ESSUULA 12
Mwogerenga Ebigambo ‘Ebirungi Ebizimba Abalala’
“Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, wabula ekirungi ekisobola okuzimba abalala.”—ABEEFESO 4:29.
1-3. (a) Ekimu ku birabo Yakuwa bye yatuwa kye kiruwa, era kiyinza kitya okukozesebwa obubi? (b) Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tulina kukozesa tutya ekirabo ekyo?
SINGA owa mukwano gwo ekirabo, wandiwulidde otya singa akikozesa bubi mu bugenderevu? Ka tugambe nti wamuwa emmotoka, kyokka oluvannyuma n’okitegeera nti yagivugisa kimama era n’atuusa n’ebisago ku bantu abalala. Tewandiwulidde bubi?
2 Okwogera kirabo okuva eri Yakuwa, Omugabi owa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde.” (Yakobo 1:17) Ekirabo ekyo, ekyawula abantu ku nsolo, kitusobozesa okutegeeza abalala bye tulowooza era n’engeri gye twewuliramu. Kyokka, okufaananako emmotoka, ekirabo eky’okwogera kiyinza okukozesebwa obubi. Nga kiteekwa okuba nga kinakuwaza nnyo Yakuwa abantu bwe boogera obubi ne balumya abalala!
3 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tulina okukozesa ekirabo eky’okwogera ng’oyo eyakituwa bw’ayagala. Okuyitira mu Bayibuli Yakuwa atulaga engeri y’okukozesaamu ekirabo ekyo. Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekivundu tekivanga mu kamwa kammwe, wabula ekirungi ekisobola okuzimba abalala nga bwe kiba kyetaagisa, kisobole okuganyula abawuliriza.” (Abeefeso 4:29) Ka tulabe ensonga lwaki twetaaga okwegendereza ennyo bye twogera, enjogera gye tusaanidde okwewala, era n’engeri gye tuyinza okwogera ‘ebirungi ebizimba abalala.’
ENSONGA LWAKI TULINA OKWEGENDEREZA BYE TWOGERA
4, 5. Ebyawandiikibwa byogera bitya ku maanyi agali mu bigambo?
4 Ensonga emu enkulu lwaki tulina okwegendereza bye twogera, kwe kuba nti ebigambo birina amaanyi. Engero 15:4 lugamba nti: “Olulimi olukkakkamu muti gwa bulamu, naye ebigambo ebinyooleddwanyooleddwa bireetera omuntu okuggwaamu essuubi.” Ng’amazzi bwe gasobozesa ekimera ekiwotose okudda obuggya n’olulimi olukkakkamu lusobola okuzzaamu amaanyi abo abawulira bye lwogera. Kyokka, ebigambo ebibi bisobola okunakuwaza abalala. Mazima ddala, ebigambo bye twogera bisobola okulumya oba okuwonya.—Engero 18:21.
5 Engero 12:18 wagamba nti: “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala.” Okumala gakubawo ebigambo kiyinza okuleetera abalala okulumwa era kitta emikwano. Omutima gwo gwali gufumitiddwako ebigambo ebiringa ekitala ekifumita? Ekyawandiikibwa kye kimu kigamba nti: “Ebigambo by’ab’amagezi biwonya.” Ebigambo ebyoleka okufaayo eby’oyo alina amagezi agava eri Katonda bisobola okuwonya omutima ogulumizibwa era bisobola okuzzaawo enkolagana. Osobola okujjukira lwe baakugamba ebigambo eby’ekisa ebyakuzzaamu amaanyi? (Soma Engero 16:24.) Okuva bwe tukitegedde nti bye twogera birina kye bikola ku balala, awatali kubuusabuusa twandikozesezza olulimi lwaffe mu ngeri ewonya abalala, so si ebalumya.
Ebigambo ebirungi bizzaamu amaanyi
6. Lwaki twetaaga okufuba ennyo okusobola okufuga olulimi lwaffe?
6 Tetusobola kufuga lulimi lwaffe mu bujjuvu ne bwe tufuba kwenkana wa. N’olwekyo, ensonga ey’okubiri lwaki tulina okwegendereza ennyo bye twogera eri nti: Ekibi n’obutali butuukirivu bituleetera okukozesa obubi olulimi lwaffe. Bye twogera biva mu mitima gyaffe, ate ‘ng’ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi.’ (Olubereberye 8:21; Lukka 6:45) N’olwekyo, twetaaga okufuba ennyo okusobola okufuga olulimi lwaffe. (Soma Yakobo 3:2-4.) Wadde nga tetusobola kufuga lulimi lwaffe mu bujjuvu, tusobola okweyongera okukola enkyukakyuka mu ngeri gye tulukozesaamu. Ng’omuwuzi bw’alwanyisa amazzi galeme kumutwala gye gakulukutira, naffe tulina okweyongera okulwanyisa obutali butuukirivu obutuleetera okukozesa obubi olulimi lwaffe.
7, 8. Tuvunaanyizibwa kwenkana wa eri Yakuwa olw’ebigambo bye twogera?
7 Ensonga ey’okusatu lwaki tusaanidde okwegendereza bye twogera eri nti tuvunaanyizibwa eri Yakuwa olw’ebigambo bye twogera. Engeri gye tukozesaamu olulimu lwaffe tekwata ku nkolagana yaffe ne bantu bannaffe kyokka, naye era ekwata ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Yakobo 1:26 lugamba nti: “Omuntu yenna bw’alowoozanga nti asinza Katonda, kyokka n’atafuga lulimi lwe, aba alimbalimba omutima gwe, era okusinza kwe tekugasa.” Nga bwe twalabye mu ssuula evuddeko, ebigambo bye twogera birina akakwate n’okusinza kwaffe. Bwe tutafuga lulimi lwaffe ne twogera ebigambo ebirumya abalala, byonna bye tukola nga tuweereza Yakuwa biba bya bwereere. Ddala ekyo tekyandituleetedde okulowooza ennyo ku bigambo bye twogera?—Yakobo 3:8-10.
8 Kya lwatu tulina ensonga ez’amaanyi ezandituleetedde okwewala okukozesa obubi ekirabo eky’okwogera. Nga tetunneekenneenya bintu ebizimba Abakristaayo bye bayinza okwogera, ka tusooke tulabe ebyo bye batasaanidde kwogera.
ENJOGERA ERUMYA ABALALA
9, 10. (a) Bigambo bya ngeri ki ebikozesebwa ennyo mu nsi ey’akakyo kano? (b) Lwaki tusaanidde okwewala okukozesa ebigambo eby’obuwemu? (Laba n’obugambo obwa wansi.)
9 Ebigambo eby’obuwemu. Ebigambo eby’obuwemu, bikozesebwa nnyo leero. Abamu basalawo okubikozesa nga basunguwadde. Bannakatemba batera okukozesa ebigambo ng’ebyo olw’okwagala okusesa abantu. Kyokka, ebigambo eby’obuwemu bibi nnyo era tetusaanidde kuseka nga waliwo abyogedde. Emyaka nga 2,000 egiyise, omutume Pawulo yagamba ekibiina ky’e Kkolosaayi okulekera awo okukozesa ‘ebigambo eby’obuwemu.’ (Abakkolosaayi 3:8) Pawulo yagamba ekibiina ky’e Efeso nti, “okusaaga okw’obuwemu” kye kimu ku bintu ‘ebitalina na kwogerwako’ mu Bakristaayo ab’amazima.—Abeefeso 5:3, 4.
10 Okwogera eby’obuwemu tekisanyusa Yakuwa n’abo abamuweereza. Mazima ddala, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza okwewala okukozesa ebigambo eby’obuwemu. Pawulo yakiraga nti ‘obutali bulongoofu’ kye kimu ku ‘bikolwa eby’omubiri.’ ‘Obutali bulongoofu,’ buzingiramu okwogera ebigambo ebibi. (Abaggalatiya 5:19-21) Omuntu ayinza okugobebwa mu kibiina singa abuulirirwa enfunda n’enfunda kyokka ne yeeyongera okukozesa olulimi oluvundu.a
11, 12. (a) Ddi lwe kitaba kirungi kwogera ku balala? (b) Lwaki abaweereza ba Yakuwa basaanidde okwewala okuwaayiriza abalala?
11 Okwogera ku balala, okuwaayiriza. Abantu baagala nnyo okwogera ku balala. Ddala okwogera ku balala kibi? Si kibi singa twogera ku bintu ebirungi oba ebizimba, gamba nga, okutegeeza abalala ku abo abaakabatizibwa oba abo abeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baafangayo nnyo okumanya ebikwata ku bannaabwe era baayogeranga ku bintu ebisaana ku bakkiriza bannaabwe. (Abeefeso 6:21, 22; Abakkolosaayi 4:8, 9) Kyokka okwogera ku balala kiyinza okubeera eky’akabi singa bye tuboogerako tebiba bituufu oba biba tebitukwatako. Era kiyinza n’okuvaamu okuwaayiriza. Okuwaayiriza kwe “kwogera eby’obulimba ku muntu . . . ng’ogenderera okwonoona erinnya lye.” Ng’ekyokulabirako, Abafalisaayo baawaayiriza Yesu nga balina ekigendererwa eky’okumukyayisa abantu. (Matayo 9:32-34; 12:22-24) Emirundi mingi, okuwaayiriza kuvaamu okuyomba.—Engero 26:20.
12 Yakuwa tayagala muntu ayonoona linnya lya muntu mulala oba okuleetawo enjawukana. Akyayira ddala abo ‘abaleetawo enjawukana mu b’oluganda.’ (Engero 6:16-19) Ekigambo ky’Oluyonaani di·aʹbo·los, kivvuunulwa “omuwaayiriza” era nga kikozesebwa ne ku Sitaani. Sitaani ye “Mulyolyomi,” ayogera eby’obulimba ku Katonda. (Okubikkulirwa 12:9, 10) Mazima ddala tusaanidde okwewala enjogera yonna eyinza okutuleetera okuba ng’Omulyolyomi. Mu kibiina Ekikristaayo tetusaanidde kwogera bigambo bya bulimba ebireetawo “empaka” ‘n’okweyawulayawula.’ (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo, nga tonnaba kwogera ebyo by’owulidde ku muntu omulala, weebuuze: ‘Ddala bituufu? Binaayisa bitya omuntu oyo? Ddala kya magezi okubibuulirako abalala?’—Soma 1 Abassessalonika 4:11.
13, 14. (a) Ebigambo ebivuma biyisa bitya abalala? (b) Kiki ekiyinza okutuuka ku muntu avuma abalala?
13 Okuvuma. Nga bwe twakirabyeko emabega, ebigambo bisobola okulumya abalala. Kyo kituufu nti olw’okuba tetutuukiridde, ffenna oluusi twogera ebigambo ate oluvannyuma ne tubyejjusa. Wadde kiri kityo, ng’Abakristaayo Bayibuli etukubiriza okwewala okwogera ebigambo ebitasaana mu maka oba mu kibiina. Pawulo yagamba Abakristaayo, ‘obutasiba ekiruyi, obutanyiiga, obutasunguwala, obutayomba, n’obutavuma.’ (Abeefeso 4:31) Enkyusa endala zivvuunula ekigambo “okuvuma” nga “ebigambo ebibi,” “ebigambo ebirumya,” “olulimi oluvuma.” Okuvuma—nga mw’otwalidde n’okukolokota abalala oba okubatuuma amannya agabaweebuula—kisobola okubamalamu ekitiibwa ne kibaleetera okuwulira nga tebalina mugaso. Ebigambo ebivuma naddala birumya nnyo abaana abato.—Abakkolosaayi 3:21.
14 Bayibuli evumirira okukozesa ebigambo ebivuma oba ebiweebuula abalala. Omuntu agufuula omuze okukozesa ebigambo ng’ebyo asobola okugobebwa mu kibiina singa abuulirirwa enfunda eziwera kyokka n’agaana okukyusaamu. Bw’atakyusa mpisa ze, ayinza n’okusubwa omukisa ogw’okubeera mu nsi empya. (1 Abakkolinso 5:11-13; 6:9, 10) Mazima ddala, tetuyinza kusigala mu kwagala kwa Katonda singa tugufuula muze okwogeranga ebigambo ebitasaana, ebitali bituufu, oba ebitali bya kisa. Enjogera ng’eyo eyisa bubi nnyo abalala.
EBIGAMBO ‘EBIRUNGI ERA EBIZIMBA’
15. Bigambo bya ngeri ki ‘ebizimba abalala’?
15 Tuyinza tutya okukozesa ekirabo eky’okwogera ng’oyo eyakituwa bw’ayagala? Kijjukire nti Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwogeranga ebigambo ‘ebirungi ebisobola okuzimba abalala.’ (Abeefeso 4:29) Kisanyusa nnyo Yakuwa bwe tukozesa ebigambo ebizimba, ebizzaamu amaanyi, era ebigumya, nga twogera n’abalala. Ekiyinza okutuyamba okukozesa ebigambo ng’ebyo, kwe kusooka okufumiitiriza ku bye tuba tugenda okwogera. (Tito 2:8) Okusobola okwogera ebigambo ‘ebirungi era ebizimba,’ tusaanidde okulowooza ku bintu ebikulu bisatu: bye twogera birina okuba nga bisaana, nga bituufu, era nga bya kisa. Nga tulina ebyo mu birowoozo, ka twekenneenyeyo ebyokulabirako eby’enjogera ezimba.—Laba akasanduuko “Ebigambo Byange Bizimba?” ku lupapula 140.
16, 17. (a) Lwaki tusaanidde okusiima abalala? (b) Bintu ki ebyandituleetedde okusiima abalala mu kibiina? mu maka?
16 Okwebaza abalala mu bwesimbu. Yakuwa ne Yesu bakitwala nga kikulu okwebaza abalala. (Matayo 3:17; 25:19-23; Yokaana 1:47) Ng’Abakristaayo, kiba kirungi naffe ne twebaza abalala mu bwesimbu. Lwaki? Engero 15:23 lugamba nti: “Ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!” Weebuuze: ‘Mpulira ntya omuntu bw’anneebaza olw’ekyo kye mba nkoze? Tekinsanyusa era ne kinzizaamu amaanyi?’ Mazima ddala, bwe bakwebaza mu bwesimbu, kikuleetera okumanya nti waliwo akufaako, era nti ky’okoze kibadde kya mugaso. Bwe bakwebaza, kikuwa amaanyi okweyongera okukola ennyo. Okuva bwe kiri nti kikusanyusa nnyo omuntu bw’akwebaza olw’ekyo ky’oba ky’okoze, naawe tewandifubye nnyo okwebaza abalala?—Soma Matayo 7:12.
17 Fuba okulaba ebirungi mu balala, n’oluvannyuma obeebaze. Mu kibiina, oyinza okuwulira emboozi etegekeddwa obulungi, oyinza okulaba omwana omuto afuba ennyo okukulaakulana mu by’omwoyo, oba okulaba omuntu akuze mu myaka afuba ennyo okubeerawo mu nkuŋŋaana wadde nga takyesobola. Singa twebaza abantu ng’abo olw’okufuba kwabwe, kiyinza okubakwatako ennyo era ne kibazzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Mu maka, omwami n’omukyala buli omu asaanidde okusiima munne mu bwesimbu n’okumwebaza. (Engero 31:10, 28) Abaana naddala bawulira bulungi nnyo bwe tubeebaza olw’ekyo kye baba bakoze. Ng’ebimera bwe byetaaga omusana n’amazzi okusobola okukula obulungi, n’abaana beetaaga okwebazibwa nga balina ekirungi kye bakoze. Abazadde, mukozese buli kakisa ke mufuna okwebaza abaana bammwe olw’engeri ennungi ze balina era n’olw’ebyo bye baba bakoze. Okwebaza abaana bammwe kijja kubaleetera okuwulira nti ba mugaso era kibakubirize okufuba okukola ebintu ebirungi.
18, 19. Lwaki twandifubye nnyo okubudaabuda n’okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, era kino tuyinza kukikola tutya?
18 Okuzzaamu abalala amaanyi n’okubabudaabuda. Yakuwa alumirirwa nnyo ‘abanaku n’abanyigirizibwa.’ (Isaaya 57:15) Ekigambo kye kitukubiriza ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’ ‘n’okubudaabuda abennyamivu.’ (1 Abassessalonika 5:11, 14) Tuli bakakafu nti Katonda asanyuka bwe tufuba okubudaabuda n’okugumya bakkiriza bannaffe abennyamivu.
19 Kati olwo, kiki ky’oyinza okwogera okuzzaamu amaanyi munno aweddemu amaanyi oba omwennyamivu? Tokitwala nti ggwe olina okugonjoola ekizibu kye. Emirundi mingi, tekyetaagisa kwogera bigambo bingi okusobola okumuyamba. Mukakase nti omufaako. Mugambe nti oyagala musabireko wamu; oyinza okwegayirira Yakuwa amuyambe okukimanya nti abalala bamwagala era nti ne Katonda amwagala. (Yakobo 5:14, 15) Mukakase nti wa mugaso nnyo mu kibiina. (1 Abakkolinso 12:12-26) Okusobola okumukakasa nti Yakuwa amufaako ng’omuntu, musomereyo ekyawandiikibwa okuva mu Bayibuli. (Zabbuli 34:18; Matayo 10:29-31) Awatali kubuusabuusa okuwaayo ebiseera ebimala okwogera “ebigambo ebirungi” era ebiviira ddala ku mutima n’omuntu omwennyamivu, kimuleetera okuwulira nti ayagalibwa era nti wa mugaso.—Soma Engero 12:25.
20, 21. Biki ebiviirako okubuulirira okutuuka ku mutima?
20 Okubuulirira okutuuka ku mutima. Ng’abantu abatatuukiridde, ffenna oluusi n’oluusi twetaaga okubuulirirwa. Bayibuli etukubiriza nti: “Wulirizanga okubuulirirwa era okkirizenga okukangavvulwa, olyoke obe wa magezi gye bujja.” (Engero 19:20) Abakadde bokka si be balina okubuulirira abalala. Abazadde babuulirira abaana baabwe. (Abeefeso 6:4) Kiyinza okwetaagisa bannyinaffe abakulu okubuulirira abo abakyali abato. (Tito 2:3-5) Okwagala kwe tulina eri abalala kutukubiriza okubabuulirira mu ngeri ey’amagezi ne batayisibwa bubi. Kiki ekinaatuyamba okubuulirira abalala mu ngeri ng’eyo? Lowooza ku bintu bisatu ebisobozesa okubuulirira okutuuka ku mutima gw’omuntu: ekiruubirirwa n’endowooza y’oyo abuulirira, ekikozesebwa okubuulirira omuntu, n’engeri gy’abuulirirwamu.
21 Okubuulirira okusobola okutuuka ku mutima kyesigama nnyo ku oyo abuulirira. Weebuuze, ‘Biki ebiyinza okundeetera okukkiriza okubuulirirwa?’ Bw’omanya nti oyo akubuulirira akulumirirwa, era nti alina ensonga ennungi lwaki akubuulirira, era nga talina kiruubirirwa kikyamu, kiba kyangu okukkiriza ky’agamba. N’olwekyo, bw’oba obuulirira abalala, kirage nti olumirirwa era nti ofaayo ku abo b’obuulirira. Ate era, okubuulirira okusobola okutuuka ku mutima kulina okuba nga kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Ka kibe nti tujuliza butereevu mu Bayibuli oba nedda, okubuulirira kwonna kwe tuwa abalala kusaanidde okuba nga kwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. N’olwekyo, abakadde beegendereza nnyo ne batakakaatika ndowooza zaabwe ku balala; era tebanyoolanyoola Byawandiikibwa nga bagezaako okulaga nti Bayibuli ewagira endowooza yaabwe. Ate era okubuulira kuba kulungi nnyo singa kuweebwa mu ngeri entuufu. Bwe tubuulirira abalala mu ngeri ey’ekisa, kibanguyira okukkiriza bye tubagamba.—Abakkolosaayi 4:6.
22. Omaliridde kukozesa otya ekirabo eky’okwogera?
22 Mazima ddala, okwogera kirabo kya muwendo okuva eri Katonda. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kusaanidde okutukubiriza okukozesa obulungi ekirabo ekyo. Ka tukijjukire nti ebigambo bye tukozesa nga twogera n’abalala birina amaanyi ag’okuzimba oba okulumya. N’olwekyo, ka tufube nnyo okukozesa ekirabo kino ‘okuzimba abalala’ ng’oyo eyakituwa bw’ayagala. Mu ngeri eyo, bye twogera bijja kuzzaamu amaanyi abo be tubeera nabo era bijja kutuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda.
a Mu Byawandiikibwa ebigambo, “obutali bulongoofu” bizingiramu ebibi bingi nnyo. Wadde nga kiyinza obuteetaagisa kakiiko k’abakadde okutunula mu nsonga zonna ezikwata ku butali bulongoofu, omuntu ayinza okugobebwa mu kibiina singa agufuula muze okwenyigira mu bikolwa ebitali birongoofu.—2 Abakkolinso 12:21; Abeefeso 4:19; laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 2006.