“Abaana Abato, Muwulirenga Abazadde Bammwe”
“Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.”—ABAEFESO 6:1.
1. Obuwulize buyinza butya okukukuuma?
TUYINZA okuba nga tukyali balamu olw’okuba twalaga obuwulize, ng’ate abalala baafa olw’okuba tebaawuliriza. Kuwuliriza ki? Okuwuliriza okulabula, gamba ng’okwo okutuweebwa emibiri gyaffe ‘egyakolebwa mu ngeri ey’entiisa.’ (Zabbuli 139:14) Amaaso gaffe galaba ebire nga bikutte, n’amatu gaffe gawulira eggulu nga libwatuka. Kibuyaga omungi atandika okukunta. Abo abamanyi akabi akayinza okubaawo, olulaba obubonero buno nga banoonya aw’okweggama enkuba eyo erimu kibuyaga, omuzira ne laddu, basobole okuwonyawo obulamu bwabwe.
2. Lwaki abaana beetaga okulabulwa, era lwaki kibeetaagisa okuwulira bazadde baabwe?
2 Abaana abato mwetaaga okulabulwa ku bintu ebiyinza okubaviiramu akabi, era buno buvunaanyizibwa bwa bazadde bammwe. Oyinza okuba ng’ojjukira lwe baakugamba nti: “Tokwata ku muliro gujja ku kwokya.” “Tozannyira mu nnyanja, kubanga kya kabi.” “Tunula erudda n’erudda nga tonnasala luguudo.” Eky’ennaku, abaana bafuna obubenje oluusi abamu ne bafa, olw’obutaba bawulize. Okuba omuwulize eri bazadde bo “kirungi,” ate era ky’amagezi. (Engero 8:33) Ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti ekyo kye “kisiimibwa” Mukama waffe Yesu Kristo. Mazima ddala, Katonda atulagira okuwulira bazadde baffe.—Abakkolosaayi 3:20; 1 Abakkolinso 8:6.
Emiganyulo egy’Olubeerera Egiva mu Kuba Omuwulize
3. ‘Obulamu obwa nnamaddala’ eri abasinga obungi ku ffe bwe buluwa, era kiki abaana kye basaanidde okukola okusobola okubufuna?
3 Okugondera abazadde bo kya bukuumi eri ‘obulamu bwo obwa kaakano,’ naye era kijja kukusobozesa okunnyumira obulamu “obugenda okujja,” obuyitibwa ‘obulamu obwannamaddala.’ (1 Timoseewo 4:8; 6:19) Eri abasinga obungi ku ffe, obulamu obwannamaddala bujja kuba obulamu obutaggwaawo mu nsi empya Katonda gy’asuubiza abeesigwa abakwata amateeka ge. Eteeka ekkulu ku mateeka gano ligamba: “Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza), olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.” N’olwekyo, singa ogondera bazadde bo, ojja kuba musanyufu. Ebiseera byo eby’omu maaso bijja kuba birungi era ojja kufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi!—Abaefeso 6:2, 3.
4. Abaana bayinza batya okugondera Katonda era ne baganyulwa?
4 Bw’ossa ekitiibwa mu bazadde bo ng’obagondera, era oba ossa ekitiibwa mu Katonda kubanga y’akulagira okubagondera. Ate mu kiseera kye kimu naawe oba oganyulwa. Baibuli egamba: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa.” (Isaaya 48:17; 1 Yokaana 5:3) Okubeera omuwulize kikugasa kitya? Kireetera kitaawo ne nnyoko essanyu, era nabo bajja kukukolera ebinaakusanyusa. (Engero 23:22-25) N’ekisingira ddala obukulu, obuwulize bwo busanyusa Kitaffe ow’omu ggulu era ajja kukuwa empeera ey’ekitalo! Ka tulabe engeri Yakuwa gye yawaamu Yesu omukisa n’obukuumi, eyeeyogerako nti: “Nkola bulijjo by’asiima.”—Yokaana 8:29.
Yesu—Omukozi Omunyiikivu
5. Nsonga ki ezituleetera okukkiriza nti Yesu yali mukozi munyiikivu?
5 Yesu ye yali omwana wa Malyamu omubereberye. Yusufu kitaawe omukuza, yali mubazzi. Yesu naye yafuuka omubazzi era kirabika nga Yusufu ye yamuyigiriza. (Matayo 13:55; Makko 6:3; Lukka 1:26-31) Olowooza Yesu yali mubazzi wa kika ki? Bwe yali akyali mu ggulu nga tannazaalibwa nnyina Malyamu, Yesu ng’ayogerwako ng’amagezi, yagamba nti: “Nze nga ndi awo [awali Katonda] ng’omukoza: era bulijjo yansanyukiranga.” Katonda yayagala nnyo Yesu eyali omukozi omunyiikivu mu ggulu. Olowooza ne bwe yali nga muvubuka yafubanga nnyo okukola obulungi emirimu gye, gamba ng’ogw’obubazzi?—Engero 8:30; Abakkolosaayi 1:15, 16.
6. (a) Olowooza lwaki Yesu ng’akyali muto yakolanga emirimu awaka? (b) Mu ngeri ki abaana gye bayinza okukoppamu Yesu?
6 Awatali kubuusabuusa, Yesu ng’akyali muto oluusi yazannyanga emizannyo nga ne Baibuli bw’eraga nti abaana ab’omu biseera eby’edda baazannyanga. (Zekkaliya 8:5; Matayo 11:16, 17) Wadde kyali kityo, tuyinza okusuubira nti ng’omwana omukulu mu maka amanene ate nga maavu, Yesu yabanga n’emirimu mingi awaka, nga mwe muli ne Yusufu okumutendeka okubajja. Oluvannyuma, Yesu yatandika okubuulira era yeerekereza bingi okusobola okwemalira mu buweereza. (Lukka 9:58; Yokaana 5:17) Ngeri ki gy’oyinza okukoppamu Yesu? Bazadde bo bakulagira okulongoosa ennyumba oba okukola emirimu emirala? Bakukubiriza okusinza Katonda ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okubuulirako abalala ku nzikiriza yo? Olowooza Yesu ng’akyali muto yandiwulirizza bazadde be nga bamugambye okukola kye kimu?
Omusomesa era Omuyizi wa Baibuli Omunyiikivu
7. (a) B’ani Yesu b’ayinza okuba nga yagenda nabo ku mbaga ey’Okuyitako? (b) Yesu yali ludda wa nga abalala baddayo eka, era lwaki yali eyo?
7 Yakuwa yalagira abasajja n’abalenzi bonna mu maka g’Abaisiraeri okugendanga okumusinza mu yeekaalu ye ku mbaga ssatu ez’Abayudaaya. (Ekyamateeka 16:16) Yesu bwe yali aweza emyaka 12 egy’obukulu bonna mu maka bayinza okuba baagenda e Yerusaalemi okukwata embaga ey’Okuyitako. Mu bano muyinza okuba nga mwalimu baganda be ne bannyina. Kyokka, mu be baali batambula nabo muyinza okuba mwalimu Saalome, ng’ono ayinza okuba yali muganda wa Malyamu, ne bbaawe Zebbedaayo ne batabani baabwe Yakobo ne Yokaana, oluvannyuma abaafuuka abatume.a (Matayo 4:20, 21; 13:54-56; 27:56; Makko 15:40; Yokaana 19:25) Bwe baali baddayo eka, Yusufu ne Malyamu bayinza okuba baalowooza nti Yesu yali n’ab’eŋŋanda, bwe kityo mu kusooka tebaategeera nti asigaddeyo. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu Malyamu ne Yusufu baamusanga mu yeekaalu, “ng’atudde wakati mu bayigiriza, ng’abawuliriza, ng’ababuuza.”—Lukka 2:44-46.
8. Yesu yakola ki mu yeekaalu, era lwaki abantu beewuunya nnyo?
8 Bibuuzo bya ngeri ki Yesu bye yali ‘abuuza’ abayigiriza? Kiyinza okuba nti yali tabuuza kutegeera butegeezi ebyo bye yali tamanyi. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozesebwa wano kiyinza okutegeeza okubuuza ebibuuzo nga bwe kiba mu kkooti ng’omuntu awa obujulizi, ne kiba nti buli lubuuza ebibuuzo. Yee, ne bwe yali ng’akyali muvubuka, Yesu yali ayize Baibuli mu ngeri eyewuunyisa ne bannaddiini abaali abayivu! Baibuli egamba nti: “Bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw’amagezi ge n’okuddamu kwe.”—Lukka 2:47.
9. Osobola otya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu kuyiga Baibuli?
9 Olowooza Yesu yajja atya okumanya nnyo ebyawandiikibwa nga akyali muto n’atuuka n’okwewuunyisa abayigiriza abaalina obumanyirivu? Kya lwatu, bazadde be baali batya Katonda era nga be baamuyigiriza ebyawandiikibwa okuva mu buto. (Okuva 12:24-27; Ekyamateeka 6:6-9; Matayo 1:18-20) Tuyinza okuba abakakafu nti Yusufu yagendanga ne Yesu omuto mu kuŋŋaaniro okuwulira Ebyawandiikibwa nga bisomebwa era nga binnyonnyolwa. Naawe olina abazadde abakusomesa Baibuli era abakutwala mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? Otwala okufuba kw’abazadde bo nga kwa muwendo nga ne Yesu bwe yasiima bazadde be? Obuulirako abalala ku ebyo by’oyiga nga Yesu bwe yakola?
Yesu Yali Muwulize
10. (a) Lwaki bazadde ba Yesu bandibadde bamanyi aw’okumusanga? (b) Kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yateekerawo abaana?
10 Olowooza Malyamu ne Yusufu baawulira batya nga basanze Yesu mu yeekaalu oluvannyuma lw’okumunoonyeza ennaku ssatu? Awatali kubuusabuusa, baawulira bulungi nnyo. Naye Yesu yeewunya nnyo okulaba nti bazadde be baali tebamanyi gy’ali. Bombi baali bamanyi bulungi nti okuzaalibwa kwa Yesu kwali kwa kyamagero. Ate era wadde nga baali tebamanyi byonna, baali bamanyi nti mu biseera eby’omu maaso yali ajja kuba Mulokozi era Mufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 1:21; Lukka 1:32-35; 2:11) Ye nsonga lwaki Yesu yababuuza: “Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu [nnyumba ya] Kitange?” Olw’obuwulize bwe, Yesu yadda e Nazaaleesi ne bazadde be. Baibuli egamba: “N’abagonderanga.” Ate era “nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.”—Lukka 2:48-51.
11. Kiki ky’oyigira ku buwulize bwa Yesu?
11 Okisanga nga kyangu okukoppa Yesu, ng’ogondera bazadde bo bulijjo? Oba otera okuwulira nti ensi y’akakyo kano tebagitegeera era nti gwe omanyi okubasinga? Kituufu nti oyinza okubaako by’obasinga okumanya—gamba ng’okukozesa obusimu obw’omu ngalo, kompyuta, oba ebyuma ebirala ebiri ku mulembe. Naye lowooza ku Yesu, eyewuunyisa abayigiriza abalina obumanyirivu “olw’amagezi ge n’okuddamu kwe.” Mu butuufu bwe weegeraageranya naye ojja kukizuula nti omanyi kitono nnyo. Kyokka, Yesu yali muwulize eri bazadde be. Kino tekitegeeza nti yakkiriziganyanga nabo mu buli kimu. Wadde kyali kityo, ‘yabagonderanga’—mu kiseera ky’obuvubuka bwe kyonna. Olowooza kyakuyiga ki ky’ofuna mu kyokulabirako kye ekyo?—Ekyamateeka 5:16, 29.
Si Kyangu Okuba Omuwulize
12. Obuwulize buyinza butya okukuuma obulamu bwo?
12 Bulijjo si kyangu okuba omuwulize. Emyaka mitono egiyise kino kyeyoleka ng’obuwala bubiri bwagala okudduka busale oluguudo olugazi ennyo, mu kifo ky’okuyitira ku ttaawo. Bwagamba mukwano gwabwe nti: “Naye John naawe, jjangu tuyite wano.” Bwe yagaana, akawala akamu kaamujerega nti, “Wabula oli mutiitiizi!” Wadde John teyali mutiitiizi, yagamba nti, “Nnina okugondera maama kye yaŋŋamba.” Mu ddakiika ntono ng’ali waggulu ku ttaawo, John yawulira mmotoka esiba, era agenda okutunula wansi nga banne bombi mmotoka ebakoonye. Omu yamuttirawo ate omulala n’emubetenta okugulu era oluvannyuma baakusalako. Maama waabwe eyali yabagamba kuyitanga ku ttaawo oluvannyuma yagamba maama wa John nti, “Kale singa n’abaana bange bali bawulize nga mutabani wo.”—Abaefeso 6:1.
13. (a) Lwaki olina okugondera bazadde bo? (b) Ddi omwana lw’atandikoze bazadde be kye bamugambye?
13 Lwaki Katonda agamba nti: “Abaana abato muwulirenga abazadde bammwe”? Bw’owulira bazadde bo, oba owulira Katonda. Ng’ogyeko ekyo, bazadde bo balina obumanyirivu okukusinga. Ng’ekyokulabirako, emyaka etaano ng’akabenje ke twogedde tekannabaawo, mukwano gwa maama wa John yali yafiirwa omwana eyali asala oluguudo olwo lwe nnyini! Mu butuufu, kiyinza obutaba kyangu bulijjo okugondera bazadde bo, naye Katonda agamba nti olina okukikola. Ku luuyi olulala, singa bazadde bo—oba abantu abalala—bakugamba okulimba, okubba, oba okukola ekintu kyonna ekitasanyusa Katonda, oteekwa “okuwulira Katonda okusinga abantu.” Eyo y’ensonga lwaki Baibuli bw’emala okugamba nti, “muwulirenga abazadde bammwe,” egattako nti, “mu Mukama waffe.” Kino kitwaliramu okugondera abazadde bo mu bintu byonna ebitakontana na mateeka ga Katonda.—Ebikolwa 5:29.
14. Lwaki omuntu atuukiridde kimwanguyira okuba omuwulize, naye lwaki era yeetaaga okuyiga obuwulize?
14 Olowooza singa wali otuukiridde nga Yesu “ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi”—kyandikwanguyidde okugondera bazadde bo? (Abaebbulaniya 7:26) Singa wali otuukiridde, wandibadde toyonoona nga bw’okola kati. (Olubereberye 8:21; Zabbuli 51:5) Kyokka ne Yesu yalina okuyiga obuwulize. Baibuli egamba: “Newakubadde nga [Yesu yali] Mwana, naye yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona.” (Abaebbulaniya 5:8) Okubonaabona kwamuyamba kutya okuyiga obuwulize, ekintu ekitaamwetaagisa kuyiga ng’ali mu ggulu?
15, 16. Yesu yayiga atya obuwulize?
15 Nga bagoberera obulagirizi bwa Yakuwa, Yusufu ne Malyamu baakuuma Yesu obutatuukibwako kabi ng’akyali muto. (Matayo 2:7-23) Kyokka oluvannyuma Katonda yalekera awo okukuuma Yesu mu ngeri ey’ekyamagero. Okubonaabona Yesu kwe yayitamu kwali kungi nnyo Baibuli ky’eva egamba nti “yawaayo okwegayirira n’okusaba . . . n’okukaaba ennyo n’amaziga.” (Abaebbulaniya 5:7) Kino kyaliwo ddi?
16 Okusingira ddala kino kyaliwo mu ssaawa ezisembayo ez’obulamu bwe ku nsi, Setaani bwe yakola kyonna ky’asobola okumenya obugolokofu bwe. Mu butuufu, Yesu kyamuluma nnyo bwe yalowooza ku ky’okuttibwa nga gy’oli nti yali mumenyi wa mateeka, n’engeri gye kyandikutte ku linnya lya Kitaawe, bw’atyo bwe “yeeyongera okusaba ennyo [mu nnimiro ye Gesusemane] entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, nga gatonnya wansi.” Nga wakayitawo essaawa ntono, Yesu yafiira ku muti ogw’okubonaabona. Engeri gye yafaamu yali ya bulumi nnyo ne kimuleetera ‘okukaaba amaziga n’eddoboozi ddene.’ (Lukka 22:42-44; Makko 15:34) Bwe kityo, Yesu “yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona” mu ngeri eyo n’asanyusa omutima gwa Kitaawe. Kati ng’ali mu ggulu, Yesu ategeera bulungi obulumi bwe tuyitamu bwe tuba tufuba okuba abawulize.—Engero 27:11; Abaebbulaniya 2:18; 4:15.
Okuyiga Okuba Omuwulize
17. Twanditutte tutya okukangavvulwa kwe tuweebwa?
17 Bazadde bo bwe bakukangavvula, kiba kiraga nti bakwagala. Baibuli ebuuza nti: “Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?” Tekyandibadde kya nnaku singa bazadde bo tebakulaga kwagala bwe kityo ne batafaayo kukuwabula? Olw’okuba Yakuwa akwagala, ky’ava akuwabula. “Okukangavvula kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula nga kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo, bye by’obutuukirivu.”—Abaebbulaniya 12:7-11.
18. (a) Okukangavvulwa kuwa bukakafu ki? (b)Mu ngeri ki okukangavvula gye kuyambye abantu okuba n’empisa?
18 Kabaka wa Isiraeri ey’edda, Yesu gwe yayogerako nti yali wa magezi nnyo, yalaga nti abaana beetaaga obulagirizi bw’abazadde. Sulemaani yawandiika nti: “Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.” Sulemaani era yagamba nti omuntu bw’akkiriza okubuulirirwa ayinza okuwonya emmeeme ye kufa. (Engero 13:24; 23:13, 14; Matayo 12:42) Omukyala omu Omukristaayo ajjukira nti bwe yali akyali muto buli lwe yeeyisanga obubi mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, kitaawe yamusuubizanga okumukangavvula nga bazzeeyo eka. Kati buli lw’ajjukira kitaawe, asiima nnyo okukangavvula kwe yamuwa okwamuyamba okukula nga wa mpisa nnungi.
19. Okusingira ddala lwaki weetaaga okugondera bazadde bo?
19 Wandibadde musanyufu olw’okuba n’abazadde abakwagala era abafuba okukukangavvula. Bagondere era nga ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe yagondera bazadde be, Yusufu ne Malyamu. Naye okusingira ddala bagondere kubanga Kitaawo ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, ekyo ky’akulagira okukola. Bw’onookola bw’otyo, gwe kennyini ojja kuganyulwa, ‘ojja kubeera bulungi, era owangaale ennaku nnyingi ku nsi.’—Abaefeso 6:2, 3.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitabo Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 841, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Abaana baganyulwa batya bwe bagondera bazadde baabwe?
• Kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo bwe yagondera bazadde be ng’akyali muto?
• Yesu yayiga atya obuwulize?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Nga wa myaka kumi n’ebiri, Yesu yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa