ESSOMO 20
Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu
Yakuwa Katonda akola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. (1 Abakkolinso 14:33) N’olwekyo, abantu be basaanidde okuba nga bategekeddwa bulungi. Ekibiina Ekikristaayo kitegekeddwa kitya? Era kiki kye tuyinza okukola okulaba nti ekibiina kisigala kitegekeddwa bulungi?
1. Ani mutwe gw’ekibiina?
‘Kristo gwe mutwe gw’ekibiina.’ (Abeefeso 5:23) Ng’asinziira mu ggulu, Yesu alabirira emirimu egikolebwa abantu ba Yakuwa mu nsi yonna. Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” kwe kugamba, abakadde abatonotono abalina obumanyirivu abamanyiddwa ng’Akakiiko Akafuzi. (Soma Matayo 24:45-47.) Okufaananako abatume n’abakadde abaali mu Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka, Akakiiko Akafuzi kawa ebibiina mu nsi yonna obulagirizi. (Ebikolwa 15:2) Naye abasajja abo si be bakulembeze b’ekibiina kyaffe. Beekenneenya Ekigambo kya Katonda basobole okumanya ekyo ky’ayagala bakole, era bakolera ku bulagirizi Yesu bw’abawa.
2. Abakadde balina buvunaanyizibwa ki?
Abakadde baba basajja Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo era abakozesa Bayibuli okuyigiriza abantu ba Katonda. Bayamba abantu ba Katonda era babazzaamu amaanyi. Tebasasulwa ssente olw’omulimu gwe bakola. Baweereza ‘kyeyagalire mu maaso ga Katonda; si lwa kwagala kubaako bye beefunira, naye lwa kwagala kuweereza.’ (1 Peetero 5:1, 2) Abakadde bayambibwako abaweereza mu kibiina. Abaweereza abo nabo oluvannyuma basobola okufuuka abakadde.
Akakiiko Akafuzi kalonda abakadde abamu okuba abalabirizi abakyalira ebibiina. Abalabirizi abo bakyalira ebibiina ebitali bimu okuwa ab’oluganda obulagirizi n’okubazzaamu amaanyi. Ate era balonda ab’oluganda ababa batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa okuba abakadde oba abaweereza.—1 Timoseewo 3:1-10, 12; Tito 1:5-9.
3. Buvunaanyizibwa ki buli Mujulirwa wa Yakuwa bw’alina?
Bonna abali mu kibiina ‘batendereza erinnya lya Yakuwa’ nga beenyigira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu mulimu gw’okubuulira, buli omu okusinziira ku mbeera ye.—Soma Zabbuli 148:12, 13.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri Yesu gy’akulemberamu ekibiina, engeri abakadde gye bafubamu okumukoppa, era n’engeri gye tuyinza okuba abawulize eri Yesu n’abakadde.
4. Yesu mukulembeze azzaamu amaanyi
Yesu atuyita okujja gy’ali. Soma Matayo 11:28-30, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Yesu mukulembeze wa ngeri ki era ayagala tuwulire tutya?
Abakadde bakoppa batya Yesu? Laba VIDIYO.
Bayibuli eraga engeri abakadde gye basaanidde okukolamu omulimu gwabwe.
Soma Isaaya 32:2 ne 1 Peetero 5:1-3, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okukimanya nti okufaananako Yesu abakadde nabo bafuba okuzzaamu abalala amaanyi, kikuleetera kuwulira otya?
Mu ngeri ki endala abakadde gye bakoppamu Yesu?
5. Abakadde bassaawo ekyokulabirako ekirungi
Yesu ayagala abakadde batwale batya obuvunaanyizibwa bwabwe? Laba VIDIYO.
Yesu yalaga engeri abakadde mu kibiina gye basaanidde okweyisaamu. Soma Matayo 23:8-12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Bw’olowooza ku ekyo Bayibuli ky’egamba ku ngeri abakadde gye basaanidde okweyisaamu n’engeri abakulu b’amadiini gye beeyisaamu, kikuleetera kuwulira otya?
Abakadde bafuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa n’okuyamba ab’omu maka gaabwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa
Abakadde bafaayo ku bonna abali mu kibiina
Abakadde babuulira obutayosa
Abakadde bayigiriza mu kibiina, era bayambako mu kuyonja ekifo we tusinziza ne mu mirimu emirala
6. Tusaanidde okugondera abakadde
Bayibuli etubuulira ensonga enkulu lwaki tusaanidde okugondera abakadde. Soma Abebbulaniya 13:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki Bayibuli egamba nti tulina okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina? Ggwe ekyo okitwala otya?
Soma Lukka 16:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki tusaanidde okugondera abakadde ne mu bintu ebirabika ng’ebitono?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Tekyetaagisa kuba na ddiini.”
Olowooza omuntu aganyulwa atya bw’asinza Katonda ng’ali wamu n’abalala?
MU BUFUNZE
Yesu gwe mutwe gw’ekibiina. Tugondera abakadde abakolera wansi w’obukulembeze bwe, kubanga batuzzaamu amaanyi era batuteerawo ekyokulabirako ekirungi.
Okwejjukanya
Ani mutwe gw’ekibiina?
Abakadde bayamba batya ekibiina?
Buvunaanyizibwa ki buli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa bw’alina?
LABA EBISINGAWO
Laba obukakafu obulaga nti Akakiiko Akafuzi n’abakadde abalala mu kibiina bafaayo nnyo ku Bakristaayo leero.
Okuzzaamu ab’Oluganda Amaanyi ng’Omulimu Gwaffe Guwereddwa 4:22
Laba ebikwata ku mulimu abalabirizi abakyalira ebibiina gwe bakola.
Obulamu bw’Omulabirizi Aweerereza mu Bitundu eby’Omu Byalo 4:51
Soma ebikwata ku buvunaanyizibwa abakazi bwe balina mu kibiina.
“Abajulirwa ba Yakuwa Bakozesa Abakazi Okuyigiriza?” (Watchtower, Ssebutemba 1, 2012)
Laba engeri abakadde gye bafuba okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi.
“Abakadde mu Kibiina ‘Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 15, 2013)