ESSUULA EY’EKKUMI N’ENNYA
Amaka Go Gasobola Okubaamu Essanyu
1, 2. Kiki Yakuwa ky’ayagaliza amaka?
YAKUWA KATONDA ye yatandikawo obufumbo. Bayibuli egamba nti yatonda omukazi “n’amuleeta eri omusajja.” Adamu yasanyuka nnyo era n’agamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange era omubiri oguvudde mu mubiri gwange.” (Olubereberye 2:22, 23) Kino kiraga nti Yakuwa ayagala abafumbo babeere basanyufu.
2 Eky’ennaku, abantu bangi tebafunangako ssanyu mu maka gaabwe. Naye Bayibuli erimu emisingi mingi egisobola okuyamba ab’omu maka bonna okuba abasanyufu era n’okuba obumu.—Lukka 11:28.
KATONDA KY’AYAGALA ABAAMI BAKOLE
3, 4. (a) Omwami asaanidde kuyisa atya mukyala we? (b) Lwaki kikulu omwami n’omukyala okuba nga basonyiwagana?
3 Bayibuli egamba nti omwami asaanidde okwagala mukyala we n’okumuwa ekitiibwa. (Soma Abeefeso 5:25-29.) Omwami asaanidde bulijjo okuyisa mukyala we mu ngeri eraga nti amwagala. Ate era asaanidde okumulabirira obulungi n’obutabaako kintu kyonna kya kabi ky’amukola.
4 Naye kiki omwami ky’asaanidde okukola singa mukyala we akola ensobi? Bayibuli egamba abaami nti: “Mwagalenga bakyala bammwe era temubasunguwaliranga.” (Abakkolosaayi 3:19) Abaami, mukijjukire nti nammwe mukola ensobi, era bwe muba mwagala Katonda abasonyiwe, nammwe muba mulina okusonyiwa bakyala bammwe. (Matayo 6:12, 14, 15) Omwami n’omukyala bwe baba nga basonyiwagana, kisobozesa obufumbo bwabwe okubaamu essanyu.
5. Lwaki omwami asaanidde okuwa mukyala we ekitiibwa?
5 Yakuwa ayagala omwami awe mukyala we ekitiibwa. Omwami asaanidde okufaayo ennyo ku byetaago bya mukyala we. Ekyo kikulu nnyo kubanga singa omwami tayisa bulungi mukyala we, Yakuwa ayinza okugaana okuwuliriza essaala ze. (1 Peetero 3:7) Ekifuula omuntu ow’omuwendo mu maaso ga Yakuwa kwe kuba nti ayagala Katonda. Katonda abasajja n’abakazi abaagala kye kimu.
6. Omwami n’omukyala okuba ‘omubiri ogumu’ kitegeeza ki?
6 Yesu yagamba nti omwami n’omukyala baba ‘tebakyali babiri, naye baba omubiri gumu.’ (Matayo 19:6) Kino kiraga nti buli omu aba alina okuba omwesigwa eri munne. N’olwekyo, balina okwewalira ddala obwenzi. (Engero 5:15-21; Abebbulaniya 13:4) Ku bikwata ku by’okwegatta ng’abafumbo, omwami n’omukyala buli omu asaanidde okufaayo ku byetaago bya munne. (1 Abakkolinso 7:3-5) Omwami asaanidde okukijjukira nti “tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.” N’olwekyo, asaanidde okwagala mukyala we n’okumulabirira obulungi. Omukyala ky’asingira ddala okwetaaga okuva eri omwami we kwe kumulaga ekisa n’okumwagala.—Abeefeso 5:29.
KATONDA KY’AYAGALA ABAKYALA BAKOLE
7. Lwaki buli maka galina okuba n’agakulembera?
7 Buli maka galina okuba n’agakulembera, omuntu ow’okuwa ab’omu maka obulagirizi basobole okuba nga bakolera wamu. Mu 1 Abakkolinso 11:3, Bayibuli egamba bw’eti: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; ate omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”
8. Omukyala ayinza atya okulaga nti assaamu nnyo mwami we ekitiibwa?
8 Buli mwami akola ensobi. Naye omukyala bw’awagira omwami we mu ebyo by’aba asazeewo era n’akolera wamu naye, buli omu mu maka aganyulwa. (1 Peetero 3:1-6) Bayibuli egamba nti: ‘Omukyala asaanidde okussaamu ennyo omwami we ekitiibwa.’ (Abeefeso 5:33) Ate singa omwami taba mukkiriza? Mukyala we era aba alina okumussaamu ennyo ekitiibwa. Bayibuli egamba nti: “Abakazi mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.” (1 Peetero 3:1, 2) Omukyala bwe yeeyisa obulungi, ekyo kisobola okuleetera omwami we okussa ekitiibwa mu nzikiriza ye n’okugitegeera.
9. (a) Kiki omukyala ky’asaanidde okukola singa aba n’endowooza eyawukana ku y’omwami we? (b) Mu Tito 2:4, 5 abakyala bakubirizibwa kukola ki?
9 Kiki omukyala ky’ayinza okukola singa aba n’endowooza eyawukana ku y’omwami we? Asaanidde okuwa endowooza ye mu ngeri eraga nti assaamu omwami we ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, Saala yaleeta ekiteeso ekitaasanyusa Ibulayimu, naye Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: “Muwulirize.” (Olubereberye 21:9-12) Ebiseera ebisinga obungi ekyo omwami Omukristaayo ky’aba asazeewo kiba tekikontana n’ekyo Bayibuli ky’egamba, n’olwekyo mukyala we aba asaanidde okumuwagira. (Ebikolwa 5:29; Abeefeso 5:24) Omukyala omulungi afaayo ku b’omu maka ge. (Soma Tito 2:4, 5.) Omwami we n’abaana be bwe balaba nti abafaako nnyo, beeyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa.—Engero 31:10, 28.
10. Bayibuli eyogera ki ku kwawukana n’okugattululwa?
10 Abafumbo abamu banguwa okusalawo okwawukana oba okugattululwa. Kyokka Bayibuli egamba nti, “omukyala talekanga mwami we” era nti “n’omwami talekanga mukyala we.” (1 Abakkolinso 7:10, 11) Waliwo embeera enzibu ennyo eziyinza okuleetera abafumbo okwawukana, naye kino kirina okusooka okulowoozebwako n’obwegendereza. Ate kwo okugattululwa? Bayibuli egamba nti ensonga yokka abafumbo kwe bandisinzidde okugattululwa kwe kuba nti omu ku bo yeegasse n’omuntu omulala.—Matayo 19:9.
KATONDA KY’AYAGALA ABAZADDE BAKOLE
11. Kiki abaana kye basinga okwetaaga okuva eri bazadde baabwe?
11 Abazadde, mufube okufissangawo obudde obuwerako okubeerako awamu n’abaana bammwe. Abaana bammwe babeetaaga nnyo, naye kye basinga okwetaaga okuva gye muli kwe kubayigiriza ebikwata ku Yakuwa.—Ekyamateeka 6:4-9.
12. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe baleme kukabasanyizibwa?
12 Ensi ya Sitaani buli lukya yeeyongera kuba mbi, era erimu abantu abaagala okutuusa akabi ku baana baffe, nga mw’otwalidde n’okubakabasanya oba okubakwata. Abazadde abamu bakisanga nga kizibu okwogera n’abaana baabwe ku nsonga eno. Naye abazadde basaanidde okulabula abaana baabwe ku bantu ng’abo era n’okubabuulira engeri gye bayinza okubeewalamu. Abazadde mulina okuyamba abaana bammwe baleme kutuukibwako kabi.a—1 Peetero 5:8.
13. Abazadde basaanidde kukangavvula batya abaana baabwe?
13 Yakuwa awadde abazadde obuvunaanyizibwa obw’okukangavvula abaana baabwe babayambe okweyisa obulungi. Ekyo basaanidde kukikola batya? Abaana beetaaga okukangavvulwa, naye tosaanidde kubakangavvula mu ngeri ya bukambwe. (Yeremiya 30:11) Tokangavvulanga baana bo ng’oliko obusungu. Ebigambo byo tebisaanidde kuba nga “bifumita ng’ekitala” era nga birumya abaana bo. (Engero 12:18) Yamba abaana bo okutegeera ensonga lwaki basaanidde okuba abawulize.—Abeefeso 6:4; Abebbulaniya 12:9-11; laba Ekyongerezeddwako Na. 30.
KATONDA KY’AYAGALA ABAANA BAKOLE
14, 15. Lwaki abaana basaanidde okugondera bazadde baabwe?
14 Yesu yagonderanga Kitaawe, ne bwe kitaabanga kyangu. (Lukka 22:42; Yokaana 8:28, 29) Yakuwa ayagala abaana bagondere bazadde baabwe.—Abeefeso 6:1-3.
15 Abaana, ne bwe muba nga muwulira nga kibakaluubirira okugondera bazadde bammwe, mukijjukire nti bwe mubagondera, kisanyusa Yakuwa ne bazadde bammwe.b—Engero 1:8; 6:20; 23:22-25.
16. (a) Sitaani agezaako atya okuleetera abaana okukola ebintu ebibi? (b) Lwaki kikulu nnyo okuba n’emikwano egyagala Yakuwa?
16 Sitaani ayinza okukozesa mikwano gyo oba abaana abalala okukupikiriza okukola ebintu ebibi. Akimanyi nti si kyangu omuntu okusigala nga mwesigwa ng’apikiriziddwa. Ng’ekyokulabirako, Dina muwala wa Yakobo, yakola omukwano n’abantu abaali bataagala Yakuwa. Kino kyaleetera Dina n’ab’ewaabwe ebizibu bingi. (Olubereberye 34:1, 2) Singa mikwano gyo baba tebaagala Yakuwa, bayinza okukupikiriza okukola ebintu Yakuwa by’atayagala, ekiyinza okukuviirako ebizibu eby’amaanyi, ssaako okunakuwaza bazadde bo ne Katonda. (Engero 17:21, 25) Eyo ye nsonga lwaki kikulu nnyo okuba nti abo b’ofuula mikwano gyo baba baagala Yakuwa.—1 Abakkolinso 15:33.
AMAKA GO GASOBOLA OKUBA AMASANYUFU
17. Buvunaanyizibwa ki buli omu mu maka bw’alina?
17 Ab’omu maka bonna bwe bagoberera obulagirizi bwa Katonda, beewala ebizibu bingi. N’olwekyo, bw’oba oli mwami, yagala nnyo mukyala wo era muyise mu ngeri eraga nti omwagala nnyo. Bw’oba oli mukyala, gondera omwami wo era musseemu nnyo ekitiibwa. Fuba okweyisa ng’omukyala ayogerwako mu Engero 31:10-31. Bw’oba oli muzadde, fuba okuyamba abaana bo okwagala Katonda. (Engero 22:6) Bw’oba oli taata, ‘fuga bulungi amaka go.’ (1 Timoseewo 3:4, 5; 5:8) Bw’oba oli mwana, fuba okugondera bazadde bo. (Abakkolosaayi 3:20) Buli omu mu maka asobola okukola ensobi. N’olwekyo, buli omu abe mwetoowaze era yeetonderenga munne. Awatali kubuusabuusa, Bayibuli erimu obulagirizi okuva eri Yakuwa obukwata ku buli omu mu maka.
a Okumanya ebisingawo ku ngeri gy’oyinza okuyamba abaana bo baleme kukabasanyizibwa, laba ekitabo Yigira ku Muyigiriza Omukulu, essuula 32. Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Omwana aba talina kugondera bazadde be singa bamugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda.—Ebikolwa 5:29.