Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri—Kkubo Erituusa mu Kulokolebwa?
WANDIZZEEMU otya singa omuntu akubuuza nti, “Wazaalibwa omulundi ogw’okubiri?” Obukadde n’obukadde bw’abantu abeeyita Abakristaayo okwetooloola ensi yonna bajja kuddamu ekibuuzo ekyo nti, “Yee!” Balowooza nti okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri ke kabonero akaawulawo Abakristaayo bonna ab’amazima era nti lye kkubo lyokka eribatuusa mu kulokolebwa. Bakkiriziganya n’endowooza z’abakulembeze b’eddiini gamba ng’eya Robert Sproul eyagamba nti: “Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwa kubiri, . . . taba Mukristaayo.”
Oli omu ku abo abakkiriza nti okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri lye kkubo erituusa mu kulokolebwa? Bwe kiba bwe kityo, awatali kubuusabuusa oyagala okuyamba ab’eŋŋanda zo n’emikwano gyo okuzuula ekkubo eryo era n’okutandika okulitambuliramu. Kyokka, okusobola okukola ekyo beetaaga okutegeera enjawulo eriwo wakati w’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri n’oyo atannaba. Kati olwo, oyinza otya okubannyonnyola amakulu agali mu kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?
Bangi balowooza nti ekigambo “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri” kitegeeza nti omuntu aba yeewaddeyo okuweereza Katonda ne Kristo, era mu ngeri eyo n’aba ng’afuuse mulamu mu by’omwoyo. Mu butuufu, enkuluze emu ekozesebwa leero eyogera ku muntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri nga “Omukristaayo aba akyusizza obulamu bwe era ne yeewaayo okuweereza Katonda.”—Merriam-Webster’s Collegiate Dictionary—Eleventh Edition.
Kyandikwewuunyisizza okukitegeera nti Baibuli tekkiriziganya na nnyinyonnyola eyo? Wandyagadde okumanya ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri? Awatali kubuusabuusa, ojja kuganyulwa nnyo bw’oneekenneenya ensonga eno. Lwaki? Kubanga okutegeera obulungi kye kitegeeza okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kirina kye kijja okukola ku bulamu bwo kati n’engeri gy’otunuuliramu biseera eby’omu maaso.
Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
Yokaana 3:1-12, we wokka ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,’ we kwogererwa mu Baibuli yonna, era awalaga emboozi eyaliwo wakati wa Yesu n’omukulembeze w’eddiini ow’omu Yelusaalemi. Ennyiriri ezo ojja kuzisanga mu kasanduuko akaweereddwa era tukusaba ozisome n’obwegendereza.
Mu kyawandiikibwa ekyo, Yesu ayogera ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku ‘kuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.’a Mu butuufu, ebyo Yesu bye yayogera bituyamba okufuna eky’okuddamu mu bibuuzo bino ebitaano ebikulu:
◼ Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kikulu kwenkana wa?
◼ Ffe twesalirawo okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?
◼ Okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri kulina kigendererwa ki?
◼ Omuntu ayinza atya okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri?
◼ Kumuyamba kuba na nkolagana ki ne Katonda?
Ka twekenneenye ebibuuzo bino kinnakimu.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebigambo ‘okuzaalibwa obuggya’ bisangibwa mu 1 Peetero 1:3, 23.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
“Muteekwa Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri”
“Waaliwo omusajja Omufalisaayo ayitibwa Nikodemu, nga mufuzi mu Bayudaaya. Yajja eri Yesu ekiro n’amugamba nti: ‘Labbi, tumanyi nti ggwe ng’omuyigiriza wava eri Katonda, kubanga tewali muntu ayinza kukola byamagero bino by’okola okuggyako nga Katonda ali naye.’ Yesu n’amuddamu nti: ‘Mazima ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa omulundi ogw’okubiri, tasobola kulaba bwakabaka bwa Katonda.’ Nikodemu n’amugamba nti: ‘Omuntu ayinza atya okuzaalibwa nga mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw’okubiri n’azaalibwa?’ Yesu n’addamu nti: ‘Mazima ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaaliddwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaaliddwa omwoyo, kiba mwoyo. Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Embuyaga ekuntira gy’eyagala, era owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva na gy’egenda. Bwe kityo bwe kiri eri oyo yenna azaaliddwa omwoyo.’ Nikodemu n’amuddamu nti: ‘Ebintu bino biyinzika bitya?’ Yesu n’amuddamu nti: ‘Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri n’otomanya bintu bino? Mazima ddala nkugamba nti, Bye tumanyi bye twogera, bye tulabye bye tuwaako obujulirwa, naye mmwe temukkiriza bujulirwa bwe tuwa. Bwe kiba nti mbabuulira ebintu eby’oku nsi ne mutakkiriza, munakkiriza mutya bwe nnaababuulira eby’omu ggulu?’ ”—Yokaana 3:1-12