Olaba “Oyo Atalabika”?
“Yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.”—BEB. 11:27.
1, 2. (a) Lwaki obulamu bwa Musa bwalabika ng’obwali mu kabi? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki Musa teyatya busungu bwa kabaka?
FALAAWO yali mufuzi wa maanyi era Abamisiri baali bamutwala nga katonda waabwe. Ekitabo ekiyitibwa When Egypt Ruled the East kigamba nti eri Abamisiri, Falaawo “yali asukkulumye ku bitonde byonna ebiri ku nsi mu magezi ne mu buyinza.” Okusobola okutiisatiisa abantu be yali afuga, Falaawo yayambalanga engule eriko ekifaananyi eky’enswera eyeetegese okubojja. Ekyo kyajjukizanga abantu nti abalabe be bandibadde bamalibwawo mangu. Lowooza ku ngeri Musa gye yawuliramu nga Yakuwa amugambye nti: “N[n]aakutuma eri Falaawo, obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.”—Kuv. 3:10.
2 Musa yagenda e Misiri n’alangirira obubaka Katonda bwe yali amuwadde, era ekyo kyanyiiza nnyo Falaawo. Oluvannyuma lwa Yakuwa okuleeta ekibonyoobonyo eky’omwenda ku Misiri, Falaawo yagamba Musa nti: “Weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw’olirabiramu amaaso gange, olifa.” (Kuv. 10:28) Musa bwe yali tannava mu maaso ga Falaawo, yamugamba nti mutabani we omubereberye yali wa kufa. (Kuv. 11:4-8) Oluvannyuma, Musa yagamba Abaisiraeri okutta embuzi oba endiga ennume, era bamansire omusaayi gwayo ku myango gy’enzigi z’amayumba gaabwe. Kijjukire nti endiga ennume yali etwalibwa ng’ekintu ekitukuvu eri katonda w’Abamisiri eyitibwa Ra. (Kuv. 12:5-7) Kiki Falaawo kye yandikoze? Musa teyatya ekyo Falaawo kye yandikoze. Lwaki? Kubanga olw’okukkiriza Musa yagondera Yakuwa, “nga tatya busungu bwa kabaka kubanga yeeyongera okuba omunywevu ng’alinga alaba Oyo atalabika.”—Soma Abebbulaniya 11:27, 28.
3. Bibuuzo ki ebikwata ku kukkiriza Musa kwe yalina mu “Oyo atalabika” bye tugenda okwekenneenya?
3 Olina okukkiriza okw’amaanyi ne kiba nti olinga ‘alaba Katonda’? (Mat. 5:8) Okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe tusobole okulaba “Oyo atalabika,” ka twetegereze ekyokulabirako Musa kye yateekawo. Okukkiriza Musa kwe yalina mu Yakuwa kwamuyamba kutya obutatya bantu? Musa yakiraga atya nti yali akkiririza mu bisuubizo bya Katonda? Era okulaba “Oyo atalabika,” kyayamba kitya Musa awamu n’Abaisiraeri abalala nga bali mu mbeera enzibu?
TEYATYA “BUSUNGU BWA KABAKA”
4. Musa bwe yagenda mu maaso ga Falaawo, kiki abamu kye bayinza okuba nga baali balowooza?
4 Abantu abamu bayinza okuba nga baali balowooza nti Musa yali munafu nnyo bw’omugeraageranya ku Falaawo. Obulamu bwa Musa bwali bulabika ng’obuli mu mikono gya Falaawo. Musa kennyini yabuuza Yakuwa nti: “Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri?” (Kuv. 3:11) Emyaka nga 40 emabega, Musa yali yadduka okuva e Misiri n’agenda okubeera mu kitundu ekirala. Ayinza okuba nga yali yeebuuza, ‘Ddala kya magezi okuddayo e Misiri ndabike mu maaso ga kabaka?’
5, 6. Kiki ekyayamba Musa okutya Yakuwa, mu kifo ky’okutya Falaawo?
5 Musa bwe yali tannaddayo Misiri, waliwo ekintu ekikulu Katonda kye yamuyigiriza era ekintu ekyo Musa yakiwandiikako mu kitabo kya Yobu. Yagamba nti: ‘Okutya Yakuwa ge magezi.’ (Yob. 28:28) Okusobola okuyamba Musa okumutya, Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yalaga enjawulo eri wakati we n’abantu. Yagamba nti: “Ani eyakola akamwa k’omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w’amatu oba atunula oba muzibe w’amaaso? Si nze Mukama?”—Kuv. 4:11.
6 Ekyo kyayamba kitya Musa? Musa yakiraba nti yali tasaanidde kutya Falaawo. Yakuwa ye yali amutumye era yali asobola okumuwa byonna ebyetaagisa okusobola okutuusa obubaka bwe eri Falaawo. Ate era Falaawo yali munafu nnyo bw’omugeraageranya ku Yakuwa. Okuva bwe kiri nti guno si gwe mulundi ogwali gusoose abantu ba Katonda okuba mu kabi mu Misiri, oboolyawo Musa yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yali amukuumyemu n’engeri gye yali akuumyemu Ibulayimu ne Yusufu mu bufuzi bwa bakabaka ba Misiri abaasooka. (Lub. 12:17-19; 41:14, 39-41; Kuv. 1:22–2:10) Olw’okuba Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa, “Oyo atalabika,” yayoleka obuvumu n’agenda eri Falaawo era n’amubuulira buli kimu Yakuwa kye yali amulagidde okwogera.
7. Okukkiriza kwayamba kutya mwannyinaffe omu?
7 Okukkiriza kwayamba ne mwannyinaffe ayitibwa Ella obutekkiriranya olw’okutya abantu. Mu 1949, ab’ekitongole ekikessi ekya KGB baamukwata ne bamutwala okumusoya ebibuuzo. Baamwambula era abapoliisi abavubuka ne bamutunuulira nga bwe bamusekerera. Agamba nti: “Nnawulira nga nswadde nnyo. Naye oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa, nnafuna emirembe mu mutima.” Ella yateekebwa mu kaduukulu yekka okumala ennaku ssatu. Agattako nti: “Abapoliisi baŋŋamba nti: ‘Tugenda kukakasa nti erinnya Yakuwa teriddamu kwogerwako mu Estonia! Tugenda kukutwala mu nkambi y’abasibe!’ Bansekerera nga bwe bagamba nti, ‘Yakuwa wo ali ludda wa?’” Kiki mwannyinaffe Ella kye yandikoze, yanditidde abantu oba yandisigadde nga yeesiga Yakuwa? Bwe baali bamusoya ebibuuzo, yayoleka obuvumu n’abagamba nti: “Ensonga eno mmaze ebbanga nga ngifumiitirizaako, era ndi mumalirivu okubeera mu kkomera nga nnina enkolagana ennungi ne Katonda mu kifo ky’okubeera nga nneetaaya naye nga sisiimibwa mu maaso ge.” Ella yali ng’alaba “Oyo atalabika.” Olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi, yasobola okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa.
8, 9. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba obutatya bantu? (b) Bwe weesanga ng’otandise okutya abantu, ebirowoozo byo osaanidde kubissa ku ki?
8 Okukkiriza kw’olina mu Yakuwa kusobola okukuyamba obutatya bantu. Singa ab’obuyinza bagezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa, kiyinza okulabika nga gy’obeera obulamu bwo buli mu mikono gyabwe. Oyinza n’okutandika okwebuuza obanga kya magezi okweyongera okuweereza Yakuwa. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kijjukirenga nti okwesiga Yakuwa kye kisobola okukuyamba obutatya bantu. (Soma Engero 29:25.) Yakuwa agamba nti: ‘Lwaki otya omuntu obuntu alifa n’aggwaawo ng’omuddo?’—Is. 51:12, 13, NW.
9 Ebirowoozo byo bisse ku Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Alaba abo bonna ababonyaabonyezebwa ab’obuyinza ababi era abafaako nnyo. (Kuv. 3:7-10) Ne bwe kiba nti kikwetaagisa okuwozesebwa mu maaso g’ab’obuyinza, ‘teweeraliikiriranga by’olyogera n’engeri gy’olibyogeramu, kubanga mu kiseera ekyo oliweebwa eby’okwogera.’ (Mat. 10:18-20) Ab’obuyinza banafu nnyo bw’obageraageranya ku Yakuwa. Bw’ofuba okunyweza okukkiriza kwo, Yakuwa ajja kuba wa ddala gy’oli era ojja kukiraba nti mwetegefu okukuyamba.
YAKKIRIRIZA MU BISUUBIZO BYA KATONDA
10. (a) Kiragiro ki Yakuwa kye yawa Abaisiraeri mu mwezi gwa Nisaani 1513 E.E.T.? (b) Lwaki Musa yagondera Katonda?
10 Mu mwezi gwa Nisaani mu mwaka gwa 1513 E.E.T., Yakuwa yalagira Musa ne Alooni okugamba Abaisiraeri okukola ekintu kye baali batakolangako. Yabagamba okufuna endiga ennume oba embuzi, bagisale, era bamansire omusaayi gwayo ku myango gy’enzigi z’amayumba gaabwe. (Kuv. 12:3-7) Kiki Musa kye yakola? Omutume Pawulo yagamba nti: “Olw’okukkiriza, [Musa] yakwata okuyitako era n’amansira omusaayi ku myango, omuzikiriza aleme kukwata ku baana baabwe ababereberye.” (Beb. 11:28) Musa yali akimanyi nti Yakuwa mwesigwa, era yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okutta abaana ababereberye bonna ab’omu Misiri.
11. Lwaki Musa yalagira Abaisiraeri okukolera ku kiragiro kya Yakuwa?
11 Kirabika mu kiseera ekyo abaana ba Musa baali mu Midiyaani era ‘ng’omuzikiriza’ yali tagenda kutuukayo.a (Kuv. 18:1-6) Wadde kyali kityo, olw’okuba Musa yali ayagala nnyo bantu banne, yalagira Abaisiraeri okukolera ku kiragiro kya Yakuwa abaana baabwe baleme kuttibwa. Bayibuli egamba nti: ‘Musa yayita abakadde bonna aba Isiraeri, n’abagamba nti Mutte okuyitako.’—Kuv. 12:21.
12. Bubaka ki obukulu Yakuwa bw’ayagala tulangirire?
12 Leero, bamalayika bayamba abantu ba Yakuwa nga balangirira obubaka buno obukulu: “Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango, musinze Oyo eyakola eggulu, n’ensi, n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.” (Kub. 14:7) Mu butuufu, kino kye kiseera eky’okulangirira obubaka obwo. Tulina okulabula abantu bave mu madiini ag’obulimba baleme ‘okugabana ku bibonyoobonyo byago.’ (Kub. 18:4) ‘Ab’endiga endala’ bakolera wamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta nga beegayirira abantu ‘okutabagana’ ne Katonda.—Yok. 10:16; 2 Kol. 5:20.
13. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu?
13 Tuli bakakafu nti ‘ekiseera eky’okusala omusango kituuse.’ Era tukimanyi nti omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa gulina okukolebwa mu bwangu nga Yakuwa bw’agamba. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba “bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi era nga bazinywezezza.” (Kub. 7:1) Okukkiriza kw’olina kukuyamba okulaba bamalayika abo abakutte empewo ez’okuzikiriza ez’ekibonyoobonyo ekinene? Bwe kiba kityo, ojja kusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu.
14. Kiki ekitukubiriza ‘okulabula ababi okuleka amakubo gaabwe amabi’?
14 Abakristaayo ab’amazima tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa era tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti tulina ‘okulabula ababi baleke amakubo gaabwe amabi basobole okuwonya obulamu bwabwe.’ (Soma Ezeekyeri 3:17-19.) Kya lwatu nti okwewala okuvunaanyizibwa omusaayi gw’abantu si ye nsonga yokka etuleetera okubuulira. Tubuulira olw’okuba twagala nnyo Yakuwa ne bantu bannaffe. Mu lugero lw’Omusamaliya omulungi, Yesu yalaga kye kitegeeza okwoleka okwagala n’obusaasizi. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nninga Omusamaliya omulungi oba nninga kabona n’Omuleevi? Buli kiseera mba mwetegefu okubuulira oba nneekwasa obusongasonga ne sibuulira?’ (Luk. 10:25-37) Bwe tuba nga tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda era nga twagala bantu bannaffe, tujja kufuba okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu ng’ekiseera tekinnaggwaayo.
“BAAYITA MU NNYANJA EMMYUFU”
15. Lwaki Abaisiraeri baali balaba ng’obulamu bwabwe obwali mu kabi?
15 Okukkiriza Musa kwe yalina mu “Oyo atalabika” kwamuyamba mu kiseera ekizibu Abaisiraeri kye baalimu nga baakava e Misiri. Bayibuli egamba nti: “Abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera ennyuma waabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.” (Kuv. 14:10-12) Ekyo ekyaliwo kyandyewuunyisizza Abaisiraeri? Nedda. Yakuwa yali yagamba nti: “Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n’Abamisiri balimanya nga nze [Yakuwa].” (Kuv. 14:4) Wadde nga Yakuwa yali yalaga dda ekyo ekyandibaddewo, Abaisiraeri tebaayoleka kukkiriza. Amaaso gaabwe baagateeka ku Nnyanja Emmyufu eyali mu maaso gaabwe, ku ggye lya Falaawo eryali lyeyongera okubasemberera, ne ku musumba ow’emyaka 80 eyali abakulembera! Baali balaba ng’obulamu bwabwe obwali mu kabi.
16. Okukkiriza kwayamba kutya Musa ku Nnyanja Emmyufu?
16 Wadde kyali kityo, Musa yasigala yeesiga Yakuwa. Lwaki? Kubanga okukkiriza kwe yalina kwamuyamba okulaba ekyo abalala kye baali batalaba. Yasobola okulaba ‘obulokozi bwa Yakuwa,’ era yali akimanyi nti Yakuwa asobola okulwanirira Abaisiraeri. (Soma Okuva 14:13, 14.) Okukkiriza Musa kwe yayoleka kwayamba ne Baisiraeri banne. Bayibuli egamba nti: “Olw’okukkiriza, baayita mu Nnyanja Emmyufu nga balinga abayita ku lukalu, naye Abamisiri bwe beetantala okugiyitamu n’ebamira.” (Beb. 11:29) Oluvannyuma lw’ekyo, ‘abantu baatandika okutya Yakuwa n’okukkiririza mu Yakuwa ne Musa omuweereza we.’—Kuv. 14:31, NW.
17. Kiki ekinaabaawo mu kiseera eky’omu maaso ekijja okugezesa okukkiriza kwaffe?
17 Mu kiseera ekitali kya wala, waliwo ekintu ekijja okubaawo ekijja okugezesa okukkiriza kwaffe. Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abafuzi b’ensi bajja kuzikiriza amadiini gonna ag’obulimba agalabika ng’ag’amaanyi okutusinga. (Kub. 17:16) Yakuwa yalaga nti mu kiseera ekyo, abantu be bajja kulabika ng’abatalina bukuumi. Bajja kuba ng’abali ‘mu nsi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera era ebitaliiko bbugwe wadde enzigi n’ebisiba.’ (Ez. 38:10-12, 14-16) Mu ndaba ey’obuntu, tujja kuba ng’abatalina buddukiro. Ggwe onookola ki mu kiseera ekyo?
18. Lwaki tetusaanidde kutya ekyo ekinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?
18 Tetusaanidde kutya ekyo ekinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Lwaki? Kubanga Yakuwa yatubuulira dda ebikwata ku bulumbaganyi obugenda okukolebwa ku bantu be n’ebyo ebinaavaamu. Bayibuli egamba nti: “Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw’alitabaala ensi ya Isiraeri, bw’ayogera Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiririnnya mu nnyindo zange. Kubanga njogezezza obuggya bwange.” (Ez. 38:18-23) Yakuwa Katonda ajja kuzikiriza abo bonna abanaaba baagala okukola akabi ku bantu be. Bwe weesiga Yakuwa nti ajja kusobola okukukuuma mu kiseera ‘ky’olunaku lwe olukulu era olw’entiisa,’ ojja kulaba ‘obulokozi bwa Yakuwa’ era ojja kusobola okusigala ng’oli mwesigwa gyali.—Yo. 2:31, 32.
19. (a) Nkolagana ki Musa gye yalina ne Yakuwa? (b) Bw’ofuba okugondera Yakuwa mu byonna by’okola, mikisa ki gy’onoofuna?
19 Osobola okwetegekera ebintu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso nga ‘weeyongera okuba omunywevu ng’olinga alaba Oyo atalabika’! Fuba okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa Katonda nga weesomesa Bayibuli obutayosa era ng’onyiikirira okusaba. Musa yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era Yakuwa yamukozesa mu ngeri nnyingi. Bayibuli egamba nti Yakuwa yali amanyi Musa ‘maaso ku maaso.’ (Ma. 34:10) Mu butuufu, Musa yali nnabbi wa njawulo nnyo. Naawe bw’oba n’okukkiriza okw’amaanyi, osobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’oba ng’amulabira ddala. Bw’ofuba okugondera Yakuwa mu byonna by’okola, ajja ‘kuluŋŋamya olugendo lwo.’—Nge. 3:6.
a Yakuwa yatuma bamalayika okutta abaana ab’obulenzi ababereberye ab’Abamisiri.—Zab. 78:49-51.