‘Musse Ekitiibwa mu Abo Abakola Ennyo mu Mmwe’
“[Musse] ekitiibwa mu abo abakola ennyo mu mmwe era abatwala obukulembeze mu Mukama waffe era abababuulirira.”—1 BAS. 5:12.
1, 2. (a) Ekibiina ky’e Ssessaloniika kyali mu mbeera ki Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eyasooka eri ekibiina ekyo? (b) Kiki Pawulo kye yakubiriza ab’oluganda abaali mu Ssessaloniika okukola?
KUBA akafaananyi ng’oli omu ku abo abaali mu kibiina ky’e Ssessaloniika ekyaliwo mu kyasa ekyasooka, ekimu ku bibiina ebyasooka okutandikibwawo mu Bulaaya. Omutume Pawulo yali amaze ekiseera ng’azimba ab’oluganda mu kibiina ekyo mu by’omwoyo. Ayinza okuba nga yalonda n’abakadde okutwala obukulembeze mu kibiina ekyo, nga bwe kyali ne mu bibiina ebirala. (Bik. 14:23) Naye ekibiina ekyo bwe kyali kyakatandikibwawo, Abayudaaya baakuma omuliro mu bantu okugoba Pawulo ne Siira mu kibuga ekyo. Abakristaayo abaasigala mu kibuga ekyo bayinza okuba nga baawulira nga baabuliddwa era kirabika baawulira nga baweddemu amaanyi.
2 Oluvannyuma lw’okuva mu Ssessaloniika, Pawulo ateekwa okuba nga yasigala alowooza ku kibiina ekyo ekyali kyakatandikibwawo. Yagezaako okuddayo, naye “Sitaani ne yeekiika” mu kkubo lye. Bw’atyo yasindika Timoseewo okuzzaamu amaanyi ekibiina ekyo. (1 Bas. 2:18; 3:2) Timoseewo bwe yaddayo n’abuulira Pawulo ebintu ebirungi ebikwata ku b’oluganda mu Ssessaloniika, ekyo kyakubiriza Pawulo okubawandiikira ebbaluwa. Mu bbaluwa ye eyo, yabakubiriza ‘okussa ekitiibwa mu abo abaali batwala obukulembeze mu bo.’—Soma 1 Abassessaloniika 5:12, 13.
3. Lwaki Abakristaayo mu Ssessaloniika baali balina okussa ennyo ekitiibwa mu bakadde abaali mu kibiina kyabwe?
3 Ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kibiina ky’e Ssessaloniika tebaalina bumanyirivu ng’obwo Pawulo awamu ne banne be yatambulanga nabo bwe baalina; era baali bamaze ekiseera kitono nnyo mu mazima bw’obageraageranya ku bakadde abaali mu Yerusaalemi. Ekyo tekyewuunyisa kubanga ekibiina ekyo kyali tekinnaweza na mwaka bukya kitandikibwawo! Wadde kyali kityo, abo abaali mu kibiina ekyo baali balina okulaga nti basiima abakadde abaali ‘bakola ennyo’ era abaali ‘batwala obukulembeze’ mu kibiina era abaali ‘bababuulirira.’ Mu butuufu baali balina ‘okussaamu ennyo abakadde ekitiibwa mu kwagala.’ Ate era Pawulo yabakubiriza ‘okuba mu mirembe buli muntu eri munne.’ Singa wali mu kibiina ky’e Ssessaloniika, naawe wandibadde okiraga nti osiima omulimu abakadde gwe baali bakola? Otwala otya ‘ebirabo mu bantu’ Katonda be yawa ekibiina kyo okuyitira mu Kristo?—Bef. 4:8.
“Abakola Ennyo”
4, 5. Lwaki abakadde abaaliwo mu kiseera kya Pawulo baalina okukola ennyo okusobola okuyigiriza ekibiina, era lwaki n’abakadde leero balina okukola kye kimu?
4 Mu ngeri ki abakadde mu Ssessaloniika gye baali ‘bakola ennyo’ oluvannyuma lwa Pawulo ne Siira okugenda e Beroya? Nga bakoppa ekyokulabirako kya Pawulo, bateekwa okuba nga baayigirizanga ekibiina nga bakozesa Ebyawandiikibwa. Naye oyinza okwebuuza, ‘Ddala Abakristaayo abaali mu Ssessaloniika baali baagala Ekigambo kya Katonda?’ Kuba ate Bayibuli egamba nti ab’e Beroya baali “baagala nnyo okuyiga n’okwekenneenya ebintu okusinga ab’e Ssessaloniika, . . . era buli lunaku beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.” (Bik. 17:11) Wano Pawulo yali tayogera ku Bassessaloniika abaali bafuuse Abakristaayo, wabula yali ayogera ku Bassessaloniika bonna okutwalira awamu. Abo abaafuuka Abakristaayo ‘tebakkiriza kigambo kya Katonda ng’ekigambo ky’abantu, naye ng’ekigambo kya Katonda.’ (1 Bas. 2:13) Abakadde bateekwa okuba nga baakolanga nnyo okusobola okuliisa abantu ng’abo mu by’omwoyo.
5 Leero, omuddu omwesigwa era ow’amagezi afuba okuwa ekisibo kya Katonda ‘emmere mu kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Ab’oluganda mu kibiina balina ebitabo bingi nnyo ebinnyonnyola Bayibuli, era abamu bayinza okuba nga balina Watch Tower Publications Index ne Watchtower Library ku kompyuta. Nga bakolera ku bulagirizi bw’omuddu omwesigwa, abakadde bakola nnyo okusobola okuliisa baganda baabwe mu by’omwoyo. Okusobola okukola ku byetaago by’ekibiina eby’omwoyo, abakadde bamala ebiseera ebiwerako nga bateekateeka enkuŋŋaana basobole okuganyula abo bonna abazibaamu. Wali olowoozezza ku biseera abakadde bye bamala nga bategeka ebitundu ebiba bibaweereddwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene?
6, 7. (a) Kyakulabirako ki Pawulo kye yateerawo abakadde b’e Ssessaloniika? (b) Lwaki kiyinza obutaba kyangu eri abakadde leero okukoppa Pawulo?
6 Abakadde mu Ssessaloniika bajjukiranga ekyokulabirako ekirungi Pawulo kye yabateerawo mu kulunda ekisibo. Pawulo teyalundanga kisibo lwa kutuusa butuusa mukolo. Naye nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Pawulo ‘yali mukwatampola nga maama bw’aba ng’alabirira abaana be.’ (Soma 1 Abassessaloniika 2:7, 8.) Yali mwetegefu ‘n’okuwa ekisibo obulamu bwe’! Abakadde baali balina okumukoppa nga balunda ekisibo.
7 Abasumba Abakristaayo leero nabo bakoppa Pawulo nga balabirira ekisibo. Kituufu nti ab’oluganda abamu bayinza okuba nga si bakyamufu era nga si kyangu kubakolako mukwano. Wadde kiri kityo, abakadde basaanidde okufuba okunoonya “ebirungi” mu b’oluganda ng’abo. (Nge. 16:20) Olw’okuba abakadde tebatuukiridde, oluusi bayinza okulemererwa okulaba ebirungi mu b’oluganda. Kyokka olw’okuba bafuba okuba abakwatampola eri bonna, tusaanidde okubasiima olw’okufuba okuba abasumba abalungi.
8, 9. Ezimu ku ngeri abakadde gye ‘batunula olw’obulamu bwaffe’ ze ziruwa?
8 Ffenna tulina ‘okugondera’ abakadde. Nga Pawulo bwe yagamba, ‘batunula olw’obulamu bwaffe.’ (Beb. 13:17) Ebigambo ebyo bitujjukiza abasumba ab’edda abeefiirizanga otulo okusobola okukuuma ebisibo byabwe. Mu ngeri y’emu leero, abakadde oluusi beefiiriza otulo twabwe okusobola okuyamba ab’oluganda abalwadde, abennyamivu, oba abo abanafuye mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro oluusi babazuukusa mu tulo nga waliwo omulwadde omuyi eyeetaaga okuyambibwa. Nga tusiima nnyo emirimu emirungi ab’oluganda abo gye bakola!
9 Abakadde abali ku Bukiiko Obukola ku by’Okuzimba bakola nnyo mu kuyamba ab’oluganda. Twetaaga okubawagira ennyo! Lowooza ku ebyo ab’oluganda bye baakola omuyaga bwe gwakuba ebitundu bya Myanmar mu 2008. Okusobola okutuusa obuyambi ku b’oluganda abaali mu kibiina ky’e Bothingone ekiri mu kitundu ekyakosebwa ennyo omuyaga, ab’oluganda abadduukirize baayita mu nguudo ezaali zoonoonese ennyo nga bagenda babuuka emirambo. Ab’oluganda mu kitundu ekyo bwe baalaba abadduukirize okwali n’eyali omulabirizi waabwe ow’ekitundu, baasanyuka nnyo ne bagamba nti: “Bannange! Mulabe omulabirizi waffe ow’ekitundu! Yakuwa atulokodde!” Osiima omulimu abakadde gwe bakola emisana n’ekiro? Abakadde abamu balondebwa okutuula ku kakiiko ak’enjawulo okukola ku misango emizibu mu kibiina. Abakadde abo tebeewaana olw’ebyo bye bakola; naye abo abaganyulwa mu buyambi bwabwe basiima nnyo emirimu gyabwe.—Mat. 6:2-4.
10. Mirimu ki emirala abakadde gye bakola?
10 Abakadde era balina ebintu ebirala bingi bye balina okukola mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, omulabirizi akwanaganya akakiiko k’abakadde alina okukola olukalala lw’abo abanaaba n’ebitundu mu nkuŋŋaana eza buli wiiki. Omuwandiisi w’ekibiina akola alipoota y’ekibiina ey’obuweereza bw’ennimiro eya buli mwezi n’eya buli mwaka. Omulabirizi akubiriza essomero ateekateeka olukalala lw’abo abanaaba n’emboozi mu ssomero. Buli luvannyuma lwa buli myezi essatu, wabaawo okubalirira ebitabo by’ekibiina. Abakadde basoma amabaluwa okuva ku ttabi era ne bakozesa amagezi agaba mu mabaluwa ago, ekyo ne kiyamba ekibiina okuba “obumu mu kukkiriza.” (Bef. 4:3, 13) Abakadde bano abakola ennyo basobozesa “ebintu byonna [okukolebwa] mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”—1 Kol. 14:40.
‘Abatwala Obukulembeze mu Mmwe’
11, 12. Baani abatwala obukulembeze mu kibiina, era okutwala obukulembeze mu kibiina kizingiramu ki?
11 Pawulo yagamba nti abakadde mu Ssessaloniika be baali ‘batwala obukulembeze’ mu kibiina. (1 Bas. 5:12) Era yagamba nti baali ‘bakola nnyo.’ Yali ayogera ku bakadde bonna abaali mu kibiina. Leero, abakadde abasinga obungi batwala obukulembeze mu kibiina era bakubiriza enkuŋŋaana. Enkyukakyuka eyakolebwa gye buvuddeko awo ey’okuba nti “omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde” kati ayitibwa “omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde” eraga nti abakadde bonna bakolera wamu okuyamba ekibiina.
12 ‘Okutwala obukulembeze’ mu kibiina kisingawo ku kuyigiriza obuyigiriza mu kibiina. Ekigambo ‘okufuga’ ekikozesebwa mu 1 Timoseewo 3:4 kirina amakulu ge gamu. Pawulo yagamba nti omulabirizi asaanidde ‘okufuga obulungi amaka ge, ng’alina abaana abawulize era abeegendereza.’ Ekigambo ‘okufuga’ kizingiramu okuyigiriza abaana be, okutwala obukulembeze mu maka ge, n’okuyamba ‘abaana be okuba abawulize.’ Yee, abakadde batwala obukulembeze mu kibiina nga bayamba abo bonna abakirimu okugondera Yakuwa.—1 Tim. 3:5.
13. Lwaki kiyinza okwetaagisa ebiseera ebiwerako abakadde okusobola okusalawo ku nsonga ezimu nga bali mu lukuŋŋaana lwabwe?
13 Abakadde beetaaga okutuula ne beekenneenya ebyetaago by’ekibiina era ne balaba engeri gye basobola okubikolako. Kiyinza okulabika ng’eky’omuganyulo singa omukadde omu yekka y’asalawo ku nsonga zonna ezikwata ku kibiina. Naye, nga bagoberera ekyokulabirako ky’akakiiko akafuzi akaaliwo mu kyasa ekyasooka, abakadde leero batuula wamu ne boogera ku nsonga ezikwata ku kibiina era ne banoonya obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa. Ekiruubirirwa kyabwe kwe kulaba nti bakolera ku misingi gy’Ebyawandiikibwa nga bakola ku byetaago by’ekibiina. Kiba kya muganyulo nnyo singa buli mukadde yeeteekerateekera olukuŋŋaana lw’abakadde, era n’alowooza ku Byawandiikibwa ne ku bulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Kya lwatu nti kino kyetaagisa ebiseera ebiwerako. Bwe wabaawo ensonga abakadde gye baba batakkiriziganyizzaako, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka akakiiko akafuzi bwe kaali keekenneenya ensonga ekwata ku kukomola, kiyinza okubeetaagisa okwongera okunoonyereza ku nsonga eyo basobole okusalawo nga basinziira ku Byawandiikibwa.—Bik. 15:2, 6, 7, 12-14, 28.
14. Kikusanyusa okulaba ng’abakadde bonna bali bumu? Lwaki kikusanyusa?
14 Kiki ekiyinza okubaawo singa omukadde omu agugubira ku ndowooza ye? Ate kiri kitya singa omukadde omu—okufaananako Diyotuleefe eyaliwo mu kyasa ekyasooka—agezaako okuleetawo enjawukana? (3 Yok. 9, 10) Ekyo kisobola okukosa ekibiina kyonna. Bwe kiba nti Sitaani yagezaako okumalawo emirembe mu kibiina mu kyasa ekyasooka, ne leero ateekwa okuba ng’ayagala okugimalawo. Asobola okukozesa omwoyo ogw’okwerowoozaako ng’atuleetera okwagala okuba aba waggulu ku balala. Bwe kityo, abakadde beetaaga okuba abeetoowaze era beetaaga okukolera awamu nga bali bumu. Nga kitusanyusa nnyo okulaba ng’abakadde booleka obwetoowaze era nga bakolera wamu!
“Abababuulirira”
15. Kiki ekikubiriza abakadde okubuulirira ow’oluganda oba mwannyinaffe?
15 Pawulo era yayogera ku kintu ekitali kyangu naye nga kikulu nnyo abakadde kye bakola: okubuulirira ekisibo. Okubuulirira tekitegeeza kwogera mu ngeri ya bukambwe. (Bik. 20:31; 2 Bas. 3:15) Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Ebintu bino sibibawandiikira kubaswaza, wabula okubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa.” (1 Kol. 4:14) Okwagala kwe yalina eri ab’oluganda kwe kwamukubiriza okubabuulirira.
16. Kiki abakadde kye balina okujjukira bwe baba babuulirira abalala?
16 Abakadde balina okukijjukira nti kikulu nnyo okufaayo ku ngeri gye babuuliriramu abalala. Bafuba okukoppa Pawulo nga baba ba kisa, nga booleka okwagala, era nga bayamba abalala. (Soma 1 Abassessaloniika 2:11, 12.) Abakadde balina okufuba ‘okunywerera ku kigambo ekyesigwa basobole okukubiriza abalala nga bayigiriza ebigambo eby’obulamu.’—Tit. 1:5-9.
17, 18. Kiki ky’osaanidde okujjukira abakadde bwe baba bakubuulirira?
17 Kya lwatu nti abakadde nabo tebatuukiridde era oluusi boogera ebigambo bye bayinza okwejjusa oluvannyuma. (1 Bassek. 8:46; Yak. 3:8) Era abakadde bakimanyi nti okubuulirira kwe bawa baganda baabwe ne bannyinaabwe tekutera kuba “kwa ssanyu, wabula kwa nnaku.” (Beb. 12:11) N’olwekyo, omukadde bw’aba tannatuukirira wa luganda kumubuulirira, asooka kusaba n’okufumiitiriza ennyo ku ebyo by’aba agenda okwogera. Omukadde bw’akubuulirira, okiraba nti aba alaze nti akwagala era nti akufaako?
18 Kuba akafaananyi ng’oli mulwadde naye nga tomanyi bulwadde bukuluma. Omusawo akukebera era n’akubuulira nti obulwadde obukuluma bwa maanyi nnyo. Oyinza okunyiigira omusawo oyo? Nedda! Mu kifo ky’ekyo, okkiriza obujanjabi bw’akugamba okufuna ne bwe kiba kyetaagisa kukulongoosa, ng’okimanyi nti ekyo kijja kukuyamba. Engeri omusawo gy’ayogeramu naawe eyinza obutakuyisa bulungi, naye ekyo kyandikulemesezza okukkiriza obujanjabi bw’akugamba okufuna? Nedda. Mu ngeri y’emu, tokkiriza ngeri abakadde gye baba boogeddemu naawe nga bakubuulirira kukulemesa kubawuliriza kubanga Yakuwa ne Yesu babakozesa okukuyamba mu by’omwoyo.
Kirage nti Osiima Abakadde Yakuwa b’Atuwadde
19, 20. Tusobola tutya okulaga nti tusiima ‘ebirabo mu bantu’?
19 Kiki kye wandikoze singa wabaawo omuntu akulowoozezaako n’akuwa ekirabo? Tewandiraze nti osiima ekirabo ekyo? Yakuwa ng’ayitira mu Yesu akuwadde ‘ebirabo mu bantu.’ Engeri emu gy’oyinza okulagamu nti osiima ebirabo ebyo kwe kussaayo omwoyo ng’abakadde bawa emboozi era n’ofuba okukolera ku ebyo bye boogera. Era osobola okulaga nti osiima ebirabo ebyo ng’ofuba okuddamu ebintu ebizimba mu nkuŋŋaana. Wagira abakadde nga batwala obukulembeze mu mirimu egitali gimu, gamba ng’okubuulira. Bw’oba ng’oganyuddwa mu magezi omukadde omu ge yakuwa, lwaki tomutuukirira n’omwebaza? Era lwaki tosiima n’abo abali mu maka g’abakadde? Kijjukire nti omukadde okusobola okuyamba ekibiina, akozesa ebiseera bye yandimaze ng’ali wamu n’ab’omu maka ge.
20 Yee, ffenna tusaanidde okusiima abakadde abakola ennyo mu ffe, abatwala obukulembeze, era abatubuulirira. ‘Ebirabo bino mu bantu’ kye kimu ku bintu eby’omuwendo ennyo Yakuwa by’atuwadde!
Ojjukira?
• Lwaki Abakristaayo mu Ssessaloniika baalina okulaga nti basiima abo abaali batwala obukulembeze mu kibiina?
• Mu ngeri ki abakadde mu kibiina kyo gye bakola ennyo?
• Oganyuddwa otya mu bakadde abatwala obukulembeze mu kibiina kyo?
• Kiki ky’osaanidde okujjukira abakadde bwe bakubuulirira?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Osiima ebyo byonna abakadde bye bakola nga balabirira ekibiina?