“Temwerabiranga Okulaga Abantu Be Mutamanyi Ekisa”
“Temwerabiranga okulaga abantu be mutamanyi ekisa.”—BEB. 13:2, obugambo obuli wansi.
1, 2. (a) Kusoomooza ki abantu bangi abagwira kwe boolekagana nakwo leero? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki Pawulo kye yakubiriza Abakristaayo okukola, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
EMYAKA nga 30 emabega, Osei,[1] mu kiseera ekyo ataali Mujulirwa wa Yakuwa yatuuka mu Bulaaya ng’avudde e Ghana. Agamba nti: “Amangu ddala nga nnaakatuuka, nnakirabirawo nti abantu baali tebanfaako. Embeera y’obudde mu Bulaaya yali ya njawulo nnyo ku y’omu Ghana. Bwe nnava ku kisaawe ky’ennyonyi, nnawulira obunnyogovu bwe nnali siwulirangako era nnatandika okukaaba.” Okuva bwe kiri nti Osei kyamutwalira ebbanga okuyiga olulimi olwali lwogerwa mu Bulaaya, yamala omwaka nga gumu nga tannafuna mulimu mulungi. Ate olw’okuba yali wala okuva awali ab’eŋŋanda ze yawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi.
2 Lowooza ku ngeri gye wandyagadde abalala bakuyiseemu ng’oli mu mbeera ng’eyo. Tewandyagadde bakwanirize n’essanyu ng’otuuse ku Kizimbe ky’Obwakabaka, wadde ng’ova mu nsi endala oba nga langi yo ya njawulo ku yaabwe? Mu butuufu, Bayibuli ekubiriza Abakristaayo nti: “Temwerabiranga okulaga abantu be mutamanyi ekisa.” (Beb. 13:2, obugambo obuli wansi.) Kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Yakuwa atwala atya abagwira? Lwaki oluusi kiyinza okutwetaagisa okukyusa endowooza gye tulina ku bantu be tutamanyi? Era tuyinza tutya okuleetera abo abava mu nsi endala okuwulira obulungi nga bali naffe mu kibiina?
ENGERI YAKUWA GY’ATWALAMU ABAGWIRA
3, 4. Okusinziira ku bigambo ebiri mu Okuva 23:9, abantu ba Katonda baalina kuyisa batya abagwira, era lwaki?
3 Yakuwa bwe yamala okununula Abayisirayiri okuva e Misiri, yabawa amateeka agaali gabalagira okufaayo ku bantu abataali Bayisirayiri abaali mu bo. (Kuv. 12:38, 49; 22:21) Okuva bwe kiri nti emirundi egisinga abagwira obulamu tebubabeerera bwangu, Yakuwa yakola enteekateeka okubalabirira. Ng’ekyokulabirako, yabawa olukusa okukuŋŋaanyanga emmere abakunguzi gye baabanga balese mu nnimiro.—Leev. 19:9, 10.
4 Mu kifo ky’okulagira obulagizi Abayisirayiri okufaayo ku bagwira, Yakuwa yabagamba okujjukira embeera gye baalimu nga bali mu nsi etaali yaabwe. (Soma Okuva 23:9.) Abayisirayiri baali bamanyi bulungi kye kitegeeza okuba omugwira. Abayudaaya ne bwe baali tebannafuulibwa baddu, kiyinzika okuba nti Abamisiri baababoolanga olw’eggwanga lyabwe n’olw’eddiini yaabwe. (Lub. 43:32; 46:34; Kuv. 1:11-14) Wadde ng’Abayisirayiri baayisibwa bubi nnyo nga bali mu nsi etaali yaabwe, Yakuwa yabagamba okuyisa abagwira “ng’enzaalwa” mu bo.—Leev. 19:33, 34.
5. Kiki ekinaatuyamba okukoppa Yakuwa mu ngeri gye tuyisaamu abagwira?
5 Ne leero Yakuwa afaayo ku bagwira abajja mu nkuŋŋaana zaffe. (Ma. 10:17-19; Mal. 3:5, 6) Bwe tulowooza ku kusoomooza kwe boolekagana nakwo, gamba ng’okusosolwa oba obutamanya lulimi olwogerwa mu kitundu kyaffe, kijja kutukubiriza okubafaako n’okubalaga ekisa.—1 Peet. 3:8.
ENDOWOOZA GYE TULINA KU BAGWIRA NTUUFU?
6, 7. Kiki ekiraga nti Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baali beggyeemu obusosoze?
6 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka beggyamu obusosoze obwali busimbye amakanda mu mitima gy’Abayudaaya. Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Abakristaayo abaali mu Yerusaalemi baasembeza abantu abaali baakafuuka Abakristaayo abaali bavudde mu mawanga amalala. (Bik. 2:5, 44-47) Ekyo kyalaga nti Abakristaayo Abayudaaya baali bategeera amakulu g’ebigambo “okusembeza abagenyi,” ebitegeeza, “okulaga abantu b’otomanyi ekisa.”
7 Kyokka ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka bwe kyeyongera okukula, waliwo embeera eyajjawo eyinza okuba nga yalimu obusosoze. Abayudaaya abaali boogera Oluyonaani beemulugunya nti bannamwandu baabwe baali tebayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. (Bik. 6:1) Okusobola okugonjoola ekizibu ekyo, abatume baalonda abasajja musanvu okukakasa nti buli muntu ayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Abasajja bonna omusanvu abaalondebwa baalina amannya ag’Ekiyonaani. Kirabika ekyo abatume baakikola okumalawo obunkenke bwonna, oboolyawo obwali buzzeewo ng’abamu mu kibiina Ekikristaayo balowooza nti basosolwa olw’amawanga gaabwe.—Bik. 6:2-6.
8, 9. (a) Kiki ekiyinza okulaga nti tulimu obusosoze? (b) Kiki kye tulina okuggya mu mitima gyaffe? (1 Peet. 1:22)
8 Ka tube nga tukimanyi oba nedda buli omu ku ffe embeera gye yakuliramu erina ky’ekola ku ngeri gye yeeyisaamu. (Bar. 12:2) Ate era tuyinza okuba nga tutera okuwulira baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, oba bayizi bannaffe nga bajerega abantu ab’amawanga amalala, oba aba langi endala. Endowooza nga ezo ziyinza kutukwatako zitya? Era tuwulira tutya nga waliwo omuntu ayogedde obubi ku ggwanga lyaffe oba langi yaffe?
9 Okumala ekiseera, omutume Peetero yali asosola abantu abataali Bayudaaya, naye mpolampola yeggyamu endowooza eyo enkyamu. (Bik. 10:28, 34, 35; Bag. 2:11-14) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tukizuula nti tulinamu obusosoze, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okubweggyamu. (Soma 1 Peetero 1:22.) Kiki ekinaatuyamba okweggyamu obusosoze? Tusaanidde okukijjukira nti, ka tube ba ggwanga ki, ffenna tetutuukiridde. (Bar. 3:9, 10, 21-24) N’olwekyo tewali nsonga yonna eyandituleetedde kulowooza nti tuli ba waggulu ku balala. (1 Kol. 4:7) Tusaanidde okuba n’endowooza omutume Pawulo gye yalina bwe yagamba banne abaafukibwako amafuta nti: “Temukyali bantu abatamanyiddwa era abagwira, naye . . . muli ba mu nnyumba ya Katonda.” (Bef. 2:19) Bwe tufuba okweggyamu endowooza etali nnuŋŋamu ku bantu ab’amawanga amalala, kijja kutuyamba okwambala omuntu omuggya.—Bak. 3:10, 11.
ENGERI GYE TUYINZA OKULAGAMU ABANTU BE TUTAMANYI EKISA
10, 11. Bowaazi yayoleka atya endowooza Yakuwa gy’alina ku bagwira mu ngeri gye yakolaganamu ne Luusi Omumowaabu?
10 Engeri Bowaazi gye yayisaamu Luusi Omumowaabu yayoleka endowooza Yakuwa gy’alina ku bagwira. Bowaazi bwe yagenda okulambula ennimiro ze mu kiseera eky’amakungula, yalaba omukazi omugwira eyali akola n’obunyiikivu ng’alonderera emmere abakunguzi gye baali balese emabega. Bowaazi bwe yakimanya nti Luusi yali asabye olukusa okulonderera emmere, wadde ng’Amateeka gaali gamukkiriza okukikola, yakkiriza Luusi okulonderera ebirimba okuva ne mu ebyo ebyali bisaliddwa.—Soma Luusi 2:5-7, 15, 16.
11 Ebyo Bowaazi bye yaddako okwogera biraga nti yali afaayo nnyo ku Luusi olw’embeera etaali nnyangu gye yalimu ng’omugwira. Bowaazi yagamba Luusi abeere kumpi n’abakozi be abakazi aleme kutawaanyizibwa basajja abaali bakola mu nnimiro ye. Bowaazi era yakakasa nti Luusi aweebwa emmere n’amazzi ebimala, okufaananako abakozi be abaali bakola mu nnimiro. Okugatta ku ekyo, Bowaazi teyafeebya mukazi oyo omugwira eyali omwavu, wabula yamugumya.—Luus. 2:8-10, 13, 14.
12. Bwe tulaga abagwira ekisa, kiyinza kubakwatako kitya?
12 Bowaazi yalaga Luusi ekisa olw’okuba Luusi yalaga nnyazaala we Nawomi okwagala kungi era olw’okuba yali asazeewo okuweereza Yakuwa. Okuyitira mu Bowaazi, Yakuwa yalaga Luusi okwagala okutajjulukuka olw’okuba Luusi yali asazeewo ‘okuddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Katonda wa Isirayiri okufuna obukuumi.’ (Luus. 2:12, 20; Nge. 19:17) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tulaga abalala ekisa kisobola okuyamba abantu “aba buli ngeri” okukiraba nti Yakuwa abaagala nnyo.—1 Tim. 2:3, 4.
13, 14. (a) Lwaki tulina okufuba okwaniriza abagwira ababa bazze mu nkuŋŋaana? (b) Kiki ekiyinza okukuyamba okwanguyirwa okwogera n’abantu ab’amawanga amalala?
13 Tusobola okulaga abagwira ekisa nga tubaaniriza n’essanyu nga bazze mu nkuŋŋaana. Tuyinza okuba nga tukirabye nti emirundi egimu abagwira baba beetya era ng’olumu basalawo okubeera bokka. Embeera gye baakuliramu oba embeera yaabwe ey’eby’enfuna eyinza okubaleetera okuwulira nga ba wansi ku balala. N’olwekyo, tuba tulina okubaako kye tukolawo okulaga nti tubafaako. Tusobola n’okukozesa programu ya kompyuta eyitibwa JW Language app okuyiga engeri y’okubuuzaamu abagwira mu nnimi zaabwe.—Soma Abafiripi 2:3, 4.
14 Oluusi okisanga nga kizibu okwogera n’abantu ab’amawanga amalala? Okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo, osobola okubuulira abantu abo ebikukwatako. Oyinza okukizuula nti mulina ebintu bingi bye mufaanaganya okusinga ne bw’obadde olowooza. Ojja kukiraba nti buli ggwanga lirina ebintu bye likola obulungi okusinga ku ggwanga eddala.
BONNA BAYAMBE OKUWULIRA OBULUNGI
15. Kiki ekinaatuyamba okukolagana obulungi n’abantu abapya ababa bazze mu kitundu kyaffe?
15 Okusobola okumanya engeri y’okuyambamu abalala okuwulira obulungi nga bazze mu nkuŋŋaana zaffe, oyinza okwebuuza, ‘Singa mbadde mu nsi etali yange, nnandyagadde kuyisibwa ntya?’ (Mat. 7:12) Ba mugumiikiriza eri abo abagezaako okutuukana n’embeera y’omu nsi yo. Mu kusooka oyinza obutategeera ngeri gye bakolamu bintu byabwe. Naye mu kifo ky’okubasuubira okukola ebintu engeri mmwe gye mubikolamu, lwaki tobaleka kukola bintu mu ngeri yaabwe?—Soma Abaruumi 15:7.
16, 17. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okukolagana obulungi n’abantu ab’amawanga amalala? (b) Biki bye tuyinza okukola okuyamba bakkiriza bannaffe abagwira ababa bazze okubeera mu kitundu kyaffe?
16 Bwe tumanya ebisingawo ebikwata ku kitundu abantu abapya gye baava n’empisa z’omu kitundu ekyo, kiyinza okutwanguyira okukolagana nabo obulungi. Mu kusinza kwaffe okw’amaka, tuyinza okufissaayo akadde ne tunoonyereza ebikwata ku buwangwa bw’abantu abali mu kibiina kyaffe oba abali mu kitundu mwe tubeera. Ate era tuyinza n’okwaniriza abantu ab’amawanga amalala mu maka gaffe tuliireko wamu nabo emmere. Okuva bwe kiri nti Yakuwa “agguliddewo ab’amawanga oluggi olutuusa ku kukkiriza,” olowooza naffe tetwandisembezza “bakkiriza bannaffe” ab’amawanga amalala mu maka gaffe?—Bik. 14:27; Bag. 6:10; Yob. 31:32.
17 Bwe tubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe ab’amawanga amalala, kisobola okutuyamba okutegeera engeri gye bafubamu okutuukana n’embeera y’omu kitundu kyaffe. Tuyinza n’okukiraba nti beetaaga obuyambi okuyiga olulimi olwogerwa mu kitundu kyaffe. Ate era tusobola okubayambako nga banoonya ennyumba oba emirimu. Okukola ebintu ng’ebyo kiyinza okukwata ennyo ku bakkiriza bannaffe abo.—Nge. 3:27.
18. Bakkiriza bannaffe abagwira bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Luusi?
18 Kya lwatu nti abantu abagwira basaanidde okufuba okutuukana n’embeera y’omu kitundu mwe baba bagenze. Luusi yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Okusookera ddala, yakiraga nti assa ekitiibwa mu mpisa y’omu kitundu, bwe yasaba olukusa okulonderera emmere mu nnimiro. (Luus. 2:7) Teyamala gakitwala nti abantu b’omu kitundu ekipya kye yali azzeemu baalina okumukkiriza okulonderera emmere mu nnimiro zaabwe. Ate era yasiimanga abalala olw’ekisa kye baabanga bamulaze. (Luus. 2:13) Abagwira bwe bakoppa Luusi, bajja kwagalibwa nnyo abantu b’omu kitundu gye baba bagenze ne bakkiriza bannaabwe.
19. Lwaki tusaanidde okusembeza abagenyi?
19 Kitusanyusa nnyo okulaba nti Yakuwa, olw’ekisa kye eky’ensusso, asobozesezza abantu okuva mu mawanga gonna okuwulira amawulire amalungi. Abantu abagwira bayinza okuba nga mu nsi yaabwe baali bakugirwa okuyiga Bayibuli oba okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa. Naye kati bwe kiba nti bafunye akakisa okukuŋŋaana awamu naffe, tetwandifubye okubayamba okuwulira obulungi nga bali naffe? Bwe tubalaga ekisa, ne bwe kiba nti tetuli bulungi mu by’enfuna, kisobola okubaleetera okukiraba nti Yakuwa abaagala nnyo. N’olwekyo ka ‘tukoppe Katonda,’ nga tukola kyonna ekisoboka okusembeza abagenyi.—Bef. 5:1, 2.
^ [1] (akatundu 1) Erinnya likyusiddwa.