‘Mwegenderezenga’
‘Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu amala kwetegereza.’—ENGERO 14:15.
1, 2. (a) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Luti ng’ali mu Sodomu? (b) Ekigambo ‘okutamiirukuka’ kitegeeza ki?
IBULAYIMU bwe yagamba Lutti nti y’aba asooka okweroboza ekitundu ky’ayagala okubeeramu, Lutti yalonda olusenyi omwali amazzi amangi “nga lufaanana ng’olusuku lwa Mukama.” ‘Lutti yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani,’ era n’asenga okumpi ne Sodoma. Ateekwa okuba nga yalaba nti ekifo ekyo kyandibadde kirungi nnyo okubeeramu n’ab’omu maka ge. Wadde kyali kirabika bulungi, tekyali kirungi kubeeramu kubanga okumpi nakyo waaliwo ‘abantu ab’omu Sodoma abaali ababi era aboonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama.’ (Olubereberye 13:7-13) Ekiseera bwe kyayitawo, Lutti n’ab’omu maka ge baafuna ebizibu. Ebizibu bino, byaviirako Lutti ne bawala be okubeera mu mpuku. (Olubereberye 19:17, 23-26, 30) Ekifo ekyamulabikira ng’ekirungi mu kusooka kyamuviiramu ebizibu.
2 Waliwo ekintu abaweereza ba Katonda kye basobola okuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Lutti. Bwe tuba tulina kye tusalawo, tuteekwa okusooka okulowooza ku kabi akayinza okuvaamu era ne twewala okutwalirizibwa endabika ey’okungulu. Eno y’ensonga lwaki Ekigambo kya Katonda kitukubiriza nti: “Mwegenderezenga.” (1 Peetero 1:13, NW) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa ‘okwegendereza’ butereevu kitegeeza “okutamiirukuka.” Okusinziira ku mwekenneenya omu owa Baibuli ayitibwa R.C.H. Lenski, okutamiirukuka kitegeeza “omuntu okuba ng’asobola okulowooza obulungi n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.” Ka twekenneenye ezimu ku mbeera mwe twetaagira okuba abeegendereza.
Sooka Olowooze nga Tonnasalawo ku Nsonga Ezikwata ku Bizineesi
3. Lwaki kiba kirungi okusooka okwetegereza bwe wabaawo atuwa amagezi okutandikawo bizineesi?
3 Ka tugambe nti omuntu gwe weesiga akutuukirira n’akuwa amagezi okutandikawo bizineesi. Muli awulira nti bizineesi eyo ejja kutambula bulungi era akukubiriza okugitandika amangu oleme kufiirwa mukisa ogwo. Bw’ofumiitirizaamu, okiraba nti gwe n’ab’omu maka go mujja kuba mu bulamu obulungi singa otandikawo bizineesi eyo. Ate era oyinza n’okulowooza nti bizineesi eyo ejja kukusobozesa okufuna ebiseera okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina. Kyokka, jjukira okulabula okuli mu Engero 14:15 awagamba nti: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu [“amala kwetegereza,” Baibuli y’Oluganda eya 2003].” Olw’okwesunga amagoba g’ogenda okufuna mu bizineesi, oyinza okubuusa amaaso ebizibu ebiyinza okujjawo era n’otakirowoozaako nti bizineesi eyo eyinza n’okugwa. (Yakobo 4:13, 14) Nga kyandibadde kirungi obutapapa kutandika bizineesi yonna nga tonnasooka kumanya bizingirwamu!
4. Tuyinza tutya ‘okusooka okwetegereza’ obulungi nga tetunnasalawo ku bikwata ku bizineesi?
4 Omuntu ow’amagezi asooka kunoonyereza ku bizineesi gye baba bamugambye okutandikawo. (Engero 21:5) Okunoonyereza ng’okwo kumuyamba okumanya ebizibu ebiyinza okubaawo mu maaso. Lowooza ku mbeera ng’eno: Omuntu ayagala kukwewolako ssente azisse mu bizineesi, era asuubiza okukuwa amagoba mangi singa okkiriza okumuwola. Amagoba gayinza okukulabikira ng’amangi, naye olowoozezza ku bizibu ebiyinza okujjawo? Oyo akwewolako akkiriza nti ajja kukusasula ka kibe nti bizineesi eneeba tetambudde bulungi oba akugamba nti kijja kusinziira ku ngeri gy’eneeba etambuddemu? Oli mwetegefu okufiirwa ssente zo singa bizineesi egwa? Nga tonnaba kusalawo kuwola muntu oyo ssente, sooka weebuuza nti: “Lwaki omuntu ono nze gw’ayagala okwewolako? Aba banka bagaanye okumuwola nga balaba nti bayinza okufiirwa ssente zaabwe?” Okusooka okulowooza ku bizibu ebiyinza okujjawo kijja kukuyamba okusalawo oba nga kya magezi okuwola omuntu oyo ssente oba nedda.—Engero 13:16; 22:3.
5. (a) Kintu ki eky’amagezi Yeremiya kye yakola bwe yali agula ennimiro? (b) Lwaki kiba kirungi endagaano zonna ezikwata ku bizinesi okuzissa mu buwandiike?
5 Nnabbi Yeremiya bwe yagula ennimiro ku kizibwe we eyali omusinza wa Yakuwa, baakola endagaano mu buwandiike nga waliwo n’abajulizi. (Yeremiya 32:9-12) Kino kiraga nti kya magezi omuntu okukola endagaano mu buwandiike bw’aba alina bizinesi yonna gy’agenda okukola n’ab’eŋŋanda ze oba ne bakkiriza banne.a Singa wajjawo obutategeeragana, endagaano ng’eyo esobola okubayamba okubumalawo era n’okukuuma emirembe. Ku luuyi olulala, bwe muba temwakola ndagaano nga mutandika bizineesi, ebizibu bwe bijjawo kiyinza okuba ekizibu okubigonjoola. Ebizibu ng’ebyo biyinza okuviirako omuntu okuyisibwa obubi, okuleetawo empalana, sinakindi n’okuddirira mu by’omwoyo.
6. Lwaki kyetaagisa okwewala omwoyo gw’okululunkanira ebintu?
6 Ate era tulina okwewala okufuna omwoyo gw’okululunkanira ebintu. (Lukka 12:15) Olw’okuba omuntu aba asuubira okufuna amagoba mangi, ayinza okusikirizibwa okuyingira bizineesi eziyinza okumufiiriza ssente. Eky’ennaku, n’abamu ku abo abalina enkizo mu kibiina kya Yakuwa bagudde mu katego kano. Ekigambo kya Katonda kitulabula nti: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini agamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.” (Abaebbulaniya 13:5) N’olwekyo, kyandibadde kirungi Omukristaayo yenna ayagala okutandikawo bizineesi okusooka okwebuuza nti, ‘Ddala nneetaaga okutandikawo bizineesi eno?’ Okubeera n’obulamu obwangu nga tukulembeza Yakuwa by’ayagala, kijja kutuyamba okwewala ‘ekikolo ky’ebibi byonna.’—1 Timoseewo 6:6-10.
Ebizibu Abakristaayo Abali Obwannamunigina bye Boolekagana Nabyo
7. (a) Buzibu ki Abakristaayo abali obwannamunigina bwe balina? (b) Bwe tuba tulonda omuntu ow’okuyingira naye obufumbo, tuyinza tutya okulaga nti tuli beesigwa eri Katonda?
7 Abaweereza ba Yakuwa bangi baagala okuyingira obufumbo, kyokka tebannalaba muntu asaanira gwe bayinza kufumbiriganwa naye. Mu nsi ezimu abantu bapikiriza bannaabwe okuyingira obufumbo. Kyokka, kiyinza obutaba kyangu kufuna musinza munno gw’oyinza kufumbiriganwa naye. (Engero 13:12) Olw’okuba Abakristaayo beesigwa eri Yakuwa, bagondera ekiragiro kya Baibuli eky’okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 7:39) Abakristaayo abali obwannamunigina bateekwa okwegendereza baleme kutwalirizibwa kupikirizibwa n’ebikemo bye boolekagana nabyo.
8. Kupikirizibwa ki omuwala Omusulamu kwe yafuna, era okupikirizibwa okufaananako ng’okwo kuyinza kutya okutuuka ku bannyinaffe leero?
8 Ekitabo ky’Oluyimba kyogera ku kabaka eyeegomba omuwala Omusulamu. Wadde ng’omuwala ono yalina omulenzi gw’ayagala, kabaka yakozesa eby’obugagga, ekitiibwa kye, era n’agezaako okumusendasenda asobole okuwangula omutima gwe. (Oluyimba 1:9-11; 3:7-10; 6:8-10, 13) Ng’omukazi Omukristaayo, naawe oyinza okwesanga mu mbeera efaanana ng’eyo. Mukozi munno, oba mukama wo ayinza okutandika okukweyogererezaako oba okubaako ebirungi by’akukolera ng’ayagala ofuuke mukwano gwe. Weegendereze oleme kutwalirizibwa bintu ng’ebyo. Wadde omuntu oyo ayinza okuba takwegwanyiza era nga talina kiruubirirwa kikyamu, emirundi egisinga obungi ekyo kye kiba ekigendererwa ky’abantu ng’abo. Beera ng’omuwala Omusulamu eyalinga “bbugwe.” (Oluyimba 8:4, 10) Singa olaba nti waliwo omuntu yenna ayagala okukufuula muganzi we, mulage kaati nti tokyagala. Amangu ddala nga wakatandika okukola, tegeerezaawo bakozi banno nti oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era kozesa buli kakisa k’ofuna okubawa obujulirwa. Kino kijja kuba kya bukuumi gy’oli.
9. Kabi ki akali mu kwogereza omuntu gw’otomanyi ng’okozesa Internet? (Era laba akasanduuko ku lupapula 30.)
9 Ennaku zino waliwo emikutu gya Internet mingi egiteekeddwawo okuyamba abantu abali obwannamunigina okufuna omuntu gwe bayinza okufumbiriganwa naye. Enkola eno abamu bagitwala nti ngeri nnungi ey’okumanyamu abantu abandibabeeredde abazibu okusisinkana. Kyokka kya kabi nnyo okukola omukwano n’omuntu gw’otomanyi. Kino kituufu kubanga kiba kizibu nnyo okumanya ekituufu n’ekikyamu ku muntu ng’okozesa Internet. (Zabbuli 26:4) Tekiri nti buli muntu yenna eyeegamba okuba omuweereza wa Yakuwa ddala aba muweereza wa Yakuwa. Ate era, okuva bwe kiri nti omukwano gwe mukola nga mukozesa Internet gukulaakulana mangu nnyo, tekikuwa kiseera kimala okusalawo mu ngeri entuufu. (Engero 28:26) Ka kibe nti okozesa Internet oba engeri endala yonna, tekiba kya magezi kwogereza muntu gw’otomanyi bulungi.—1 Abakkolinso 15:33.
10. Abakristaayo bayinza batya okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaabwe abali obwannamunigina?
10 Yakuwa alaga abaweereza be ‘ekisa kingi.’ (Yakobo 5:11) Akimanyi nti Abakristaayo abali obwannamunigina olw’embeera ze bateeyagalira batera okuwuubaala, era abasiima nnyo olw’okukuuma obwesigwa. Tusobola tutya okubazzaamu amaanyi? Tusobola okukikola nga tubeebaza olw’obwesigwa bwe balaze awamu n’omwoyo ogw’okwerekereza. (Ekyabalamuzi 11:39, 40) Ate era tusobola n’okukikola nga tubayita okusanyukirako awamu nabo. Gye buvuddeko awo olina be wayita ne musanyukirako wamu? Ate era, tusobola okubasabira Yakuwa abayambe baleme kuddirira mu by’omwoyo, era basobole okumuweereza n’essanyu. Ka tubafeeko mu ngeri y’emu nga Yakuwa bw’abafaako.—Zabbuli 37:28.
Bw’Olwala
11. Buzibu ki omulwadde bw’ayinza okwolekagana nabwo?
11 Kitweraliikiriza nnyo bwe tuba tulwadde oba nga tulwazizza. (Isaaya 38:1-3) Wadde nga twandyagadde okufuna obujjanjabi obulungi, kiba kikulu nnyo okukozesa enzijanjaba etakontana na misingi gya Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo basaanidde okugondera ekiragiro kya Baibuli oky’okwewala omusaayi era n’obutakozesa nzijanjaba ezeekuusa ku by’obusamize. (Ebikolwa 15:28, 29; Abaggalatiya 5:19-21) Kyokka, abo abatalina kye bamanyi ku bya kisawo kiyinza okubazibuwalira okumanya enzijanjaba entuufu gye bayinza okukkiriza. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
12. Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okusalawo enzijanjaba gy’alina okukozesa?
12 ‘Omuntu omutegeevu amala kwetegereza,’ kwe kugamba, asooka kunoonyereza mu Baibuli ne mu bitabo ebigyesigamiziddwako nga tannaba kubaako ky’asalawo. (Engero 14:15) Mu nsi omuli amalwaliro amatono, abantu beesanga nga balina kukozesa ddagala lya kinnansi. Bwe tuba tulowooza ku kukozesa eddagala ly’ekinnansi, tuyinza okufuna amagezi agayinza okutuyamba okuva mu The Watchtower, aka Apuli 15, 1987, empapula 26-9. Katuyamba okumanya ebintu eby’akabi bye tusaanidde okwewala bwe tuba tusazeewo okukozesa enzijanjaba eyo. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okutwetaagisa okumanya bino wammanga: Omusawo oyo agenda okukuwa eddagala, amanyiddwa ng’omusamize? Akugamba nti abantu balwala era nti bafa olw’okuba baba banyiizizza bajjajja baabwe abaafa oba nti waliwo omuntu abaloze? Obujjanjabi bw’akuwa buzingiramu okusaddaaka, okulaamiriza oba okugoberera obulombolombo obwekuusa ku busamize? (Ekyamateeka 18:10-12) Bwe tukola okunoonyereza ku bintu ng’ebyo, tuba tugoberedde okubuulirira kwa Baibuli okugamba nti: “Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi.”b (1 Abassesaloniika 5:21, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Ekyo kijja kutuyamba obutavumirira oba okutendereza enzijanjaba emu oba endala.
13, 14. (a) Ndowooza ki ennuŋŋamu gye tusaanidde okuba nayo ku bikwata ku bujjanjabi? (b) Lwaki tusaanidde okuba abeegendereza nga twogera ku by’obujjanjabi?
13 Kitwetaagisa okuba n’endowooza ennuŋŋamu mu buli kye tukola nga mw’otwalidde n’ebikwata ku bujjanjabi. (Abafiripi 4:5) Bwe tufaayo ku bulamu bwaffe, kiba kiraga nti tubutwala nga bwa muwendo. Bwe kityo, bwe tuba tulwadde, tufaayo nnyo okufuna obujjanjabi. Kyokka, tulina okukijjukira nti obulwadde tebujja kuggwaawo okutuusizza ddala ku kiseera Katonda ‘lw’aliwonya amawanga.’ (Okubikkulirwa 22:1, 2) N’olwekyo, tetusaanidde kweraliikirira bya bulamu ekiyinza okutuviirako okulagajjalira eby’omwoyo.—Matayo 5:3; Abafiripi 1:10.
14 Ate era tusaanidde okuba abeegendereza nga twogera n’abalala ku bikwata ku bujjanjabi. Obujjanjabi si kintu kye tusaanidde okunyumyako ennyo nga tugenze mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba mu nkuŋŋaana ennene. Ate era tulina okukijjukira nti enzijanjaba omuntu gy’asalawo okukozesa tekontana na misingi gya Baibuli, temuleetera kulumirizibwa omuntu we ow’omunda, oba okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa. N’olwekyo, tekiba kya magezi kukakaatika ndowooza yaffe ku mukkiriza munnaffe oba okumuwaliriza okukola ekintu omuntu we ow’omunda ky’atamukkiriza kukola. Wadde ng’omuntu ayinza okwebuuza ku abo abakuze mu by’omwoyo, buli Mukristaayo ateekwa ‘okwettika omutwalo gwe’ ng’alina by’asalawo, era alina okukijjukira nti “buli muntu Katonda alimuvunaana ku lulwe.”—Abaggalatiya 6:5; Abaruumi 14:12, 22, 23.
Bwe Twolekagana n’Embeera Enzibu
15. Embeera enzibu ziyinza kuleetera muntu kweyisa atya?
15 Embeera enzibu ziyinza okuleetera n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa okwogera oba okweyisa mu ngeri etali ya magezi. (Omubuulizi 7:7) Bwe yali mu mbeera enzibu ennyo, Yobu yayoleka endowooza etaali nnungi era ekyo ne kireetera Yakuwa okutereeza endowooza ye. (Yobu 35:2, 3; 40:6-8) Wadde nga ‘Musa yali musajja muwombeefu nnyo okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna,’ lumu yakwatibwa obusungu n’ayogera nga tasoose kufumiitiriza. (Okubala 12:3; 20:7-12; Zabbuli 106:32, 33) Wadde nga Dawudi yeefuga n’atatta Kabaka Sawulo, Nabali bwe yakaayukira basajja be era n’abavuma, Dawudi yakwatibwa obusungu n’asalawo okukola ekintu ekitali kya magezi. Dawudi yadda mu nteeko nga Abbigayiri amaze kumuwooyawooya, era ekyo kye kyamuyamba obutagwa mu nsobi ya maanyi.—1 Samwiri 24:2-7; 25:9-13, 32, 33.
16. Kiki ekijja okutuyamba okweyisa mu ngeri ey’amagezi?
16 Naffe tuyinza okwolekagana n’embeera enzibu eziyinza okutuleetera okweyisa mu ngeri etali ya magezi. Singa tuba nga Dawudi ne tukolera ku magezi abalala ge batuwa, kiyinza okutuyamba okwewala okukola ekintu ekiyinza okutuleetera okukola ekibi. (Engero 19:2) Ng’oggyeko ekyo, Ekigambo kya Katonda kitubuulirira nti: “Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire.” (Zabbuli 4:4) Bwe kiba kisoboka, kyandibadde kirungi ne tusooka tudda mu nteeko nga tetunnabaako kye tukola oba okusalawo. (Engero 14:17, 29) Ate era singa tutuukirira Yakuwa mu kusaba, ‘emirembe gye, egisinga okutegeerwa kwonna, gijja kukuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’ (Abafiripi 4:6, 7) Emirembe Katonda gy’atuwa gijja kututebenkeza era gituyambe okweyisa mu ngeri ey’amagezi.
17. Lwaki twetaaga obuyambi bwa Yakuwa bwe tuba ab’okweyisa mu ngeri ey’amagezi?
17 Wadde nga tuyinza okukola kyonna kye tusobola okwewala akabi era n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi, ffenna tukola ensobi. (Yakobo 3:2) Tuyinza n’okuba nga tunaatera okukola ensobi ey’amaanyi naye nga tetukimanyi. (Zabbuli 19:12, 13) Okugatta ku ekyo, ffe ng’abantu tetusobola kuluŋŋamya bigere byaffe okuggyako nga Yakuwa atuwadde obulagirizi. (Yeremiya 10:23) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atukakasa nti: “Naakuyigirizanga naakulaganga mu kkubo ly’onooyitangamu: naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.” (Zabbuli 32:8) Mazima ddala, Yakuwa asobola okutuyamba ne tweyisa mu ngeri ey’amagezi.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ebisingawo ku kukola endagaano ezikwata ku bizineesi, soma The Watchtower, aka Agusito 1, 1997, empapula 30-1; Noovemba 15, 1986, empapula 16-17; ne Awake!, aka Febwali 8, 1983, empapula 13-15, obwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Okubuulirira kuno kuyinza okuyamba abo abaagala okukozesa enzijanjaba abantu ze balinako endowooza ez’enjawulo.
Wandizzeemu Otya?
Tusobola tutya okweyisa mu ngeri ey’amagezi
• nga tusalawo ku nsonga ezikwata ku bizineesi?
• nga tunoonya ow’okufumbiriganwa naye?
• nga tulwadde?
• bwe tuba mu mbeera enzibu?
[AKasanduuko akali ku lupapula 30]
Kya Magezi Okugwesiga?
Bino bye bigambo ebisangibwa ku mikutu gya Internet ebiggya obuvunaanyizibwa ku bannannyini mikutu egiyamba abanoonya ow’okufumbiriganwa naye:
“Ne bwe tuba tukoze tutya, tetusobola kukukakasa nti ojja kumanyira ddala ekyo kyennyini ky’oyagala ekikwata ku muntu.”
“Tetukukakasa nti omuntu gw’onooyogera naye ku mukutu guno ajja kukuwa kalonda yenna amukwatako oba nti buli ky’agamba kituufu.”
“Ebirowoozo, amagezi, ebisuubizibwa, n’ebirala by’atadde ku mukutu guno si bya nnannyini gwo . . . era tekitegeeza nti osaanidde okubyesigamako.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
‘Omutegeevu amala kwetegereza’
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Omukazi Omukristaayo ayinza atya okuba ng’omuwala Omusulamu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
“Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi”