Yakuwa Akuuma Abo Abamwesiga
“Ekisa kyo n’amazima go binkuumenga ennaku zonna.” —ZABBULI 40:11.
1. Kiki Kabaka Dawudi kye yasaba Yakuwa, era ekyo akikoze atya?
KABAKA DAWUDI owa Isiraeri ey’edda ‘yeesiga Yakuwa’ era n’atuuka n’okugamba nti Yakuwa ‘yamutegera okutu n’awulira n’okukaaba kwe.’ (Zabbuli 40:1) Yalabanga engeri Yakuwa gye yakuumangamu abo abamwagala. N’olw’ensonga eyo, Dawudi, yali asobola okusaba Yakuwa okumukuumanga bulijjo. (Zabbuli 40:11) Ng’omu ku abo abali mu lufulube lw’abasajja n’abakazi abeesigwa abalindirira “okuzuukira okusinga obulungi” okwasuubizibwa, Dawudi akyajjukirwa Yakuwa era ajja kumuzuukiza. (Abaebbulaniya 11:32-35) N’olwekyo, ebiseera bye eby’omu maaso bikakafu. Erinnya lye liwandiikiddwa mu ‘kitabo kya Yakuwa eky’okujjukiza.’—Malaki 3:16.
2. Ebyawandiikibwa bituyamba bitya okutegeera kye kitegeeza okukuumibwa Yakuwa?
2 Wadde nga abeesigwa aboogerwako mu Abaebbulaniya essuula 11 baaliwo nga Yesu Kristo tanajja ku nsi, baatuukanya obulamu bwabwe n’ebigambo bya Yesu ebigamba nti: “Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza, okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 12:25) N’olwekyo, okukuumibwa Yakuwa tekitegeeza nti tetujja kubonaabona wadde okuyigganyizibwa. Wabula kitegeeza nti omuntu akuumibwa mu by’omwoyo n’asobola okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda.
3. Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa yakuuma Yesu Kristo, era biki ebyavaamu?
3 Yesu yayigganyizibwa, yavumibwa era ku nkomerero abalabe be baamutta. Kyokka, kino tekitegeeza nti Katonda teyasobola kukuuma Masiya nga bwe yali asuubizza. (Isaaya 42:1-6) Yesu bwe yazuukizibwa ku lunaku olw’okusatu, kyalaga nti Yakuwa awulidde okusaba kwe, nga bwe yawulira okwa Dawudi. Yakuwa yawulira okusaba kwa Yesu n’amuwa amaanyi asobole okukuuma obwesigwa. (Matayo 26:39) Olw’okuba yali akuumiddwa, Yesu yaweebwa obulamu mu ggulu obutayinza kuzikirizibwa, era obukadde n’obukadde bw’abantu abakkiririza mu ssaddaaka ye nabo balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.
4. Ssuubi ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ lye balina?
4 Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okukuuma abaweereza be ab’omu kiseera kino nga bwe yakola mu kiseera kya Dawudi n’ekya Yesu. (Yakobo 1:17) Baganda ba Yesu abakyali ku nsi basobola okwesiga ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti: ‘Obusika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, bubaterekeddwa mu ggulu era bajja kufuna obulokozi obugenda okubikkulibwa mu biro eby’enkomerero.’ (1 Peetero 1:4, 5) ‘Ab’endiga endala,’ abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, nabo basobola okwesiga Katonda n’ebyo bye yasuubiza okuyitira mu muwandiisi wa zabbuli bwe yagamba nti: ‘Mwagale Mukama mwe mmwenna abatukuvu be. Mukama awonya abeesigwa.’—Yokaana 10:16; Zabbuli 31:23.
Bakuumibwa mu by’Omwoyo
5, 6. (a) Abantu ba Katonda bakuumibwa batya mu kiseera kyaffe? (b) Nkolagana ki eriwo wakati w’abo abaafukibwako amafuta ne Yakuwa, ate kiri kitya eri abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi?
5 Mu kiseera kyaffe, Yakuwa akoze enteekateeka okukuuma abantu be mu by’omwoyo. Wadde tabakugira kutuukibwako kuyigganyizibwa oba ebizibu ebirala, abawadde obuyambi bwe beetaaga okusobola okumunywererako. Enkolagana yaabwe ne Katonda yeesigamye ku kuba nti bakkiririza mu ssaddaaka ye ey’ekinunulo. Abamu ku Bakristaayo bano baafukibwako amafuta basobole okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Baweebwa obutuukirivu ng’abaana ba Katonda, era ebigambo bino bikwata ku bo: “Eyatulokola mu buyinza obw’ekizikiza era n’atutwala mu bwakabaka bw’omwana we omwagalwa, mwe tubeerera n’okununulibwa, kwe kusonyiyibwa kw’ebibi byaffe.”—Abakkolosaayi 1:13, 14.
6 Abakristaayo abalala abeesigwa bukadde na bukadde nabo bakakasibwa nti bajja kuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo. Tusoma: “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.” (Makko 10:45) Abakristaayo abo beesunga ekiseera lwe balifuna ‘eddembe ly’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.’ (Abaruumi 8:21) Nga bwe balindirira ekiseera ekyo, batwala enkolagana ey’oku lusegere gye balina ne Katonda nga ya muwendo era bafuba okuginyweza.
7. Mu ngeri ki Yakuwa gy’akuumamu abantu be mu by’omwoyo?
7 Engeri emu Yakuwa gy’akuumamu abantu mu by’omwoyo kwe kubateerawo enteekateeka ey’okubayigiriza. Kino kibasobozesa okweyongera okuteegera obulungi amazima. Ate era, Yakuwa abawa obulagirizi okuyitira mu Kigambo kye, ekibiina kye n’omwoyo gwe omutukuvu. Nga bali wansi w’obulagirizi ‘bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ abantu ba Katonda mu nsi yonna balinga amaka. Ekibiina ky’omuddu kirabirira abaweereza ba Yakuwa mu by’omwoyo, era ne mu by’omubiri, bwe kiba kyetaagisa, nga kino kikolebwa awatali kusosola.—Matayo 24:45.
8. Bwesige ki Yakuwa bw’alina mu baweereza be abeesigwa, era kiki ky’abasuubiza?
8 Nga Yakuwa bw’ataakugira balabe ba Yesu kumubonyaabonya, ne mu kiseera kino takugira bizibu kutuuka ku Bakristaayo. Kino tekitegeeza nti Katonda aba tabaagala. Wabula, abaleka okubonaabona nga mukakafu nti bajja kunywerera ku ludda lwe ku bikwata ku nsonga enkulu eyaleetebwawo Setaani ezingiramu abantu bonna. (Yobu 1:8-12; Engero 27:11) Yakuwa tayinza kwabulira abo abamwesiga, ‘kubanga ayagala obwenkanya, era taleka batukuvu be. Abakuuma emirembe gyonna.’—Zabbuli 37:28.
Bakuumibwa Ekisa n’Amazima
9, 10. (a) Mu ngeri ki amazima ga Yakuwa gye gakuuma abantu be? (b) Baibuli eraga etya nti ekisa kya Yakuwa kikuuma abaweereza be?
9 Mu kusaba kwe okuli mu Zabbuli 40, Dawudi yasaba akuumibwe ekisa kya Yakuwa n’amazima ge. Olw’okuba Yakuwa ayagala obutuukirivu n’amazima ateekawo emisingi egy’okugoberera. Abo abatambuliza obulamu bwabwe ku misingi egyo tebafuna bizibu ebituuka ku abo abagisuula omuguluka. Ng’ekyokulabirako, bwe twewala okunywa enjaga, okwekamirira omwenge, obukaba, awamu n’ebikolwa eby’obukambwe, kituyamba okwewala ebizibu bingi ebiyinza okutuukako awamu n’abaagalwa baffe. N’abo abawaba okuva mu kkubo lya Yakuwa ery’amazima—nga Dawudi bwe yakola ebiseera ebimu—bakakafu nti Katonda akyali ‘kifo eky’okwekwekamu’ eri abo abeenenya ebibi byabwe. Abalinga abo basobola okwogera n’essanyu nti: “Ononkuumanga mu kulaba ennaku.” (Zabbuli 32:7) Ng’ebigambo ebyo byoleka bulungi ekisa kya Yakuwa!
10 Ekirala ekyoleka ekisa kya Katonda kwe kuba nti akubiriza abaweereza be okweyawula ku nsi eno embi, gy’ajja okuzikiriza mu kiseera ekitali kya wala. Tusoma: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.” Bwe tugondera okubuulirira okwo, tusobola okukuuma obulamu bwaffe emirembe gyonna, kubanga ekyawandiikibwa kyongera ne kigamba: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:15-17.
Bakuumibwa Obusobozi bw’Okulowooza, Okutegeera n’Amagezi
11, 12. Nnyonnyola engeri obusobozi bw’okulowooza, okutegeera n’amagezi gye biyinza okutukuuma.
11 Sulemaani, mutabani wa Dawudi, yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku abo abaagala okusiimibwa Katonda ng’agamba nti: ‘Onookumibwanga obusobozi bw’okulowooza, okutegeera kunaakukuumanga.’ Era yagamba: ‘Funa amagezi, togalekanga, nago ganaakulabiriranga. Ogaagalanga, nago ganaakukuumanga.’—Engero 2:11, NW; 4:5, 6.
12 Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga mu Kigambo kya Katonda, tuba tukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza. Ekyo kituyamba okufuna okutegeera ne tusobola okukulembeza ebintu ebikulu. Okutegeera okwo kukulu nnyo okuva bwe kiri nti abantu bwe bakulembeza ebintu ebitali bikulu bafuna ebizibu. Ensi ya Setaani etukubiriza okuluubirira eby’obugagga, ettutumu, n’obuyinza, kyokka ye Yakuwa atukubiriza okuluubirira bya mwoyo. Bwe tulemererwa okukulembeza eby’omwoyo, kiviirako amaka okusasika, okufiirwa emikwano, era ne tutuuka n’obutaba na biruubirirwa bya mwoyo. N’ekivaamu kyekyo Yesu kye yayogerako ng’agamba nti: ‘Omuntu kimugasa ki okulya ensi zonna, n’afiirwa obulamu bwe?’ (Makko 8:36) Bwe tuba ab’amagezi tugondera okubuulirira kwa Yesu okugamba nti: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe, era ebyo byonna mulibyongerwako.”—Matayo 6:33.
Akabi Akali mu Kwerowoozaako
13, 14. Okwerowoozaako kitegeeza ki, era lwaki si kya magezi kwerowoozaako?
13 Kya mu butonde abantu okwagala okwerowoozako. Naye, bwe tukulembeza ebyaffe ku bwaffe kivaamu akabi. N’olwekyo, okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, atukubiriza okwewala omwoyo gw’okwerowoozaako. Okwerowoozaako kitegeeza “okufaayo ku bitukwatako ffekka.” Ekyo bangi si kye bakola leero? N’olw’ensonga eyo, Baibuli yalagula nti “mu nnaku ez’oluvannyuma” ez’ensi ya Setaani eno embi, “abantu baliba beeyagala bokka,” oba nga beerowoozaako.—2 Timoseewo 3:1, 2.
14 Abakristaayo basiima okubuulirira kwa Baibuli okubakubiriza okufaayo ku byetaago by’abalala, nga babaagala nga bwe beeyagala bokka. (Lukka 10:27; Abafiripi 2:4) Wadde abantu batwala okubuulirira okwo ng’okutali kwa mugaso, okubuulirira okwo kukulu bwe tuba ab’okuba n’obufumbo obulungi, amaka ag’essanyu, n’emikwano emirungi. N’olwekyo, omuweereza wa Yakuwa tateekwa kwefaako yekka ne kiba nti alagajjalira ebisinga obukulu. Wabula, asaanidde okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala.
15, 16. (a) Okwerowoozaako kuyinza kuvaamu ki, era byakulabirako ki ebyoleka ekyo? (b) Kiki omuntu ky’aba akola bw’ayanguyiriza okusalira abalala omusango?
15 Omuntu bw’aba yeerowoozaako atandika okwetwala nti mutuukirivu ne kimuviirako okufuna amalala. Baibuli egamba: ‘Ggwe asalira abalala omusango tolina kyakwewolereza, kubanga mu kusalira abalala omusango naawe oba ogwesalidde; kubanga bo bye bakola naawe by’okolera ddala.’ (Abaruumi 2:1, NW; 14:4, 10) Abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kya Yesu baali bamanyi nti batuukirivu nnyo ne kibaviirako n’okusalira Yesu n’abagoberezi be omusango. Mu kukola ekyo beefuula abalamuzi. Bwe baalemererwa okutegeera ensobi zaabwe, beereetako omusango.
16 Yuda, omugoberezi wa Yesu eyamulyamu olukwe, yali asalira abalala omusango. Lumu nga baali e Bessaniya, Malyamu mwannyina wa Lazaalo yafuka amafuta agaakaloosa ku Yesu, ekyo Yuda tekyamusanyusa. Era yagamba bw’ati: “Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali ebikumi bisatu, okugabira abaavu?” Baibuli yeeyongera n’egamba nti: “Yayogera bw’atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n’atwalanga bye baateekangamu.” (Yokaana 12:1-6) Ka tuleme kubeera nga Yuda oba abakulembeze b’eddiini abaayanguyirizanga okusalira abalala omusango, ne beereetako omusango.
17. Nnyonnyola akabi akali mu kwekulumbaza oba okwekakasa ekiyitiridde.
17 Eky’ennaku, abamu ku Bakristaayo abaasooka, wadde nga tebaali babbi nga Yuda, baafuna amalala era ne beekulumbaza. Yakobo yabawandiikira bw’ati: “Mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe.” Era yagattako: “Okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.” (Yakobo 4:16) Bwe twewaana olw’ebyo bye tukoze oba olw’enkizo ze tulina mu buweereza bwa Yakuwa, kiyinza okutuviiramu ebizibu. (Engero 14:16) Tujjukira ekyatuuka ku mutume Peetero, eyeewaana ng’agamba nti: “Bonna balyesittala ku lulwo naye nze seesittale! . . . Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n’akatono.” Mu butuufu, tetulina nsonga kwe tusinziira kwewaana. Buli nkizo gye tulina twagifuna lwa kisa kya Yakuwa ekitatusaanira. Bwe tujjukira ekyo kijja kutuyamba obuteekulumbaza.—Matayo 26:33-35, 69-75.
18. Yakuwa atwala atya amalala?
18 Baibuli egamba: “Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.” Lwaki? Yakuwa agamba: “Amalala n’essukuti . . . bye nkyawa.” (Engero 8:13; 16:18) Tekyewuunyisa nti Yakuwa yasunguwalira ‘kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okwekulumbaza’! (Isaaya 10:12) Yakuwa yamubonereza olw’amalala. Mangu ddala, ensi ya Setaani eno n’abakulembeze baayo ab’amalala era abeerowoozaako ejja kusalirwa omusango. N’olwekyo, ka tuleme kuba b’amalala ng’abalabe ba Yakuwa!
19. Kiki abantu ba Katonda kye beenyumirizaamu ate ne basigala nga bawombeefu?
19 Abakristaayo ab’amazima balina ensonga entuufu okwenyumiririza mu kuweereza Yakuwa. (Yeremiya 9:24) Wadde kiri kityo, basaanidde okuba abawombeefu. Lwaki? Kubanga “bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) N’olwekyo, okusobola okuba abaweereza ba Yakuwa, tuteekwa okuba n’endowooza ng’ey’omutume Pawulo, eyagamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi,” ate n’agattako: “Mu bo nze w’olubereberye.”—1 Timoseewo 1:15.
20. Yakuwa akuuma atya abantu be leero, era anaabakuuma atya mu biseera eby’omu maaso?
20 Okuva bwe kiri nti abantu ba Katonda bakulembeza by’ayagala, tusobola okuba abakakafu nti ajja kweyongera okubakuuma mu by’omwoyo. Ate era tusobola okuba abakakafu nti ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, Yakuwa ajja kukuuma abantu be mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Bwe banaatuuka mu nsi empya, bajja kusobola okugamba nti: “Ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola: ono ye Mukama, twamulindiriranga, tulisanyuka tulijaguliza obulokozi.”—Isaaya 25:9.
Ojjukira?
• Mu ngeri ki Kabaka Dawudi ne Yesu Kristo gye baakuumibwamu?
• Mu ngeri ki abantu ba Yakuwa gye bakuumibwamu leero?
• Tuyinza tutya okwewala omwoyo gw’okwerowoozaako?
• Tuyinza tutya okwenyumiriza ate ne tusigala nga tuli bawombeefu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Yakuwa yakuuma atya Dawudi ne Yesu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20, 21]
Leero abantu ba Yakuwa bakuumibwa batya mu by’omwoyo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]
Wadde nga twenyumiriza mu kuweereza Yakuwa, tuteekwa okusigala nga tuli bawombeefu