Ibulayimu Kyakulabirako eky’Okukkiriza
‘Ibulayimu yali jjajja wa bonna abakkiriza.’—ABARUUMI 4:11.
1, 2. (a) Ibulayimu ajjukirwa atya mu Bakristaayo leero? (b) Lwaki Ibulayimu ayitibwa ‘jjajja wa bonna abalina okukkiriza’?
YALI jjajja w’eggwanga ery’amaanyi, nnabbi, omusuubuzi era omukulembeze. Kyokka, leero mu Bakristaayo asinga kumanyibwa olw’engeri eyaviirako Yakuwa Katonda okumuyita mukwano gwe. Engeri eyo, kwe kukkiriza kwe okunywevu. (Isaaya 41:8; Yakobo 2:23) Ayogerwako ye Ibulayimu, era Baibuli emuyita ‘jjajja wa bonna abakkiriza.’—Abaruumi 4:11.
2 Abasajja abaasookawo Ibulayimu, gamba nga Abeeri, Enoka, ne Nuuwa, tebaalina kukkiriza? Baakulina. Naye endagaano omwandiyitiddwa okuwa abantu bonna ku nsi omukisa yakolebwa ne Ibulayimu. (Olubereberye 22:18) Bwe kityo, yafuuka taata ow’akabonero ow’abo bonna abandikkirizza Ezzadde eryasuubizibwa. (Abaggalatiya 3:8, 9) Mu ngeri emu, Ibulayimu ayinza okutwalibwa nga Kitaffe kubanga okukkiriza kwe kyakulabirako ekiggwanidde okukoppebwa. Obulamu bwe bwonna bwayoleka okukkiriza kubanga bwalimu okugezesebwa kungi. Mazima ddala, ebbanga ddene nga Ibulayimu tannayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi ennyo eri okukkiriza kwe, ekiragiro eky’okuwaayo omwana we Isaaka, Ibulayimu yalaga okukkiriza mu kugezesebwa okulala kungi okutenkana okwo. (Olubereberye 22:1, 2) Kati ka twekenneenye okumu ku kugezesebwa okwo eri okukkiriza kwe mu biseera eby’edda era tulabe kye tuyinza okukuyigirako leero.
Ekiragiro ky’Okuva mu Uli
3. Baibuli etutegeeza ki ku Ibulaamu?
3 Baibuli esooka okwogera ku Ibulaamu (oluvannyuma eyamanyibwa nga Ibulayimu) mu Olubereberye 11:26, olugamba: “Teera n’amala emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalani.” Ibulaamu yali muzzukulu wa Seemu eyatyanga Katonda. (Olubereberye 11:10-24) Okusinziira ku Olubereberye 11:31, Ibulaamu yabeeranga wamu n’ab’omu maka ge mu kibuga ‘Uli eky’Abakaludaaya,’ ekibuga ekigagga ekyalinga ebuvanjuba w’Omugga Fulaati.a Bwe kityo, Ibulayimu teyakulira mu nsisira ng’ava mu kifo ekimu okudda mu kirala, wabula yakulira mu kibuga ekyalimu eby’obugagga ebingi. Ebyamaguzi okuva mu mawanga amalala byali biyinza okugulibwa mu butale bw’omu Uli. Amayumba amanene gaali ku nguudo zaakyo.
4. (a) Uli kyaleetawo kitya obuzibu eri abasinza ba Katonda ab’amazima? (b) Ibulaamu yatuuka atya okukkiririza mu Yakuwa?
4 Ng’oggyeko eby’obugagga ebyakirimu, Uli kyali kireetera obuzibu yenna eyali ayagala okuweereza Katonda ow’amazima. Kyali kibuga ekijjudde okusinza ebifaananyi era ng‘abakirimu balina endowooza enkyamu. Era kyalimu omunaala omuwanvu ogugulumiza katonda w’omwezi ayitibwa Nanna. Tewali kubuusabuusa nti Ibulaamu yali apikirizibwa okwenyigira mu kusinza okwo okw’ekivve, oboolyawo ng’awalirizibwa n’ab’eŋŋanda ze. Kyali kikkirizibwa mu Bayudaaya nti, Teera kennyini, kitaawe wa Ibulaamu, yali mukozi wa bifaananyi ebyole. (Yoswa 24:2, 14, 15) Ka kibe nga kyali kituufu, Ibulaamu teyeenyigiranga mu kusinza okwo okw’obulimba. Jjajjaawe, Seemu, yali akyali mulamu era awatali kubuusabuusa yamubuulira ebikwata ku Katonda ow’amazima. N’ekyavaamu, Ibulaamu yakkiririza mu Yakuwa so si mu Nanna!—Abaggalatiya 3:6.
Ekigezo eky’Okukkiriza
5. Ekiragiro n’ekisuubizo Katonda bye yawa Ibulaamu ng’akyali mu Uli bye biruwa?
5 Okukkiriza kwa Ibulaamu kwali kwa kugezesebwa. Katonda yamulabikira n’amulagira: “Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: nange [n]naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga [n]naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.”—Olubereberye 12:1-3; Ebikolwa 7:2, 3.
6. Lwaki kyali kyetaagisa Ibulaamu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuva mu Uli?
6 Ibulaamu yali akaddiye era nga talina mwana. Yandifuuliddwa atya “eggwanga eddene”? Era ensi gye yalagirwa okugenda yali ludda wa? Katonda teyamutegeerezaawo mu kiseera ekyo. N’olwekyo, kyali kyetaagisa Ibulaamu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuva mu Uli ekibuga ekyalimu eby’obugagga n’eby’okwejalabya. Ekitabo, Family, Love and the Bible (Amaka, Okwagala ne Baibuli) kyogera kiti ku biseera eby’edda: “Ekibonerezo ekyali kisingirayo ddala obubi ekyandiweereddwa omu ku b’omu maka eyazza omusango ogw’amaanyi kyali okumugoba mu maka. . . . Eyo ye nsonga lwaki Ibulayimu yayoleka obuwulize n’okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda bwe yava mu nsi ye era n’aleka ab’eŋŋanda ze.”
7. Leero Abakristaayo bayinza batya okwolekagana n’okugezesebwa ng’okwa Ibulaamu?
7 Leero, Abakristaayo bayinza okwolekagana n’okugezesebwa ng’okwo. Okufaananako Ibulaamu, tuyinza okupikirizibwa okukulembeza eby’obugagga mu kifo ky’ebintu ebikwata ku kusinza okw’amazima. (1 Yokaana 2:16) Tuyinza okuziyizibwa ab’omu maka gaffe abatakkiriza, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda abaagobebwa mu mazima, abayinza okugezaako okutusendasenda tufune emikwano emibi. (Matayo 10:34-36; 1 Abakkolinso 5:11-13; 15:33) Mu ngeri eyo, Ibulaamu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Omukwano gwe ne Yakuwa kye kintu ekyali kisinga obukulu, okusinga n’ab’eŋŋanda ze. Yali tamanyidde ddala kiseera, mu ngeri ki, oba wa ebisuubizo bya Katonda gye byandituukiriziddwa. Wadde kyali kityo, yali mwetegefu okwesiga ebisuubizo ebyo. Nga kyakulabirako kirungi eky’okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe leero!—Matayo 6:33.
8. Okukkiriza kwa Ibulaamu kwakola ki ku b’eŋŋanda ze ab’oku lusegere, era Abakristaayo bayinza kuyigira ki ku kino?
8 Kyali kitya eri ab’omu maka ga Ibulaamu ab’oku lusegere? Kirabika okukkiriza kwa Ibulaamu n’obwesigwa birina kinene nnyo kye byabakolako, kubanga mukyala we Saala, ne Lutti omwana wa muganda we, baagondera ekiragiro kya Katonda ne bava mu Uli. Muganda wa Ibulaamu, Nakoli, n’abamu ku baana be oluvannyuma baava mu Uli ne basenga e Kalani, gye basinziza Yakuwa. (Olubereberye 24:1-4, 10, 31; 27:43; 29:4, 5) Ne Teera, taata wa Ibulaamu, yakkiriza okugenda ne mutabani we! Bwe kityo, Baibuli egamba nti Teera, ng’omutwe gw’amaka, ye yawoma omutwe mu nteekateeka y’okugenda e Kanani. (Olubereberye 11:31) Naffe tuyinza okutuuka ku buwanguzi singa tubuulira ab’eŋŋanda zaffe mu ngeri ey’amagezi?
9. Ibulaamu yakola nteekateeka ki ez’olugendo lwe, era lwaki kyazingiramu okwefiiriza?
9 Nga tannatindigga lugendo, Ibulaamu yalina eby’okukola bingi. Yalina okutunda ebintu bye asobole okugula weema, eŋŋamira, emmere, n’ebintu ebirala ebyetaagibwa. Ibulaamu ayinza okuba yafiirwa ssente olw’okukola enteekateeka ezo ez’amangu, naye yali musanyufu okugondera Yakuwa. Nga luteekwa okuba nga lwali lunaku lukulu lwe yamaliriza enteekateeka ezo era nga ye ne banne bali ebweru wa bbugwe wa Uli, nga beetegefu okutindigga olugendo! Nga bagoberera Omugga Fulaati, ekibinja kye kyayolekera bukiika kkono w’ebugwanjuba. Oluvannyuma lw’okutambulira wiiki eziwera, obuwanvu bwa mayiro nga 600, baatuuka mu kibuga ekyali mu bukiika kkono bwa Mesopotamiya, ekiyitibwa Kalani, ekifo ekikulu awaayimiriranga ebibinja by’abatambuze.
10, 11. (a) Lwaki Ibulaamu yasigala mu Kalani okumala ekiseera? (b) Abakristaayo abalabirira bazadde baabwe abakaddiye bayinza kuzzibwamu batya amaanyi?
10 Ibulaamu yasenga mu Kalani, oboolyawo olw’embeera ya kitaawe Teera, eyali akaddiye. (Eby’Abaleevi 19:32) Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo bangi balina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira bazadde baabwe nga bakaddiye oba nga balwadde, abamu nga kibeetaagisa n’okukola enkyukakyuka okubutuukiriza. Ekyo bwe kiba nga kyetaagisa, abalinga abo baba bakakafu nti kye bakola “kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.”—1 Timoseewo 5:4.
11 Ebiseera byagenda biyitawo. “N’ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Teera n’afiira mu Kalani.” Mazima ddala, Ibulaamu yanakuwala nnyo olw’okufiirwa okwo. Naye, ekiseera eky’okukungubaga bwe kyaggwaako, amangu ago n’agenda. “Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani. Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n’ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza, n’abantu be baafunira mu Kalani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.”—Olubereberye 11:32; 12:4, 5.
12. Ibulaamu yakola ki bwe yali mu Kalani?
12 Kirungi okumanya nti nga bali mu Kalani, Ibulaamu ‘yakuŋŋaanya ebintu.’ Wadde nga yeefiiriza ebintu okusobola okuva mu Uli, Ibulaamu yava mu Kalani nga musajja mugagga. Kya lwatu, kyali kityo olw’okufuna emikisa gya Katonda. (Omubuulizi 5:19) Wadde nga leero Katonda tasuubiza bantu be kufuna bugagga, atuukiriza ekisuubizo kye eky’okukola ku byetaago by’abo ‘abaleka amaka, baganda baabwe, oba bannyinaabwe’ olw’Obwakabaka. (Makko 10:29, 30) Ibulaamu era ‘yafuna abantu,’ kwe kugamba nti yafuna abaddu bangi. Enzivuunula y’Olulamayiki egamba nti Ibulaamu ‘yabuuliranga abalala enzikiriza ze.’ (Olubereberye 18:19) Okukkiriza kwo kukukubiriza okwogera ne baliraanwa bo, b’okola nabo, oba b’osoma nabo? Mu kifo ky’okukkalira ne yeerabira ekiragiro kya Katonda, Ibulaamu yakozesa ebiseera bye mu Kalani mu ngeri ey’omuganyulo. Naye kati ekiseera kye eky’okubeera mu Kalani kyali kiweddeko. “Bw’atyo Ibulaamu n’agenda, nga Mukama bwe yamugamba.”—Olubereberye 12:4.
Emitala wa Fulaati
13. Ibulaamu yasomoka ddi Omugga Fulaati, era ekikolwa ekyo kyalina makulu ki?
13 Nate Ibulaamu kyali kimwetaagisa okuddamu okutambula. Bwe yava e Kalani, ekibinja kye kyayolekera ebugwanjuba, olugendo lwa mayiro 55. Kiyinzika okuba nti Ibulaamu yayimirirako mu kifo ekimu ku mugga Fulaati ekyesudde ekifo ky’obusuubuzi ekiyitibwa Kalukemisi. Kino kyali kifo kikulu ebibinja by’abantu abatambula we baasomokeranga.b Ibulaamu ne banne baasomoka ddi omugga? Baibuli eraga nti kyaliwo emyaka 430 ng’Abayudaaya tebannava mu Misiri ku Nisaani 14, 1513 B.C.E. Okuva 12:41 lugamba: ‘Awo olwatuuka emyaka ebikumi bina mu asatu nga giyise, ku lunaku luno lwennyini eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri.’ Kirabika, endagaano ya Ibulayimu yatandika okukola ku Nisani 14, 1943, B.C.E., Ibulaamu bwe yasomoka omugga Fulaati.
14. (a) Kiki Ibulaamu kye yali asobola okulaba n’amaaso ge ag’okukkiriza? (b) Abantu ba Katonda leero basinga ki Ibulaamu?
14 Ibulaamu yaleka ekibuga ekigagga. Kyokka, kati yali asobola okulaba ‘ekibuga ekirina omusingi omunywevu,’ gavumenti ey’obutuukirivu ey’okufuga abantu. (Abaebbulaniya 11:10) Wadde yali amanyi ebintu bitono, Ibulaamu yatandika okutegeera ekigendererwa kya Katonda eky’okununula abantu. Leero, tumanyi bingi nnyo ebikwata ku kigendererwa kya Katonda okusinga Ibulaamu. (Engero 4:18) ‘Ekibuga,’ oba gavumenti y’Obwakabaka Ibulaamu gye yali asuubira, kati weeri ddala; yateekebwawo mu ggulu okuva mu 1914. Ekyo tekyandituleetedde okukkiriza n’okussa obwesige mu Yakuwa?
Batandika Okubeera mu Nsi Ensuubize ng’Abagenyi
15, 16. (a) Lwaki kyali kyetaagisa obuvumu Ibulaamu okusobola okuzimbira Yakuwa ekyoto? (b) Leero Abakristaayo bayinza batya okwoleka obuvumu nga Ibulaamu?
15 Olubereberye 12:5, 6 zitugamba: “Ne bayingira mu nsi ya Kanani. Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole.” Sekemu yali mayiro 30 ebukiika kkono wa Yerusaalemi, era yali mu kiwonvu ekigimu ekyayogerwako nga ‘olusuku lwa Katonda mu nsi entukuvu.’ Wadde kyali kityo, “Omukanani yali mu nsi mu biro ebyo.” Okuva Abakanani bwe baali abagwenyufu mu mpisa, Ibulaamu yalina okubaako ky’akolawo okukuuma amaka ge okuva ku mpisa zaabwe embi.—Okuva 34:11-16.
16 Omulundi ogw’okubiri, ‘Yakuwa yalabikira Ibulaamu n’amugamba: Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno.’ Nga kyali kisanyusa nnyo! Kya lwatu, kyali kyetaagisa okukkiriza ku ludda lwa Ibulaamu okusobola okusanyukira ekintu ye ky’atandifunye wabula ezzadde lye. Wadde kyali kityo, Ibulaamu ‘yazimbira Yakuwa eyali amulabikidde ekyoto.’ (Olubereberye 12:7) Omwekenneenya omu owa Baibuli agamba: “Okuzimba ekyoto mu nsi kyali kikolwa ekyalaga nti ettaka eryo lifuuse liryo olw’okuzimbako ekyoto ekyoleka enzikiriza yo.” Era, okuzimba ekyoto ng’ekyo, kyali kikolwa kya buvumu. Awatali kubuusabuusa ekika ky’ekyoto kino kiringa ekyo ekyayogerwako mu ndagaano y’Amateeka, ng’ekyakolebwa mu mayinja. (Okuva 20:24, 25) N’olwekyo, kyandibadde kya njawulo nnyo mu ndabika okuva ku ebyo ebyakolebwanga Abakanani. Bwe kityo, olw’ekikolwa ekyo mu lujjudde, Ibulaamu yayoleka obuvumu ng’omusinza wa Yakuwa, Katonda ow’amazima, era mu ngeri eyo n’ateeka obulamu bwe mu kabi. Kiri kitya gye tuli leero? Abamu ku ffe, naddala abato, tulonzalonza okumanyisa baliraanwa ne be tusoma nabo nti tusinza Yakuwa? Ekyokulabirako kya Ibulaamu eky’obuvumu ka kitukubirize ffenna okwenyumiririza mu kubeera abaweereza ba Yakuwa!
17. Ibulaamu yeeraga atya okuba omubuulizi w’erinnya lya Katonda, era ekyo kijjukiza ki Abakristaayo leero?
17 Buli Ibulaamu gye yagendanga, yakulembezanga okusinza kwa Yakuwa. “N’avaayo n’agenda awali olusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Beseri, n’asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw’ebuvanjuba: n’azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n’akaabira erinnya lya Mukama.” (Olubereberye 12:8) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusiddwa “n’akaabira erinnya lya Mukama” era kitegeeza “okulangirira (okubuulira) erinnya.” Awatali kubuusabuusa Ibulaamu yalangirira erinnya lya Yakuwa eri baliraanwa be Abakanani. (Olubereberye 14:22-24) Kino kitujjukiza obuvunaanyizibwa bwe tulina okwenyigira mu ‘kulangirira erinnya lya Yakuwa mu lujjudde’ leero.—Abaebbulaniya 13:15; Abaruumi 10:10.
18. Nkolagana ki Ibulaamu gye yalina n’abatuuze b’omu Kanani?
18 Ibulaamu teyamalanga bbanga ggwanvu mu bifo ebyo. ‘Oluvannyuma Ibulaamu n’atambula, ng’ayolekera Negebu,’ ekifo ekikalu ekyali ebukiika ddyo w’ensozi z’omu Yuda. (Olubereberye 12:9, NW) Nga yeeyongera okutambula era n’okukiraga nti musinza wa Yakuwa mu buli kifo ekippya gye yagendanga, Ibulaamu n’ab’omu nnyumba ye ‘baalangiriranga mu lujjudde nti bagenyi era abatuuze ab’ekiseera obuseera mu nsi.’ (Abaebbulaniya 11:13, NW) Buli kiseera beewalanga okukola omukwano ogw’oku lusegere ne baliraanwa abakaafiiri. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo leero bateekwa ‘obutaba kitundu kya nsi.’ (Yokaana 17:16) Wadde nga tuba ba kisa era nga tufaayo ku baliraanwa ne be tukola nabo, twegendereza obuteenyigira mu mpisa ezooleka omwoyo gw’ensi eyeeyawudde ku Katonda.—Abaefeso 2:2, 3.
19. (a) Lwaki obulamu obw’okutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala bwandizibuwalidde Ibulaamu ne Salaayi? (b) Ibulaamu yali ayolekedde mbeera ki endala mu biseera eby’omu maaso?
19 Tukijjukire nti obulamu obw’okutambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala tebwayanguyira Ibulaamu wadde Salaayi. Baalyanga ku bisibo byabwe mu kifo ky’emmere eyandiguliddwa mu butale bw’omu Uli; baasulanga mu weema mu kifo ky’amayumba amazimbe obulungi. (Abaebbulaniya 11:9) Ibulaamu yalina eby’okukola bingi mu bulamu bwe, ng’okulabirira ebisibo bye n’abaddu. Awatali kubuusabuusa, Salaayi yakolanga emirimu egyakolebwanga abakyala ng’okukanda eŋŋaano, okufumba emigaati, okuluka, n’okutunga engoye. (Olubereberye 18:6, 7; 2 Bassekabaka 23:7; Engero 31:19; Ezeekyeri 13:18) Wadde kyali kityo, waaliwo okugezesebwa okwali kujja mu biseera eby’omu maaso. Mangu ddala, Ibulaamu n’ab’omu maka ge bandyolekaganye n’embeera eyanditadde obulamu bwabwe mu kabi! Ibulaamu yandibadde n’okukkiriza okunywevu okwandimusobozesezza okwolekagana n’embeera eyo?
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde nga kati Omugga Fulaati gukulukutira mayiro kkumi ebuvanjuba w’ekifo ekibuga Uli we kyali, obujulizi bulaga nti mu biseera eby’edda omugga gwakulukutiranga bugwanjuba w’ekibuga. N’olwekyo, Ibulaamu yali ayinza okwogerwako ng’oyo ava “emitala w’Omugga [Fulaati].”—Yoswa 24:3.
b Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Kabaka wa Bwasuuli ayitibwa Ashurnasirpal II yakozesa ebibaya okusomoka Omugga Fulaati okumpi ne Kalukemisi. Ka kibe nga Ibulaamu naye bw’atyo bwe yakola oba nga ye n’ekibinja kye baasomokera ku bigere, Baibuli ekyo tekitutegeeza.
Weetegerezza?
• Lwaki Ibulaamu ayitibwa ‘jjajja wa bonna abalina okukkiriza’?
• Lwaki kyali kyetaagisa okukkiriza Ibulaamu okusobola okuva mu Uli eky’Abakaludaaya?
• Ibulaamu yalaga atya nti akulembeza okusinza kwa Yakuwa?
[Mmappu eri ku lupapula 8]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
OLUGENDO LWA IBULAAMU
Uli
Kalani
Kalukemisi
KANANI
Ennyanja Eya Wakati
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Based on a map copyrighted by Pictorial Archive (Near Eastern History) Est. and Survey of Israel
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Kyali kyetaagisa okukkiriza Ibulaamu okusobola okuleka obulamu obulungi obwali mu Uli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Nga babeera mu weema, Ibulaamu n’ab’omu maka ge ‘baalangirira mu lujjudde nti baali bagenyi era abatuuze ab’akaseera obuseera mu nsi’