“Nze Ndi Wamu Nammwe”
“Omubaka wa Mukama n’agamba nti . . . Nze ndi wamu nammwe, bw’ayogera Mukama.”—KAGGAYI 1:13.
1. Yesu bwe yali ayogera ku ebyo ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe yabigeraageranya ku ki?
EKISEERA kye tulimu kikulu nnyo mu byafaayo by’omuntu. Okusinziira ku bunnabbi obuzze butuukirizibwa, okuviira ddala mu 1914 n’okutuusa kati tubadde mu “lunaku lwa Mukama waffe.” (Okubikkulirwa 1:10) Bw’oba wali osomye ku bunnabbi obukwata ku lunaku olwo, oteekwa okuba wakiraba nti Yesu yageraageranya ‘ennaku z’Omwana w’omuntu’ ng’afuga nga Kabaka, ku “nnaku za Nuuwa” ne ku “nnaku za Lutti.” (Lukka 17:26, 28) Bwe kityo, Baibuli eraga nti nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa n’eza Lutti bwe bityo bwe byandibadde mu nnaku z’omwana w’omuntu. Kyokka, waliwo n’obunnabbi obulala obukwata ku kiseera kyaffe bwe tusaanidde okwetegereza.
2. Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Kaggayi ne Zekkaliya?
2 Ka twetegereze ebyaliwo edda ennyo mu biseera bya nnabbi Kaggayi ne Zekkaliya. Bubaka ki bannabbi abo bwe baalina obukwata ku bantu ba Yakuwa leero? Kaggayi ne Zekkaliya baali ‘babaka ba Yakuwa’ era yabatuma eri Abayudaaya nga baakava mu buwambe e Babulooni. Yabatuma okutegeeza Abaisiraeri nti yali ajja kubawa obuwagizi mu mulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. (Kaggayi 1:13; Zekkaliya 4:8, 9) Wadde Kaggayi ne Zekkaliya bitabo bitono, bye bimu ku ‘Byawandiikibwa ebirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era ebigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, n’olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.’—2 Timoseewo 3:16.
Tusaanidde Okufaayo ku Bunnabbi Buno
3, 4. Lwaki tusaanidde okufaayo ku bunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya?
3 Obubaka bwa Kaggayi ne Zekkaliya bwali bwa mugaso nnyo eri Abayudaaya abaaliwo mu kiseera ekyo, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa. Kati olwo, lwaki tuli bakakafu nti obunnabbi obuli mu bitabo bino butukwatako ne mu kiseera kino? Eky’okuddamu kisangibwa mu Abaebbulaniya 12:26-29. Mu nnyiriri ezo, omutume Pawulo ajuliza ebigambo ebiri mu Kaggayi 2:6, ebiraga nti Katonda ‘alikankanya eggulu n’ensi.’ Kino kyandiviiriddeko ‘okusuulibwa kw’entebe y’obwakabaka bungi n’okuzikirizibwa kw’amaanyi g’obwakabaka bw’amawanga.’—Kaggayi 2:22.
4 Oluvannyuma lw’okujuliza ebigambo bya Kaggayi, Pawulo alaga ekyandituuse ku ‘bwakabaka bw’amawanga’ era ayogera ku Bwakabaka obutasobola kukankanyizibwa Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bajja okufuna. (Abaebbulaniya 12:28) Okusinziira ku bigambo bya Pawulo, kyeyoleka kaati nti ekitabo ky’Abaebbulaniya we kyawandiikibwa mu kyasa ekyasooka, obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya bwali tebunnaba kutuukirizibwa. Bwali bwa kutuukirizibwa mu kiseera kya mu maaso. Leero, ku nsi wakyaliwo ensigalira y’abaafukibwako amafutaabanaafugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe. Bwe kityo, obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya busonga ku kiseera kyaffe.
5, 6. Mbeera ki eyaliwo obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya bulyoke buweebwe?
5 Ekitabo kya Ezera kitubuulira embeera eyaliwo obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya bulyoke buweebwe. Ng’Abayudaaya bavudde mu buwambe e Babulooni mu 537 B.C.E., Gavana Zerubbaberi ne Kabona Omukulu Yoswa (oba Yesuwa) baalabirira omulimu gw’okuzimba omusingi gwa yeekaalu empya mu 536 B.C.E. (Ezera 3:8-13; 5:1) Wadde ng’ekyo kyali kisanyusa nnyo, waayita akaseera katono Abayudaaya ne bafuna okutya olw’abalabe baabwe. Ezera 4:4 wagamba nti ‘abantu b’omu nsi baanafuya emikono gy’abantu ba Yuda ne babateganya mu kuzimba.’ Abalabe baabwe bano, naddala Abasamaliya, baabawaayiriza nga baboogerako ebintu eby’obulimba. Abantu bano baapikiriza kabaka wa Buperusi okukomya omulimu gw’Abayudaaya ogw’okuzimba yeekaalu.—Ezera 4:10-21.
6 Abayudaaya baggwaamu amaanyi ne balekera awo kuzimba yeekaalu era ne batandika okwekolera ebyabwe ku bwabwe. Kyokka, mu 520 B.C.E., nga waakayita emyaka 16 oluvannyuma lw’okuzimba omusingi gwa yeekaalu, Yakuwa yatuma Kaggayi ne Zekkaliya okuzzaamu abantu amaanyi baddemu okuzimba yeekaalu. (Kaggayi 1:1; Zekkaliya 1:1) Nga bazziddwamu amaanyi era nga bakakafu nti Yakuwa ajja kubawa obuwagizi mu mulimu gw’okuzimba, Abayudaaya baddamu okuzimba yeekaalu era ne bagimaliriza mu 515 B.C.E.—Ezera 6:14, 15.
7. Ebyo ebyaliwo mu biseera bya bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya bikwatagana bitya n’ebyo ebiriwo mu kiseera kyaffe?
7 Bino byonna birina makulu ki gye tuli? Tuweereddwa omulimu gw’okubuulira “amawulire g’Obwakabaka.” (Matayo 24:14) Omulimu ogwo gwayongerwamu amaanyi oluvannyuma lwa Ssematalo I. Ng’Abayudaaya bwe baasumululwa mu buwambe e Babulooni, n’abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino baasumululwa mu busibe bwa Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini ag’obulimba. Abantu ba Katonda abaafukibwako amafuta baatandika okubuulira n’obunyiikivu, okufuula abantu abayigirizwa n’okubalaga okusinza okw’amazima. Omulimu guno gukyakolebwa ku kigero ekitabangawo era naawe oyinza okuba ogwenyigiramu. Kino kye kiseera okuba abanyiikivu mu mulimu ogwo, kubanga enkomerero y’omulembe guno omubi eneetera okutuuka! Omulimu guno guteekwa okukolebwa okutuusa Yakuwa lw’aliyingira mu nsonga z’abantu ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ kitandise. (Matayo 24:21) Oluvannyuma obubi bwonna bujja kuggibwawo, okusinza okw’amazima kubune ensi yonna.
8. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa awagira omulimu gwaffe?
8 Ng’obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya bwe bulaga, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa obuwagizi n’emikisa nga tukola omulimu gw’okubuulira n’amaanyi gaffe gonna. Wadde ng’abamu bagezezzaako okuziyiza oba okuwera omulimu gw’abantu ba Katonda, tewali gavumenti esobodde kukomya mulimu gwabwe. Lowooza ku ngeri Yakuwa gy’awaddemu omukisa abaweereza be. Oluvannyuma lwa Ssematalo I n’okutuusa kati wabaddewo okweyongerayongera mu mulimu gw’Obwakabaka. Wadde kiri kityo, wakyaliwo abantu bangi abeetaaga okubuulirwa.
9. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo ng’Abayudaaya bwe baatandika okuzimba yeekaalu?
9 Ebyo bye tuyiga mu bunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi ne tweyongera okugondera ekiragiro kya Katonda eky’okubuulira abantu n’okubafuula abayigirizwa? Ka twetegereze eby’okuyiga ebiri mu bitabo bino ebibiri. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyaliwo ng’Abayudaaya abaali bakomyewo ku butaka batandise omulimu gw’okuzimba yeekaalu. Nga bwe twalabye, Abayudaaya abo abaava e Babulooni ne baddayo e Yerusaalemi tebaali banyiikivu mu mulimu gwa kuzimba yeekaalu. Oluvannyuma lw’okuzimba omusingi, baggwaamu amaanyi ne balekera awo okuzimba. Ndowooza ki enkyamu gye baafuna? Era ekyo tukiyigirako ki?
Tuteekwa Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu
10. Ndowooza ki enkyamu Abayudaaya gye baafuna, era biki ebyavaamu?
10 Abayudaaya abaakomawo ku butakabaalinga bagamba nti: “Kaakanosi ky’ekiseera” okuzimba yeekaalu. (Kaggayi 1:2) Naye bwe baatandika okuzimba omusingi mu 536 B.C.E., tebaayogeranga bwe batyo. Kyokka, waayita akaseera katono ne baggwaamu amaanyi olw’okuziyizibwa okwava mu gavumenti n’amawanga agaali gabeetoolodde. Baalagajjalira omulimu gw’okuzimba yeekaalu ne badda mu kwezimbira mayumba n’okunoonya eby’obugagga. Yakuwa bwe yalaba amayumba gaabwe agaali gatemagana n’agageraageranya ku yeekaalu eyali tennaggwa, yababuuza nti: “Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno ng’ebeerera awo ng’erekeddwawo?”—Kaggayi 1:4.
11. Lwaki Yakuwa yagamba Kaggayi okubuulirira Abayudaaya ab’omu kiseera kye?
11 Yee, Abayudaaya baali beerabidde ekintu ekyali kisinga obukulu. Mu kifo ky’okusoosa ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuddamu okuzimba yeekaalu, badda mu kwenoonyeza byabwe ku bwabwe na kwezimbira mayumba. Baalagajjalira omulimu gw’okuzimba ennyumba ya Katonda. Mu Kaggayi 1:5, Yakuwa yabakubiriza ‘okulowooza ku makubo gaabwe.’ Mu kukola ekyo, yali ayagala basooke balowooze ku ebyo bye baali bakola n’ebizibu bye baali bafunye olw’okulagajjalira omulimu gw’okuzimba yeekaalu.
12, 13. Kaggayi 1:6 lunnyonnyola lutya embeera Abayudaaya gye baalimu, era olunyiriri olwo lutegeeza ki?
12 Olw’okuba Abayudaaya baalemererwa okusoosa ebintu ebikulu, baafuna ebizibu bingi. Weetegereze ekyo Katonda kye yabagamba mu Kaggayi 1:6: “Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa [“temutamiira,” NW]; mwambala naye tewali abuguma; n’oyo afuna empeera afuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.”
13 Wadde Abayudaaya baali mu nsi Katonda gye yali abawadde, yali tebala nga bwe baali basuubira. Nga bwe kyali kyalagulwa, Yakuwa yali alekedde awo okubawa emikisa gye. (Ekyamateeka 28:38-48) Olw’okuba baali tebalina mikisa gye, Abayudaaya baasiganga ensigo nnyingi naye ng’emmere gye bakungula tebamala. Ate era, baayambalanga naye nga tebabuguma. Essente ze baalinga bafuna baali ng’abaziteeka mu nsawo ezirimu ebituli. Ate ebigambo ‘munywa naye temutamiira’ byo bitegeeza ki? Olw’okuba Katonda avumirira obutamiivu, ebigambo ebyo tekitegeeza nti bwe bandinywedde ne batamiira kyandiraze nti Katonda abawadde emikisa gye. (1 Samwiri 25:36; Engero 23:29-35) Mu kifo ky’ekyo, byali biraga nti Abayudaaya tebaalina mikisa gya Katonda. Buli mwenge gwe baayiisanga gwalinga mutono nnyo nga tegusobola na kubatamiiza. Baibuli eya Revised Standard Version yo egamba bw’eti mu Kaggayi 1:6 “Munywa, naye temumatira.”
14, 15. Ebiri mu Kaggayi 1:6 bituyigiriza ki?
14 Eky’okuyiga ekiri wano si kwe kuzimba amayumba agatemagana n’okugayooyoota. Ng’Abaisiraeri tebannatwalibwa mu buwaŋŋanguse, nnabbi Amosi yavumirira abagagga olw’okuzimba “ennyumba ez’amasanga” ‘n’okugalamiranga ku bitanda eby’amasanga.’ (Amosi 3:15; 6:4) Ebintu ebyo byali bya kaseera buseera. Abalabe baabwe bajja ne babinyaga. Kyokka, bwe baava mu buwaŋŋanguse gye baamala emyaka 70, tebaayigira ku ebyo ebyaliwo emabega. Ate kiri kitya eri ffe? Tunaayigira ku ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri? Kyandibadde kirungi buli omu ku ffe ne yeebuuza nti: ‘Biseera byenkana wa bye mmala nga njoyoota amaka gange? Nduubirira obuyigirize obusingawo nsobole okufuna omulimu ogw’essente ennyingi wadde ng’obuyigirize obwo bujja kuntwalira emyaka mingi, ne kiba nti sirina biseera kwenyigira mu bintu bya mwoyo?’—Lukka 12:20, 21; 1 Timoseewo 6:17-19.
15 Ebigambo ebiri mu Kaggayi 1:6 bitulaga nti twetaaga emikisa gya Katonda. Abayudaaya baafuna ebizibu olw’okuba tebaalina mikisa gya Katonda. Ka tube bagagga oba nedda, bwe tutaba na mikisa gya Yakuwa, tetujja kuba na nkolagana nnungi naye. (Matayo 25:34-40; 2 Abakkolinso 9:8-12) Kati olwo, tuyinza tutya okufuna emikisa gya Yakuwa?
Yakuwa Abazzaamu Amaanyi ng’Akozesa Omwoyo Gwe
16-18. Ebigambo bya Zekkaliya 4:6 by’alina makulu ki eri Abayudaaya?
16 Zekkaliya, munne wa nnabbi Kaggayi, yaluŋŋamizibwa okulaga ekyo Yakuwa ky’akozesa okuzzaamu abaweereza be amaanyi n’okubawa emikisa gye. Ekintu kye kimu Yakuwa ky’ajja okukozesa okukuwa emikisa gye. Tusoma nti: “Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Zekkaliya 4:6) Oyinza okuba wali owuliddeko ebigambo bino nga bijulizibwa enfunda n’enfunda. Naye ddala, byalina makulu ki eri Abayudaaya b’omu biseera bya Kaggayi ne Zekkaliya, era birina makulu ki gy’oli?
17 Kijjukire nti ebigambo bya Kaggayi ne Zekkaliya ebyaluŋŋamizibwa birina kinene kye by’akola ku Bayudaaya abaaliwo mu kiseera ekyo. Byabazzaamu nnyo amaanyi. Kaggayi yatandika okuweereza nga nnabbi mu mwezi ogw’omukaaga mu 520 B.C.E. Ate ye Zekkaliya yatandika mu mwezi gwa munaana mu mwaka gwe gumu. (Zekkaliya 1:1) Nga bwe kiragibwa mu Kaggayi 2:18, Abayudaaya baddamu okuzimba omusingi gwa yeekaalu mu mwezi ogw’omwenda. Olw’okuba baali bazziddwamu amaanyi, baagondera ekiragiro kya Yakuwa nga bakakafu nti ajja kubawa obuwagizi bwe. Bwe kityo, ebigambo bya Zekkaliya 4:6 biraga engeri Yakuwa gy’awagiramu abantu be.
18 Abayudaaya bwe baddayo ku butaka mu 537 B.C.E., tebaalina ggye ddwanyi. Wadde kyali kityo, Yakuwa yabakuuma era n’abakulembera nga bava e Babulooni. Bwe baatuuka eka ne batandika okuzimba yeekaalu, yabawa obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe. Buli lwe baddamu okuzimba n’omutima gwabwe gwonna, yakozesanga omwoyo gwe omutukuvu n’abawa obuwagizi.
19. Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda gye gwayamba abantu be?
19 Okuyitira mu kwolesebwa kwa mirundi munaana, Yakuwa yakakasa Zekkaliya nti yali ajja kuwagira abantu be abandyewaddeyo okuzimba yeekaalu okutuusa lwe yandiwedde. Mu kwolesebwa okw’okuna, okuli mu ssuula 3, yalaba Setaani ng’afuba okuziyiza Abayudaaya baleme kumaliriza kuzimba yeekaalu. (Zekkaliya 3:1) Kyo kituufu nti Setaani teyasanyuka kulaba Yosuwa, Kabona Asinga Obukulu, ng’akola emirimu ku lw’abantu mu yeekaalu empya. Wadde ng’Omulyolyomi yafuba okulemesa Abayudaaya okuzimba yeekaalu, Yakuwa yakozesa omwoyo gwe n’abaggyirawo enkonge era n’abazzaamu amaanyi okutuusa lwe bandimalirizza okuzimba yeekaalu.
20. Mu ngeri ki omwoyo omutukuvu gye gwayamba Abayudaaya okutuukiriza ekiragiro kya Yakuwa eky’okumaliriza okuzimba yeekaalu?
20 Okuziyizibwa okwava eri abakungu ba gavumenti kwalabika ng’olusozi olutayinza kusiguukululwa. Kyokka, Yakuwa yasuubiza nti ekizibu ekyo ekyali ‘ng’olusozi’ yali ajja kukiggyawo. (Zekkaliya 4:7) Kino Yakuwa yakikolera ddala nga bwe yali asuubizza. Kabaka Daliyo I yakola okunoonyereza era n’azuula ekiwandiiko kya Kuulo ekyali kiwa Abayudaaya olukusa okuddamu okuzimba yeekaalu. Bwe kityo Daliyo yabakkiriza okuzimba era n’alagira baggye ssente mu ggwanika zikozesebwe mu kuzimba yeekaalu. Ng’ebintu byakyuka mu ngeri eyali tesuubirwa! Omwoyo gwa Katonda gwayamba mu kugonjoola ekizibu ekyo? Awatali kubuusabuusa. Mu 515 B.C.E., omwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa Daliyo I, yeekaalu yamalirizibwa.—Ezera 6:1, 15.
21. (a) Mu biseera eby’edda Katonda ‘yakankanya atya amawanga,’ era kino kyakwata kitya ku ‘byegombebwa’? (b) Obunnabbi buno butuukiriziddwa butya mu kiseera kyaffe?
21 Mu Kaggayi 2:5, nnabbi yajjukiza Abayudaaya endagaano Katonda gye yakola nabo ku Lusozi Sinaayi, olusozi olwo bwe lwali ‘lukankana nnyo.’ (Okuva 19:18) Mu nnaku za Kaggayi ne Zekkaliya, Yakuwa yali agenda kuleetawo okukankana okulala, nga bwe kiragibwa mu lulimi olw’akabonero mu lunyiriri 6 ne 7. Embeera y’eby’obufuzi mu Buperusi yandyonoonese, naye omulimu gw’okuzimba yeekaalu gwandyeyongedde mu maaso era ne guggwa. Ekiseera kyandituuse bantu abataali Bayudaaya aboogerwako ‘ng’ebyegombebwa amawanga,’ ne basinziza wamu n’Abayudaaya mu yeekaalu eyo. Mu kiseera kyaffe, Yakuwa ‘akankanyizza amawanga’ ku kigera ekitabangawo ng’akozesa Abakristaayo okubuulira, era kino kisobozesezza ‘eby’egombebwa amawanga’ okwegatta ku nsigalira y’abaafukibwako amafuta mu kusinza Katonda ow’amazima. Mazima ddala, abaafukibwako amafuta awamu n’ab’endiga endala bajjuzza ennyumba ya Yakuwa n’ekitiibwa. Abasinza ng’abo ab’amazima balindirira ekiseera Yakuwa ‘lw’alikankanya eggulu n’ensi’ mu ngeri ey’enjawulo. Kino ajja kukikola ng’azikiriza obwakabaka bw’amawanga.—Kaggayi 2:22.
22. Mu ngeri ki amawanga gye ‘gakankanyizibwa,’ biki ebivuddemu, era kiki ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
22 Kino kitujjukiza enkyukakyuka ez’amaanyi ezizze zibaawo mu ‘ggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu’ eby’akabonero. Emu ku nkyukakyuka zino kwe kuba nti Setaani yasuulibwa ku nsi ne balubaale be. (Okubikkulirwa 12:7-12) Ng’ogyeko ekyo, omulimu gw’okubuulira ogukulemberwa abantu ba Katonda abaafukibwako amafuta gukankanyizza enteekateeka y’ebintu eno embi. (Okubikkulirwa 11:18) Wadde kiri kityo, “ekibiina ekinene” eky’ebyegombebwa amawanga kyegasse ku Isiraeri ow’omwoyo mu kuweereza Yakuwa. (Okubikkulirwa 7:9, 10) Ab’ekibiina ekinene bakolera wamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kubuulira amawulire amalungi agagamba nti, Katonda ajja kukankanya amawanga okuzikiriza amawanga ku Kalumagedoni. N’ekinaavaamu, okusinza okw’amazima kujja kubuna ensi yonna.
Ojjukira?
• Embeera yali etya mu kiseera Kaggayi ne Zekkaliya we baaweerereza nga bannabbi?
• Oyinza otya okukolera ku kubuulirira kwa Kaggayi ne Zekkaliya?
• Lwaki oyinza okugamba nti ebigambo ebiri mu Zekkaliya 4:6 bizzaamu amaanyi?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Ebiri mu Kaggayi ne Zekkaliya bitukakasa nti tulina obuwagizi bwa Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
“Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno ng’ebeerera awo ng’erekeddwawo?”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Abantu ba Yakuwa babuulira ‘ebyegombebwa amawanga’