Ddala Okkiririza mu Mawulire Amalungi?
“Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkiririze mu mawulire amalungi.”—MAKKO 1:15, NW.
1, 2. Wandinnyonnyodde otya Makko 1:14, 15?
GWALI mwaka ogwa 30 C.E. Yesu Kristo yali atandise obuweereza bwe obukulu mu Ggaliraaya. Yali abuulira ‘amawulire amalungi aga Katonda,’ era Abaggaliraaya bangi baakwatibwako nnyo ebigambo bye: “Ekiseera ekiragaane kituuse, era obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, era mukkiririze mu mawulire amalungi.”—Makko 1:14, 15, NW.
2 “Ekiseera ekiragaane” kyali kituuse Yesu okutandika obuweereza bwe, era kyali kituuse abantu okusalawo mu ngeri eyandibaleetedde okusiimibwa Katonda. (Lukka 12:54-56) ‘Obwakabaka bwa Katonda bwali busembedde’ olw’okuba Yesu eyali alondeddwa okuba Kabaka waabwo yaliwo. Okubuulira kwe kwaviirako abantu ab’emitima emyesigwa okwenenya. Naye ‘bakkiririza batya mu mawulire amalungi’? Era naffe tuyinza tutya okugakkiririzaamu?
3. Biki abantu bye bakoze okulaga nti bakkiririza mu mawulire amalungi?
3 Okufaananako Yesu, n’omutume Peetero yakubiriza abantu okwenenya. Ng’ayogera eri Abayudaaya abaaliwo mu Yerusaalemi ku Pentekoote 33 C.E., Peetero yagamba: “Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe mwoyo omutukuvu.” Abantu nkumi na nkumi beenenya, ne babatizibwa, era ne bafuuka abagoberezi ba Yesu. (Ebikolwa 2:38, 41; 4:4) Mu 36 C.E., ne Bannamawanga abeenenya nabo baakola kye kimu. (Ebikolwa 10:1-48) Mu kiseera kyaffe, abantu nkumi na nkumi abakkiririza mu mawulire amalungi, beenenya ebibi byabwe, ne beewaayo eri Katonda era ne babatizibwa. Bakkirizza amawulire amalungi ag’obulokozi era bakkiririza ne mu ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo. Okugatta ku ekyo, bakola eby’obutuukirivu era bawagira Obwakabaka bwa Katonda.
4. Okukkiriza kye ki?
4 Naye okukkiriza kye ki? Omutume Peetero yawandiika: “Okukkiriza kwe kuba omukakafu nti ebyo bye tusuubira bigenda kubaawo, obutabuusabuusa ebyo ebitalabika.” (Abaebbulaniya 11:1, NW) Okukkiriza kwaffe kutusobozesa okuba abakakafu nti byonna Katonda by’asuubiza mu Kigambo kye biringa ebimaze okutuukirizibwa. Tubeera ng’abalina ekyapa ky’ettaka ekikakasa nti tulina obwa nnanyini ku ttaka. Era, okukkiriza ‘bwe butabuusabuusa,’ oba okuba n’obukakafu ku bintu ebitalabika. Endowooza yaffe awamu n’okusiima kwe tulina mu mutima bitukakasa nti ebintu ebyo bya ddala, wadde nga tuba tetunnabiraba.—2 Abakkolinso 5:7; Abaefeso 1:18.
Twetaaga Nnyo Okukkiriza!
5. Lwaki okukkiriza kukulu nnyo?
5 Twazaalibwa nga tulina obwetaavu bw’eby’omwoyo, naye tetwazaalibwa nga tulina okukkiriza. Mu butuufu, “okukkiriza si kwa bonna.” (2 Abasessaloniika 3:2) Kyokka, Abakristaayo bateekwa okuba n’okukkiriza okusobola okusikira Katonda bye yasuubiza. (Abaebbulaniya 6:12) Oluvannyuma lw’okumenya ebyokulabirako eby’abantu abaalina okukkiriza, Pawulo yawandiika: “[Olw’okuba] tulina olufu [lw’abajulirwa] olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n’ekibi ekyegatta naffe, tudduk[e]nga n’okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe, nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w’okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo.” (Abaebbulaniya 12:1, 2) “Ekibi ekyegatta naffe,” kye kiki? Bwe butaba na kukkiriza, oba n’okulekera awo okubeera n’okukkiriza kwe twalina olubereberye. Okusobola okweyongera okubeera n’okukkiriza okunywevu, tulina ‘okutunuulira Yesu’ era ne tugoberera ekyokulabirako kye. Era tusaanidde okwesamba obugwenyufu, okulwanyisa ebikolwa eby’omubiri, okwewala okuluubirira eby’obugagga, obufirosoofo bw’ensi, n’obulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa. (Abaggalatiya 5:19-21; Abakkolosaayi 2:8; 1 Timoseewo 6:9, 10; Yuda 3, 4) Okugatta ku ebyo, tulina okukkiriza nti Katonda ali wamu naffe era nti okubuulirira okuli mu Kigambo kye ddala kukola.
6, 7. Lwaki kisaanira okusaba Katonda atuwe okukkiriza?
6 Tetusobola kufuna kukkiriza okuyitira mu kufuba kwaffe. Okukkiriza kibala kya mwoyo gwa Katonda omutukuvu, oba amaanyi ge agakola. (Abaggalatiya 5:22, 23) Kati olwo kiri kitya singa kiba kyetaagisa okunyweza okukkiriza kwaffe? Yesu yagamba: “Kale oba nga mmwe . . . mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.” (Lukka 11:13) Yee, ka tusabe tufune omwoyo omutukuvu, kubanga gujja kutusobozesa okuba n’okukkiriza okwetaagisa okukola Katonda by’ayagala ne bwe tuba mu mbeera egezesa ennyo.—Abaefeso 3:20.
7 Kisaanira okusaba Katonda okutwongera okukkiriza. Yesu bwe yali anaatera okugoba dayimooni mu mulenzi omu, kitaawe w’omwana oyo yagamba: “Nnina okukkiriza! Nnyamba we nneetaaga okwongera okubeera n’okukkiriza!” (Makko 9:24, NW) “Otwongereko okukkiriza,” bwe batyo abayigirizwa ba Yesu bwe baagamba. (Lukka 17:5) N’olwekyo, ka tusabe Katonda atuwe okukkiriza nga tuli bakakafu nti ajja kuddamu okusaba bwe kutyo.—1 Yokaana 5:14.
Kikulu Okukkiririza mu Kigambo kya Katonda
8. Okukkiririza mu Kigambo kya Katonda kiyinza kitya okutuyamba?
8 Ng’ebulayo akaseera katono aweeyo obulamu bwe nga ssaddaaka, Yesu yagamba abagoberezi be: “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.” (Yokaana 14:1) Ng’Abakristaayo, tukkiririza mu Katonda n’Omwana we. Naye ate kiri kitya ku bikwata ku Kigambo kya Katonda? Kisobola okutuganyula mu bulamu bwaffe singa tukisoma era ne tukissa mu nkola nga tuli bakakafu nti kiwa amagezi n’obulagirizi ebisingayo obulungi.—Abaebbulaniya 4:12.
9, 10. Wandinnyonnyodde otya ekyo Yakobo 1:5-8 kye zoogera ku kukkiriza?
9 Obulamu bwaffe ng’abantu abatatuukiridde bujjuddemu ebizibu. Kyokka, okukkiririza mu Kigambo kya Katonda kisobolera ddala okutuyamba. (Yobu 14:1) Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti tetumanyi ngeri ya kwaŋŋangamu ekizibu ekimu. Ekigambo kya Katonda kituwa amagezi gano: “[Bwe kiba] ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa. Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky’abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng’ejjengo ery’ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng’aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; omuntu ow’emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna.”—Yakobo 1:5-8.
10 Yakuwa Katonda tajja kutunnenya olw’obutaba na magezi ate ne tumusaba agatuwe. Wabula, ajja kutuyamba tubeere n’endaba ennungi ku kigezo. Bakkiriza bannaffe bayinza okutulaga Ebyawandiikibwa ebiyinza okutuyamba oba tuyinza okubiraba nga twesomesa ffekka Baibuli. Oba omwoyo gwa Yakuwa guyinza okutuwa obulagirizi mu ngeri endala. Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuwa amagezi tusobole okwaŋŋanga ebigezo singa ‘tumusaba nga tulina okukkiriza, nga tetubuusabuusa n’akatono.’ Singa tubeera ng’amayengo ag’oku nnyanja agakunsibwa empewo, tetwandisuubidde kufuna kintu kyonna okuva eri Katonda. Lwaki? Kubanga kino kyandiraze nti tubuusabuusa nga tusaba oba ne mu ngeri endala zonna, gamba ng’okukkiririza mu Katonda. N’olwekyo, twetaaga okuba n’okukkiriza okunywevu mu Kigambo kya Katonda era ne mu bulagirizi bwe kiwa. Ka twekenneenye ebyokulabirako ebimu ebiraga engeri gye kiwaamu obuyambi n’obulagirizi.
Okukkiriza n’Okweyimirizaawo
11. Okukkiririza mu Kigambo kya Katonda kituwa bukakafu ki ku bikwata ku byetaago byaffe ebya buli lunaku?
11 Kiba kitya singa tuba tetulina byetaago bya bulamu oba nga tuli baavu lunkupe? Okukkiririza mu Kigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe ebya buli lunaku, era nti ne mu nteekateeka empya ey’ebintu ajja kulabirira mu bujjuvu abo bonna abamwagala. (Zabbuli 72:16; Lukka 11:2, 3) Kiyinza okutuzzaamu amaanyi okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawaamu nnabbi we Eriya emmere mu kiseera eky’enjala. Era n’oluvannyuma, mu ngeri ey’ekyamagero, Katonda yalabirira omukazi, omwana we, ne Eriya ng’obuta n’amafuta bye baakozesanga nga tebiggwaawo. (1 Bassekabaka 17:2-16) Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalabirira nnabbi Yeremiya mu kiseera Abababulooni we baazingizizza Yerusaalemi. (Yeremiya 37:21) Wadde nga Yeremiya ne Eriya baalina eby’okulya bitono, Yakuwa yabalabirira. Era bw’atyo bw’alabirira abo abamukkiririzaamu leero.—Matayo 6:11, 25-34.
12. Okukkiriza kunaatuyamba kutya okufuna ekigulira magala eddiba?
12 Bwe tubeera n’okukkiriza era ne tukolera ku misingi gya Baibuli tekijja kutufuula bagagga, naye kijja kutusobozesa okufuna ekigulira magala eddiba. Okuwaayo ekyokulabirako: Baibuli etukubiriza okubeera abakozi abeesigwa, abalungi, era abakola n’amaanyi. (Engero 22:29; Omubuulizi 5:18, 19; 2 Abakkolinso 8:21) Tetunyoomanga obukulu bw’okumanyibwa ng’omukozi omulungi. Ne mu bifo emirimu emirungi gye giri egy’ekekwa, abakozi abeesigwa, abalina obumanyirivu, era abatali bagayaavu, be basinga okwagalibwa. Wadde nga abakozi ng’abo tebaba na bya bugagga bingi, batera okubeera n’ebyetaago by’obulamu, era baba basanyufu okulya emmere gye beekoleredde.—2 Abasessaloniika 3:11, 12.
Okukkiriza Kutuyamba Okugumiikiriza Ennaku
13, 14. Okukkiriza kutuyamba kutya okugumiikiriza ennaku?
13 Ekigambo kya Katonda kikyoleka bulungi nti kya mu butonde okunakuwala bwe tufiirwa omwagalwa waffe. Ibulayimu, omusajja omwesigwa, yakungubaga mukyala we omwagalwa Saala, bwe yafa. (Olubereberye 23:2) Dawudi yanakuwala nnyo oluvannyuma lw’okuwulira nti mutabani we Abusaalomu yali afudde. (2 Samwiri 18:33) N’omusajja atuukiridde Yesu, yakaaba mukwano gwe Lazaalo bwe yafa. (Yokaana 11:35, 36) Omwagalwa waffe bw’afa, tuyinza okuwulira ennaku ey’amaanyi ennyo, naye okukkiririza mu bisuubizo ebiri mu Kigambo kya Katonda kuyinza okutuyamba okugumiikiriza ennaku ng’eyo.
14 Pawulo yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda, . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Tulina okukkiririza mu nteekateeka ya Katonda ey’okuzuukiza enkumuliitu y’abantu. (Yokaana 5:28, 29) Mu abo mujja kubaamu Ibulayimu ne Saala, Isaaka ne Lebbeeka, Yakobo ne Leeya—nga kati bonna beebase emagombe nga balindirira okuzuukizibwa mu nsi ya Katonda empya. (Olubereberye 49:29-32) Nga wajja kubaawo essanyu lya maanyi nnyo ng’abaagalwa baffe bazuukizibwa okubeera wano ku nsi! (Okubikkulirwa 20:11-15) Kyokka, ng’ekyo tekinnabaawo, okukkiriza tekujja kumalawo nnaku yonna, naye kujja kutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, anaatuyamba okugumiikiriza ennaku.—Zabbuli 121:1-3; 2 Abakkolinso 1:3.
Okukkiriza Kugumya Abennyamivu
15, 16. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti tekyewuunyisa abantu abalina okukkiriza okwennyamira? (b) Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okwaŋŋanga okwennyamira?
15 Ekigambo kya Katonda era kiraga nti n’abo abalina okukkiriza bayinza okwennyamira. Ng’ali mu kugezesebwa okw’amaanyi, Yobu yawulira nga Katonda amulekeredde. (Yobu 29:2-5) Embeera embi Yerusaalemi ne buggwe waakyo gye byalimu, yanakuwaza nnyo Nekkemiya. (Nekkemiya 2:1-3) Peetero yanakuwala nnyo oluvannyuma lw’okwegaana Yesu era “n’akaaba nnyo amaziga.” (Lukka 22:62) Era ne Pawulo yakubiriza bakkiriza banne mu kibiina ky’e Ssessaloniika ‘okubudaabuda abenyamivu.’ (1 Abasessaloniika 5:14, NW) N’olwekyo, si kintu ekyewuunyisa leero abo abalina okukkiriza okwennyamira. Kati olwo, kiki kye tuyinza okukola okusobola okwaŋŋanga embeera ez’ennyamiza?
16 Tuyinza okuba abennyamivu olw’okuba twolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi bingi. Mu kifo ky’okubitunuulira ng’omuguggu ogumu, tuyinza okubikolako kinnakimu nga tussa mu nkola emisingi gya Baibuli. Kino kiyinza okutuyamba okukendeeza ku kwennyamira. Obutagwa lubege mu mirimu gye tukola era n’okuwummula ekimala nabyo biyinza okuba eby’omuganyulo. Kyokka, ekintu kimu kikakafu: Okukkiririza mu Katonda n’Ekigambo kye bituleetera okuba abantu ab’eby’omwoyo olw’okuba kitukakasa nti ddala atufaako.
17. Tumanya tutya nti Yakuwa atufaako?
17 Peetero ayogera bw’ati ku kisuubizo ekibudaabuda: “Mwewombeekenga wansi w’omukono ogw’amaanyi ogwa Katonda, alyoke abagulumize ng’obudde butuuse. Nga mumusindiikiririzanga ye okweraliikirira kwammwe kwonna, kubanga ye [abafaako].” (1 Peetero 5:6, 7) Omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.” (Zabbuli 145:14) Twandikiririza mu bisuubizo bino, kubanga bisangibwa mu Kigambo kya Katonda. Wadde ng’okwennyamira kuyinza obutaggwaawo, nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti tusobola okutikka Kitaffe ow’omu ggulu byonna ebitweraliikiriza!
Okukkiriza n’Ebigezo Ebirala
18, 19. Okukkiriza kutuyamba kutya okugumira obulwadde era n’okubudaabuda bakkiriza bannaffe abalwadde?
18 Okukkiriza kwaffe kuyinza okugezesebwa ennyo singa ffe fennyini tulwala oba omwagalwa waffe. Wadde nga Baibuli teyogera ku kuwonyezebwa okw’ekyamagero okw’Abakristaayo nga Epafuloddito, Timoseewo, ne Tolofiimo, awatali kubuusabuusa Yakuwa yabayamba okugumiikiriza obulwadde bwabwe. (Abafiripi 2:25-30; 1 Timoseewo 5:23; 2 Timoseewo 4:20) N’ekirala, omuwandiisi wa Zabbuli ayogera bw’ati ku oyo ‘afaayo ku mwavu’: “Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda: ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw’alwala.” (Zabbuli 41:1-3) Ebigambo ebyo eby’omuwandiisi wa Zabbuli biyinza bitya okutuyamba okubudaabuda bakkiriza bannaffe abalwadde?
19 Engeri emu ey’okuwaamu obuyambi mu by’omwoyo, kwe kusaba n’omulwadde oba okumusabira. Wadde nga tetusaba kuwonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero leero, tuyinza okusaba Katonda abasobozese okugumira ekizibu kyabwe era abawe n’amaanyi ageetaagisa okwaŋŋanga obunafu. Yakuwa ajja kubayamba, era okukkiriza kwabwe kujja kunywezebwa bwe banaalowooza ku kiseera ‘abantu lwe batalyogera nti balwadde.’ (Isaaya 33:24) Nga kibudaabuda nnyo okumanya nti okuyitira mu Yesu Kristo azuukiziddwa n’Obwakabaka bwa Katonda, abantu abawulize bajja kusumulirirwa ddala okuva mu kibi, endwadde, n’okufa! Twebaza Yakuwa ‘oyo ajja okuwonya endwadde zaffe zonna,’ olw’ebisuubizo bino ebikulu.—Zabbuli 103:1-3; Okubikkulirwa 21:1-5.
20. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okukkiriza kuyinza okutusobozesa okwaŋŋanga “ennaku embi” ez’obukadde?
20 Okukkiriza era kuyinza okutusobozesa okwaŋŋanga “ennaku embi” ez’obukadde, ekiseera obulamu n’amaanyi nga bigenda bikendeera. (Omubuulizi 12:1-7) N’olwekyo, bannamukadde abali mu ffe bayinza okusaba ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyali akaddiye: “Ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: . . . Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.” (Zabbuli 71:5, 9) Omuwandiisi wa Zabbuli yawulira nga yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa, nga bwe kiri eri Bakristaayo bannaffe bangi abakaddiyidde mu buweereza bwa Katonda. Olw’okuba n’okukkiriza, bayinza okubeera abakakafu nti balina obuwagizi bwa Yakuwa emirembe gyonna.—Ekyamateeka 33:27.
Weeyongere Okukkiririza mu Kigambo kya Katonda
21, 22. Bwe tubeera n’okukkiriza, ekyo kikwata kitya ku nkolagana yaffe ne Katonda?
21 Okukkiririza mu mawulire amalungi era ne mu Kigambo kya Katonda kituyamba okweyongera okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yakobo 4:8) Kituufu nti ye Mukama Afuga Byonna, naye era ye Mutonzi waffe era Kitaffe. (Isaaya 64:8; Matayo 6:9; Ebikolwa 4:24) “Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja [“olwazi,” NW] ery’obulokozi bwange,” bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayimba. (Zabbuli 89:26) Singa tukkiririza mu Yakuwa n’Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, naffe tusobola okumutwala ‘ng’Olwazi olw’obulokozi bwaffe.’ Ng’eyo nkizo ya maanyi nnyo!
22 Yakuwa ye Kitaawe w’Abakristaayo abazaaliddwa omwoyo ne bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. (Abaruumi 8:15) Era tetuyinza kwejjusa olw’okukkiririza mu Kitaffe ow’omu ggulu. Dawudi yagamba: “Wadde nga kitange ne mmange bandese, ggwe Yakuwa onondabiriranga.” (Zabbuli 27:10, NW) Era, tulina n’obukakafu buno: “Mukama taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu.”—1 Samwiri 12:22.
23. Kiki ekyetaagisa okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ey’olubeerera ne Yakuwa?
23 Kya lwatu, okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda ey’olubeerera, tuteekwa okukkiririza mu mawulire amalungi era ne tukkiriza Ebyawandiikibwa, kwe kugamba nti Kigambo kya Katonda. (1 Abasessaloniika 2:13) Tuteekwa okukkiririza ddala mu Yakuwa era ne tuleka Ekigambo kye okumulisa ekkubo lyaffe. (Zabbuli 119:105; Engero 3:5, 6) Okukkiriza kwaffe kujja kweyongera bwe tunaamusaba nga tuli bakakafu nti ajja kutusaasira, atulage ekisa, era atuwe n’obuyambi.
24 Kirowoozo ki ekibudaabuda ekiri mu Abaruumi 14:8?
24 Okukkiriza kwatukubiriza okwewaayo eri Katonda okumuweereza emirembe gyonna. Bwe tubeera n’okukkiriza okunywevu, ne bwe tufa, tusigala tuli baweereza be abeewaddeyo gyali nga tulina essuubi ery’okuzuukizibwa. Yee, ‘ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.’ (Abaruumi 14:8, NW) Ka tukuumire ekirowoozo ekyo ekibudaabuda mu mitima gyaffe nga bwe tweyongera okwesiga Ekigambo kya Katonda awamu n’okukkiririza mu mawulire amalungi.
Wandizzeemu Otya?
• Okukkiriza kye ki, era lwaki tukwetaaga?
• Lwaki kikulu ffe okukkiririza mu mawulire amalungi era ne mu Kigambo kya Katonda kyonna?
• Okukkiriza kutuyamba kutya okugumiikiriza ebizibu ebitali bimu?
• Kiki ekinaatuyamba okweyongera okuba n’okukkiriza?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Yakuwa yalabirira Yeremiya ne Eriya kubanga baalina okukkiriza
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Yobu, Peetero, ne Nekkemiya baalina okukkiriza okunywevu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa ey’olubeerera, tulina okukkiririza mu mawulire amalungi