-
‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’Omunaala gw’Omukuumi—2002 | Okitobba 1
-
-
‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’
“Kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twawulira, tulyoke tuleme okubivaako.”—ABAEBBULANIYA 2:1, NW.
1. Nnyonnyola engeri okuwugulibwa gye kuyinza okuleetawo akabenje.
OBUBENJE bw’ebidduka bufiiramu abantu 37,000 buli mwaka mu nsi y’Amereka yokka. Abakugu bagamba nti bungi ku bubenje obwo bwandyewaliddwa singa abavuzi b’ebidduka bassaayo omwoyo nga bali ku luguudo. Abavuzi b’ebidduka abamu bawugulibwa ebipande eby’oku nguudo oba obusimu bwabwe obw’omu ngalo. Waliwo abalina omuze ogw’okulya ebintu ng’eno bwe bavuga. Mu mbeera zino zonna, okuwugulibwa kuyinza okuleetawo akabenje.
2, 3. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa Abakristaayo Abebbulaniya, era lwaki okubuulirira kwe kwali kutuukirawo?
2 Emyaka nga 2,000 emabega ng’emmotoka tennaba na kuvumbulwa, omutume Pawulo yalaga ekika ky’okuwugulibwa ekyali eky’akabi ennyo eri Abakristaayo abamu Abebbulaniya. Pawulo yaggumiza nti Yesu Kristo eyali amaze okuzuukizibwa yali aweereddwa ekifo ekisinga ekya bamalayika bonna, kubanga yatuuzibwa ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. Awo omutume kyeyava agamba: “Kye kivudde kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye twawulira, tulyoke tuleme okubivaako.”—Abaebbulaniya 2:1, NW.
3 Lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baalina ‘okussaayo ennyo omwoyo eri ebyo bye baawulira’ ebikwata ku Yesu? Kubanga emyaka nga 30 gyali gimaze okuyitawo bukya Yesu ava ku nsi. Olw’okuba Mukama waabwe yali takyali nabo, Abakristaayo abamu Abebbulaniya baali batandise okuseeseetuka nga bava mu kusinza okw’amazima. Baali batandise okuwugulibwa ensinza y’Ekiyudaaya, eddiini gye baali basoma nga tebannafuuka Bakristaayo.
Baali Beetaaga Okussaayo Ennyo Omwoyo
4. Nsonga ki eziyinza okuba nga zaaviirako Abakristaayo Abebbulaniya abamu okwagala okuddayo mu ddiini y’Ekiyudaaya?
4 Lwaki Omukristaayo yandikemeddwa okuddayo mu ddiini y’Ekiyudaaya? Ensinza eyo eyali yeesigamiziddwa ku Mateeka ga Musa, yalimu ebintu ebyali birabwako n’amaaso. Abantu baasobolanga okulaba bakabona n’okuwunyirwa evvumbe lya ssaddaaka. Kyokka, Obukristaayo bwali bwawufu mu ngeri ezimu. Abakristaayo baalina Kabona Omukulu, Yesu Kristo, naye yali amaze emyaka asatu nga takubibwako kimunye ku nsi. (Abaebbulaniya 4:14) Baalina yeekaalu, naye ekifo kyayo ekitukuvu kyali mu ggulu. (Abaebbulaniya 9:24) Obutafaananako kukomolebwa okw’omubiri okwali kulagirwa mu Mateeka, okukomolebwa kw’Abakristaayo kwali ‘kwa mutima, mu ngeri ey’omwoyo.’ (Abaruumi 2:29) N’olwekyo, eri Abakristaayo Abebbulaniya, Obukristaayo buyinza okuba nga bwatandika okubalabikira ng’obutaali bwa ddala.
5. Pawulo yalaga atya nti ensinza Yesu gye yatandikawo yali esingira wala nnyo ey’Amateeka ga Musa?
5 Abakristaayo Abebbulaniya baali beetaaga okutegeera ekintu kimu ekikulu ennyo ekyali kikwata ku kusinza Kristo kwe yatandikawo. Okusinza okwo kwali kwesigamiziddwa ku kukkiriza so si ku kulaba, kyokka kwali kusingira wala nnyo Amateeka agaaweebwa okuyitira mu nnabbi Musa. Omutume Pawulo yawandiika: “Kuba oba ng’omusaayi gw’embuzi n’ente ennume n’evvu ly’ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri; omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw’[o]mwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?” (Abaebbulaniya 9:13, 14) Yee, okusonyiyibwa okuva mu kukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo, mu ngeri nnyingi kusingira wala nnyo okwo okuva mu ssaddaaka ezaaweebwangayo mu nkola y’amateeka ga Musa.—Abaebbulaniya 7:26-28.
6, 7. (a) Mbeera ki eyali yeetaagisa Abakristaayo Abebbulaniya ‘okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo bye baali bawulidde’? (b) Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abebbulaniya, Yerusaalemi kyali kibuzaayo bbanga ki okuzikirizibwa? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)
6 Waaliwo ensonga endala lwaki Abakristaayo Abebbulaniya baalina okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye baawulira ebikwata ku Yesu. Yali alagudde nti Yerusaalemi kyali kya kuzikirizibwa. Yesu yagamba: “Ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna balikusuula wansi, n’abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.”—Lukka 19:43, 44.
7 Kino kyandibaddewo ddi? Yesu teyawa lunaku na ssaawa. Mu kifo ky’ekyo, yalagira: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n’ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n’ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.” (Lukka 21:20, 21) Nga wayiseewo emyaka 30 oluvannyuma lwa Yesu okwogera ebigambo ebyo, Abakristaayo abamu mu Yerusaalemi baalekera awo okuba obulindaala. Baawugulibwa. Bwe batandikyusizza ndowooza yaabwe, baali boolekedde akatyabaga. Ka babe nga baali baakilowoozaako oba nedda, Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa!a Ka tusuubire nti okubuulira kwa Pawulo kwazuukusa Abakristaayo abaali baddiridde mu by’omwoyo mu Yerusaalemi.
“Okussaayo Ennyo Omwoyo” Leero
8. Lwaki twetaaga “okussaayo ennyo omwoyo” ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda?
8 Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, naffe twetaaga “okussaayo ennyo omwoyo” ku mazima agali mu Kigambo kya Katonda. Lwaki? Kubanga naffe twolekaganye n’okuzikiriza, era ng’okuzikiriza okwo si kwa ggwanga limu lyokka, wabula kwa nteekateeka yonna ey’ebintu bino. (Okubikkulirwa 11:18; 16:14, 16) Kya lwatu, tetumanyi lunaku lwennyini na ssaawa Yakuwa w’anaakolera ekyo. (Matayo 24:36) Wadde kiri bwe kityo, tulaba n’amaaso gaffe okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli obulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (2 Timoseewo 3:1-5) N’olwekyo, tulina okwekuuma ekintu kyonna ekiyinza okutuwugula. Tulina okussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda era tubeere bulindaala. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kusobola “okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo.”—Lukka 21:36.
-
-
‘Ssaayo Nnyo Omwoyo’Omunaala gw’Omukuumi—2002 | Okitobba 1
-
-
a Ebbaluwa ya Pawulo eri Abebbulaniya eyinza okuba nga yawandiikibwa mu 61 C.E. Bwe kiba bwe kityo, waayitawo emyaka etaano gyokka Yerusaalemi ne kizingizibwa amagye ga Cestius Gallus. Mangu ddala, amagye ago gejjulula, ne kiwa Abakristaayo abaali obulindaala omukisa okudduka. Oluvannyuma lw’emyaka ena, ekibuga kyazikirizibwa Abaruumi nga bakulemberwa Omugabe Tito.
-