“Embeera y’Ensi Eno Ekyukakyuka”
“Kino kye njogera, ab’oluganda, nti ebiro biyimpawadde.”—1 ABAKKOLINSO 7:29.
1, 2. Ekiseera ky’omaze ku nsi, nkyukakyuka ki z’olabye?
EKISEERA ky’omaze ku nsi, nkyukakyuka ki z’olabye? Osobola okunokolayo ezimu? Ng’ekyokulabirako, wabaddewo okukulaakulana mu by’ekisawo. Mu ntandikwa y’ekyasa eky’amakumi abiri abantu baali basuubirwa okuwangaala emyaka egitasukka 50, kyokka olw’okukulaakulana mu by’ekisawo kati mu nsi ezimu abantu basuubirwa okuwangaala emyaka egisukka mu 70! Ate lowooza ku miganyulo egivudde mu kukozesa rediyo, ttivi, obusimu obw’omu ngalo, ne fakisi. Ate era, wabaddewo okukulaakulana mu by’enjigiriza, mu by’entambula, mu kufaayo ku ddembe ly’obuntu, nga bino byonna byongedde okulongoosa obulamu bw’obukadde n’obukadde bw’abantu.
2 Kya lwatu, si buli nkyukakyuka zonna nti zivuddemu ebirungi. Tetuyinza kubuusa amaaso ebibi ebivudde mu kweyongera kw’obumenyi bw’amateeka, okuddirira kw’empisa, okunywa enjaga, okusasika kw’obufumbo, okweyongera kw’ebbeeyi y’ebintu n’ebikolwa bya bannalukalala. Mu buli ngeri, ojja kukkiriziganya n’ebyo omutume Pawulo bye yawandiika edda ennyo ng’agamba: “Embeera y’ensi eno ekyukakyuka.”—1 Abakkolinso 7:31, NW.
3. Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti “embeera y’ensi eno ekyukakyuka”?
3 Pawulo bwe yayogera ebigambo ebyo, yali ageraageranya ensi eno ku siteegi okuzannyirwa emizannyo. Abalinga abazannyi, kwe kugamba, bannabyabufuzi, bannaddiini, n’abantu abaatiikirivu—bajja ku siteegi ne bazannya, oluvannyuma bavaawo era abalala ne baddawo. Kino kibadde bwe kityo okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka. Mu biseera eby’emabega, olulyo olufuzi lwafuganga okumala amakumi g’emyaka—oluusi bikumi na bikumi—kyokka enkyukakyuka zaabanga ntono nnyo. Naye kati si bwe kiri, nga n’okuttibwa obuttibwa okw’omukulembeze omwatiikirivu kuyinza okuviirako enkyukakyuka ez’amaanyi! Yee, mu biseera bino eby’obutabanguko, tetumanyi kiyinza kuddirira.
4. (a) Abakristaayo bandibadde na ndowooza ki etagudde lubege ku biriwo mu nsi? (b) Bujulizi ki obw’emirundi ebiri bwe tugenda okwekenneenya?
4 Ensi bw’ebeera nga ye siteegi era ng’abakulembeze baayo be balinga abazannyi, olwo nno Abakristaayo be batunuulizi.a Kyokka, olw’okuba “si ba nsi,” tebafaayo nnyo kumanya abazannyi kye bakola oba okubamanya kinnoomu. (Yokaana 17:16) Mu kifo ky’ekyo, baagala nnyo okutegeera ebiraga nti omuzannyo gunaatera okuggwa—ng’abazannyi bazikirizibwa—kubanga bakimanyi nti enteekateeka eno embi ey’ebintu erina okusooka okuggibwawo nga Yakuwa tannaleeta nsi empya ey’obutuukirivu gye tulindirira.b N’olwekyo, ka twekenneenye obujulizi bwa mirundi ebiri obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma era nti ensi empya eri kumpi. Obujulizi obwo bwe buno (1) Embalirira y’ebiseera eyeesigamiziddwa ku Baibuli ne (2) embeera y’ensi eyeeyongera okwonooneka.—Matayo 24:21; 2 Peetero 3:13.
Ekyama Kibikkulwa!
5. “Ebiro by’ab’amawanga” bye biruwa, era lwaki bikulu gye tuli?
5 Embalirira y’ebiseera etusobozesa okumanya ekiseera kyennyini ebintu ebyogerwako we byabeererawo. Yesu yayogera ku kiseera abakulembeze b’ensi lwe bandibadde ku siteegi nga tebakugirwa Bwakabaka bwa Katonda. Ekiseera ekyo Yesu yakiyita “ebiro by’ab’amawanga.” (Lukka 21:24) Ku nkomerero ‘y’ebiro ebyo eby’ab’amawanga,’ Obwakabaka bwa Katonda bwandizze mu buyinza, nga Yesu ye Mufuzi waabwo omutuufu. Okusooka, Yesu yandifugidde ‘wakati mu balabe be.’ (Zabbuli 110:2) Oluvannyuma, nga bwe kiri mu Danyeri 2:44, Obwakabaka obwo ‘bwandimenyeemenye era ne buzikiriza’ gavumenti z’abantu zonna, era ne bubeerawo emirembe gyonna.
6. Ddi “ebiro by’ab’amawanga” lwe byatandika, byali byenkana wa obuwanvu, era byakoma ddi?
6 Ddi “ebiro by’ab’amawanga” lwe byandikomye Obwakabaka bwa Katonda ne butandika okufuga? Eky’okuddamu, ‘ekyassibwako akabonero okutuusa mu nnaku ez’enkomerero,’ kizingiramu embalirira y’ebiseera eyeesigamiziddwa ku Baibuli. (Danyeri 12:9) ‘Ng’ekiseera’ ekyo kinaatera okutuuka, Yakuwa alina kye yakolawo okusobola okubikkulira ekibiina ky’abayizi ba Baibuli eky’okuddamu. Nga bayambibwako omwoyo gwa Katonda, baakitegeera nti “ebiro by’ab’amawanga” byatandika mu 607 B.C.E. Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa, era nti “ebiro” ebyo byali byenkana emyaka 2,520. Nga basinziira ku ekyo, baakitegeera nti “ebiro by’ab’amawanga” byandikomye mu 1914. Ate era baakitegeera nti enkomerero y’enteekateeka ey’ebintu eno yatandika mu 1914. Ng’omuyizi wa Baibuli, osobola okunnyonnyola okuva mu Byawandiikibwa engeri 1914 gye gutuukibwako?c
7. Byawandiikibwa ki ebituyamba okutegeera ddi ebiseera omusanvu ebyogerwako mu kitabo kya Danyeri lwe byanditandise, obuwanvu bwabyo, ne lwe byandikomye?
7 Ekintu ekimu ekiyinza okutuyamba kiri mu kitabo kya Danyeri. Okuva Yakuwa bwe yakozesa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., ‘ng’ebiro by’ab’amawanga’ bitandika, era yategeeza omufuzi oyo nti amawanga gandibadde geefuga gokka okumala ebiseera musanvu eby’akabonero nga tegakugirwa Katonda. (Ezeekyeri 21:26, 27; Danyeri 4:16, 23-25) Ebiseera ebyo omusanvu byenkana wa? Okusinziira ku Okubikkulirwa 11:2, 3 ne 12:6, 14, ebiseera bisatu n’ekitundu byenkana ennaku 1,260. N’olwekyo, okufuna ebiseera omusanvu, ennaku ezo ozikubisaamu emirundi ebiri, n’ofuna ennaku 2,520. Awo we tukoma? Nedda, kubanga Yakuwa yategeeza nnabbi Ezeekyeri eyabeerawo mu kiseera kye kimu ne Danyeri engeri y’okutaputamu obubonero ng’agamba: “Buli lunaku mwaka.” (Ezeekyeri 4:6) N’olwekyo, ebiseera musanvu byenkana emyaka 2,520. Bwe tubala emyaka 2,520 okuva ku mwaka 607 B.C.E., kitutuusa ku mwaka 1914, era nga mu mwaka ogwo ebiro by’amawanga byakoma.
“Ebiseera eby’Enkomerero” Bikakasibwa
8. Bintu ki by’oyinza okunokolayo ebiraga nti embeera z’ensi zeeyongedde okwonooneka okuva mu 1914?
8 Ebintu ebibaddewo mu nsi okuva mu 1914 bikakasa nti ennyinnyonnyola eyo eragiddwa eyeesigamiziddwa ku mbalirira y’ebiseera by’omu Baibuli, ntuufu. Yesu kennyini yagamba nti entalo, enjala ne kawumpuli bye byandirambye ‘amafundikira g’enteekateeka ey’ebintu eno.’ (Matayo 24:3-8; Okubikkulirwa 6:2-8) Era ddala ebintu ebyo bibaddewo okuva mu 1914. Omutume Pawulo yayongerezaako ng’agamba nti engeri abantu gye beeyisaamu yandikyuse nnyo. Enkyukakyuka ezo naffe tuzirabye.—2 Timoseewo 3:1-5.
9. Kiki abatunuulizi kye boogera ku mbeera ezibaddewo mu nsi okuva mu 1914?
9 Ddala ‘embeera y’ensi eno’ ekyuse nnyo okuva mu 1914? Mu kitabo ekiyitibwa The Generation of 1914, Profesa Robert Wohl agamba: “Abo abaaliwo mu kiseera ky’olutalo baagamba nti ensi emu yakoma era endala n’etandika mu Agusito 1914.” Ng’akakasa kino, Dr. Jorge A. Costa e Silva, dayirekita w’ekitongole ekikola ku balwadde b’emitwe mu Kibiina ky’Eby’Obulamu eky’Ensi Yonna, yawandiika: “Tuli mu kiseera omuli enkyukakyuka ez’amangu ennyo, ezireetedde abantu okweraliikirira ennyo ku kigero ekitabangawo mu byafaayo byonna.” Ekyo naawe okirabye?
10. Baibuli etutangaaza etya ku kiviiriddeko embeera okweyongera okwonooneka ennyo mu nsi okuva mu 1914?
10 Ani avunaanyizibwa olw’embeera ezeeyongera okwonooneka mu nsi? Okubikkulirwa 12:7-9 watulaga omuntu oyo: “Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri [Yesu Kristo] ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota [Setaani Omulyolyomi]; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, . . . omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.” N’olwekyo, Setaani Omulyolyomi y’avunaanyizibwa olw’obutabanguko obuliwo, era okugobebwa kwe mu ggulu kwe kuviiriddeko okutuukirizibwa kw’ebigambo bino nti “zisanze ensi n’ennyanja; kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”—Okubikkulirwa 12:10, 12.
Ebinaabaawo ku Ntikko y’Ekiseera ky’Enkomerero
11. (a) Setaani alimba atya ‘ensi zonna’? (b) Ppokopoko ki akubirizibwa Setaani omutume Pawulo gwe yayogerako?
11 Okuva mu 1914 Setaani yeeyongedde ‘okulimba ensi zonna’ olw’okuba akimanyi nti ekiseera kye kiyimpawadde. Setaani omulimba omukulu teyeeyoleka lwatu era akozesa abakulembeze b’omu nsi n’abantu abatutumufu okutuukiriza ebiruubirirwa bye. (2 Timoseewo 3:13; 1 Yokaana 5:19) Ekimu ku biruubirirwa bye kwe kubuzaabuza abantu balowooze nti enfuga yaabwe esobola okubaleetera eddembe erya nnamaddala. Okutwalira awamu, atuuse ku buwanguzi, kubanga abantu balowooza nti embeera ejja kulongooka wadde nga waliwo obukakafu obulaga nti embeera yeeyongera kwonooneka. Omutume Pawulo yagamba nti ng’enteekateeka eno ey’ebintu eneetera okuzikirizibwa, wandibaddewo ppokopoko akubirizibwa Setaani. Yawandiika: “Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto.”—1 Abasessaloniika 5:3; Okubikkulirwa 16:13.
12. Biki ebikoleddwa okuleetawo emirembe mu kiseera kyaffe?
12 Mu myaka egiyise, bannabyabufuzi bagambye nti “Mirembe, siwali kabi” nga boogera ku bigendererwa by’abantu ebitali bimu. N’omwaka 1986 baaguyita Omwaka ogw’Emirembe mu Nsi Yonna, wadde ng’emirembe tegyaliwo mu mwaka ogwo. Ebigambo ng’ebyo ebyogeddwa abakulembeze b’ensi bye bituukiriza 1 Abasessaloniika 5:3, oba Pawulo yali ayogera ku kintu eky’enkukunala ennyo ensi yonna kye yanditegedde?
13. Pawulo bwe yalagula nti baligamba “Mirembe, siwali kabi,” okuzikiriza okwandiddiridde yakugeraageranya ku ki, era kiki kye tuyinza okuyigira ku ekyo?
13 Okuva obunnabbi bwa Baibuli bwe butera okutegeerwa obulungi nga bumaze okutuukirizibwa oba nga bugenda butuukirizibwa, tulina kulindirira bulindirizi. Kyokka, weetegereze nti Pawulo ageraageranya okuzikiriza okubaawo amangu oluvanyuma lw’abantu okugamba nti “Mirembe, siwali kabi” ku mukazi alumwa okuzaala. Okumala emyezi mwenda, omukazi ali olubuto yeeyongera okumanya ebikwata ku mwana akula mu nda ye. Asobola okuwulira ng’omutima gw’omwana gukuba oba n’awulira nga yeekyusa. Akaana kayinza n’okumusamba. Obubonero bugenda bweyongera okutuusa ku lunaku olumu lw’awulira obulumi obw’amaanyi ennyo, ekiraga nti ekyo ky’abadde asuubira, kwe kugamba, okuzaalibwa kw’omwana kutuuse. N’olwekyo, ka kibeere mu ngeri ki ebigambo “Mirembe, siwali kabi” gye binaatuukirizibwamu, bijja kuviirako okulumwa okw’amangu naye nga kuvaamu emikisa, kwe kugamba, okuggibwawo kw’obubi walyoke waddewo ensi empya.
14. Mu ngeri ki ebintu ebinaabaawo mu maaso gye binnaddiriŋŋanamu, era biki ebinaavaamu?
14 Okuzikiriza okubindabinda kujja kuba kwa ntiisa eri Abakristaayo abeesigwa abatunuulizi. Okusooka, bakabaka b’ensi (enteekateeka ya Setaani ey’eby’obufuzi) bajja kulumba abawagizi ba Babulooni Ekinene (amadiini) era babazikirize. (Okubikkulirwa 17:1, 15-18) N’olwekyo, mu ngeri etasuubirwa, obwakabaka bwa Setaani bujja kweyawulamu bulwanagane bwokka na bwokka era Setaani tajja kusobola kukikugira. (Matayo 12:25, 26) Yakuwa ajja kukiteeka mu mitima gya bakabaka b’ensi ‘batuukirize ky’ayagala,’ kwe kugamba, okumalawo eddiini ez’obulimba ez’obulabe. Ng’eddiini ez’obulimba zimaze okuzikirizibwa, Yesu Kristo ajja kukulembera eggye lye ery’omu ggulu okuzikiriza ebitundu ebisigadde eby’enteekateeka ya Setaani, kwe kugamba, eby’obusuubuzi n’eby’obufuzi. Ku nkomerero ne Setaani kennyini ajja kusibibiwa. Ng’ekyo kimaze okukolebwa, omuzannyo ogubadde gugenda mu maaso okumala ekiseera ekiwanvu gujja kuggwaako.—Okubikkulirwa 16:14-16; 19:11-21; 20:1-3.
15, 16. Okumanya nti “ebiro biyimpawadde” kyanditukutteko kitya?
15 Bino byonna binaabaawo ddi? Tetumanyi lunaku wadde ekiseera. (Matayo 24:36) Kyokka, tumanyi nti “ebiro biyimpawadde.” (1 Abakkolinso 7:29) N’olwekyo, kikulu nnyo okukozesa obulungi ekiseera ekisigaddeyo. Tutya? Ng’omutume Pawulo bw’annyonnyola, tuteekwa ‘okugula ebiseera’ tubikozese ku bintu ebisinga obukulu era tweyambise bulungi buli lunaku oluyitawo. Lwaki? ‘Olw’okuba ennaku mbi.’ Era nga ‘tutegedde ekyo Yakuwa ky’atwetaaza,’ tetujja kukozesa bubi kiseera kisigaddeyo.—Abaefeso 5:15-17; 1 Peetero 4:1-4.
16 Nga tumaze okutegeera nti enteekateeka yonna ey’ebintu egenda kukomezebwa, twandikwatiddwako tutya kinnoomu? Omutume Peetero yawandiika olw’okutuganyula: “[Okuva] ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda.” (2 Peetero 3:11) Mazima ddala twandibadde bantu ba ngeri ki? Okusobola okutuukana n’okubuulirira kwa Peetero okw’amagezi, twetaaga (1) okukakasa nti enneeyisa yaffe ya butuukirivu, era (2) tukakase nti obunyiikivu bwaffe mu buweereza bwa Yakuwa bwoleka nti tumwagala nnyo.
17. Mitego ki egya Setaani Abakristaayo abeesigwa bye balina okwegendereza?
17 Okwagala kwe tulina eri Katonda kujja kutukugira obutaagala bintu bya mu nsi muno ebisikiriza. Nga tumanyi ekyo ekigenda okutuuka ku nteekateeka eno ey’ebintu, kya kabi nnyo okutwalirizibwa obulamu bw’ensi. Wadde nga tuli mu nsi era nga mwe tukolera emirimu gyaffe, tusaanidde okugondera okubuulirira okw’amagezi okw’obutakozesa nnyo bintu bya mu nsi. (1 Abakkolinso 7:31) Mu butuufu, tusaanidde okukola kyonna kye tusobola tuleme okubuzaabuzibwa ppokopoko w’ensi. Ensi eno tejja kusobola kugonjoola bizibu byayo. Tejja kubeerawo bbanga lyonna. Lwaki tuli bakakafu ku kino? Olw’okuba Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kigamba bwe kityo: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
Ebirungi Bikyali mu Maaso!
18, 19. Nkyukakyuka ki ze weesunga okulaba mu nsi empya, era lwaki okulinda okwo tekujja kuba kwa bwereere?
18 Mangu nnyo Yakuwa ajja kuzikiriza Setaani n’abawagizi be. Oluvannyuma lw’ekyo, abeesigwa abanaawonawo ng’enteekateeka eno ey’ebintu ekomezebwa bajja kuleetawo enkyukakyuka ez’olubeerera. Wajja kuba tewakyaliwo ntalo mu nsi; Katonda ajja ‘kuggyawo entalo okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ (Zabbuli 46:9) Mu bifo omuli enjala, “wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” (Zabbuli 72:16) Wajja kuba tewakyaliwo makomera, endwadde ezisaasaanira mu bukaba, abakukusa enjaga, okusattulula obufumbo, obwavu n’ebikolwa bya bannalukalala.—Zabbuli 37:29; Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 21:3-5.
19 Abafu buwumbi na buwumbi bajja kuzuukizibwa. Nga wajja kubaawo essanyu lya nsusso ng’abantu baddamu okusisinkana, era ng’abaagalwa abamaze ekiseera ekiwanvu ennyo nga teri akuba kimunye ku munne bagwaŋŋana mu bifuba! Ku nkomerero, buli muntu anaabaawo nga mulamu ajja kusinza Yakuwa. (Okubikkulirwa 5:13) Ng’enkyukakyuka ezo zimaze okubaawo, olwo ensi yonna ejja kuba efuuse olusuku lwa Katonda. Oliwulira otya ng’olaba enkyukakyuka ezo ezibaddewo? Awatali kubuusabuusa ojja kugamba: ‘Nnindiridde okumala ekiseera kiwanvu okulaba embeera zino era sirindiriridde bwereere!’
[Obugambo obuli wansi]
a Bwe yali ng’ayogera ku nsonga endala, Pawulo yayita Abakristaayo abaafukibwako amafuta “ekyerolerwa [eri] ensi ne bamalayika n’abantu.”—1 Abakkolinso 4:9.
b Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku “kabaka ow’obukiika kkono,” ayogerwako mu Danyeri 11:40, 44, 45, laba akatabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri!, empapula 280-1.
c Baibuli eraga nti Yerusaalemi kyali matongo okumala emyaka 70 ng’Abayudaaya abaawaŋŋangusibwa tebannadda ku butaka mu 537 B.C.E. (Yeremiya 25:11, 12; Danyeri 9:1-3) Okumanya ebisingawo ku “biro by’ab’amawanga,” laba empapula 95-7 mu katabo Reasoning From the Scriptures, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Mu ngeri ki ebigambo by’omutume Pawulo ebigamba nti “embeera y’ensi eno ekyukakyuka” gye bibadde ebituufu?
• Embalira y’ebiseera by’omu Baibuli etuyamba etya okumanya ekiseera kyennyini “ebiro by’ab’amawanga” we byandikomye?
• Embeera ezigenda zikyukakyuka zikakasa zitya nti 1914 y’entandikwa ‘y’ekiseera eky’enkomerero’?
• Twandikwatiddwako tutya okumanya nti “ebiro biyimpawadde”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Ekyama kibikkulwa!