Ddala Obusosoze n’Okwegulumiza Biyinza Okuggwaawo?
JOHN ADAMS eyali prezidenti wa Amerika ow’okubiri, yali omu ku abo abassa emikono ku kiwandiiko ekikulu ennyo ekiyitibwa Declaration of Independence, (Ekiwandiiko ky’Obwetwaze) ekyalimu ebigambo bino ebirungi: “Tukkiriza nti abantu bonna baatondebwa nga benkanankana.” Wadde kyali kityo, John Adams yabuusabuusa oba nga ddala abantu benkanankana, kubanga yawandiika bw’ati: “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yatonda abantu nga tebenkanankana mu Birowoozo ne mu Mibiri Gyabwe ne kiba nti tewali kintu kyonna kisobola kubenkanyankanya.” Okumwawukanako, munnabyafaayo Omungereza H. G. Wells yasobola okuteebereza ensi erimu abantu abenkanankana ng’asinziira ku nsonga ssatu: ng’abantu mu nsi yonna balina eddiini emu yokka ennongoofu, nga bafuna obuyigirize bwe bumu, era nga tewaliiwo bayingira mu magye.
Na guno gujwa, ebibaddewo mu byafaayo tebireeseewo kwenkanankana nga Wells bwe yagamba. Mazima ddala, abantu tebenkanankana n’akamu era obusosoze n’okwegulumiza bikyaliwo nnyo mu bantu. Ekyo kireetedde abantu emiganyulo gyonna? Nedda. Obusosoze n’okwegulumiza byawulamu abantu, bireeta obuggya, obukyayi, okulumizibwa mu mutima n’okuyiwa omusaayi. Endowooza eyaliwo mu Afirika, Australia ne North America ng’egamba nti abeeru basinga abadduggavu, yaleetera abatali beeru obuyinike obw’amaanyi nga mw’otwalidde n’okutirimbula abadduggavu abaali mu Australia mu kitundu ekiyitibwa Van Diemen’s Land (kati ekiyitibwa Tasmania). Ate mu Bulaaya, Abayudaaya okutwalibwa ng’abantu aba wansi ennyo, kyabaviirako okutirimbulwa. Olw’okuba abantu abamu baali bagagga nnyo, kyaleetera aba wansi okwemulugunya ne kiviirako akeegugungo akaliwo mu Bufalansa mu kyasa ekya 18 era ne mu Russia mu kyasa ekya 20.
Omusajja omugezi ow’edda yawandiika: ‘Omuntu aba n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukolako obubi.’ (Omubuulizi 8:9) Ebigambo bye bituufu ka kibe nti abo abalina obuyinza bantu kinnoomu oba bantu bangi. Abantu abamu bwe beegulumiriza ku balala, wabaawo ennaku n’okubonaabona.
Mu Maaso ga Katonda Abantu Bonna Benkanankana
Mu butonde, abantu abamu ba waggulu okusinga abalala? Si bwe kiri eri Katonda. Baibuli egamba: ‘Katonda yakola okuva mu muntu omu buli ggwanga ly’abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna.’ (Ebikolwa 17:26) Ate era, Omutonzi ‘tatya maaso ga balangira, so talowooza mugagga okusinga omwavu. Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.’ (Yobu 34:19) Abantu bonna ba luganda era mu maaso ga Katonda bonna benkanankana.
Era kijjukire nti omuntu bw’afa, endowooza gy’ayinza okuba nayo nti asinga abalala ekoma. Abamisiri ab’edda ekyo tebaakikkiriza. Falaawo bwe yafanga, baateekanga ebintu eby’omuwendo mu ntaana ye mbu asobole okubikozesa ng’ali mu kifo kye ekya waggulu oluvannyuma lw’okufa kwe. Naye ddala yali asobola okubikozesa? Nedda. Bingi ku by’obugagga ebyo byabbibwanga, era bingi ku ebyo ebyasigalawo bisobola okulabibwa mu bifo awakuumirwa ebintu eby’edda.
Falaawo yali tasobola kukozesa bintu ebyo eby’omuwendo omungi kubanga yali mufu. Mu kufa, tebaayo kwegulumiza, bugagga wadde bwavu. Baibuli egamba: ‘Ab’amagezi bafa, atamanyi n’omusirusiru bazikirira wamu. Omuntu tabeera na kitiibwa, alinga ensolo ezizikirira.’ (Zabbuli 49:10, 12) Ka tube bakabaka oba baddu, ebigambo bino ebyaluŋŋamizibwa bitukwatako ffenna: “Abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; . . . Tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.”—Omubuulizi 9:5, 10.
Mu maaso ga Katonda ffenna tuzaalibwa nga twenkanankana era ffenna tufa. N’olwekyo, buba butaliimu okugulumiza abantu abamu ku balala mu kiseera kino ekitono kye tumala nga tuli balamu!
Obusosoze n’Okwegulumiza Biyinza Okuggwaawo?
Kyokka, waliwo essuubi lyonna nti luliba lumu obusosoze n’okwegulumiza ne biggwaawo? Yee, weeriri. Yesu bwe yali ku nsi emyaka nga 2,000 egiyiseewo, yassaawo omusingi ogw’essuubi eryo. Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu bonna, “buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 3:16.
Ng’alaga nti tewali n’omu ku bagoberezi be asaanidde okwegulumiriza ku bakkiriza banne, Yesu yagamba bw’ati: “Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda. Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, [A]li mu ggulu. So temuyitibwanga balagirizi: kubanga [O]mulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo. Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe. Na buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga.” (Matayo 23:8-12) Mu maaso ga Katonda, abayigirizwa ba Yesu bonna ab’amazima benkanankana.
Abakristaayo abaasooka, beetwala okuba nga benkanankana? Abaategeera okuyigiriza kwa Yesu bwe batyo bwe baakola. Bonna beetwala okuba nga benkanankana mu kukkiriza era ekyo baakiraga nga buli omu ayita munne “ow’oluganda.” (Firemooni 1, 7, 20) Tewali n’omu eyakubirizibwa okwetwala ng’omukulu okusinga abalala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Peetero gye yalagamu obwetoowaze nga yeeyogerako mu bbaluwa ye ey’okubiri: “Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo eri abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo omungi nga ffe bwe twafuna.” (2 Peetero 1:1) Peetero yali ayigiriziddwa Yesu kennyini, era ng’omutume, yalina ekifo eky’obuvunaanyizibwa. Kyokka yeetwala okuba omuddu, ng’amanyi nti Abakristaayo abalala nabo baalina enkizo ze zimu ku bikwata ku mazima.
Abamu bayinza okugamba nti okwenkanankana tekuyinza kubaawo mu bantu kubanga Katonda yafuula Abaisiraeri eggwanga lye ery’enjawulo ng’Obukristaayo tebunnabaawo. (Okuva 19:5, 6) Bayinza okugamba nti ekyo kyakulabirako eky’okugulumiza eggwanga erimu ku malala. Naye ekyo si bwe kiri. Kyo kituufu nti Abaisiraeri, ng’abazzukulu ba Ibulayimu, baalina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda era be yayitiramu okumanyisa ebigendererwa bye. (Abaruumi 3:1, 2) Naye ekigendererwa tekyali kubagulumiza. Wabula kyali kityo ‘amawanga gonna gasobole okuweebwa emikisa.’—Olubereberye 22:18; Abaggalatiya 3:8.
Naye, Abaisiraeri abasinga obungi tebaakoppa kyakulabirako kya jjajjaabwe Ibulayimu. Tebaali beesigwa era tebakkiriza nti Yesu ye yali Masiya. N’olw’ensonga eyo, Katonda yawabula. (Matayo 21:43) Kyokka, abawombeefu tebaafiirwa mikisa egyasuubizibwa. Ku Pentekooti 33 C.E., ekibiina Ekikristaayo kyatandikibwawo. Ekibiina kino eky’Abakristaayo abaali bafukiddwako omwoyo omutukuvu baatandika okuyitibwa “Isiraeri wa Katonda,” era be baafuuka omukutu ogwandiyiseemu emikisa egyo gyonna.—Abaggalatiya 6:16.
Abamu mu kibiina ekyo baali beetaaga okuyigirizibwa nti bonna benkanankana. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa Yakobo yabuulirira abo abaali bawa Abakristaayo abagagga ekitiibwa eky’amaanyi okusinga abaavu. (Yakobo 2:1-4) Ekyo kye baali bakola kyali kikyamu. Omutume Pawulo yakiraga nti Abakristaayo Bannaggwanga tebaali ba wansi ku Bakristaayo Abayudaaya, era n’Abakristaayo abakazi tebaali ba wansi ku Bakristaayo abasajja. Yawandiika bw’ati: “Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza, mu Kristo Yesu. Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo. Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow’eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.”—Abaggalatiya 3:26-28.
Abantu Abatasosola era Abateegulumiza Leero
Abajulirwa ba Yakuwa leero bafuba nnyo okugoberera emisingi egy’omu Byawandiikibwa. Bakimanyi nti okusosola n’okwegulumiza tebisiimibwa mu maaso ga Katonda. Eyo ye nsonga lwaki tebalina kibiina ky’abaawule n’abantu ababulijjo, era tebeeyawulayawula okusinziira ku langi oba bugagga. Wadde abamu ku bo bayinza okuba abagagga, essira tebalissa ku ‘kweraga olw’ebintu bye balina mu bulamu,’ kubanga bakimanyi nti ebintu ebyo bya kaseera buseera. (1 Yokaana 2:15-17) Okwawukana ku ekyo, bonna bali bumu mu kusinza Omufuzi ow’Obutonde Bwonna, Yakuwa Katonda.
Buli omu ku bo akkiriza obuvunaanyizibwa obw’okwenyigira mu kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okufaananako Yesu, bassa ekitiibwa mu abo abanyoomebwa era abatafiibwako nga babakyalira mu maka gaabwe okubayigiriza Ekigambo kya Katonda. Abatwalibwa okuba aba wansi bakolera wamu n’abo abatwalibwa okuba aba waggulu. Engeri ez’omwoyo ze basinga okutwala ng’ekikulu so si ekifo oba embeera omuntu gy’abaamu mu bulamu. Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, bonna ba luganda mu kukkiriza.
Abantu Abenkanankana Basobola Okuba n’Engeri ez’Enjawulo
Kya lwatu, okwenkanankana tekitegeeza nti bonna balina okufaanagana mu buli kimu. Bonna abali mu ntegeka ey’Ekikristaayo, abasajja n’abakazi, abakulu n’abato bava mu bika eby’enjawulo, boogera ennimi ez’enjawulo, bava mu nsi ez’enjawulo era n’embeera yaabwe ey’eby’enfuna ya njawulo. Ng’abantu kinnoomu, balina obusobozi n’engeri ez’enjawulo. Naye obusobozi obwo n’engeri ez’enjawulo tebibaleetera kulowooza nti ba waggulu oba ba wansi okusinga abalala. Wabula, engeri ezo n’obusobozi obw’enjawulo bibaleetera essanyu. Abakristaayo abo bakimanyi nti ebitone byonna bye baba nabyo birabo okuva eri Katonda era tebyandibaleetedde kulowooza nti ba waggulu okusinga abalala.
Okusosola n’okwegulumiza byajjawo olw’okuba abantu baagezaako okwefuga bokka mu kifo ky’okugoberera obulagirizi bwa Katonda. Mangu ddala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna, era ekinaavaamu, obusosoze awamu n’ebintu ebirala byonna ebireeseewo okubonaabona okumala emyaka mingi bijja kukoma. Olwo nno, ‘abawombeefu balyoke basikire ensi.’ (Zabbuli 37:11) Byonna ebireetera abantu okwegulumiriza ku balala bijja kuba biweddewo. Obusosoze n’okwegulumiza ku balala tebiriddamu kwawulamu bantu.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Engeri ez’eby’omwoyo ze zisinga okuba ez’omuwendo mu Bakristaayo ab’amazima