ESSOMO 09
Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
Owulira nga weetaaga obulagirizi mu bulamu? Waliwo ebibuuzo bye weetaaga okuddibwamu? Owulira nga weetaaga okubudaabudibwa oba okuzzibwamu amaanyi? Wandyagadde okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa? Okusaba kusobola okukuyamba mu ebyo byonna. Naye engeri entuufu ey’okusabamu y’eruwa? Katonda awuliriza essaala zonna? Kiki ky’osobola okukola okukakasa nti awuliriza essaala zo? Ka tulabe.
1. Ani gwe tusaanidde okusaba, era biki bye tuyinza okusaba?
Yesu yatuyigiriza nti tusaanidde kusaba Kitaffe ow’omu ggulu yekka. Ne Yesu kennyini yasabanga Yakuwa. Yagamba nti: “Musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu . . . ’” (Matayo 6:9) Bwe tusaba Yakuwa, omukwano gwe tulina naye gunywera.
Tusobola okusaba ku nsonga yonna. Naye Katonda bw’aba ow’okuddamu essaala zaffe, zirina okuba nga zituukagana n’ebyo by’ayagala. Bayibuli egamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo [Katonda] by’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) Yesu yatubuulira ebimu ku bintu bye tusobola okusaba Katonda. (Soma Matayo 6:9-13.) Ng’oggyeeko okusaba Katonda ebintu bye twagala, tusaanidde n’okumwebaza olw’ebyo by’atukolera era n’okumusaba okuyamba abalala.
2. Tusaanidde kusaba tutya?
Bayibuli etukubiriza ‘okubuulira Katonda ebituli ku mutima.’ (Zabbuli 62:8) N’olwekyo tusaanidde okuba abeesimbu nga tusaba. Bye tusaba bisaanidde okuviira ddala ku mutima. Tusobola okusaba mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise, kasita tukikola mu ngeri eraga nti tuwa Katonda ekitiibwa. Tusobola okusaba ekiseera kyonna era mu kifo kyonna.
3. Katonda addamu atya essaala zaffe?
Yakuwa addamu essaala zaffe mu ngeri nnyingi. Yatuwa Ekigambo kye Bayibuli, mwe tusanga eby’okuddamu mu bibuuzo bye twebuuza. Okusoma Ekigambo kya Katonda ‘kigeziwaza atalina bumanyirivu.’ (Zabbuli 19:7; soma Yakobo 1:5.) Katonda asobola okutuwa emirembe ku mutima nga twolekagana n’ebizibu. Ate era asobola okuleetera abaweereza be okutuwa obuyambi bwe tuba twetaaga.
YIGA EBISINGAWO
Yiga engeri gy’osobola okusaba Katonda essaala eziviira ddala ku mutima era ezimusanyusa. Era laba engeri okusaba gye kuyinza okukuganyulamu.
4. Katonda alina by’atusuubira okukola okusobola okuwulira essaala zaffe
Kiki ekireetera Katonda okuwuliriza essaala zaffe oba obutaziwuliriza? Laba VIDIYO.
Yakuwa ayagala tusabe ye. Soma Zabbuli 65:2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Olowooza Oyo “awulira okusaba” ayagala omusabe? Lwaki ogamba bw’otyo?
Tulina okufuba okutuukana n’emitindo gya Katonda bwe tuba nga twagala awulire okusaba kwaffe. Soma Mikka 3:4 ne 1 Peetero 3:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Kiki kye tusaanidde okukola, Yakuwa okusobola okuwulira essaala zaffe?
Mu kiseera ky’olutalo, ebibinja byombi ebiba birwanagana biyinza okusaba bifune obuwanguzi. Katonda awuliriza essaala ng’ezo?
5. Essaala zaffe zirina kuva ku mutima
Abantu abamu bwe baba basaba, baddiŋŋana essaala ze baakwata mu mutwe. Naye ddala bw’atyo Katonda bw’ayagala tumusabe? Soma Matayo 6:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Oyinza otya okwewala ‘okuddiŋŋana ebigambo’ ng’osaba?
Buli lunaku oyinza okulowooza ku kintu kimu ekirungi Yakuwa ky’akukoledde, era n’omwebaza olw’ekintu ekyo. Bw’okola bw’otyo, wiiki w’etuukira okuggwaako ojja kuba osabye ku bintu musanvu eby’enjawulo nga toddiŋŋanye bigambo.
6. Okusaba kirabo okuva eri Katonda
Okusaba kutusobozesa kutya okufuna amaanyi mu biseera ebizibu? Laba VIDIYO.
Bayibuli eraga nti okusaba kusobola okutuyamba okufuna emirembe ku mutima. Soma Abafiripi 4:6, 7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Wadde ng’ebizibu byaffe biyinza obutavaawo oluvannyuma lw’okusaba, okusaba kutuyamba kutya?
Ebimu ku bintu bye wandyagadde okusaba bye biruwa?
Obadde okimanyi?
Ekigambo “amiina” kitegeeza nti, “kibeere bwe kityo” oba “ddala ddala.” Okuva mu biseera eby’edda, ekigambo “amiina” kibadde kyogerwa ku nkomerero y’essaala.—1 Ebyomumirembe 16:36.
7. Nyiikirira okusaba
Oluusi tuba n’eby’okukola bingi ne twerabira okusaba. Okusaba kwali kukulu kwenkana wa eri Yesu? Soma Matayo 14:23 ne Makko 1:35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Kiki Yesu kye yakolanga okusobola okufuna ebiseera okusaba?
Ddi lw’oyinza okufuna ebiseera okusaba?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Okusaba kuyamba buyambi muntu kuwulira bulungi.”
Ggwe olowooza otya?
MU BUFUNZE
Bwe tusaba mu bwesimbu, kituyamba okusemberera Katonda, kitusobozesa okuba n’emirembe ku mutima, era kitusobozesa okufuna amaanyi ge twetaaga okusobola okusanyusa Katonda.
Okwejjukanya
Ani gwe tusaanidde okusaba?
Tusaanidde kusaba tutya?
Egimu ku miganyulo egiri mu kusaba gye giruwa?
LABA EBISINGAWO
Funa eby’okuddamu mu bibuuzo abantu bye batera okwebuuza ku kusaba.
“Ebintu Musanvu Bye Weetaaga Okumanya Ebikwata ku Kusaba” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 1, 2011)
Manya ensonga enkulu lwaki osaanidde okusaba, n’engeri gy’oyinza okulongoosa mu ssaala zo.
Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ani gwe tusaanidde okusaba.
Mu vidiyo eno ey’oluyimba, laba obanga ekiseera kye tusabiramu ne wa we tusabira bikulu.