Oyanirizibwa n’Essanyu
OYINZA okuba nga mu kitundu gy’obeera wali olabye Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa ne weebuuza kye bakoleramu. Obadde okimanyi nti buli muntu wa ddembe okugenda mu nkuŋŋaana zaabwe ezibaawo buli wiiki? Abagenyi baanirizibwa n’essanyu.
Kyokka oyinza okuba ng’olina ebibuuzo bye weebuuza. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa baba n’enkuŋŋaana? Biki ebibeera mu nkuŋŋaana ezo? Era abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa abagenda mu nkuŋŋaana ezo bazoogerako ki?
“Okuŋŋaanyanga Abantu”
Okuva edda n’edda, abantu babadde bakuŋŋaana okusinza Katonda n’okuyiga ebimukwatako. Emyaka nga 3,500 emabega, Abaisiraeri baalagirwa nti: “Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w’enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka gano okubikola.” (Ekyamateeka 31:12) N’olwekyo, mu Isiraeri, abato n’abakulu baayigirizibwanga okusinza Yakuwa Katonda n’okumugondera.
Nga wayise emyaka nga 1500, ekibiina Ekikristaayo kyatandikibwawo era enkuŋŋaana zaasigala nga nkulu nnyo mu kusinza okw’amazima. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Tulowoozaganenga f[f]ekka na f[f]ekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng’abalala bwe bayisa, naye nga [tuzziŋŋanamu amaanyi].” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ng’enkolagana y’ab’eŋŋanda bw’enywera nga bafunye ekiseera okubeerako awamu, n’omukwano mu Bakristaayo bwe gutyo bwe gunywera bwe bakuŋŋaana awamu okusinza Katonda.
Nga bagoberera ebyokulabirako ebyo eby’omu Byawandiikibwa, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka emirundi ebiri buli wiiki. Enkuŋŋaana ezo ziyamba abo ababaawo okutegeera emisingi gya Baibuli n’okulaba emiganyulo egiri mu kugikolerako. Buli ekisoboka kikolebwa okulaba nti ebiyigirizibwa biba bye bimu mu nsi yonna era buli lukuŋŋaana lulina ekigendererwa eky’enjawulo. Ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, abo ababa bazze ‘bazziŋŋanamu amaanyi’ nga banyumya ku bintu ebizimba. (Abaruumi 1:12, NW) Biki ebibeera mu nkuŋŋaana ezo?
Okwogera Okwesigamiziddwa ku Baibuli
Olukuŋŋaana abasinga lwe basooka nalwo lwe lw’okwogera okwesigamiziddwa ku Baibuli, nga lutera kubaawo ku wiikendi. Yesu Kristo yateranga okwogera eri abantu abakuŋŋaanye, nga bwe kyali mu Kwogera kwe okw’Oku Lusozi. (Matayo 5:1; 7:28, 29) Omutume Pawulo naye yayogera eri abantu b’omu Asene. (Ebikolwa 17:22-34) Nga bagoberera ebyokulabirako ebyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakola enteekateeka z’okwogera eri abantu aba buli ngeri, ng’abamu ku bo baba bazze omulundi gwabwe ogusooka.
Olukuŋŋaana olwo lutandika n’oluyimba oluva mu katabo akayitibwa Muyimbire Yakuwa Ennyimba Ezitendereza.a Bonna abasobola bayimirira ne bayimbira wamu oluyimba olwo. Oluvannyuma lw’essaala ennyimpimpi, omwogezi alina ebisaanyizo ayogera eri abantu okumala eddakiika 30. (Laba akasanduuko “Okwogera Okuganyula Abantu Bonna.”) By’ayogera biba byesigamiziddwa ku Baibuli. Emirundi mingi omwogezi asoma ebyawandiikibwa era asaba abawuliriza okugoberera mu Baibuli zaabwe. N’olwekyo, kiba kirungi okujja ne Baibuli yo, oba okusaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa n’agikufunira ng’olukuŋŋaana terunnatandika.
Okusoma Omunaala gw’Omukuumi
Mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisinga obungi, okwogera okwo bwe kuggwa, waddawo Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Olukuŋŋaana luno lukubiriza abo bonna abaliwo okukoppa ekyokulabirako ky’abantu b’e Beroya ab’omu kiseera kya Pawulo, ‘abakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, nga banoonya mu byawandiikibwa.’—Ebikolwa 17:11.
Okusoma Omunaala gw’Omukuumi kutandika n’oluyimba. Ebintu ebisomebwa era n’ebibuuzo oyo akubiriza okusoma okwo by’abuuza bisangibwa mu magazini erimu ebitundu eby’okusoma mu kibiina. Oyinza okusaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa okugikufunira. Egimu ku mitwe gy’ebitundu ebyasomebwa emabegako mwe muli: “Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala,” “Temuwalananga Muntu Kibi olw’Ekibi,” ne “Ensonga Lwaki Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma.” Wadde ng’olukuŋŋaana luno okusinga lubaamu kubuuza bibuuzo n’okubiddamu, abo abaddamu ebibuuzo ebyo batera okuba nga baasomye bulungi ekitundu ekyo ne bakifumiitirizaako, awamu n’ebyawandiikibwa ebikirimu. Olukuŋŋaana olwo lufundikirwa n’oluyimba n’essaala.—Matayo 26:30; Abaefeso 5:19.
Okusoma Baibuli okw’Ekibiina
Omulundi gumu buli wiiki, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana akawungeezi mu Kizimbe ky’Obwakabaka okumala essaawa 1 n’eddakiika 45, ne bafuna enkuŋŋaana ssatu. Okusoma Baibuli okw’Ekibiina kwe kusookawo, era kumala eddakiika 25. Olukuŋŋaana luno luyamba abo abaliwo okweyongera okutegeera Baibuli, okutereeza endowooza yaabwe, n’okukulaakulana ng’abayigirizwa ba Kristo. (2 Timoseewo 3:16, 17) Okufaananako olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, olukuŋŋaana luno lubaamu okubuuza ebibuuzo ebikwata ku Baibuli n’okubiddamu. Buli muntu wa ddembe okubaako ky’addamu. Ekimu ku bitabo ebinnyonnyola Baibuli ebyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa kye kikozesebwa.
Lwaki ebitabo ebyo bye bikozesebwa mu lukuŋŋaana luno? Mu biseera bya Baibuli, abantu tebaakomanga ku kusoma busomi Kigambo kya Katonda. ‘Baakiteekangamu amakulu, ne basobola okutegeera ebisomebwa.’ (Nekkemiya 8:8) Mu myaka egiyise, ebitabo ebinnyonnyola ekitabo kya Isaaya, ekya Danyeri, n’eky’Okubikkulirwa biyambye abo ababadde bajja mu lukuŋŋaana luno okutegeera obulungi ebiri mu bitabo bya Baibuli ebyo.
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda
Okusoma Baibuli okw’Ekibiina bwe kuggwa, waddawo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Olukuŋŋaana luno olw’eddakiika 30 luyamba Abakristaayo okulongoosa mu ngeri gye ‘bayigirizaamu.’ (2 Timoseewo 4:2) Ng’ekyokulabirako, omwana wo oba mukwano gwo yali akubuuzizza ekintu ekikwata ku Katonda oba ku Baibuli nga tomanyi kya kuddamu? Essomero ly’Omulimu gwa Katonda likuyigiriza okuddamu obulungi ebibuuzo ebizibu ng’okozesa Baibuli. Kati olwo oba osobola okwogera nga nnabbi Isaaya eyagamba nti: “Mukama Katonda ampadde olulimi lw’abo abayigirizibwa, ndyoke mmanye okugumya n’ebigambo oyo akooye.”—Isaaya 50:4.
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda litandika n’okwogera okwesigamiziddwa ku ssuula za Baibuli entonotono abo abaliwo ze balina okuba nga baasomye mu wiiki eba yayise. Okwogera okwo bwe kuggwa, omwogezi asaba abawuliriza ne boogera mu bufunze ku bintu eby’omuganyulo bye baasanze mu ssuula ezo. Ekyo bwe kiggwa, abayizi abali mu ssomero eryo ababa baaweebwa emboozi ez’okutegeka bavaayo ne baziwa.
Abayizi bagenda ku pulatifoomu ne basoma ekitundu okuva mu Baibuli, oba ne balaga engeri omuntu gy’ayinza okunnyonnyola omulala ekintu ng’akozesa Ebyawandiikibwa. Buli mboozi lw’eggwa, akubiriza essomero anokolayo ebyo omuntu agiwadde by’akoze obulungi nga yeesigama ku kitabo ekiyitibwa Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Ayinza okutuula n’omuyizi oyo ng’enkuŋŋaana ziwedde n’amulaga we yeetaaga okutereezaamu.
Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana luno kwe kuyamba abayizi n’abalala bonna ababaawo okweyongera okusoma, okwogera n’okuyigiriza obulungi. Essomero ly’Omulimu gwa Katonda bwe liggwa, Olukuŋŋaana lw’Obuweereza luggulwawo n’oluyimba olwesigamiziddwa ku Baibuli.
Olukuŋŋaana ly’Obuweereza
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lwe lusembayo. Okuyitira mu mboozi eziweebwa, ebyokulabirako, ebibuuzo abantu abamu bye babuuzibwa, era ne mu kukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza, abo abaliwo batendekebwa okuyigiriza obulungi Baibuli. Yesu bwe yali agenda okusindika abayigirizwa be okukola omulimu gw’okubuulira, yabakuŋŋaanya n’abalaga engeri gye baali ab’okugukolamu. (Lukka 10:1-16) Olw’okuba baatendekebwa bulungi, baagusangamu ebirungi bingi. Oluvannyuma, abagoberezi ba Yesu baakomawo gy’ali ne bamubuulira omulimu bwe gwali gugenze. (Lukka 10:17) Abayigirizwa baateranga okubuulira bannaabwe bye baabanga basanze mu buweereza.—Ebikolwa 4:23; 15:4.
Ebyogerwako mu lukuŋŋaana luno olw’eddakiika 35 bisangibwa mu katabo akafulumizibwa buli mwezi akayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Egimu ku mitwe egyayogerwako emabega mwe muli: “Okusinza Katonda ng’Amaka,” “Lwaki Tuddayo Enfunda n’Enfunda,” ne “Koppa Kristo mu Buweereza Bwo.” Olukuŋŋaana luno lufundikirwa n’oluyimba era wabaawo ow’oluganda asaba essaala eggalawo.
Abagenyi Bye Baayogera
Ab’omu kibiina bafuba okulaba nti buli omu afiibwako. Ng’ekyokulabirako, Andrew yali awulidde ebintu ebibi bingi ku Bajulirwa ba Yakuwa. Naye bwe yagenda mu lukuŋŋaana omulundi ogwasooka, yeewuunya engeri gye baamwanirizaamu. Agamba nti: “Nnawulira essanyu nga ŋŋenzeeyo era nneewuunya okwagala n’okufaayo bye bandaga.” Omuwala ayitibwa Ashel ow’omu Canada naye yagamba nti: “Olukuŋŋaana lwannyumira nnyo! Kyali kyangu okugoberera ebyali biyigirizibwa.”
José abeera mu Brazil yali amanyiddwa nti muntu wa ffujjo. Wadde kyali kityo, yayitibwa okujja mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Agamba nti: “Abantu be nnasanga mu Kizimbe ky’Obwakabaka baali bamanyi bulungi enneeyisa yange, naye bannyaniriza n’essanyu.” Atsushi abeera mu Japan agamba nti: “Lwe nnasooka okugenda mu lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa, nnawulira nga sibajaamu bulungi. Naye oluvannyuma nnakiraba nti bantu ba bulijjo. Baafuba nnyo okulaba nti sibaamu kutya kwonna.”
Oyanirizibwa
Nga bwe tulabye mu byokulabirako ebyo waggulu, okugenda mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okukuganyula. Ojja kuyiga ebikwata ku Katonda, era okuyitira mu biyigirizibwa okuva mu Baibuli, Yakuwa Katonda ajja kukuyigiriza engeri gy’osobola ‘okuganyulwa.’—Isaaya 48:17.
Okuyingira mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa kwa bwereere, era tewaba kusolooza ssente. Wandyagadde okugenda mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu gy’obeera? Oyanirizibwa n’essanyu.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebitabo byonna ebyogerwako mu kitundu kino byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko akali lupapula 30]
Okwogera Okuganyula Abantu Bonna
Okwogera eri abantu kwesigamizibwa ku mitwe egy’enjawulo egisukka mu 170, ng’egimu ku gyo gye gino:
◼ Ky’Okkiriza ku Bikwata ku Nsibuko y’Abantu Kikulu?
◼ Endowooza ya Katonda ku Bikwata ku Kwetaba n’Obufumbo
◼ Katonda Ajja Kubonereza Abantu Aboonoona Ensi
◼ Okwaŋŋanga Ebyeraliikiriza mu Bulamu
◼ Buno bwe Bulamu Bwokka Obuliyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Okwogera Okwesigamiziddwa ku Baibuli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Okusoma “Omunaala gw’Omukuumi”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Okusoma Baibuli okw’Ekibiina
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza