Essuula ey’Okutaano
Okukkiriza Kwabwe Kwawangula mu Kugezesebwa okw’Amaanyi
1. Abantu bangi balowooza batya ku kwemalira ku Katonda oba eggwanga lyabwe?
WANDYEMALIDDE ku Katonda oba ku ggwanga mw’obeera? Bangi baddamu, ‘Nze byombi mbiwa ekitiibwa. Nsinza Katonda nga ngoberera amateeka g’eddiini yange; ate mu kiseera kye kimu, nneeyamye okubeera omwesigwa eri eggwanga lyange.’
2. Mu ngeri ki kabaka wa Babulooni gye yali omuntu omukulu mu ddiini era n’eby’obufuzi?
2 Kirabika ng’enjawulo eriwo wakati w’okunyiikirira eddiini ne mwoyo gwa ggwanga terabibwa bulungi leero, naye mu Babulooni ey’edda kumpi tewaali njawulo yonna. Mazima ddala, eggwanga n’eddiini byali bigendera wamu nnyo ng’oluusi tekisoboka okubyawula. Profesa Charles F. Pfeiffer yawandiika nti: “Mu Babulooni ey’edda, kabaka ye yabeeranga Kabona Omukulu era omufuzi w’eggwanga. Yawangayo ssaddaaka era nga y’ateerawo b’afuga emitindo egy’okugoberera mu by’eddiini.”
3. Kiki ekiraga nti Nebukadduneeza yali musajja munnaddiini nnyo?
3 Lowooza ku Kabaka Nebukadduneeza. Erinnya lye lirina amakulu “Ai Nebo, Kuuma Omusika!” Nebo yali katonda w’Abababulooni ow’amagezi n’eby’obulimi. Nebukadduneeza yali musajja munnaddiini nnyo. Nga bwe twalabye emabega, yazimba era n’ayooyoota yeekaalu nnyingi eza bakatonda ba Babulooni; ng’era yasinga kwemalira ku Maruduki, gwe yatenderezanga olw’obuwanguzi bwe yatuukangako mu kulwana.a Era kirabika nti Nebukadduneeza yeesigama nnyo ku by’obulaguzi nga yeeteekerateekera entalo ze.—Ezeekyeri 21:18-23.
4. Nnyonnyola omwoyo gw’eddiini ogwaliwo mu Babulooni.
4 Mazima ddala, omwoyo gw’eddiini gwali gubunye Babulooni yonna. Ekibuga kyalimu yeekaalu ezisukka mu 50, omwasinzizibwanga bakatonda aba buli ngeri, nga mw’otwalidde ne bakatonda abali mu busatu: Anu (katonda w’ebbanga), Enuliru (katonda w’ensi, empewo, n’embuyaga), ne Eya (katonda w’amazzi). Bakatonda abalala abaali mu busatu baali: Sini (katonda w’omwezi), Samasi (katonda w’enjuba), ne Isita (katonda w’oluzaalo). Obufuusa, obulogo, n’okulaguzisa emmunyeenye byalina ekifo kikulu nnyo mu kusinza kw’e Babulooni.
5. Kusoomooza ki embeera y’eby’eddiini mu Babulooni gye kwaleetawo eri Abayudaaya mu buwaŋŋanguse?
5 Okubeera mu bantu abaasinzanga bakatonda abangi kyateekawo okusoomooza kwa maanyi eri Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse. Ebyasa by’emyaka emabegako, Musa yali alabudde Abaisiraeri nti kyandibaviiriddemu emitawaana egy’amaanyi singa bandijeemedde Omuwi w’Amateeka ow’Oku Ntikko. Musa yabagamba nti: “Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw’oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly’otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n’amayinja.”—Ekyamateeka 28:15, 36.
6. Lwaki okubeera mu Babulooni kwateekawo okusoomooza okw’enjawulo eri Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya?
6 Abayudaaya beesanga mu mbeera eyo enzibu ennyo. Okukuuma obugolokofu eri Yakuwa kyandibadde kizibu, naddala eri Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya. Abavubuka bano abana Abebbulaniya baali balondeddwa okutendekebwa okuweereza mu gavumenti. (Danyeri 1:3-5) Jjukira nti baali baweereddwa amannya g’Ekibabulooni—Berutesazza, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego—oboolyawo okubaleetera okutuukana n’embeera empya gye baalimu.b Olw’okuba abavubuka bano baali mu bifo bya waggulu, kyandirabise mangu nnyo bwe bandigaanye okusinza bakatonda b’ensi eyo—kwandibadde ng’okulyamu eggwanga olukwe.
EKIFAANANYI EKYA ZAABU KIREETAWO OKUSOOMOOZA
7. (a) Nnyonnyola endabika y’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yassaawo. (b) Ekifaananyi kyateekebwawo lwa kigendererwa ki?
7 Kirabika nti ng’afuba okunyweza obumu bw’obwakabaka bwe, Nebukadduneeza yateekawo ekifaananyi ekya zaabu mu lusenyi lwa Dduula. Kyali emikono 60 (ffuuti 90) obuwanvu ate emikono 6 (ffuuti 9) obugazi.c Abamu balowooza nti ekifaananyi kino yali mpagi, oba omunaala ogw’ensonda ennya omusongovu waggulu. Kyandiba nga waggulu kyaliko ekibumbe ekinene eky’omuntu, oboolyawo ekikiikirira Nebukadduneeza kennyini oba katonda Nebo. Mu buli ngeri, ekifaananyi kino ekiwanvu kaali kabonero k’Obwakabaka bwa Babulooni. N’olwekyo, kyali kirina okulabibwa n’okusinzibwa.—Danyeri 3:1.
8. (a) Baani abaayitibwa ku mukolo ogw’okutongoza ekifaananyi ekyo, era abaaliwo baali beetaagibwa kukola ki? (b) Abandigaanye okuvuunamira ekifaananyi baali ba kuweebwa kibonerezo ki?
8 Awo, Nebukadduneeza n’ateekateeka omukolo ogw’okukitongoza. Yakuŋŋaanya ab’amasaza, abamyuka, bagavana, abawi b’amagezi, abawanika, abalamuzi, ab’amateeka, n’abakungu abalala bonna okuva mu masaza. Omulangirizi yayogerera waggulu nti: “Mmwe mulagirwa, mmwe abantu, amawanga, n’ennimi, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: era buli anaalema okuvuunama n’okusinza mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro.”—Danyeri 3:2-6.
9. Kirabika nga kyalina makulu ki okuvuunamira ekifaananyi Nebukadduneeza kye yateekawo?
9 Abamu balowooza nti Nebukadduneeza yateekateeka omukolo guno ng’aluubirira okuwaliriza Abayudaaya okwekkiriranya mu kusinza kwabwe eri Yakuwa. Naye tekirabika kuba nga kyali bwe kityo, kubanga bakungu ba gavumenti bokka be baayitibwa ku mukolo guno. Bwe kityo, Abayudaaya bokka abandibaddewo beebo abaalina ebifo mu gavumenti. Kirabika nno nti ekigendererwa ky’omukolo ogw’okuvuunamira ekifaananyi kyali okunyweza obumu bw’ekibiina ekifuzi. Omwekenneenya John F. Walvoord yagamba: “Ku luuyi olumu, okwolesa bw’atyo abakungu kyali kiraga amaanyi g’obwakabaka bwa Nebukadduneeza ate nga ku luuyi olulala kiraga nti bakkiririza mu bakatonda abaali batwalibwa ng’ensibuko y’obuwanguzi bwabwe.”
ABAWEEREZA BA YAKUWA BAGAANA OKWEKKIRIRANYA
10. Lwaki abatali Bayudaaya tebandikisanzeemu buzibu okugoberera ekiragiro kya Nebukadduneeza?
10 Wadde nga baali basinza bakatonda ab’enjawulo, abasinga obungi ku abo abaali bakuŋŋaanye mu maaso g’ekifaananyi ekyo tebandikisanzeemu buzibu bwonna okukisinza. Omwekenneenya omu owa Baibuli annyonnyola nti: “Baali bamanyidde okusinza ebifaananyi, era ng’okuba nti balina katonda gwe basinza tekibalobera kusinza mulala.” Yagattako: “Kyali kikwatagana n’endowooza ezaaliwo mu basinza ebifaananyi nti waaliwo bakatonda bangi . . . era nti tekyali kikyamu okusinza katonda w’eggwanga lyonna oba ensi.”
11. Lwaki Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okuvuunamira ekifaananyi?
11 Kyokka, kino si bwe kyali eri Abayudaaya. Baali balagiddwa Katonda waabwe, Yakuwa: “Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky’ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w’ettaka: tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya.” (Okuva 20:4, 5) N’olwekyo, ebivuga bwe byatandika abakuŋŋaanye ne batandika okuvuunamira ekifaananyi, abavubuka abasatu Abebbulaniya Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, baasigala bayimiridde.—Danyeri 3:7.
12. Musango ki Abakaludaaya abamu gwe baaloopa Abebbulaniya abasatu, era lwaki?
12 Abakungu abo abasatu Abebbulaniya bwe baagaana okusinza ekifaananyi kyasunguwaza nnyo Abakaludaaya abamu. Amangu ago, baatuukirira kabaka “ne baloopa Abayudaaya.”d Tebaayagala kumanya nsonga ebagaanye. Nga baagala Abebbulaniya babonerezebwe olw’okujeema n’okulya mu ggwanga olukwe, abaloopi baagamba: “Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo eby’essaza ery’e Babulooni, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka, tebakulowoozezza: tebaweereza bakatonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.”—Danyeri 3:8-12.
13, 14. Nebukadduneeza yawulira atya olw’ekyo Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego kye baakola?
13 Nga kiteekwa okuba nga kyasunguwaza nnyo Nebukadduneeza ng’Abebbulaniya abasatu bajeemedde ekiragiro kye! Kya lwatu yali tasobodde kukyusa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego okubafuula abawagizi lukulwe ab’Obwakabaka bwa Babulooni. Yali tabayigirizza magezi gonna ag’Abakaludaaya? Yali amaze n’okukyusa amannya gaabwe! Naye bwe kiba nga Nebukadduneeza yali alowooza nti obuyigirize obwa waggulu bwandibayigirizza ensinza empya oba nti okukyusa amannya gaabwe kyandikyusizza engeri zaabwe, yali awubiddwa. Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego beeyongera okuba abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.
14 Kabaka Nebukadduneeza yasunguwala nnyo. Amangu ago yayita Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Yababuuza: “Mmwe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n’obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza?” Awatali kubuusabuusa Nebukadduneeza yayogera ebigambo ebyo nga n’amagezi gamuweddemu. Ateekwa okuba yeebuuza, ‘Abasajja abasatu abategeera obulungi bayinza batya okujeemera ekiragiro ekitegeerekeka obulungi era ekiriko ekibonerezo eky’amaanyi bwe kityo eri oyo akijeemera?’—Danyeri 3:13, 14.
15, 16. Kakisa ki Nebukadduneeza ke yawa Abebbulaniya abasatu?
15 Nebukadduneeza yali mweteefuteefu okuwa Abebbulaniya abasatu akakisa akalala. Yagamba: “Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?”—Danyeri 3:15.
16 Kirabika nti eky’okuyiga ekyali mu kifaananyi kye yaloota (ekyogerwako mu Danyeri essuula 2) kyali tekinnatuuka ku mutima gwa Nebukadduneeza. Oboolyawo yali yeerabidde ne kye yagamba Danyeri: “Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka.” (Danyeri 2:47) Kati Nebukadduneeza yalabika ng’asoomooza Yakuwa, ng’agamba nti ne Yakuwa yali tayinza kulokola Bebbulaniya mu kibonerezo ekyali kibalindiridde.
17. Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baayanukula batya kabaka?
17 Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego kyali tekibeetaagisa kuddamu kufumiitiriza ku nsonga eyo. Amangu ago baddamu: “Ai Nebukadduneeza, tekitugwanira kukuddamu mu kigambo ekyo. Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n’omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka. Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.”—Danyeri 3:16-18.
BASUULIBWA MU KIKOOMI KY’OMULIRO!
18, 19. Kiki ekyaliwo ng’Abebbulaniya abasatu basuuliddwa mu kikoomi ky’omuliro?
18 Ng’aswakidde, Nebukadduneeza yalagira abaweereza be bakume omuliro mu kikoomi ky’omuliro emirundi musanvu okusinga bulijjo. Awo n’alagira “ab’amaanyi abamu” basibe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego era babasuule mu ‘kikoomi ekyaka omuliro.’ Baagoberera ebiragiro bya kabaka, ne basuula Abebbulaniya abasatu mu muliro, nga basibiddwa era nga bali mu ngoye zaabwe zonna—oboolyawo basobole okugya amangu. Kyokka, abasajja ba Nebukadduneeza bennyini be battibwa ennimi z’omuliro.—Danyeri 3:19-22.
19 Naye waaliwo ekintu ekitaali kya bulijjo. Wadde nga Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baali wakati ddala mu kikoomi ky’omuliro, ennimi z’omuliro zaali tezibakolako kabi konna. Teeberezaamu okwewuunya kwa Nebukadduneeza! Baali basuuliddwa mu muliro ogubumbujja, nga basibiddwa, naye baali bakyali balamu. Weewuunye, baali batambulatambula wakati mu muliro! Naye waliwo ekintu ekirala Nebukadduneeza kye yalaba. Yabuuza abakungu be: “Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro?” Baamuddamu nti: “Mazima, ai kabaka.” Awo Nebukadduneeza n’ayogerera waggulu nti “Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulatambula wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n’okufaanana kw’ow’okuna kuliŋŋanga omwana wa bakatonda.”—Danyeri 3:23-25.
20, 21. (a) Kiki Nebukadduneeza kye yeetegereza ku Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego nga bavudde mu kikoomi ky’omuliro? (b) Kiki Nebukadduneeza kye yawalirizibwa okukkiriza?
20 Nebukadduneeza yasembera okumpi n’omulyango gw’ekikoomi ky’omuliro. Yakoowoola nti: “Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mmwe abaddu ba Katonda ali waggulu ennyo, mufulume mujje wano.” Abebbulaniya abasatu baatambula okuva mu muliro. Awatali kubuusabuusa bonna abaalaba ekyamagero kino—nga mw’otwalidde n’ab’amasaza, abamyuka, bagavana, n’abakungu aba waggulu—baawuniikirira. Abavubuka bano abasatu baalinga abatannabaako mu kikoomi ky’omuliro! Baali tebawunya na mukka, era nga tebalina wadde oluviiri olumu olw’oku mitwe gyabwe olusiridde.—Danyeri 3:26, 27.
21 Kati Kabaka Nebukadduneeza yawalirizibwa okukikkiriza nti Yakuwa ye Katonda Ali Waggulu Ennyo. Yagamba: “Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, wabula katonda waabwe bo.” Awo kabaka n’alyoka agattako okulabula kuno okw’amaanyi: “Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n’eggwanga, n’olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, balitemebwatemebwa, n’ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.” Awo, Abebbulaniya abasatu ne baddamu okusiimibwa kabaka, era ‘ne bakuzibwa mu ssaza ery’e Babulooni.’—Danyeri 3:28-30.
OKUKKIRIZA N’OKUGEZESEBWA OKW’AMAANYI LEERO
22. Abaweereza ba Yakuwa ab’omu biseera bino boolekaganye batya n’embeera ezifaananako n’ezo Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ze baalimu?
22 Leero, abasinza ba Yakuwa boolekagana n’embeera ezifaananako Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ze baalimu. Kyo kituufu, abantu ba Katonda bayinza obutaba mu buwaŋŋanguse. Kyokka, Yesu yagamba nti abagoberezi be tebandibadde ‘kitundu kya nsi.’ (Yokaana 17:14, NW) “Bagwira” mu ngeri nti tebagoberera mpisa, ndowooza, n’ebikolwa by’abantu ababeetoolodde. Ng’omutume Pawulo bwe yawandiika, Abakristaayo tebasaanidde ‘kufaananyizibwa mulembe guno.’—Abaruumi 12:2.
23. Abebbulaniya abasatu baayoleka batya obunywevu, era Abakristaayo leero bayinza batya okugoberera ekyokulabirako kyabwe?
23 Abebbulaniya abasatu baagaana okufaananyizibwa embeera z’e Babulooni. N’okuyigirizibwa mu magezi g’Abakaludaaya tekwabawugula. Baali tebayinza kwekkiriranya ku bikwata ku kusinza, era baali banyweredde ku Yakuwa yekka. Abakristaayo leero beetaaga okubeera abanywevu bwe batyo. Tebalina kukwatibwa nsonyi olw’okuba ba njawulo ku bantu ab’ensi. Mazima ddala, “ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo.” (1 Yokaana 2:17) N’olwekyo, kyandibadde kya busiru era nga tekigasa okugoberera embeera zino ez’ebintu eziggwaawo.
24. Obumalirivu bw’Abakristaayo ab’amazima bufaananyizibwako butya n’obw’Abebbulaniya abasatu?
24 Abakristaayo balina okwerinda engeri zonna ez’okusinza ebifaananyi, nga mw’otwalidde n’ezo enneekusifu.e (1 Yokaana 5:21) Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego mu ngeri ey’ekitiibwa baayimirira mu maaso g’ekifaananyi ekya zaabu naye baakitegeera nti okukivuunamira kyandibadde kisinzeewo ku kuwa ekitiibwa. Kyali kikolwa kya kusinza, era okukyenyigiramu kyandireetedde Yakuwa okubasunguwalira. (Ekyamateeka 5:8-10) John F. Walvoord awandiika: “Kifaananako okukubira bbendera saluti, wadde nga, olw’akakwate ak’amaanyi akaaliwo wakati w’eddiini n’eggwanga, kyandiba nga kyali kyekuusa ne ku ddiini.” Leero, mu ngeri y’emu, Abakristaayo ab’amazima beesambira ddala okusinza ebifaananyi.
25. Kya kuyiga ki ky’ofunye okuva mu ebyo ebyatuuka ku Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego?
25 Ebiri mu Baibuli ebikwata ku Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego birimu eky’okuyiga ekikulu eri bonna abamaliridde okwemalira ku Yakuwa yekka. Kirabika nti omutume Pawulo yali ayogera ku Bebbulaniya bano abasatu bwe yayogera ku bangi abaayoleka okukkiriza, nga mw’otwalidde n’abo ‘abaazikiza amaanyi g’omuliro.’ (Abebbulaniya 11:33, 34) Yakuwa ajja kusasula abo bonna abakoppa okukkiriza ng’okwo. Abebbulaniya abasatu, bo, baawonyezebwa okuva mu kikoomi ky’omuliro, naye tuyinza okuba abakakafu nti ajja kuzuukiza abeesigwa bonna abafa olw’okukuuma obugolokofu era ajja kubawa obulamu obutaggwaawo. Mu buli ngeri, Yakuwa “akuuma emmeeme z’abo abamunywereddeko; era abawonya mu mukono gw’ababi.”—Zabbuli 97:10, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Abamu balowooza nti Maruduki, eyatwalibwa ng’eyatandikawo Obwakabaka bwa Babulooni, akiikirira Nimuloodi eyali afuuliddwa katonda. Kyokka, kino tekiriiko bukakafu.
b Erinnya “Berutesazza” litegeeza “Kuuma Obulamu bwa Kabaka.” “Saddulaaki” lyandiba nga litegeeza “Ekiragiro kya Aku,” katonda w’omwezi ow’e Sumeri. “Mesaki” lyandiba nga lyogera ku katonda w’e Sumeri, ate “Abeduneego” litegeeza “Omuweereza wa Nego,” oba Nebo.
c Olw’obunene bw’ekifaananyi ekyo, abeekenneenya abamu aba Baibuli bagamba nti kyali kikoleddwa mu mbaawo nga zaaliriddwako zaabu kungulu.
d Ekigambo ky’Olulamayiki ekivvuunuddwa ‘okuloopa’ kitegeeza ‘okusaanyaawo’ omuntu ng’omuwaayiriza.
e Ng’ekyokulabirako, omulugube n’okwegomba Baibuli ebikwataganya n’okusinza ebifaananyi.—Abafiripi 3:18, 19; Abakkolosaayi 3:5.
BIKI BY’OTEGEDDE?
• Lwaki Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okuvuunamira ekifaananyi Nebukadduneeza kye yateekawo?
• Nebukadduneeza yakola ki olw’ekikolwa kya Abebbulaniya abasatu?
• Yakuwa yasasula atya Abebbulaniya abasatu olw’okukkiriza kwabwe?
• Kiki ky’oyize ng’ossaayo omwoyo ku bikwata ku Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 68]
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 70]
1. Omunaala gwa yeekaalu (ziggurati) mu Babulooni
2. Yeekaalu ya Maruduki
3. Ekiwandiiko eky’ekikomo ekiraga katonda Maruduki (ku kkono) ne katonda Nebo (ku ddyo) nga bayimiridde ku gasota
4. Omudaali oguliko ekifaananyi kya Nebukadduneeza, eyamanyibwa ennyo olw’ebyo bye yazimba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 76]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 78]