-
Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne SsenteNyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
2. Ssente tusaanidde kuzitwala tutya?
Wadde nga Bayibuli egamba nti ‘ssente kya bukuumi,’ era egamba nti ssente ku bwazo tezisobola kutuleetera ssanyu lya nnamaddala. (Omubuulizi 7:12) N’olwekyo, Bayibuli etukubiriza obutaagala nnyo ssente, wabula ‘okuba abamativu ne bye tulina.’ (Soma Abebbulaniya 13:5.) Bwe tuba abamativu ne bye tulina, twewala ebizibu ebiva mu kwagala ennyo ssente. Twewala okuba n’amabanja agateetaagisa. (Engero 22:7) Ate era twewala ebizibu ebifunibwa abo abakuba zzaala n’abo ababuzaabuzibwa nti basobola okugaggawala amangu wadde nga tebakoze nnyo.
-
-
Ekyo Bayibuli ky’Eyogera ku Mirimu ne SsenteNyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
5. Bwe tuba abamativu tuganyulwa
Abantu bangi eky’okufuna ssente kye bakulembeza mu bulamu bwabwe. Naye ekyo Bayibuli si ky’etukubiriza okukola. Soma 1 Timoseewo 6:6-8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Magezi ki Bayibuli g’etuwa?
Ne bwe tuba ne ssente ntono, tusobola okuba abasanyufu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Wadde ng’ab’omu maka abo tebalina ssente nnyingi, lwaki basanyufu?
Naye watya nga tulina ssente nnyingi, kyokka era nga twagala okufuna endala? Yesu yalaga akabi akali mu ekyo. Soma Lukka 12:15-21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki ky’oyize mu lugero lwa Yesu olwo?—Laba olunyiriri 15.
Soma era ogeraageranye Engero 10:22 ne 1 Timoseewo 6:10. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Kiruwa ekisinga obukulu, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa oba okuba ne ssente nnyingi? Lwaki ogamba bw’otyo?
Bizibu ki ebiva mu kwagala okufuna ssente nnyingi?
-