“Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”
“Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, si lwa buwaze wabula kyeyagalire.”—1 PEET. 5:2.
1. Mu bbaluwa ye eyasooka, lwaki Peetero yali ayagala okunyweza bakkiriza banne mu by’omwoyo?
OMUTUME Peetero we yawandiikira ebbaluwa ye eyasooka, Nero yali anaatera okutandika okuyigganya Abakristaayo abaali mu Rooma. Yali ayagala okuyamba bakkiriza banne okunywera mu by’omwoyo. Omulyolyomi yali “atambulatambula” ng’anoonya Abakristaayo b’anaalya. Okusobola okumuziyiza, kyali kibeetaagisa ‘okuba nga bategeera bulungi’ era ‘n’okwewombeeka wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi.’ (1 Peet. 5:6, 8) Era kyali kibeetaagisa okusigala nga bali bumu. Baali tebalina ‘kulumagana wadde okulyaŋŋana,’ kubanga ekyo kyali kiyinza okubaleetera ‘okwemalawo.’—Bag. 5:15.
2, 3. Ani gwe tumeggana naye, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?
2 Embeera gye tulimu leero efaananako ey’Abakristaayo abo. Omulyolyomi anoonya akakisa okutulya. (Kub. 12:12) Ate era mu kiseera ekitali kya wala wajja kubaawo “ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo.” (Mat. 24:21) Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe tulina okwewala okuneneŋŋana. Oluusi kiyinza okwetaagisa abakadde mu kibiina okutuyamba mu nsonga eno.
3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu ebiyinza okuyamba abakadde okwongera okusiima enkizo gye balina ey’okulunda “ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa.” (1 Peet. 5:2) Era tugenda kulaba engeri abakadde gye basaanidde okulundamu ekisibo. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri abo abali mu kibiina gye bayinza okulaga nti ‘bassa ekitiibwa mu abo abakola ennyo era abatwala obukulembeze’ mu kibiina. (1 Bas. 5:12) Okwekenneenya ebintu ebyo kijja kutuyamba okuziyiza Omulabe waffe lukulwe, nga tukimanyi nti gwe tumeggana naye.—Bef. 6:12.
Mulundenga Ekisibo kya Katonda
4, 5. Abakadde basaanidde kuba na ndowooza ki ku kisibo? Waayo ekyokulabirako.
4 Peetero yakubiriza abakadde abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka okuba n’endowooza Katonda gy’alina ku kisibo. (Soma 1 Peetero 5:1, 2.) Wadde nga yali atwalibwa okuba empagi mu kibiina, Peetero teyayogera na bakadde abo mu ngeri eraga nti yali abatwala okuba aba wansi. Mu kifo ky’ekyo, yababuulirira nga bakadde banne. (Bag. 2:9) Okufaananako Peetero, leero Akakiiko Akafuzi kakubiriza abakadde mu kibiina okufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe balina obw’okulunda ekisibo kya Katonda.
5 Peetero yagamba nti abakadde abo baali balina ‘okulunda ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa.’ Baali beetaaga okukimanya nti ekisibo kya Yakuwa ne Yesu Kristo. Abakadde abo baali bavunaanyizibwa ku ngeri gye baali balabiriramu endiga za Katonda. Ng’ekyokulabirako, watya singa mukwano gwo akusaba okulabirira abaana be ng’aliko gy’alaze? Tewandifubye okubalabirira obulungi era n’obawa n’ebyokulya? Kiri kitya singa omu ku bo alwala, tewandifubye okulaba nti afuna obujjanjabi obwetaagisa? Mu ngeri y’emu, abakadde balina ‘okulunda ekibiina kya Katonda, kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.’ (Bik. 20:28) Balina okukijjukira nti buli ndiga yagulibwa n’omusaayi gwa Kristo Yesu ogw’omuwendo ennyo. Olw’okuba bavunaanyizibwa mu maaso ga Katonda, abakadde bafuba okuliisa, okukuuma, n’okulabirira ekisibo.
6. Buvunaanyizibwa ki abasumba ab’edda bwe baalina?
6 Lowooza ku buvunaanyizibwa abasumba abaaliwo mu biseera bya Bayibuli bwe baalina. Baalinanga okugumira ebbugumu emisana n’obunnyogovu ekiro okusobola okulabirira ebisibo. (Lub. 31:40) Baateekanga n’obulamu bwabwe mu kabi ku lw’endiga. Bwe yali akyali mulenzi muto, Dawudi yawonya endiga ze okuliibwa ensolo enkambwe, omwali empologoma n’eddubu. Ng’ayogera ku buli emu ku nsolo ezo, Dawudi yagamba nti ‘yakwata ekirevu kyayo n’agikuba n’agitta.’ (1 Sam. 17:34, 35) Nga yayoleka obuvumu obw’ekitalo! Wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu bwe mu kabi ak’amaanyi, Dawudi yakola kyonna ekisoboka okulaba nti awonya endiga ze okuliibwa ensolo.
7. Mu ngeri ey’akabonero, abakadde bayinza batya okukwakkula endiga okuva mu mannyo ga Sitaani?
7 Leero, abakadde beetaaga okwetegekera obulumbaganyi obulinga obw’empologoma Omulyolyomi bw’akola. Kino kiyinza okubeetaagisa okukwakkula endiga okuva mu mannyo g’Omulyolyomi. Mu ngeri ey’akabonero, abakadde basobola okuwonya endiga nga bakwata ekirevu ky’ensolo. Oluusi kiyinza okubeetaagisa okwogerako n’ab’oluganda abatalina bumanyirivu babayambe obutagwa mu mitego gya Sitaani. (Soma Yuda 22, 23.) Kya lwatu nti abakadde beetaaga obuyambi bwa Yakuwa mu nsonga eno. Bakwata n’obwegendereza endiga eba emenyese, ne bagisiba ekiwundu, era ne bagisiigako eddagala ery’Ekigambo kya Katonda.
8. Abakadde endiga bazikulembera nga bazitwala wa, era kino bakikola batya?
8 Omusumba era yatwalanga endiga mu kifo awaabanga omuddo omulungi n’amazzi. Mu ngeri y’emu, abakadde bakulembera endiga nga bazitwala mu kibiina, nga bazikubiriza okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa zisobole okuliisibwa obulungi era zifune “emmere [yaazo] mu kiseera ekituufu.” (Mat. 24:45) Oluusi abakadde kiyinza okubeetaagisa okukozesa ebiseera ebiwerako nga bayamba abo ababa balwadde mu by’omwoyo okukkiriza obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Endiga eyawaba eyinza okuba ng’egezaako okudda mu kisibo. Mu kifo ky’okutiisatiisa muganda waabwe, mu ngeri ey’ekisa abakadde basaanidde okumunnyonnyola emisingi gy’omu Byawandiikibwa era ne bamulaga n’engeri gy’ayinza okugikolerako mu bulamu bwe.
9, 10. Abakadde bayinza batya okuyamba abo ababa balwadde mu by’omwoyo?
9 Bw’oba oli mulwadde, musawo wa ngeri ki gwe wandyagadde okukukolako? Wandyagadde omusawo atakuwa budde bumala kumubuulira kikuluma era ayanguyiriza okukubuulira eddagala ly’olina okukozesa ng’ayagala oveewo asobole okukola ku balwadde abalala? Oba wandyagadde oyo akuwa obudde obumala okumubuulira ekikuluma, n’akunnyonnyola bulungi obulwadde bw’olina, era n’akubuulira n’obujjanjabi bwe weetaaga okufuna?
10 Mu ngeri y’emu, abakadde basaanidde okuwuliriza obulungi omuntu aba alwadde mu by’omwoyo era ne bamuyamba okuwona, mu ngeri eyo ne ‘bamusiigako amafuta mu linnya lya Yakuwa.’ (Soma Yakobo 5:14, 15.) Okufaananako eddagala ery’omu Gireyaadi, Ekigambo kya Katonda kisobola okuweweeza omulwadde. (Yer. 8:22; Ez. 34:16) Abakadde bwe bakozesa obulungi Ebyawandiikibwa, basobola okuyamba omuntu aba alwadde mu by’omwoyo okuddamu okuweereza Yakuwa obulungi. Yee, abakadde basobola okuyamba omuntu aba alwadde mu by’omwoyo singa bamuwuliriza bulungi ne bategeera ekizibu kye, era ne basabirako wamu naye.
Si lwa Buwaze Wabula Kyeyagalire
11. Kiki ekikubiriza abakadde okulunda ekisibo kya Katonda kyeyagalire?
11 Peetero era yabuulira abakadde engeri gye basaanidde okulundamu ekisibo. Abakadde balina okulunda ekisibo kya Katonda, “si lwa buwaze wabula kyeyagalire.” Kiki ekikubiriza abakadde okuweereza baganda baabwe kyeyagalire? Lowooza ku ekyo ekyakubiriza Peetero okulunda n’okuliisa endiga za Yesu. Okwagala kwe yalina eri Mukama waffe kwe kwamukubiriza. (Yok. 21:15-17) Mu ngeri y’emu, okwagala okwo kukubiriza abakadde ‘obutaba balamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiiririra.’ (2 Kol. 5:14, 15) Okwagala okwo, awamu n’okwagala kwe balina eri Katonda ne baganda baabwe, kubakubiriza okukozesa amaanyi gaabwe, ebintu byabwe, awamu n’ebiseera byabwe okuyamba ekisibo. (Mat. 22:37-39) Kino bakikola kyeyagalire awatali kuwalirizibwa.
12. Omutume Pawulo yali mwetegefu kwenkana wa okuyamba baganda be?
12 Abakadde bandibadde beetegefu kwenkana wa okuyamba baganda baabwe? Bwe baba balunda endiga, bakoppa ekyokulabirako kya Pawulo, nga naye bwe yakoppa Yesu. (1 Kol. 11:1) Olw’okwagala okw’amaanyi kwe baalina eri baganda baabwe ab’e Ssessaloniika, Pawulo ne banne baali basanyufu okubawa ‘amawulire amalungi aga Katonda era n’okubawa obulamu bwabwe.’ Baali bakwatampola “nga maama bw’aba ng’alabirira abaana be.” (1 Bas. 2:7, 8) Pawulo yali amanyi bulungi okwagala maama kw’aba nakwo eri omwana we omuwere. Aba mwetegefu okukola kyonna ekisoboka okumuyamba, nga muno mw’otwalidde n’okuzuukuka ekiro mu ttumbi okumuyonsa.
13. Kiki abakadde kye basaanidde okwewala?
13 Abakadde basaanidde okwewala okugwa olubege bwe kituuka ku buvunaanyizibwa bwe balina obw’okulunda ekisibo n’obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe. (1 Tim. 5:8) Abakadde beefiiriza ebimu ku biseera bye bandimaze nga bali wamu n’ab’omu maka gaabwe ne babikozesa okukola ku byetaago by’ekibiina. Ekimu ku bintu ebiyinza okubayamba obutagwa lubege kwe kuyita abalala okubeegattako mu Kusinza kwabwe okw’Amaka. Masanao, omukadde mu Japan, yateranga okuyita ab’oluganda abali obwannamunigina n’abo abali mu maka omutali mwami atwala bukulembeze mu bintu eby’omwoyo okubeegattako mu kusoma kwabwe okw’amaka. Oluvannyuma lw’ekiseera, abamu ku abo be yayamba baafuuka abakadde mu kibiina era nabo ne bakoppa ekyokulabirako kye.
Mwewale Okwefunira Amagoba—Mulunde Ekisibo lwa Kwagala Kuweereza
14, 15. Lwaki abakadde basaanidde okwewala ‘okwagala okwefunira amagoba,’ era bayinza batya okukoppa Pawulo mu nsonga eno?
14 Peetero era yakubiriza abakadde okulunda ekisibo, “si lwa kwagala kwefunira magoba, naye lwa kwagala kuweereza.” Abakadde bakozesa ebiseera bingi okusobola okutuukiriza omulimu gwabwe, naye tebasuubira kusasulwa ssente. Peetero yakiraba nti kyali kyetaagisa okulabula bakadde banne ku kabi akali mu kulunda ekisibo ‘olw’okwagala okwefunira amagoba.’ Omwoyo ogwo ogw’okwagala okwefunira amagoba gweyolekera mu bulamu obw’okwejalabya abakulembeze b’amadiini ga “Babulooni Ekinene” bwe balimu ekiviiriddeko bangi ku bagoberezi baabwe okusigala nga baavu nnyo. (Kub. 18:2, 3) Abakadde leero basaanidde okwewala omwoyo ng’ogwo.
15 Pawulo yateekawo ekyokulabirako ekirungi eri abakadde Abakristaayo. Wadde nga yali mutume era nga yali asobola ‘okuzitoowerera’ Abakristaayo b’e Ssessaloniika, yasalawo ‘obutalya mmere ya bwereere okuva eri omuntu yenna.’ Mu kifo ky’ekyo, ‘yafubanga okukola emisana n’ekiro.’ (2 Bas. 3:8) Abakadde bangi leero, nga mw’otwalidde n’abalabirizi abatambula, bataddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Wadde nga basanyuka nnyo baganda baabwe bwe babasembeza mu maka gaabwe, beewala ‘okuzitooweerera’ omuntu yenna.—1 Bas. 2:9.
16. Kitegeeza ki okulunda ekisibo ‘olw’okwagala okuweereza’?
16 Abakadde balunda ekisibo “lwa kwagala kuweereza.” Kino kyeyolekera mu mwoyo ogw’okwefiiriza gwe booleka nga bayamba ekisibo. Naye abakadde tebakaka kisibo kuweereza Yakuwa era tebakubiriza balala kuweereza Katonda mu ngeri ey’okuvuganya. (Bag. 5:26) Bakimanyi bulungi nti endiga zirina obusobozi bwa njawulo. Bafuba okuyamba baganda baabwe okuweereza Yakuwa nga basanyufu.
Temukajjala ku Kisibo Naye Mube Byakulabirako
17, 18. (a) Lwaki ebiseera ebimu abatume kyabazibuwaliranga okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza ku bwetoowaaze? (b) Ekyo kituyigiriza ki?
17 Nga bwe tulabye, abakadde basaanidde okukijjukira nti ekisibo kye balunda si kyabwe wabula kya Katonda. Beewala ‘okukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini.’ (Soma 1 Peetero 5:3.) Ebiseera ebimu, n’abatume ba Yesu baayagalanga okuweebwa obuvunaanyizibwa nga balina ebiruubirirwa ebikyamu. Okufaananako abo abaali bafuga amawanga, nabo baali baagala okuba aba waggulu ku balala.—Soma Makko 10:42-45.
18 Leero, ab’oluganda ‘abaluubirira omulimu gw’obulabirizi’ basaanidde okwekebera balabe ensonga lwaki baagala okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo. (1 Tim. 3:1) Abo abaweereza ng’abakadde nabo basaanidde okwekebera mu bwesimbu okulaba obanga nabo balina omwoyo ogw’okwagala obukulu oba ettutumu ng’abamu ku batume bwe baali. Bwe kiba nti abatume nabo baalina obunafu buno, ekyo kiraga nti abakadde balina okufuba ennyo okwewala omwoyo gw’ensi ogw’okwagala okwefunira obukulu.
19. Kiki abakadde kye balina okujjukira nga bafuba okukuuma ekisibo?
19 Kya lwatu nti waliwo embeera eziyinza okwetaagisa abakadde okwoleka obuvumu, gamba singa kiba kyetaagisa okukuuma ekisibo obutatuusibwako bulabe “emisege emikambwe.” (Bik. 20:28-30) Pawulo yagamba Tito ‘okukubirizanga n’okunenyanga n’obuyinza bwonna.’ (Tit. 2:15) Wadde ng’abakadde kiyinza okubeetaagisa okwoleka obuvumu nga baliko ensonga gye bakolako, basaanidde okulaga nti bawa baganda baabwe ekitiibwa. Mu kifo ky’okwogera n’omwonoonyi mu ngeri ey’obukambwe, bafuba okwogera naye mu ngeri ey’obukkakkamu nga bakimanyi nti ekyo kisobola okukwata ku mutima gwe ne kimukubiriza okudda ku kkubo ettuufu.
20. Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu mu kuteekawo ekyokulabirako ekirungi?
20 Ekyokulabirako ekirungi Kristo kye yateekawo kikubiriza abakadde okwagala ekisibo. (Yok. 13:12-15) Tukwatibwako nnyo bwe tusoma ku ngeri gye yatendekamu abayigirizwa be okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Obwetoowaze bwe yayoleka bw’akwata nnyo ku mitima gy’abayigirizwa be, ne kibakubiriza okwoleka ‘obuwombeefu nga bakitwala nti abalala babasinga.’ (Baf. 2:3) N’abakadde leero bakoppa ekyokulabirako kya Yesu era nabo baagala okuba ‘ekyokulabirako eri ekisibo.’
21. Kiki abakadde kye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso?
21 Peetero yakomekkereza ebigambo bye eri abakadde ng’ayogera ku ssuubi ery’omu biseera eby’omu maaso. (Soma 1 Peetero 5:4.) Abalabirizi abaafukibwako amafuta ‘bajja kufuna engule ey’ekitiibwa etayonooneka’ wamu ne Kristo mu ggulu. Abalabirizi ‘ab’endiga endala’ bajja kufuna enkizo okulunda ekisibo kya Katonda ku nsi mu bufuzi ‘bw’omusumba omukulu.’ (Yok. 10:16) Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri abo abali mu kibiina gye bayinza okulaga nti bawagira abo ababa balondeddwa okutwala obukulembeze mu kibiina.
Okwejjukanya
• Lwaki kyali kyetaagisa Peetero okukubiriza bakadde banne okulunda ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa?
• Abakadde bayinza batya okuyamba abo ababa balwadde mu by’omwoyo?
• Kiki ekikubiriza abakadde okulunda ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Okufaananako abasumba ab’edda, abakadde balina okukuuma “endiga” ezaabakwasibwa