Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa ya Yakobo n’Eza Peetero
NGA wayise emyaka nga 30 bukya Pentekoote eya 33 E.E. eggwa, omuyigirizwa Yakobo—muganda wa Yesu—awandiika ebbaluwa eri “ebika ekkumi n’ebibiri” ebya Isiraeri ow’omwoyo. (Yak. 1:1) Ekigendererwa kye kwe kubakubiriza okunywerera mu kukkiriza n’okugumira ebizibu bye boolekagana nabyo. Era abawa obulagirizi ku ngeri y’okutereeza ebintu ebitagenda bulungi mu kibiina.
Nga Kabaka Nero owa Ruumi tannatandika kuyigganya Bakristaayo mu 64 E.E., omutume Peetero awandiikira Abakristaayo ebbaluwa esooka ng’abakubiriza okunywerera mu kukkiriza. Mu bbaluwa ye ey’okubiri, gye yawandiika nga yaakamala esooka, Peetero akubiriza bakkiriza banne okussaayo ennyo omwoyo ku kigambo kya Katonda, era abajjukiza nti olunaku lwa Yakuwa luli kumpi. Ddala tuganyulwa nnyo mu bubaka obuli mu bbaluwa ya Yakobo n’eza Peetero.—Beb. 4:12.
KATONDA AWA AMAGEZI ABO ‘ABASABA MU KUKKIRIZA’
Yakobo agamba nti: “Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu.” Abo abafuba ‘okusaba mu kukkiriza,’ Yakuwa abawa amagezi ne basobola okugumira ebizibu.—Yak. 1:5-8, 12.
Abo ‘abayigiriza’ mu kibiina beetaaga okuba n’okukkiriza era n’amagezi. Bw’amala okulaga nti olulimi ‘kitundu kitono’ nnyo naye lusobola ‘okwonoona omubiri gwonna,’ Yakobo alabula ku bintu ebisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Era alaga emitendera omuntu omulwadde mu by’omwoyo gy’alina okuyitamu asobole okutereera.—Yak. 3:1, 5, 6; 5:14, 15.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:13—Mu ngeri ki ‘okusaasira gye kujaguliza ku musango’? Katonda bw’aba atusalira omusango, atunuulira obusaasizi bwe tulaze abalala n’atusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka y’Omwana we. (Bar. 14:12) Ekyo tekyandituleetedde okufaayo ennyo okulaga abalala obusaasizi?
4:5—Wano Yakobo ajuliza kyawandiikibwa ki? Yakobo talina kyawandiikibwa kyonna ky’ajuliza. Naye, ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa byandiba nga byesigamizibwa ku byawandiikibwa nga Olubereberye 6:5; 8:21; Engero 21:10; ne Abaggalatiya 5:17.
5:20—Oyo “akyusa alina ebibi mu bukyamu obw’ekkubo lye” alokola bulamu bw’ani okuva mu kufa? Omukristaayo bw’ayamba omwonoonyi okwenenya n’ava mu kkubo ekkyamu, aba alokodde obulamu bw’oyo eyeenenyezza okuva mu kufa okw’eby’omwoyo, oboolyawo n’okuva mu kuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe. Omuntu ayamba omwonoonyi mu ngeri eyo era “alibikka ku bibi [by’omwonoonyi oyo] bingi.”
Bye Tuyigamu:
1:14, 15. Okwonoona kuva mu kwegomba okubi. N’olwekyo, tusaanidde okwewala okulowooza ku bintu ebibi. Ate era tusaanidde ‘okulowoozanga’ ku bintu ebizimba n’okujjuza ebintu ng’ebyo mu mitima gyaffe.—Baf. 4:8.
2:8, 9. ‘Okusosola mu bantu’ kikontana ‘n’etteeka kabaka w’amateeka,’ nga lino lye tteeka ery’okwagala. N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima tebalina kusosola mu bantu.
2:14-26. ‘Tulokolebwa lwa kukkiriza, so si lwa bikolwa’ by’amateeka ga Musa oba lw’ebyo bye tukola ng’Abakristaayo. Okukkiriza kwaffe tekulina kukoma mu bigambo. (Bef. 2:8, 9; Yok. 3:16) Kulina okweyolekera mu bikolwa ebiraga okutya Katonda.
3:13-17. “Amagezi agava waggulu” gasingira wala nnyo ago ‘ag’omu nsi era aga Setaani.’ Tusaanidde ‘okunoonyanga’ amagezi agava ewa Katonda “ng’eby’obugagga ebyakwekebwa.”—Nge. 2:1-5.
3:18. Ensigo y’amawulire amalungi ag’Obwakabaka ‘esigibwa mu mirembe eri abo abaleetawo emirembe.’ Tusaanidde kuba bantu ba mirembe, so si ba malala, bayombi, oba ba mpaka.
‘MUBE BANYWEVU MU KUKKIRIZA’
Peetero ajjukiza bakkiriza banne “essuubi eddamu” lye balina ery’obusika obw’omu ggulu. Era abagamba nti: “Mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu.” Bw’amala okwogera ku buwulize, bonna abakubiriza ‘okubeera n’emmeeme emu, okusaasiragana, okwagalana ng’ab’oluganda, okuba ab’ekisa, era abawombeefu.’—1 Peet. 1:3, 4; 2:9; 3:8.
Olw’okuba “enkomerero [y’enteekateeka y’Ekiyudaaya] esembedde,” Peetero akuutira ab’oluganda ‘okuba obulindaala ku bikwata ku kusaba.’ Abagamba nti: ‘Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Muziyizenga Setaani nga muli banywevu mu kukkiriza.’—1 Peet. 4:7, NW; 5:8, 9, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3:20-22—Okubatizibwa kutulokola kutya? Abo abanoonya obulokozi balina okubatizibwa. Naye, okubatizibwa ku bwakyo tekiyinza kutuusa muntu ku bulokozi. Obulokozi omuntu abufuna kuyitira mu ‘kuzuukira kwa Yesu Kristo.’ Omuntu okubatizibwa alina okuba ng’akkiriza nti ssaddaaka ya Yesu ye yokka etusobozesa okufuna obulokozi, nti Yesu yazuukizibwa, era nti “ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda,” ng’alina obuyinza ku balamu n’abafu. Okubatizibwa kw’omuntu alina okukkiriza ng’okwo kwe kufaanana ‘n’okuwonawo kw’emyoyo omunaana mu mazzi.’
4:6—‘Abafu abaabuulirwa enjiri’ be baani? Beebo abaali ‘abafu mu byonoono n’ebibi byabwe,’ oba abaali abafu mu by’omwoyo, nga tebannawulira mawulire malungi. (Bef. 2:1) Kyokka, oluvannyuma lw’okukkiriza amawulire amalungi, ‘baazuukizibwa’ mu by’omwoyo.
Bye Tuyigamu:
1:7. Okukkiriza kwaffe bwe kuba okw’okuba okw’omuwendo, kulina okugezesebwa. Okukkiriza ng’okwo ‘kulokola obulamu.’ (Beb. 10:39) Tetulina kwewala bintu ebigezesa okukkiriza kwaffe.
1:10-12. Bamalayika beegombanga nnyo okumanya n’okutegeera ebintu by’omunda ebikwata ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebyawandiikibwanga bannabbi ba Katonda ab’edda. Kyokka, ebintu bino byatandika okutegeerekeka obulungi nga Yakuwa atandiseewo enkolagana n’ekibiina ekyo. (Bef. 3:10) Naffe tetwandigoberedde ekyokulabirako kya bamalayika ne tufuba okunoonyereza ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda’?—1 Kol. 2:10.
2:21. Nga tukoppa Yesu Kristo, naffe tulina okuba abeetegefu okubonyaabonyezebwa olw’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, ka kibe nga kitutuusa ku kufa.
5:6, 7. Ebintu ebitweraliikiriza bwe tubikwasa Yakuwa, atuyamba okukulembeza okusinza okw’amazima mu bulamu bwaffe, mu kifo ky’okudda awo okweraliikirira ebinaabaawo mu biseera by’omu maaso.—Mat. 6:33, 34.
‘OLUNAKU LWA YAKUWA LUGENDA KUJJA’
Peetero agamba: “[Te]wali kigambo kya bunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw’abantu: naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda, nga bakwatiddwa [o]mwoyo [o]mutukuvu.” Okussaayo omwoyo ku bigambo by’obunnabbi kitukuuma eri “bannabbi ab’obulimba” n’abantu abalala ababi.—2 Peet. 1:21; 2:1-3.
Peetero alabula nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja.” Naye ‘olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja ng’omubbi.’ Peetero afundikira ebbaluwa ye ng’abuulirira abo ‘abasuubira era abaagala olunaku olwo lutuuke.’—2 Peet. 3:3, 10-12.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:19 (NW)—Ani ‘mmunyeenye y’oku makya,’ avaayo ddi, era tumanyi tutya nti ekyo kyamala dda okubaawo? “Emmunyeenye y’oku makya” ye Yesu Kristo ng’afuuse Kabaka. (Kub. 22:16) Mu 1914, Yesu yavaayo n’ayaka eri obutonde bwonna mu Bwakabaka bwe nga Masiya, ekyali kiraga nti olunaku olupya lwali lutandise. Okufuusibwa kwa Yesu kwalaga ekyo ekyandibaddewo ng’agulumiziddwa mu kitiibwa kye nga Kabaka, era kwalaga nti ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi kirina okutuukirira. Okussaayo omwoyo ku bunnabbi obwo kuleeta ekitangaala mu mitima gyaffe ne tumanya nti Emmunyeenye y’oku Makya yavaayo dda.
2:4—‘Olukonko’ lwe luluwa, era bamalayika abajeemu baasuulibwamu ddi? Ekigambo olukonko kyavvuunulwa kuva mu kigambo “Tatalo.” Tatalo liba nga kkomera, nga bitonde bya mwoyo byokka bye bikuumirwamu, so si bantu. Kuba kubeera mu kizikiza ku bikwata ku bigendererwa bya Katonda. Abo abali mu Tatalo tebalina ssuubi lyonna lya biseera bya mu maaso. Katonda yasuula bamalayika abajeemu mu Tatalo mu kiseera kya Nuuwa, era ba kusigala mu mbeera eyo okutuusa lwe balizikirizibwa.
3:17—Peetero yali ategeeza ki bwe yagamba nti “musoose okutegeera”? Peetero yali ayogera ku kumanya ebyali bigenda okubaawo mu biseera by’omu maaso, ye n’abawandiisi ba Baibuli abalala bye baaluŋŋamizibwa okuwandiika. Olw’okuba okumanya okwo kwali tekulambika bintu byonna mu bujjuvu, kwali tekusobozesa Bakristaayo kutegeera buli kimu ekyandibaddewo mu biseera by’omu maaso. Baabitegeerako kitono.
Bye Tuyigamu:
1:2, 5-7. Ng’oggyeko okutuyamba okweyongera ‘okutegeerera ddala Katonda ne Yesu,’ okufuba okukulaakulanya engeri ennungi gamba ng’okukkiriza, okugumiikiriza, n’okutya Katonda kituyamba ‘obutaba bagayaavu era abatabala bibala’ oluvannyuma lw’okutegeerera ddala.—2 Peet. 1:8.
1:12-15. Okusobola ‘okunywerera mu mazima,’ twetaaga okujjukizibwa buli kiseera, nga bwe kiba nga tuli mu nkuŋŋaana, nga twesomesa, oba nga tusoma Baibuli.
2:2. Tulina okufuba okulaba nti enneeyisa yaffe tereeta kivume ku linnya lya Katonda ne ku kibiina kye.—Bar. 2:24.
2:4-9 (NW). Yakuwa bye yakola mu biseera by’emabega bitukakasa nti “amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa, naye abatali batuukirivu ajja kubazikiriza ku lunaku olw’okusalirako omusango.”
2:10-13. Wadde ‘ng’ab’ekitiibwa,’ nga bano be bakadde, tebatuukiridde era oluusi bakola ensobi, tetulina kuboogerako bubi.—Beb. 13:7, 17.
3:2-4, 12. Bwe tussaayo omwoyo ku ‘bigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu ne ku kiragiro kya Mukama waffe era Omulokozi,’ kituyamba okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byaffe.
3:11-14 (NW). Olw’okuba ‘tusuubira era twegomba nnyo okujja kw’olunaku lwa Yakuwa,’ tuteekwa (1) ‘okuba n’empisa entukuvu,’ nga tweyonja mu mubiri, mu birowoozo, mu mpisa, ne mu by’omwoyo; (2) okunyiikirira ‘ebikolwa eby’okutya Katonda,’ gamba ng’ebyo ebikwatagana n’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa; (3) okwewala empisa z’ensi eno ‘n’amabala’ gaayo; (4) obutaba na ‘musango’ gwonna, nga buli kimu tukikola mu mutima mulungi; era (5) okuba “mu mirembe” ne Katonda, ne Bakristaayo bannaffe, era n’abantu abalala.