biba nga ‘bbugwe omuwanvu mu kulowooza kwe ye.’ (Nge. 18:11) Yesu yagera olugero olulaga akabi akayinza okuvaamu singa omuntu ‘yeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.’ (Luk. 12:16-21) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola ebintu ebimusanyusa. (Nge. 27:11) Naffe kitusanyusa nnyo okukimanya nti tusiimibwa mu maaso ga Katonda olw’okuba tweterekedde “eby’obugagga mu ggulu.” (Mat. 6:20) Kikulu okukijjukira nti enkolagana yaffe ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye tusobola okuba nakyo.
WEEWALE OKWERALIIKIRIRA
16. Kiki ekiyinza okutuyamba okukendeeza ku kweraliikirira?
16 Lowooza ku kweraliikirira kwe tuyinza okubaamu singa twemalira ku kweterekera “eby’obugagga ku nsi.” (Mat. 6:19) Yesu yagera olugero n’alaga nti “okweraliikirira kw’obulamu obw’omu kiseera kino n’obulimba bw’obugagga” bisobola okuzisa ekigambo ky’Obwakabaka. (Mat. 13:18, 19, 22) Abantu abamu buli kiseera babeera awo nga balowooza ku bintu ebibi ebiyinza okubatuukako. Kyokka okweraliikirira ekisukkiridde kiba kya kabi nnyo eri obulamu bwaffe era kisobola okutukosa mu by’omwoyo. Ka bulijjo twesige Yakuwa nga tukijjukira nti “ennaku bwe ziba mu mutima gw’omuntu zigukutamya; naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.” (Nge. 12:25) Ebigambo ebirungi ebiba byogeddwa omuntu atutegeera obulungi bisobola okutuzzaamu amaanyi era ne bituleetera essanyu. N’olwekyo, bwe tuba n’ekintu ekitweraliikiriza, tusobola okukibuulirako bazadde baffe, bannaffe mu bufumbo, oba mikwano gyaffe abalina endowooza ng’eya Yakuwa. Abantu ng’abo basobola okutuyamba okwongera okwesiga Yakuwa n’okukendeeza ku kweraliikirira kwe tuba nakwo.
17. Yakuwa atuyamba atya nga waliwo ebitweraliikiriza?
17 Yakuwa ategeera bulungi ebyo ebitweraliikiriza okusinga omuntu omulala yenna era asobola okutuyamba. Pawulo yagamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Bef. 4:6, 7) Bwe tufuna ebitweraliikiriza, kikulu okukijjukira nti Yakuwa atuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe, abakadde mu kibiina, omuddu omwesigwa, bamalayika, ne Yesu.
18. Obusobozi bwaffe obw’okufumiitiriza buyinza kutuganyula butya?
18 Nga bwe tulabye, okufumiitiriza kusobola okutuyamba okwoleka engeri ng’eza Katonda, gamba ng’okwagala. (1 Tim. 1:11; 1 Yok. 4:8) Tusobola okuba abasanyufu singa twoleka okwagala okwa nnamaddala, ne tufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuva mu ebyo bye tuba twagala okukola, era ne twewala okweraliikirira ekisukkiridde. N’olwekyo, ka ffenna tufube okukozesa obulungi obusobozi Katonda bwe yatuwa tufumiitirize ku ssuubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso, era tukoppe Yakuwa nga twoleka engeri ze, gamba ng’okwagala, ekisa, amagezi, n’essanyu.—Bar. 12:12.