Alipoota y’Olukuŋŋaana
Obumu bw’Abantu ba Yakuwa n’Enkyukakyuka ez’Omuggundu
OLUKUŊŊAANA lwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania olubaawo buli mwaka luba lunyuvu nnyo. N’olukuŋŋaana lw’omwaka olw’omulundi ogwa 127, olwaliwo ku Lwomukaaga, nga Okitobba 1, 2011 nalwo lwali lunyuvu nnyo! Abagenyi abayite okuva mu nsi ezitali zimu baakuŋŋaanira mu Kizimbe eky’Enkuŋŋaana Ennene eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kibuga Jersey eky’Amerika.
Ow’oluganda Gerrit Lösch ali ku Kakiiko Akafuzi yatandika olukuŋŋaana olwo ng’ayaniriza bonna abaali bazze. Yagamba abagenyi abaali bavudde mu nsi nga 85 nti bali mu kibiina eky’ensi yonna ekiri obumu. Era yabagamba nti obumu bw’abaweereza ba Yakuwa buweesa Yakuwa ekitiibwa. Mu butuufu, obumu bwayogerwako nnyo mu lukuŋŋaana olwo.
ALIPOOTA ENNUNGI OKUVA E MEXICO
Mu kitundu ekisooka ekya programu mwalimu ebyokulabirako ebiraga nti abantu ba Yakuwa bali bumu. Ofiisi y’ettabi lya Mexico kati erabirira omulimu ogw’okubuulira mu nsi mukaaga eziri mu masekkati g’Amerika. Ow’oluganda Baltasar Perla yasaba Babeseri banne basatu okuva ku ttabi lya Mexico boogere ku ebyo ebivudde mu nkyukakyuka eyo. Baagamba nti Beseri y’omu Mexico kati erimu ab’oluganda okuva mu mawanga agatali gamu n’ensi ezitali zimu era bonna basanyufu okubeera awamu. Kiringa nti Katonda yakwata labba ennene n’asangulawo ensalo z’amawanga ago.
Oluvannyuma lw’enkyukakyuka eyo, buli kibiina kyafuna e-mail ne kiba nti n’ebibiina ebiri mu bitundu ebyesudde bisobola okuwuliziganya obutereevu n’ettabi. Ekyo kiyambye ab’oluganda abali mu nsi omutakyali ofiisi z’amatabi okuwulira nti bakyali bumu n’ekibiina kya Yakuwa.
EBIKWATA KU JAPAN
Ow’oluganda James Linton okuva ku ttabi lya Japan yannyonnyola engeri musisi ne sunami ebyaliwo mu Maaki 2011 gye byakosaamu ab’oluganda mu Japan. Ab’oluganda bangi baafiirwa abaagalwa baabwe n’ebintu byabwe. Abajulirwa abaali mu bitundu ebitaakosebwa katyabaga ako badduukirira bakkiriza bannaabwe abaakosebwa nga babafunira amayumba 3,100 ag’okusulamu n’emmotoka eziwerako okubayamba ku by’entambula. Akakiiko akakola ku by’okuzimba kaasindika bannakyewa abaakola obutaweera okuddaabiriza amayumba g’ab’oluganda. Ab’oluganda abasukka mu 1,700 baali beetegefu okuweereza wonna awaali obwetaavu. Bannakyewa 575 baakola omulimu gw’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka nga bakolera wamu n’ab’oluganda abaava mu Amerika.
Waaliwo ebintu bingi ebyakolebwa okubudaabuda ab’oluganda abaakosebwa akatyabaga ako n’okunyweza okukkiriza kwabwe. Abakadde abasukka mu 400 baakyalira ab’oluganda abo okusobola okubazzaamu amaanyi. Ate era n’Akakiiko Akafuzi kaasindika abalabirizi ba zoni babiri okuva ku kitebe ekikulu okusobola okuzzaamu ab’oluganda abo amaanyi. Ab’oluganda bazzibwamu nnyo amaanyi olw’okwagala okw’amaanyi ab’oluganda okwetooloola ensi kwe baabalaga.
EMISANGO EGYAWANGULWA
Abo abaaliwo bassaayo omwoyo ng’Ow’oluganda Stephen Hardy eyava ku ttabi lya Bungereza ayogera ku misango abantu ba Yakuwa gye baawangula. Ng’ekyokulabirako, gavumenti ya Bufalansa yali eyagala Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa basasule omusolo gwa doola z’Amerika obukadde 82. Naye kkooti ya Bulaaya ekola ku ddembe ly’obuntu eyitibwa European Court of Human Rights yagamba nti ekyo kyali kikontana n’Akawaayiro 9 ak’endagaano eyasibwako omukono amawanga ga Bulaaya, ewa abantu eddembe ery’okusinza. Kkooti eyo yakiraga nti Abajulirwa ba Yakuwa baali tebagezaako kwewala kusasula misolo. Yagamba nti: “Gavumenti bw’egaana okutongoza ekibiina ky’eddiini, bw’eyagala okukisaanyaawo, oba bw’etandika okukivumirira, eba tesizza kitiibwa mu Kawaayiro 9 ak’endagaano eno.”
Kkooti era yatwejeereza omusango ogwali gutuvunaanibwa mu Armenia. Okuva mu 1965 kkooti ya Bulaaya yali ekitwala nti endagaano eyasibwako omukono amawanga ga Bulaaya yali tewa muntu yenna ddembe kugaana kuyingira magye nga gavumenti emulagidde. Naye abalamuzi ab’oku ntikko mu kkooti eyo baasalawo nti endagaano eyo ekkiriza omuntu okugaana okuyingira amagye singa okugayingira kiba kikontana n’enzikiriza ye. Ebyo ebyasalibwawo bikwata ku Armenia ne ku nsi endala, gamba nga Azerbaijan ne Butuluuki.
OMULIMU GW’OKUZIMBA
Ow’oluganda Guy Pierce ali ku Kakiiko Akafuzi ye yaddako okwogera n’agamba abaaliwo nti bateekwa okuba nga baali beesunga okuwulira ebikwata ku mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu New York. Yayanjula vidiyo eraga ebyo ebikoleddwa n’ebyo ebigenda okukolebwa mu Wallkill, Patterson, ne ku ttaka lyaffe lye twakagula e Warwick ne Tuxedo, New York. Ekizimbe ekizimbibwa mu Wallkill, kijja kuggwa mu 2014 era kijja kubaamu ebisenge eby’okusulwamu 300.
Enteekateeka zikoleddwa okuzimba ebizimbe ku ttaka lyaffe erya yiika 248 eriri mu Warwick. Ow’oluganda Pierce yagamba nti: “Wadde nga tetumanyi kigendererwa kya Yakuwa bwe kituuka ku mulimu gw’okuzimba ogugenda okukolebwa mu Warwick, tugenda kutandika omulimu ogwo nga tulina ekigendererwa eky’okusengula ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa tukizze e Warwick.” Bwe tunaaba tuzimba e Warwick, ebyuma byaffe n’ebintu ebirala bye tunaakozesa mu kuzimba tujja kubiteeka mu kibangirizi ekya yiika 50 ekisangibwa mayiro mukaaga mu bukiikakkono bwa Warwick. Ow’oluganda Pierce yagamba nti: “Bwe banaattukiriza okutandika okuzimba, tusuubira nti mu myaka ena tujja kuba tumaliriza okuzimba. Bwe tunaamala okuzimba, ebizimbe byaffe ebiri mu Brooklyn tujja kubitunda.”
Ow’oluganda Pierce yabuuza nti: “Kyandiba nti kati Akakiiko Akafuzi kalowooza nti ekibonyoobonyo ekinene kiri wala?” Yaddamu nti: “N’edda. Naye singa ekibonyoobonyo ekinene kijja nga tukyazimba, ekyo kijja kuba kirungi, kijja kuba kirungi nnyo!”
WEEGENDEREZE EMPOLOGOMA EWULUGUMA
Ow’oluganda Stephen Lett, nga naye ali ku Kakiiko Akafuzi, yayogera ku 1 Peetero 5:8, awagamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” Ow’oluganda Lett yagamba nti okulowooza ku ngeri empologoma gye yeeyisaamu kisobola okutuyamba okutegeera ensonga lwaki Peetero yageraageranya Omulyolyomi ku mpologoma.
Okuva bwe kiri nti empologoma ya maanyi era edduka nnyo okusinga abantu, tetusaanidde kugezaako kulwanyisa Sitaani oba okumudduka mu maanyi gaffe. Twetaaga obuyambi bwa Yakuwa. (Is. 40:31) Empologoma etera okuyigga mu nzikiza, bwe kityo, tusaanidde okwewala ekizikiza eky’eby’omwoyo Sitaani mw’ayigira abantu. Ng’empologoma bw’etta engabi oba entulege ento eba yeebase, Sitaani talina kisa era ayagala okututta. Empologoma bw’emala okulya ensolo n’ekuta, bw’otunuulira ekitundu ekiba kisigaddewo oba tosobola kutegeera nsolo bw’ebadde efaanana. Mu ngeri y’emu omuntu Sitaani gw’aba alidde, ‘embeera ye ey’oluvannyuma eba mbi nnyo okusinga eyasooka’ nga tannayiga mazima. (2 Peet. 2:20) N’olwekyo, tusaanidde okulwanyisa Sitaani nga tukolera ku ebyo bye tuyiga okuva mu Bayibuli.—1 Peet. 5:9.
EKIFO KY’OLINA MU NNYUMBA YA YAKUWA KITWALE NGA KYA MUWENDO
Ow’oluganda Samuel Herd ali ku Kakiiko Akafuzi ye yaddako okwogera n’agamba nti: “Ffenna tulina ekifo mu nnyumba ya Yakuwa.” Abakristaayo bonna balina ekifo mu “nnyumba” ya Katonda, yeekaalu ye ey’eby’omwoyo, ng’eno y’enteekateeka ey’okusinza Katonda okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Ekifo ekyo tusaanidde okukitwala nga kya muwendo nnyo. Okufaananako Dawudi, naffe twagala okubeera “mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu [bwaffe].”—Zab. 27:4.
Ow’oluganda Herd yayogera ku Zabbuli 92:12-14 n’alaga engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu be okutuuka ku buwanguzi mu bulamu. Yagamba nti Katonda atubudaabuda, atukuuma, era atuyigiriza amazima. Yakubiriza bonna abaaliwo okusiima Yakuwa olw’ebintu ebyo era n’abakubiriza okuba abamalirivu okusinza Yakuwa mu nnyumba ye emirembe gyonna.
ABAKRISTAAYO BASSA EKITIIBWA MU KIGAMBO KYA KATONDA
Mu mboozi eyaddako Ow’oluganda David Splane, ali ku Kakiiko Akafuzi, yalaga nti Abakristaayo ab’amazima bulijjo babaddenga bassa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda. Mu kyasa ekyasooka, baakozesa ebyawandiikibwa okugonjoola ensonga ekwata ku kukomola. (Bik. 15:16, 17) Kyokka, mu kyasa eky’okubiri waaliwo abantu abaali beeyita Abakristaayo abaali bayigiriziddwa obufirosoofo bw’Abayonaani abaatandika okutwala obufirosoofo obwo ng’ekintu ekikulu okusinga Ebyawandiikibwa. Oluvannyuma, waliwo abantu abaatandika okuyigiriza abalala endowooza za ba empula ba Rooma n’eza ba Church Fathers mu kifo ky’okubayigiriza amazima ga Bayibuli. Ekyo kyaviirako enjigiriza nnyingi ez’obulimba okubuna.
Ow’oluganda Splane yayogera ku lumu ku ngero za Yesu. Olugero olwo lulaga nti okuva mu kyasa ekyasooka wabaddengawo Abakristaayo abaafukibwako amafuta ababadde balwanirira amazima. (Mat. 13:24-30) Tetumanyidde ddala bantu ki abaali abamu ku abo abaafukibwako amafuta. Naye kye tumanyi kiri nti okumala ebyasa by’emyaka, wabaddengawo abantu ababadde bawakanya enjigiriza ez’obulimba. Mu bantu abo mwe muli Ssabasumba Agobard ow’e Lyons eyaliwo mu kyasa 9, Peter ow’e Bruys, Henry ow’e Lausanne, ne Valdès (oba, Waldo) eyaliwo mu kyasa 12, John Wycliffe eyaliwo mu kyasa 14, William Tyndale eyaliwo mu kyasa 16, ne Henry Grew ne George Storrs abaaliwo mu kyasa19. Ne leero, Abajulirwa ba Yakuwa banywerera ku mitindo gya Bayibuli era enjigiriza zaabwe zonna zeesigamiziddwa ku Bayibuli. Eyo ye nsonga lwaki Akakiiko Akafuzi kaalonda Yokaana 17:17 okuba ekyawandiikibwa ky’omwaka 2012: “Ekigambo kyo ge mazima.”
ENKYUKAKYUKA EZIKOLEDDWA MU MASOMERO GAFFE
Ow’oluganda Anthony Morris, ali ku Kakiiko Akafuzi, yayisa ekirango ekikwata ku nkyukakyuka ezikoleddwa ezikwata ku baminsani ne bapayoniya ab’enjawulo. Okuva mu Ssebutemba 2012, wajja kubaawo Essomero ly’Abakristaayo Abafumbo mu nsi ezitali zimu. Okuva mu Okitobba 2011, ekigendererwa ky’Essomero lya Gireyaadi kyakyuka. Kati abo bonna abagenda mu ssomero eryo balina okuba nga bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Muno mwe muli abaminsani abatagendangako mu Ssomero lya Gireyaadi, bapayoniya ab’enjawulo, abalabirizi abakyalira ebibiina, oba Ababeseri. Abo abava mu ssomero eryo bajja kusindikibwanga okuweereza ku ofiisi z’amatabi, mu mulimu gw’okukyalira ebibiina, oba okugenda okubuulira mu bitundu omuli abantu abangi era nga waliyo n’ebibiina basobole okuyamba ab’oluganda mu mulimu gw’okubuulira.
Ate era kyalangirirwa nti okuva mu Jjanwali 1, 2012, abamu ku abo abanaavanga mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina n’abo abanaavanga mu Ssomero ly’Abakristaayo Abafumbo be bajja okusindikibwanga okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera, babuulire mu bitundu omutali babuulizi oba omuli ababuulizi abatono. Bapayoniya ab’enjawulo ab’ekiseera bajja kusindikibwanga okuweereza okumala omwaka gumu, nga bwe guggwaako, basobola okubongerayo omwaka omulala era nga bayinza n’okubongerayo omwaka ogw’okusatu. Abo abanaabanga bakoze obulungi bayinza okulondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo.
Olukuŋŋaana lw’omwaka 2011 lwalimu ebintu bingi ebisanyusa. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa enteekateeka zonna ezikoleddwa okutumbula omulimu gw’okubuulira n’okunyweza obumu obuli mu bantu be, ekyo kimuweese ekitiibwa n’ettendo.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18, 19]
TWEYONGERA OKUBATEGEERA
Bannamwandu bataano ab’ab’oluganda abaali ku Kakiiko Akafuzi baabuuzibwa ebibuuzo. Bannyinaffe abo, Marina Sydlik, Edith Suiter, Melita Jaracz, Melba Barry, ne Sydney Barber buli omu yayogera ku ngeri gye yayigamu amazima n’engeri gye yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Buli omu yayogera ku bimu ku bintu ebirungi by’ajjukira, engeri ennungi omwami we ze yalina, n’emikisa gye yafuna ng’aweereza Yakuwa awamu n’omwami we. Oluvannyuma lw’ebyo, abo abaali mu lukuŋŋaana olwo baayimba oluyimba 86, olulina omutwe ogugamba nti “Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo.”
[Ebifaananyi]
(Waggulu) Daniel ne Marina Sydlik; Grant ne Edith Suiter; Theodore ne Melita Jaracz
(Wansi) Lloyd ne Melba Barry; Carey ne Sydney Barber
[Mmaapu eri ku lupapula 16]
(For fully formatted text, see publication)
Ofiisi z’amatabi mu nsi ttaano zagibwawo ne zigattibwa ku ttabi lya Mexico
MEXICO
GUATEMALA
HONDURAS
EL SALVADOR
NICARAGUA
COSTA RICA
PANAMA
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekijja okuba mu Warwick, New York, bwe kijja okufaanana