ESSUULA 11
Oluvannyuma lw’Okugattibwa
“Okwagala tekulemererwa.”—1 ABAKKOLINSO 13:8.
1, 2. Okufuna ebizibu mu bufumbo kiba kitegeeza nti obufumbo bulemye? Nnyonnyola.
OBUFUMBO kirabo okuva eri Yakuwa era buyinza okuleetera omuntu essanyu. Wadde kiri kityo, mu bufumbo bwonna mubaamu ebizibu. Ebizibu ebyo biyinza n’okulabika ng’ebitaakome era ekyo kiyinza okuleetera omwami n’omukyala okuwulira ng’omukwano gwe baalina mu kusooka gukendedde nnyo.
2 Kyokka bwe tufuna ebizibu mu bufumbo bwaffe tekisaanidde kutwewuunyisa. Okufuna ebizibu tekitegeeza nti obufumbo bwaffe bulemye. Waliwo abantu bangi abafunye ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo bwabwe naye ne babigonjoola era ne banyweza obufumbo bwabwe. Kiki ekyabayamba?
OKUBA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NE KATONDA ERA NE MUNNO MU BUFUMBO
3, 4. Kiki oluusi ekibaawo mu bufumbo?
3 Omusajja n’omukazi abayingira obufumbo baba bantu babiri ab’enjawulo, abaagala ebintu eby’enjawulo, abalina endowooza ez’enjawulo, era abakola ebintu mu ngeri ey’enjawulo. Ate era omwami n’omukyala bayinza okuba nga baakulira mu mbeera za njawulo era nga ba buwangwa bwa njawulo. Kitwala ekiseera n’okufuba kwa maanyi omwami n’omukyala buli omu okutegeera obulungi munne.
4 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwami n’omukyala buli omu ayinza okutandika okwemalira ku bibye ne kinafuya enkolagana eriwo wakati waabwe. Bayinza n’okulabika ng’abatali bafumbo. Kiki ekiyinza okubayamba okunyweza enkolagana yaabwe?
5. (a) Kiki ekisobola okuyamba omwami n’omukyala Abakristaayo okunyweza enkolagana eriwo wakati waabwe? (b) Okusinziira ku Abebbulaniya 13:4, obufumbo tulina kubutwala tutya?
5 Yakuwa awa amagezi amalungi agasobola okuyamba omwami n’omukyala okunyweza enkolagana yaabwe naye, n’okunyweza enkolagana eriwo wakati waabwe. (Zabbuli 25:4; Isaaya 48:17, 18) Bayibuli egamba nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa eri bonna.” (Abebbulaniya 13:4) Ekintu ky’otwala nga kya kitiibwa oba okitwala nga kya muwendo. Okikuuma bulungi era tokigalabanja. Bw’atyo Yakuwa bw’ayagala tutwale obufumbo.
OKWAGALA YAKUWA KUSOBOLA OKUNYWEZA OBUFUMBO BWAMMWE
6. Ebigambo ebiri mu Matayo 19:4-6 biraga bitya endowooza Yakuwa gy’alina ku bufumbo?
6 Yakuwa ye yagatta abafumbo abaasooka. Omwana we Yesu yagamba nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi era n’agamba nti: ‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era ababiri abo banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri, naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Matayo 19:4-6) Okuviira ddala ku ntandikwa, Yakuwa yayagala obufumbo bube bwa lubeerera. Yakuwa ayagala abafumbo babeere n’enkolagana ey’oku lusegere era nga basanyufu.
7. Omwami n’omukyala bayinza batya okunyweza obufumbo bwabwe?
7 Kyokka leero abantu boolekagana n’ebizibu bingi mu bufumbo bwabwe. Oluusi ebizibu bye bafuna biba bya maanyi nnyo ne kibaleetera okulowooza nti tebalina kye basobola kukola kutaasa bufumbo bwabwe, era obufumbo bwabwe busattulukuka. Naye bwe tumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku bufumbo kisobola okutuyamba.—1 Yokaana 5:3.
8, 9. (a) Ddi lwe tusaanidde okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’awa abafumbo? (b) Tuyinza kukiraga tutya nti obufumbo bwaffe tubutwala nga bwa muwendo?
8 Bulijjo obulagirizi Yakuwa bw’atuwa butuganyula. Nga bwe tulabye, atugamba nti: “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa.” (Abebbulaniya 13:4; Omubuulizi 5:4) Bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa ne bwe kiba nti kituzibuwalidde okubukolerako, kituganyula nnyo.—1 Abassessalonika 1:3; Abebbulaniya 6:10.
9 Olw’okuba obufumbo tubutwala nga bwa muwendo, twewala okukola ekintu kyonna oba okwogera ekintu kyonna ekiyinza okubwonoona. Mu kifo ky’ekyo, tufuba okunyweza enkolagana eriwo wakati waffe ne munnaffe mu bufumbo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
KIRAGE NTI OSSA EKITIIBWA MU BUFUMBO MU BY’OYOGERA NE MU BY’OKOLA
10, 11. (a) Kizibu ki eky’amaanyi ekiriwo mu bufumbo obumu leero? (b) Lwaki kikulu okufaayo ku ngeri gy’oyogeramu ne munno mu bufumbo?
10 Waliwo ebintu ebitali bimu omwami oba omukyala by’ayinza okukola ne birumya munne mu bufumbo. Tukimanyi bulungi nti omwami oba omukyala Omukristaayo talina kukuba munne oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okumuleetako obuvune. Naye omwami oba omukyala ayinza okulumya munne okuyitira mu bigambo. Ebigambo biyinza okuba ng’ekitala. Omukyala omu yagamba nti: “Omwami wange anvuma buli kiseera. Muyinza obutandabako binuubule, naye ebigambo ebirumya by’anjogerera buli kiseera, gamba nga ‘Wantama!’ ‘Tolina ky’ogasa!’ binnuma nnyo.” Omwami omu yagamba nti: ‘Emirundi mingi mukyala wange ayogera ebigambo ebinfeebya. Mu butuufu mpulira nga saagala na kubyogera. Mpulira nga saagala kwogera naye era eyo ye nsonga lwaki ndwayo ku mulimu. Okuba ku mulimu kinsingira okuba awaka.’ Leero abantu bangi boogera ebigambo ebirumya era ebitali bya kisa.
11 Singa omwami n’omukyala buli omu ayogera bubi eri munne, kibaleetera obulumi ku mutima obulwawo okuwona. Yakuwa tayagala bafumbo kweyisa bwe batyo. Kyokka oluusi oyinza okulumya munno nga tokigenderedde. Oyinza okulowooza nti oyogera ne munno mu ngeri ey’ekisa, naye nga ye si bw’atyo bw’awulira. Bw’okimanya nti waliwo by’oyogera ebirumya munno, oli mwetegefu okukyusaamu?—Abaggalatiya 5:15; soma Abeefeso 4:31.
12. Kiki ekiyinza okuleetera omwami oba omukyala okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa?
12 Engeri gy’oyogeramu ne munno mu bufumbo nga muli mu bantu oba nga muli mmwekka erina ky’ekola ku nkolagana yo ne Yakuwa. (Soma 1 Peetero 3:7.) Yakobo 1:26 wagamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.”
13. Kintu ki ekirala ekiyinza okulumya omwami oba omukyala mu bufumbo?
13 Waliwo n’ebirala abafumbo bye balina okwegendereza baleme kulumya bannaabwe mu bufumbo. Ng’ekyokulabirako, munno anaawulira atya singa otandika okumala ebiseera bingi n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula? Wadde ng’oyinza okuba nga tolina bigendererwa bikyamu, oboolyawo ng’obuulirako bubuulizi n’omuntu oyo oba ng’omuyambako mu kizibu ky’ayolekagana nakyo, ekyo kinaayisa kitya munno mu bufumbo? Omukyala omu Omukristaayo yagamba nti: “Bwe ndaba omwami wange ng’amala ebiseera bingi ne muganda wange mu kibiina, kimpisa bubi. Mba ndaba nga tafaayo ku nneewulira zange.”
14. (a) Ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:24 bituyigiriza ki? (b) Kibuuzo ki kye tusaanide okwebuuza?
14 Abakristaayo tulina okufaayo ku bazadde baffe ne ku bakkiriza bannaffe. Wadde kiri kityo, Omukristaayo bw’ayingira obufumbo, munne mu bufumbo gw’asaanidde okusinga okufaako. Yakuwa yagamba nti omusajja alina ‘okunywerera ku mukazi we.’ (Olubereberye 2:24) Tulina okufaayo ennyo ku nneewulira za bannaffe mu bufumbo. Weebuuze: ‘Munnange mu bufumbo mmuwa ebiseera ebimala, mmuwuliriza, era nkiraga nti mmufaako?’
15. Lwaki Omukristaayo omufumbo alina okwewala okussaawo enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu atali mukyala we oba mwami we?
15 Bw’omala ebiseera bingi n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula era atali munno mu bufumbo, kisobola okuleetawo ebizibu mu maka go. Kiyinza okukuleetera okuba n’enkolagana etasaana n’omuntu oyo. (Matayo 5:28) Enkolagana eyo eyinza okukuviirako okukola ekintu ekityoboola obufumbo.
“EKITANDA KY’ABAFUMBO KIBEERENGA KIRONGOOFU”
16. Kiragiro ki ekikwata ku bufumbo Bayibuli ky’ewa?
16 Oluvannyuma lw’okugamba nti “Obufumbo bubeerenga bwa kitiibwa,” Bayibuli egamba nti: “Ekitanda ky’abafumbo kibeerenga kirongoofu, kubanga abagwenyufu n’abenzi Katonda ajja kubasalira omusango.” (Abebbulaniya 13:4) “Ekitanda ky’abafumbo” ekyogerwako wano kitegeeza okwegatta okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo. (Engero 5:18) Tuyinza tutya okukiraga nti ekitanda ky’abafumbo tukikuuma nga kirongoofu?
17. (a) Abantu bangi leero batwala batya obwenzi? (b) Abakristaayo basaanidde kutwala batya obwenzi?
17 Abantu abamu leero obwenzi tebabutwala ng’ekintu ekikyamu. Tetusaanidde kukkiriza ndowooza eyo kututwaliriza. Yakuwa akiraga kaati nti akyawa ebikolwa eby’obugwenyufu n’obwenzi. (Soma Abaruumi 12:9; Abebbulaniya 10:31; 12:29) Singa twegatta n’omuntu yenna atali munnaffe mu bufumbo, obufumbo bwaffe buba bufuuse obutali bulongoofu. Ekyo kiba kiraga nti tetussa kitiibwa mu mateeka ga Yakuwa era kyonoona enkolagana yaffe naye. N’olwekyo, tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuviirako okugwa mu bwenzi. Ekyo kitwaliramu n’okwewala okwegwanyiza omuntu atali munnaffe mu bufumbo.—Yobu 31:1.
18. (a) Kufaanagana ki okuliwo wakati w’obwenzi n’okusinza bakatonda ab’obulimba? (b) Obwenzi Yakuwa abutwala atya?
18 Okusinziira ku Mateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri, obwenzi kyali kibi kya maanyi nga kyenkana n’okusinza bakatonda ab’obulimba. Omuntu eyayendanga oba eyasinzanga bakatonda ab’obulimba yattibwanga. (Eby’Abaleevi 20:2, 10) Kufaanagana ki okwaliwo wakati w’obwenzi n’okusinza bakatonda ab’obulimba? Omuyisirayiri bwe yasinzanga bakatonda ab’obulimba yabanga amenye obweyamo bwe yakola okuba omwesigwa eri Yakuwa. Omuyisirayiri bwe yayendanga yabanga amenye obweyamo bwe yakola okuba omwesigwa eri munne mu bufumbo. (Okuva 19:5, 6; Ekyamateeka 5:9; soma Malaki 2:14.) Kyeyoleka kaati nti mu Isirayiri ey’edda, obwenzi Yakuwa yali abutwala ng’ekibi eky’amaanyi.
19. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba abamalirivu obuteenyigira mu bwenzi?
19 Ate leero? Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, endowooza Yakuwa gy’alina ku bwenzi tekyukanga. Nga bwe tuli abamalirivu obutasinza bakatonda ab’obulimba, tulina okuba abamalirivu obutayenda. (Zabbuli 51:1, 4; Abakkolosaayi 3:5) Bwe twenda, tuba tetussizza kitiibwa mu bufumbo bwaffe era tuba tetussizza kitiibwa mu Yakuwa Katonda waffe.—Laba Ebyongerezeddwako 26.
ENGERI GY’OYINZA OKUNYWEZAAMU OBUFUMBO BWO
20. Amagezi gayinza gatya okuyamba obufumbo?
20 Oyinza otya okunyweza obufumbo bwo? Bayibuli egamba nti: “Amagezi ge gazimba ennyumba, era okutegeera kwe kuginyweza.” (Engero 24:3) Ennyumba eyinza okuba nga teriimu kintu kyonna kisanyusa era nga teyeeyagaza kubaamu, oba eyinza okuba ng’erimu ebintu bingi ebisanyusa era nga yeeyagaza okubaamu. Bwe kityo bwe kiri ne mu bufumbo. Omuntu ow’amagezi afuba okulaba nti obufumbo bwe buba bunywevu era nti bweyagaza.
21. Okumanya kuyinza kutya okunyweza obufumbo?
21 Bayibuli era eyogera bw’eti ku nnyumba eyo: “Olw’okumanya, ebisenge byayo bijjula eby’obugagga ebya buli ngeri eby’omuwendo era ebisanyusa.” (Engero 24:4) By’oyiga mu Kigambo kya Katonda bisobola okukuyamba okunyweza obufumbo bwo. (Abaruumi 12:2; Abafiripi 1:9) Bwe muba musomera wamu Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, kiba kirungi ne mukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye muyinza okukolera ku ebyo bye muyize. Mulowooze ku ngeri gye muyinza okulagaŋŋanamu okwagala, okuwaŋŋana ekitiibwa, okulagaŋŋana ekisa, n’engeri buli omu gy’ayinza okulaga nti afaayo ku munne. Saba Yakuwa akuyambe okukulaakulanya engeri ezinaakuyamba okunyweza obufumbo bwo era ezinaaleetera munno mu bufumbo okukwagala.—Engero 15:16, 17; 1 Peetero 1:7.
22. Lwaki tusaanidde okwagala bannaffe mu bufumbo, okubawa ekitiibwa, n’okubatwala nga ba muwendo?
22 Tusaanidde okwagala bannaffe mu bufumbo, okubawa ekitiibwa, n’okubatwala nga ba muwendo. Bwe tunaakola bwe tutyo, obufumbo bwaffe bujja kweyongera okunywera. N’ekisinga obukulu, tujja kusanyusa Yakuwa.—Zabbuli 147:11; Abaruumi 12:10.