Kkiriza Obuyinza bwa Yakuwa
“Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.”—1 YOK. 5:3.
1, 2. (a) Lwaki abantu bangi leero tebaagalira ddala kuba wansi wa buyinza bwa muntu mulala? (b) Abo abagamba nti tebaagala kuweebwa bulagirizi be beesalirawo buli kye bakola? Nnyonnyola.
ABANTU bangi tebaagalira ddala kuba wansi wa buyinza bwa muntu mulala. Endowooza yaabwe eri nti: “Tewali alina kundagira kya kukola.” Naye ddala kituufu nti abantu ng’abo buli kye bakola be bakyesalirawo? N’akatono! Abasinga bagoberera bugoberezi ebyo ebikolebwa abantu ‘abeefaananyiriza omulembe guno.’ (Bar. 12:2) Mu kifo ky’okuba nti be beesalirawo eky’okukola, abantu ng’abo “baddu ba mpisa mbi” ng’omutume Peetero bwe yagamba. (2 Peet. 2:19, NW) Batambula “ng’emirembe egy’ensi eno bwe giri, [nga bagoberera] omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga,” Setaani Omulyolyomi.—Bef. 2:2.
2 Omuwandiisi w’ebitabo omu yeewaana n’agamba nti: “Tewali ansalirawo kya kukola k’abe muzadde wange, mukulembeze wa ddiini yenna, wadde Baibuli.” Kyo kituufu nti abantu abamu bakozesa bubi obuyinza bwabwe era tebagwana kugonderwa. Naye kiba kya magezi okugamba nti tetwetaaga bulagirizi n’akamu? Bw’otunulako mu mpapula z’amawulire ofuna mangu eky’okuddamu. Kya nnaku nti mu kiseera nga kino abantu mwe kibeetaagisiza ennyo okuweebwa obulagirizi, abasinga tebaagala kubukkiriza.
Engeri gye Tutwalamu ab’Obuyinza
3. Abakristaayo b’omu kyasa ekyasooka baakiraga batya nti baali tebamala gagondera ba buyinza?
3 Ng’Abakristaayo, engeri gye tutwalamu ab’obuyinza ya njawulo ku y’ensi eno. Kino tekitegeeza nti tumala gakola buli kye baba batugambye. Oluusi kitwetaagisa okugaana okukola abalala kye baagala ne bwe kiba nti balina obuyinza. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo bwe batyo bwe baakola. Ng’ekyokulabirako, kabona omukulu n’ab’obuyinza abalala abaali ku lukiiko bwe baawera omulimu gw’okubuulira, abatume baagaana okugondera ekiragiro ekyo. Baasalawo okukola ekituufu mu kifo ky’okugondera ekyo ab’obuyinza kye baali babalagidde okukola.—Soma Ebikolwa by’Abatume 5:27-29.
4. Byakulabirako ki mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebiraga nti abantu ba Katonda bangi baagaana okukola ebikyamu?
4 Abaweereza ba Katonda bangi abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika nabo baakola kye kimu. Ng’ekyokulabirako, Musa ‘yagaana okuyitibwa omwana wa muwala wa Falaawo, era yasalawo okuyisibwa obubi wamu n’abantu ba Katonda’ wadde nga kino kyakwasa ‘kabaka obusungu.’ (Beb. 11:24, 25, 27) Yusufu yagaana okwetaba ne mukka Potifali wadde nga yali akimanyi nti omukazi oyo yali asobola okumukola akabi. (Lub. 39:7-9) Danyeri ‘yateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga na mmere ya kabaka’ wadde nga kino omukulu w’abalaawe mu lubiri e Babulooni yali takyagala. (Dan. 1:8-14) Ebyokulabirako ebyo biraga nti okuva edda n’edda, abantu ba Katonda babaddenga banywerera ku kituufu awatali kutya kiyinza kubatuukako. Baagaananga okukola ebikyamu okusanyusa abantu; naffe bwe tulina okukola.
5. Engeri gye tutwalamu ab’obuyinza eyawukana etya ku y’ensi?
5 Okunywerera ku mateeka ga Katonda tekitegeeza nti tuli ba mputtu, oba nti tuli ng’abo abatagondera ab’obuyinza olw’okuba tebakkiriziganya na nteekateeka ya bya bufuzi eba eriwo. Wabula tuli bamalirivu okugondera Yakuwa mu kifo ky’okugondera omuntu yenna. Amateeka g’abantu bwe gakontana n’aga Katonda, tumanyi bulungi eky’okukola. Okufaananako abatume mu kyasa ekyasooka, tugondera Katonda mu kifo ky’okugondera abantu.
6. Lwaki kirungi bulijjo okugondera amateeka ga Yakuwa?
6 Kiki ekituyambye okukkiriza obuyinza bwa Katonda? Tukkiriziganya n’ebigambo ebiri mu Engero 3:5, 6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo gwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” Tukkiriza nti buli Katonda ky’ayagala tukole kiba kiganyula ffe. (Soma Ekyamateeka 10:12, 13.) Era Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti ‘y’abayigiriza okugasa, y’abakulembera mu kkubo lye bayitamu.’ Yayongerako nti: “Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” (Is. 48:17, 18) Tukkiriza nti ebigambo ebyo bituufu. Tuli bakakafu nti bulijjo bwe tugoberera amateeka ga Katonda, kituganyula.
7. Tusaanidde kukola ki bwe wabaawo ekiragiro ekiri mu Kigambo kya Katonda kye tutategeera bulungi?
7 Tukkiriza obuyinza bwa Yakuwa era tumugondera ne bwe kiba nti mu Kigambo kye mulimu ebintu ebimu bye tutategeera bulungi. Kino tekitegeeza nti tumala gakkiriza bukkiriza, wabula kiraga obwesige bwe tulina mu Yakuwa nti amanyi ekisinga okutuganyula. Obuwulize bwaffe era bulaga nti tumwagala, kubanga omutume Yokaana yawandiika: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yok. 5:3) Naye waliwo ekintu ekirala ekikwata ku buwulize kye tutalina kubuusa maaso.
Okutendeka Obusobozi Bwaffe obw’Okutegeera
8. ‘Okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera’kikwatagana kitya n’okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa?
8 Baibuli etukubiriza ‘okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera tusobole okwawula ekituufu n’ekikyamu.’ (Beb. 5:14, NW) N’olwekyo, tetwagala kugondera bugondezi mateeka ga Katonda nga tetugafumiitirizzaako, wabula twagala okuba nga tusobola ‘okwawula ekituufu n’ekikyamu’ okusinziira ku mitindo gya Yakuwa. Twagala okutegeera lwaki kya magezi okutambulira mu makubo ga Yakuwa, tube nga tukkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Amateeka go gali mu mutima gwange munda.”—Zab. 40:8.
9. Tusobola tutya okutuukanya omuntu waffe ow’omunda n’emitindo gya Yakuwa, era lwaki kino kikulu?
9 Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naffe tulina okufumiitiriza ku bye tusoma mu Baibuli okusobola okutegeera omuganyulo oguli mu Mateeka ga Katonda. Ng’ekyokulabirako, bwe tusoma ekintu Yakuwa ky’ayagala tukole, tuyinza okwebuuza nti: ‘Lwaki kya magezi okukolera ku musingi guno oba ekiragiro kino? Okuba omuwulize kinannyamba kitya? Bizibu ki abo abagaanye okukolera ku ekyo Katonda ky’agamba ku nsonga eno bye bafunye?’ Bwe tutendeka omuntu waffe ow’omunda n’atuukana n’emitindo gya Yakuwa, kijja kutwanguyira okusalawo mu ngeri emusanyusa. Tujja kuba tusobola ‘okutegeera Yakuwa ky’ayagala bwe kiri’ era kijja kutwanguyira okumugondera. (Bef. 5:17) Naye kino oluusi tekiba kyangu.
Setaani Tayagala Bantu Bakkirize Buyinza bwa Katonda
10. Ngeri ki emu Setaani mw’ayitira okuleetera abantu okugaana obuyinza bwa Katonda?
10 Setaani amaze ebbanga ddene ng’agezaako okuleetera abantu okugaana obuyinza bwa Katonda. Omwoyo gwe ogwa kyetwala gweyoleka mu ngeri nnyingi. Emu ku zo bwe butassa kitiibwa mu nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo. Abantu abamu basalawo okubeera awamu naye nga si bafumbo, ate abamu basala amagezi gonna okugattululwa mu bufumbo. Abantu ng’abo baba n’endowooza ng’ey’omuzannyi wa firimu omu omwatiikirivu eyagamba nti: “Tewali musajja oba mukazi yenna ayinza kunywerera ku muntu omu.” Yayongerako nti: “Sirina muntu n’omu gwe maanyi nga mwesigwa eri munne oba ng’ayagala okuba omwesigwa.” Ng’ayogera ku baganzi be abangi be yaleka, omuzannyi wa firimu omulala yagamba nti: “Sirowooza nti kisoboka okwagala omuntu omu yekka obulamu bwaffe bwonna.” Kiba kya magezi okwebuuza nti, ‘Nzikiriza amateeka ga Yakuwa agafuga obufumbo, oba ntwaliriziddwa endowooza y’ensi nti obufumbo tebulina kuba bwa lubeerera?’
11, 12. (a) Lwaki abavubuka bayinza okuzibuwalirwa okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti si kya magezi okumenya amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye.
11 Oli mujulirwa wa Yakuwa omuvubuka? Bwe kiba kityo, Setaani gwe gw’ayagalira ddala olowooze nti okutambulira ku mitindo gya Yakuwa si kirungi. “Okwegomba okw’omu buvubuka” awamu n’okupikirizibwa banno biyinza okukuleetera okulowooza nti amateeka ga Katonda makakali nnyo. (2 Tim. 2:22) Ekyo tokiganya kukutuukako. Fuba okutegeera obulungi obuli mu kutambulira ku mitindo gya Katonda. Ng’ekyokulabirako, Baibuli ekugamba ‘okwewala obwenzi.’ (1 Kol. 6:18) Kati era weebuuze ebibuuzo bino: ‘Lwaki ekiragiro kino kya magezi? Okuba omuwulize mu nsonga eno kinannyamba kitya?’ Oyinza okuba ng’olina b’omanyiyo abaamenya ekiragiro kya Katonda ekyo ne bagwa mu bizibu. Kati ddala basanyufu? Obulamu bwabwe kati bulungi okusinga bwe kyali nga bakyali mu kibiina kya Yakuwa? Baazuula ekyama ekivaamu essanyu abaweereza ba Katonda abalala kye batamanyi?—Soma Isaaya 65:14.
12 Lowooza ku bigambo bino Omukristaayo omu ayitibwa Sharon bye yayogera: “Okumenya etteeka lya Yakuwa kyandeetera okukwatibwa obulwadde bwa mukenenya. Ntera okujjukira ekiseera eky’essanyu kye nnamala nga mpereeza Yakuwa.” Sharon yamala n’akiraba nti kyali kya busiru okumenya amateeka ga Yakuwa era nti yandibadde agatwala nga ga muwendo nnyo. Amateeka ga Yakuwa galiwo kutukuuma. Sharon yafa nga waakayita wiiki musanvu oluvannyuma lw’okuwandiika ebigambo ebyo. Ebyamutuukako biraga bulungi nti Setaani talina kalungi konna k’awa abo abasalawo okwegatta ku nsi eno embi. Olw’okuba ye “kitaawe w’obulimba,” asuubiza bingi naye tabituukiriza, era nga bwe kyali ku Kaawa. (Yok. 8:44) Awatali kubuusabuusa, bulijjo kiba kya magezi okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa.
Weewale Omwoyo gwa Kyetwala
13. Mu ngeri ki gye tuyinza okwewala omwoyo gwa kyetwala?
13 Okusobola okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa, tulina okwewala omwoyo gwa kyetwala. Okuba n’amalala kiyinza okutuleetera okulowooza nti tetwetaaga muntu yenna kutuwa bulagirizi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuziimuula ebitubuulirirwa abo abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda. Katonda yateekawo omuddu omwesigwa era ow’amagezi okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. (Mat. 24:45-47) Tusaanidde okukitegeera nti eno y’engeri Yakuwa gy’alabiriramu abantu be leero. Twandibadde ng’abatume abeesigwa. Abayigirizwa ba Yesu abamu bwe baalekera awo okumugoberera, Yesu yabuuza abatume nti: “Era nammwe mwagala okugenda?” Peetero yamuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 6:66-68.
14, 15. Lwaki tusaanidde okugondera okubuulirira kw’omu Baibuli?
14 Okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa kizingiramu okuteeka mu nkola okubuulirira okwesigamiziddwa ku Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, omuddu omwesigwa era ow’amagezi bulijjo atukubiriza ‘okusigala nga tutunula era nga tutegeera bulungi.’ (1 Bas. 5:6, NW) Okubuulirira ng’okwo kwa mugaso nnyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma kubanga abantu bangi ‘beeyagala bokka, era baagala ebintu.’ (2 Tim. 3:1, 2) Naffe endowooza ng’eyo esobola okututwaliriza? Yee. Singa tuba n’ebiruubirirwa eby’ensi tuyinza okuddirira mu by’omwoyo oba okutandika okwagala ennyo eby’obugagga. (Luk. 12:16-21) Nga kiba magezi nnyo okukkiriza okubuulirira kwa Baibuli n’okwewala endowooza ey’okwefaako ffekka ecaase mu nsi!—1 Yok. 2:16.
15 Emmere y’eby’omwoyo okuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi etuuka mu bibiina okuyitira mu bakadde. Baibuli etukubiriza nti: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.” (Beb. 13:17) Kino kitegeeza nti abakadde b’omu kibiina tebakola nsobi? Nedda! Katonda amanyi bulungi obunafu bwabwe okusinga omuntu omulala yenna bw’abumanyi. Wadde kiri kityo, atusuubira okubagondera. Okukolagana obulungi n’abakadde wadde nga tebatuukiridde kiraga nti tukkiriza obuyinza bwa Yakuwa.
Obukulu bw’Okuba Abeetoowaze
16. Tuyinza tutya okulaga nti tuwa Yesu ekitiibwa ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo?
16 Tuteekwa bulijjo okukijjukira nti Yesu ye Mutwe gw’ekibiina. (Bak. 1:18) Eno y’emu ku nsonga lwaki tugoberera obulagirizi bw’abakadde, okulaga nti tubawa ‘ekitiibwa eky’ensusso.’ (1 Bas. 5:12, 13) Abakadde n’abo balaga nti bawulize bwe bafuba okuyigiriza ekibiina obubaka bwa Katonda mu kifo ky’okuwa endowooza zaabwe. Tebalina ‘kusukka ku byawandiikibwa’ nga bagezaako okuyigiriza ebyabwe ku bwabwe.—1 Kol. 4:6.
17. Lwaki okwagala ebitiibwa kya kabi?
17 Bonna abali mu kibiina balina okwewala okwenoonyeza ebitiibwa. (Nge. 25:27) Kirabika buno bwe bwali obunafu bw’omuyigirizwa omu Yokaana gwe yayogerako. Yawandiika nti: “Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by’akola ng’ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu.” (3 Yok. 9, 10) Waliwo kye tuyinza okuyiga mu ekyo. Bwe tubaamu endowooza y’okwegwanyiza ebitiibwa, kiba kya magezi okugyeggyamu. Baibuli etugamba: “Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.” Abo abakkiriza obuyinza bwa Katonda bateekwa okwewala okwetulinkiriza kubanga kino kivaamu ebizibu.—Nge. 11:2; 16:18.
18. Kiki ekinaatuyamba okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa?
18 Yee, beera mumalirivu okwewala omwoyo gwa kyetwala oguli mu nsi era okkirize obuyinza bwa Yakuwa. Fumiitirizanga ku nkizo ey’amaanyi gy’olina ey’okuweereza Yakuwa. Eky’okuba nti oli omu ku bantu ba Katonda kiraga nti ye yakusembeza ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. (Yok. 6:44) Enkolagana yo ne Katonda togitwalanga ng’ekintu ekitali kikulu. Fuba nnyo okulaga nti weewala omwoyo gwa kyetwala era nti okkiriza obuyinza bwa Yakuwa.
Ojjukira?
• Okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa kizingiramu ki?
• Okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera kikwatagana kitya n’okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa?
• Setaani aleetera atya abantu okugaana obuyinza bwa Katonda?
• Lwaki kitwetaagisa okuba abeetoowaze okusobola okukkiriza obuyinza bwa Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
“Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Kya magezi bulijjo okutambulira ku mitindo gya Katonda