Abazadde, Mukole ku Byetaago by’ab’Omu Maka Gammwe
“Omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, . . . nga yeegaanyi okukkiriza.”—1 TIMOSEEWO 5:8.
1, 2. (a) Lwaki kizzaamu amaanyi okulaba ab’omu maka bonna nga bazze mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? (b) Buzibu ki obutera okubaawo ng’amaka geeteekerateekera okujja mu nkuŋŋaana?
BW’OYISAAYISA amaaso mu kibiina Ekikristaayo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika, osobola okulaba abaana abambadde obulungi nga batudde ne bazadde baabwe. Tekikusanyusa okulaba ng’ab’omu maka abo baagala Yakuwa era nga baagalana bokka na bokka? Kyokka, kyangu nnyo okubuusa amaaso okufuba ab’omu maka kwe bateekamu okusobola okutuuka mu nkuŋŋaana mu budde.
2 Emirundi egisinga, abazadde baba bakola nnyo olunaku lwonna. Kyokka, ku nnaku z’enkuŋŋaana, eby’okukola bibeerera ddala bingi. Wabaawo okufumba emmere, okukola emirimu gy’awaka ate n’abaana babeera n’eby’okukola ebiba bibaweereddwa ku ssomero. Abazadde bavunaanyizibwa okulaba nti buli mwana anaabye, ayambadde engoye ezitukula, alidde era nti ebintu byonna abikolera mu budde. Kyo kituufu nti abaana batawaanya. Ng’ekyokulabirako, omu ayinza okuyuza engoye ze ng’azannya. Omulala ayinza okweyiira emmere. Abaana bayinza okutandika okuneneŋŋana. (Engero 22:15) Kiki ekiyinza okuvaamu? Wadde ng’omuzadde aba yateeseteese basobole okutuuka amangu mu nkuŋŋaana ebintu biyinza obutatambula nga bw’abadde asuubira. Wadde kiba kityo, ab’omu maka teboosa nkuŋŋaana era batuukira mu kiseera. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okubalaba ng’amaka ago tegoosa nkuŋŋaana, era abaana ne bakula nga baweereza Yakuwa!
3. Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa atwala amaka ng’ekintu ekikulu?
3 Wadde ng’oluusi tekiba kyangu kulabirira baana, ba mukakafu nti Yakuwa asiima nnyo by’okola. Yakuwa ye yatandikawo amaka. Ekigambo kye kigamba nti ku ye “buli maka kwe gajja erinnya.” (Abaefeso 3:14, 15) N’olwekyo, abazadde bwe mufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe, muba muweesa Mukama Afuga Byonna ekitiibwa. (1 Abakkolinso 10:31) Eyo si nkizo ya maanyi nnyo? N’olwekyo, kiba kirungi bwe twetegereza obuvunaanyizibwa Yakuwa bw’awadde abazadde. Mu kitundu kino tugenda kwetegereza obuvunaanyizibwa obwo nga tulaba engeri abazadde gye bayinza okukolamu ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe. Ka twetegereze engeri ssatu Katonda gy’ayagala abazadde balabiriremu ab’omu maka.
Okubalabirira mu by’Omubiri
4. Nteekateeka ki Yakuwa gye yassaawo mu maka esobozesa abazadde okukola ku byetaago by’abaana baabwe?
4 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Pawulo bwe yakozesa ebigambo “omuntu yenna,” yali ayogera ku ani? Yali ayogera ku mutwe gw’amaka, oba taata. N’omukazi Katonda yamuwa ekifo eky’obuvunaanyizibwa, okukola ng’omubeezi w’omwami we. (Olubereberye 2:18) Mu biseera bya Baibuli abakazi baayambanga babbaabwe mu kulabirira ab’omu maka. (Engero 31:13, 14, 16) Leero, amaka mangi galimu omuzadde omu.a Abazadde Abakristaayo bangi abali mu maka ng’ago balabirira bulungi ab’omu maka gaabwe. Kya lwatu, kiba kirungi singa amaka gabaamu abazadde bombi nga taata ye mutwe.
5, 6. (a) Abo abafuba okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe boolekagana na bizibu ki? (b) Omukristaayo yandibadde na ndowooza ki ku mirimu?
5 Kujjanjaba kwa ngeri ki Pawulo kwe yali ayogerako mu 1 Timoseewo 5:8? Ennyiriri eziriraanyewo ziraga nti yali ayogera ku kulabirira ab’omu maka mu by’omubiri. Mu nsi y’akakyo kano, waliwo ebizibu bingi omutwe gw’amaka by’ayinza okwolekagana nabyo ng’alabirira ab’omu maka ge. Eby’enfuna bizibuwadde mu nsi yonna, bangi tebalina mirimu, ate nga n’ebintu byeyongera kugula buwanana. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde okwolekagana n’embeera ng’eyo?
6 Omutwe gw’amaka alina okukijjukira nti obuvunaanyizibwa bw’alina bwamuweebwa Yakuwa. Ebigambo bya Pawulo ebyo ebyaluŋŋamizibwa biraga nti omusajja agaana okugondera etteeka lino aba ng’omuntu ‘eyegaanye okukkiriza.’ Omukristaayo yandikoze kyonna ky’asobola Katonda aleme kumutwala ng’omuntu ow’engeri eyo. Kya nnaku nti abantu bangi mu nsi leero, ‘tebaagala ba luganda.’ (2 Timoseewo 3:1, 3) Bataata bangi beewala obuvunaanyizibwa bwabwe ne baleka amaka gaabwe nga tegalina buyambi. Abasajja Abakristaayo tebalina mutima ng’ogwo ogw’obutalumirirwa ba mu maka gaabwe. Obutafaananako bangi ku bakozi bannaabwe, abaami Abakristaayo tebanyooma mulimu gwonna kubanga gwe gubasobozesa okulabirira ab’omu maka gaabwe ne basobola okusanyusa Yakuwa Katonda.
7. Lwaki kirungi abazadde okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
7 Singa emitwe gy’amaka bakoppa ekyokulabirako kya Yesu, bajja kuganyulwa nnyo. Kijjukire nti Baibuli yayogera ku Yesu nga “Kitaffe ataggwaawo.” (Isaaya 9:6, 7) Nga “Adamu ow’oluvannyuma,” Yesu yadda mu bigere bya “Adamu ow’olubereberye” ng’afuuka taata w’abakkiriza. (1 Abakkolinso 15:45) Obutafaanana Adamu taata eyeerowoozaako, Yesu ye kitaffe asingira ddala okuba omulungi. Baibuli emwogerako bw’eti: “Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw’ab’oluganda.” (1 Yokaana 3:16) Yee, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’abalala. Ate era buli lunaku yakulembezanga ebyetaago by’abalala ne mu bintu ebitono. Abazadde kiba kirungi okukoppa ekyokulabirako ekyo eky’okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza.
8, 9. (a) Kiki abazadde kye basobola kuyigira ku binyonyi nga balabirira abaana baabwe? (b) Mu ngeri ki abazadde Abakristaayo gye balagamu omwoyo ogw’okwefiiriza?
8 Ebyo Yesu bye yagamba abantu abaali beewaggudde ku Katonda birina bingi bye biyigiriza abazadde bwe kituuka ku kwoleka okwagala okw’obuteerowoozaako. Yagamba: “Emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w’ebiwaawaatiro byayo!” (Matayo 23:37) Ekyokulabirako Yesu kye yakozesa eky’enkoko ekuŋŋaanya awaamu obwana bwayo kitegeerekeka bulungi. Waliwo bingi abazadde bye basobola okuyigira ku kinyonyi ekissa obulamu bwakyo mu kabi, okusobola okukuuma abaana baakyo baleme kutuukibwako kabi. Ebintu ebinyonyi bye bikola byewuunyisa nnyo. Buli lunaku bibuuka ne bigenda okunoonya emmere. Ne bwe biba bikooye nnyo biwa obwana bwabyo emmere. Ebitonde bya Yakuwa bingi byoleka “amagezi mangi nnyo” mu ngeri gye birabiriramu abaana baabyo.—Engero 30:24.
9 Mu ngeri y’emu, abazadde Abakristaayo okwetooloola ensi balaga omwoyo gw’okwefiiriza. Mu kifo ky’abaana bo okubonaabona waakiri ggwe oba obonaabona. Ate era, buli lunaku weefiirize okusobola okukola ku ebyetaago by’ab’omu maka go. Bangi ku mmwe muzuukuka mu matulutulu ne mugenda okukola emirimu emizibu ennyo. Mulafuubana okufunira ab’omu maka gammwe emmere ennungi. Mufuba okuweerera abaana bammwe, okubafunira eby’okwambala era n’aw’okusula. Kyokka, bino byonna mubikola buli lunaku, na buli mwaka. Mube bakakafu nti omwoyo ogwo ogw’okwefiiriza n’obugumiikiriza bisanyusa nnyo Yakuwa! (Abaebbulaniya 13:16) Wadde ng’ebyo byonna bikulu, mujjukire nti waliwo engeri endala enkulu gye musobola okulabiriramu ab’omu maka gammwe.
Okubalabirira mu by’Omwoyo
10, 11. Kyetaago ki ekisinga obukulu mu bulamu bw’omuntu, era abazadde Abakristaayo balina kusooka kukola ki okusobola okukola ku byetaago by’abaana baabwe eby’eby’omwoyo?
10 Okulabirira ab’omu maka mu by’omwoyo kikulu nnyo n’okusinga okubalabirira mu by’omubiri. Yesu yagamba: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4; 5:3) Mwe abazadde, kiki kye mulina okukola okusobola okulabirira abaana mu by’omwoyo?
11 Ku nsonga eno, tutera okujuliza Ekyamateeka 6:5-7. Osabibwa okubikkula Baibuli yo osome ennyiriri ezo. Weetegereze nti abazadde bakubirizibwa okusooka okukola ku byetaago byabwe eby’omwoyo, okwagala Yakuwa, n’okwesomesa ekigambo kye. Yee, kikwetaagisa okunyiikira okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako osobole okukitegeera obulungi, era kikuyambe okwagala amakubo ga Yakuwa, emisingi gye n’amateeka ge. N’ekivaamu amazima g’oyiga okuva mu Baibuli gajja kukuleetera essanyu era gakuleetere okutya Yakuwa n’okumwagala. Ojja kutegeera ebintu bingi by’oyinza okuyigiriza abaana bo.—Lukka 6:45.
12. Abazadde bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu nga bayigiriza abaana baabwe amazima ga Baibuli?
12 Abazadde abanywevu mu by’omwoyo basobola bulungi okukolera ku kubuulira okuli mu Ekyamateeka 6:7, okukwata ku ‘kunyiikira okuyigiriza’ abaana ebigambo bya Yakuwa, buli lwe baba bafunye ekiseera. ‘Okunyiikira kuyigiriza’ kitegeeza okukkaatiriza ensonga ng’ogiddiŋŋana. Yakuwa akimanyi nti fenna, naddala abaana, twetaaga okujjukizibwa okusobola okuyiga ekintu. Yesu yakozesa engeri eno ng’ayigiriza. Ng’ekyokulabirako, bwe yali ayigiriza abayigirizwa be okwewala amalala n’omwoyo gw’okuvuganya, yakozesanga engeri ez’enjawulo okuddiŋŋana omusingi gwe gumu. Bwe yalinga ayigiriza abantu, yabannyonnyolanga era n’abawa n’ebyokulabirako. (Matayo 18:1-4; 20:25-27; Yokaana 13:12-15) Ate era Yesu yalinga mugumiikiriza. Mu ngeri y’emu, abazadde beetaaga okozesa engeri ez’enjawulo nga bayigiriza abaana baabwe amazima ga Baibuli, nga baddiŋŋana emisingi gya Yakuwa okutuusa omwana lw’agitegeera era n’atandika okugikolerako.
13, 14. Ddi abazadde lwe bayinza okunyumya n’abaana baabwe ku mazima ga Baibuli, era bitabo ki bye basobola okukozesa?
13 Ebiseera eby’okuyigira awamu ng’amaka, biba birungi okuyigiririzaamu abaana. Mazima, ddala, amaka bwe gayigira awamu Baibuli kigayamba okuba obulungi mu by’omwoyo. Amaka Amakristaayo okwetooloola ensi ganyumirwa okusomera awamu Baibuli nga gakozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa, era bye basoma babituukanya n’ebyetaago by’abaana. Ebitabo Learn From the Great Teacher ne Questions Young People Ask—Answers That Work biyambye nnyo mu kuyiga kw’amaka.b Kyokka, mu kuyiga kw’amaka, si mwe mwokka omuzadde mw’ayinza okuyigiririza abaana.
14 Nga Ekyamateeka 6:7 bwe walaga, waliwo ebiseera ebirala abazadde lwe muyinza okukubaganya ebirowoozo n’abaana bammwe ku bintu eby’omwoyo. Bwe muba mutambula, nga mulina emirimu gye mukola, oba nga muwumuddeko, musobola okukola ku byetaago by’abaana bamwe eby’omwoyo. Tekitegeeza nti buli lwe “mubayigiriza” mulina kuggyayo Baibuli. Wabula bwe muba munyumya gezaako okwogera ku bintu ebizimba. Ng’ekyokulabirako, magazini ya Awake! eyogera ku bintu ebitali bimu. Musobola okukozesa ebintu ng’ebyo okunyumya ku bisolo Yakuwa bye yatonda, ebifo ebirabika obulungi, oba engeri abantu ab’omu nsi ez’enjawulo gye beeyisaamu. Emboozi ng’ezo ziyinza okuleetera abaana okwagala okusoma ebitabo ebituweebwa ekibiina ky’omuddu omwesigwa.—Matayo 24:45-47.
15. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okutegeera nti omulimu gw’okubuulira mulungi era nti guvaamu emiganyulo?
15 Bw’onyumya n’abaana bo ku bintu ebizimba osobola okukola ku byetaago byabwe ebirala eby’ebyomwoyo. Abaana Abakristaayo beetaaga okuyiga okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe. Bw’oba onyumya nabo ku bintu ebimu ebiri mu The Watchtower oba Awake! kozesa akakisa ako okubalaga engeri y’okubikozesaamu mu buweereza. Ng’ekyokulabirako, oyinza okubabuuza: “Tekyandibadde kirungi singa abantu bategeera endowooza ya Yakuwa ku nsonga eno? Olowooza tuyinza tutya okuleetera omuntu okwagala okutegeera ebisingawo ku nsonga eno?” Bwe mwogera ku bintu ng’ebyo kiyinza okubaleetera okwagala okunyumizaako abalala ku ebyo bye bayiga. Bwe banaagenda naawe mu buweereza, bajja kweyambisa ebyo bye mwanyumizzaako nga babuulira. Ate Era bajja kutegeera nti omulimu gw’okubuulira mulungi, era nti guleeta essanyu.—Ebikolwa 20:35.
16. Kiki abaana kye basobola okuyiga bwe bawuliriza okusaba kwa bazadde baabwe?
16 Abazadde era bakola ku byetaago by’abaana baabwe eby’eby’omwoyo bwe basabira awamu nabo. Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba, era emirundi mingi yasabiranga wamu nabo. (Lukka 11:1-13) Lowooza ku ebyo bye baayiga ng’Omwana wa Yakuwa asaba nabo! Mu ngeri y’emu, n’abaana bo bayiga bingi bw’osaba nabo. Ng’ekyokulabirako, basobola okuyiga nti Yakuwa ayagala tumubuulire byonna ebituli ku mutima. Yee, okusaba kwo kusobola okuyamba abaana bo okuyiga ekintu ekikulu ennyo, kwe kugamba, basobola okufuna enkolagana ennungi ne Kitaabwe ow’omu ggulu.—1 Peetero 5:7.
Okufaayo ku Nneewulira Zaabwe
17, 18. (a) Baibuli eraga etya obukulu bw’okulaga abaana okwagala? (b) Bataata bandikoppye batya ekyokulabirako kya Yakuwa mu kulaga abaana baabwe okwagala?
17 Kya lwatu, abaana babeera n’ebibeeraliikiriza. Ekigambo kya Katonda kiraga abazadde obukulu bw’okuyamba abaana mu nsonga eno. Ng’ekyokulabirako, abakazi bakubirizibwa “okwagala abaana baabwe.” (Tito 2:4) Kiba kya magezi okugoberera okubuulirira okwo. Kino kijja kusobozesa omwana okuyiga okwagala era kimuviiremu emiganyulo egy’olubeerera. Ku luuyi olulala, tekiba kya magezi omuzadde obutalaga mwana kwagala. Omwana ayisibwa bubi bw’atalagibwa kwagala era kiba kiraga nti omuzadde alemereddwa okukoppa Yakuwa, atulaga okwagala okungi ennyo wadde nga tetutuukiridde.—Zabbuli 103:8-14.
18 Yakuwa ye yasooka okulaga abaana be ab’oku nsi okwagala. Nga 1 Yokaana 4:19 bwe walaga, “ye yasooka okutwagala.” Bataata musaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa, nga muba n’enkolagana ey’okulusegere n’abaana baabwe. Baibuli ekubiriza bataata okwewala okunyiiza abaana baabwe, ‘baleme kunakuwala.’ (Abakkolosaayi 3:21) Ekisinga okunakuwaza abaana ye muzadde okubalaga nti tabaagala oba nti tabafaako. Bataata abatayagala kulaga baana baabwe kwagala basaanidde okujjukira ekyokulabirako kya Yakuwa. Yakuwa yayima mu ggulu n’ayogera ebigambo ebyalaga nti yali ayagala nnyo Omwana we era nti amusiima. (Matayo 3:17; 17:5) Ekyo nga kyazzaamu nnyo Yesu amaanyi! Mu ngeri y’emu, abaana bazzibwamu nnyo amaanyi bazadde baabwe bwe babasiima era ne babalaga nti babaagala.
19. Lwaki kikulu abazadde Abakristaayo okukangavvula abaana, era bayinza okukikola batya?
19 Kya lwatu, okwagala abazadde kwe balaga abaana tekulina kukoma mu bigambo. Balina okukulaga mu bikolwa. Abazadde bwe balabirira abaana baabwe mu by’omubiri ne mu by’omwoyo kiba kikolwa kya kwagala. Ate era omuzadde asobola okulaga omwana we okwagala ng’amukangavvula. ‘Yakuwa gw’ayagala amukangavvula.’ (Abaebbulaniya 12:6) Kyokka singa omuzadde alemererwa okukangavvula abaana be kiba kiraga nti tabaagala! (Engero 13:24) Bulijjo, Yakuwa akangavvula ‘mu ngeri esaanira.’ (Yeremiya 46:28, NW) Kyokka abazadde abatatuukiridde ekyo kiyinza obutabanguyira. Naye kiba kirungi obutakangavvula baana mu ngeri ya bukambwe. Okukangavvula omwana mu ngeri esaanira kimuyamba okukula obulungi. (Engero 22:6) Ekyo buli muzadde Omukristaayo si kye yandyagadde?
20. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe ‘okweroboza obulamu’?
20 Abazadde bwe balabirira abaana baabwe mu by’omubiri, mu by’omwoyo, era ne bafaayo ku nneewulira zaabwe nga Yakuwa bw’abeetaagisa, kivaamu ebirungi bingi. Bwe mukola bwe mutyo muba muyambye abaana bammwe okukola ekintu ekisingayo obulungi, kwe kugamba, ‘okweroboza obulamu balyoke babeerenga abalamu.’ (Ekyamateeka 30:19) Abaana abalondawo okuweereza Yakuwa ne basigala ku kkubo ery’obulamu bwe bagenda bakula baleetera bazadde baabwe essanyu. (Zabbuli 127:3-5) Essanyu eryo liba lya lubeerera! Kati olwo, abaana bayinza batya okutendereza Yakuwa mu kiseera kino? Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nsonga eyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitundu kino, omuzadde agenda okwogerwako gwe mutwe gw’amaka. Naye emisingi gino gikwata ne ku bakyala Abakristaayo abatwala obukulembeze mu maka.
b Byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
Abazadde bayinza kukola ki okusobola okulabirira abaana baabwe
• mu by’omubiri?
• mu by’omwoyo?
• n’okufaayo ku nneewulira zaabwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Ebinyonyi bifuba okufunira abaana baabyo emmere
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Abazadde balina okusooka okufaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Abazadde basobola okukozesa akakisa konna ke bafuna okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Mutonzi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Abaana baddamu amaanyi abazadde bwe babasiima