Sanyukira Essuubi ly’Olina
“[Tulina essuubi] ery’obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza edda ennyo.”—TIT. 1:2.
OJJUKIRA
Kiki ekiraga nti wabaawo essanyu lingi mu ggulu ng’omu ku baafukibwako amafuta asigadde nga mwesigwa okutuukira ddala okufa?
Kakwate ki akali wakati w’essuubi ly’ab’endiga endala n’ery’abaafukibwako amafuta?
‘Empisa entukuvu n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ bye tulina okuba nabyo bye biruwa?
1. Essuubi Yakuwa lw’atuwadde liyinza litya okutuyamba okugumira embeera enzibu?
OMUTUME Pawulo yagamba nti Yakuwa ye “Katonda awa essuubi.” Yagattako nti Yakuwa asobola ‘okutujjuza essanyu era n’atuwa emirembe olw’okukkiriza kwaffe, ne tweyongera okuba n’essuubi olw’amaanyi g’omwoyo omutukuvu.’ (Bar. 15:13) Singa tweyongera okuba n’essuubi, tujja kusobola okugumira embeera enzibu era tujja kusigala nga tuli basanyufu era nga tulina emirembe. Embeera enzibu ziyinza okugeraageranyizibwa ku muyaga. Bwe tuba mu mbeera eziringa omuyaga, essuubi lwaffe liba ‘ng’essika ery’obulamu, ekkakafu era erinywevu,’ ka tube nga tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba ab’endiga endala. (Beb. 6:18, 19) Bwe tuba n’essuubi ekkakafu ekyo kijja kutuyamba obutawaba kuva mu kukkiriza. Essuubi lwaffe lijja kutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi n’okwewala okubuusabuusa.—Soma Abebbulaniya 2:1; 6:11.
2. Ssuubi ki ery’emirundi ebiri Abakristaayo abaliwo leero lye balina, era lwaki ‘ab’endiga endala’ bandifuddeyo okumanya ebikwata ku ssuubi ly’abo abaafukibwako amafuta?
2 Abakristaayo abaliwo mu kiseera kino eky’enkomerero balina essuubi lya mirundi ebiri. ‘Ab’ekisibo ekitono’ abakyali ku nsi balina essuubi ery’okufuna obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu. Bajja kuba bakabaka era bakabona awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe. (Luk. 12:32; Kub. 5:9, 10) ‘Ab’endiga endala’ bukadde na bukadde balina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Bajja kufugibwa Obwakabaka bwa Masiya. (Yok. 10:16; Kub. 7:9, 10) Ab’endiga endala basaanidde okukijjukiranga nti okusobola okulokolebwa balina okuyamba “baganda” ba Kristo abakyali ku nsi. (Mat. 25:34-40) Abaafukibwako amafuta bajja kufuna empeera yaabwe, era n’ab’endiga endala bakakafu nti essuubi lyabwe lijja kutuukirira. (Soma Abebbulaniya 11:39, 40.) Kati ka tusooke twetegereze essuubi abaafukibwako amafuta lye balina.
“ESSUUBI EDDAMU” ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA LYE BALINA
3, 4. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘bazaalibwa batya obuggya ne bafuna essuubi eddamu,’ era ssuubi ki eryo lye bafuna?
3 Omutume Peetero yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta amabaluwa abiri. Abakristaayo abo yabayita “abaalondebwa.” (1 Peet. 1:1) Amabaluwa ga Peetero ago gatuyamba okumanya ebintu ebikwata ku ssuubi ery’ekitalo ab’ekisibo ekitono lye balina. Mu bbaluwa ye eyasooka, Peetero yagamba nti: “Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe yatuzaala buggya ne tuba n’essuubi eddamu okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo, ne tuba n’obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo. Obusika obwo bubaterekeddwa mu ggulu, mmwe abakuumibwa amaanyi ga Katonda okuyitira mu kukkiriza musobole okufuna obulokozi obugenda okubikkulwa mu kiseera eky’enkomerero. Olw’ensonga eyo musanyuka nnyo.”—1 Peet. 1:3-6.
4 Abakristaayo abatonotono Yakuwa be yalonda okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu, ‘bazaalibwa buggya’ ne bafuuka abaana ba Katonda. Bafukibwako omwoyo omutukuvu era bajja kuweereza nga bakabaka era bakabona awamu ne Kristo. (Kub. 20:6) Peetero yalaga nti ‘okuzaalibwa obuggya’ kibasobozesa okufuna “essuubi eddamu,” lye yayita “obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo” obubaterekeddwa “mu ggulu.” Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘basanyukira nnyo’ essuubi lyabwe eryo ery’ekitalo! Kyokka essuubi lyabwe eryo okusobola okutuukirira, balina okusigala nga beesigwa eri Yakuwa.
5, 6. Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta balina okufuba okusigala nga beesigwa?
5 Mu bbaluwa ye ey’okubiri, Peetero yakubiriza Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘okufuba ennyo okunyweza okuyitibwa kwabwe n’okulondebwa kwabwe.’ (2 Peet. 1:10) Abakristaayo abo balina okufuba ennyo okwoleka engeri ennungi gamba ng’okukkiriza, okwemalira ku Katonda, n’okwagala. Peetero yagamba nti: “Ebintu bino bwe muba nabyo mu bungi ddala, bijja kubakugira okuba abagayaavu oba abantu abatabala bibala.”—Soma 2 Peetero 1:5-8.
6 Kristo yagamba abakadde abaafukibwako amafuta abaali mu kibiina ky’e Firaderufiya eky’omu Asiya omutono nti: “Olw’okuba wakuuma ekigambo ekikwata ku bugumiikiriza bwange, nange ndikukuuma mu kiseera eky’okugezesebwa ekijja okutuuka ku nsi yonna etuuliddwamu, okugezesa abo abagibeerako. Nzija mangu. Nywezanga ky’olina waleme kubaawo n’omu atwala engule yo.” (Kub. 3:10, 11) Abakristaayo abaafukibwako amafuta abasigala nga beesigwa okutuuka okufa bajja kuweebwa “engule ey’ekitiibwa etayonooneka.” Singa Omukristaayo eyafukibwako amafuta alekera awo okuba omwesigwa, tasobola kufuna ngule eyo.—1 Peet. 5:4; Kub. 2:10.
OKUYINGIRA MU BWAKABAKA
7. Ssuubi ki ery’ekitalo Yuda lye yayogerako mu bbaluwa ye?
7 Awo nga mu mwaka gwa 65 E.E., Yuda, muganda wa Yesu, yawandiikira Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta ebbaluwa. Yaboogerako ng’abo “abaayitibwa.” (Yud. 1; geraageranya ne Abebbulaniya 3:1.) Yali ayagala kubawandiikira ebikwata ku ssuubi ery’obulokozi Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta lye balina. (Yud. 3) Naye yakiraba nti kyali kyetaagisa okusooka okubawandiikira ebikwata ku nsonga endala enkulu. Kyokka, bwe yali akomekkereza ebbaluwa ye, yayogera ku ssuubi ery’ekitalo Abakristaayo abaafukibwako amafuta lye balina. Yagamba nti: “Katonda asobola okubakuuma ne muteesittala era ne mutabaako kamogo mu maaso g’ekitiibwa kye n’essanyu eringi, ye Katonda omu yekka Omulokozi waffe, atulokola okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwe ekitiibwa, obukulu, amaanyi n’obuyinza okuva edda n’edda ne kaakano era n’emirembe n’emirembe.”—Yud. 24, 25.
8. Ebigambo ebiri mu Yuda 24 biraga bitya nti wabaawo essanyu lingi mu ggulu omu ku baafukibwako amafuta bw’asigala nga mwesigwa okutuusa okufa?
8 Abakristaayo abaafukibwako amafuta baagala Katonda abayambye okusigala nga beesigwa baleme okuzikirizibwa. Basuubira nti Yesu Kristo ajja kubazuukiza okuva mu bafu ng’ebitonde eby’omwoyo ebituukiridde basobole okulabika mu maaso ga Katonda. Omukristaayo eyafukibwako amafuta bw’afa nga mwesigwa, tewaba kubuusabuusa kwonna nti ajja ‘kuzuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo,’ ‘ogutavunda era ogw’ekitiibwa.’ (1 Kol. 15:42-44) Bwe kiba nti wabaawo “essanyu lingi mu ggulu olw’omwonoonyi omu eyeenenya,” ate kiba kitya ng’omu ku baganda ba Kristo eyafukibwako amafuta akuumye obwesigwa bwe okutuukira ddala okufa? (Luk. 15:7) Yakuwa Katonda asanyuka nnyo omu ku baafukibwako amafuta bw’azuukizibwa n’aweebwa empeera ye, era n’ebitonde eby’omwoyo ebiri mu ggulu nabyo bisanyuka nnyo.—Soma 1 Yokaana 3:2.
9. Abaafukibwako amafuta abeesigwa bayingira batya mu Bwakabaka “n’ekitiibwa,” era ekyo kibakubiriza kukola ki nga bakyali ku nsi?
9 Okufaananako Yuda, Peetero naye yagamba nti singa Abakristaayo abaafukibwako amafuta basigala nga beesigwa bajja ‘kuyingizibwa n’ekitiibwa mu bwakabaka obutaliggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.’ (2 Peet. 1:10, 11) Peetero bwe yagamba nti bajja kuyingizibwa “n’ekitiibwa” mu bwakabaka, ayinza okuba nga yali ategeeza nti bajja kuyingira mu ggulu mu kitiibwa eky’amaanyi. Ayinza n’okuba nga yali ayogera ku mikisa emingi gye bajja okufuna mu ggulu. Abaafukibwako amafuta bajja kuwulira essanyu lingi buli lwe banaalowoozanga ku bwesigwa bwe baayoleka nga bakyali ku nsi. Ekyo kibakubiriza okusigala nga beesigwa eri Yakuwa.—1 Peet. 1:13.
AB’ENDIGA ENDALA ‘BAWEEBWA ESSUUBI’
10, 11. (a) Ssuubi ki ab’endiga endala lye balina? (b) Kristo awamu ‘n’abaana ba Katonda’ banaasobozesa batya ab’endiga endala okufuna emikisa?
10 Omutume Pawulo yayogera ku ssuubi ery’ekitalo “abaana ba Katonda” abaafukibwako amafuta lye balina ery’okuba ‘abasika awamu ne Kristo.’ Oluvannyuma yayogera ku ssuubi ery’ekitalo ab’endiga endala lye balina. Yagamba nti: “Ebitonde byesunga nnyo nga birindirira okubikkulwa kw’abaana ba Katonda [abaafukibwako amafuta]. Kubanga ebitonde byalekebwa okufugibwa obutaliimu, naye si lwa kwagala kwabyo wabula okw’oyo eyabireka okufugibwa obutaliimu, naye mu kiseera kye kimu ne biweebwa essuubi lino, nti bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.”—Bar. 8:14-21.
11 Yakuwa yasuubiza okununula abantu okuva mu bufuge ‘bw’omusota ogw’edda,’ Sitaani Omulyolyomi, ng’ayitira mu ‘Zzadde’ eryasuubizibwa. (Kub. 12:9; Lub. 3:15) Yesu Kristo lye ‘zzadde’ ekkulu eryasuubizibwa. (Bag. 3:16; obugambo obuli wansi) Yesu bwe yafa era n’azuukira, ekyo kyasobozesa abantu okuba n’essuubi ery’okununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Essuubi eryo lirina akakwate ‘n’okubikkulibwa kw’abaana ba Katonda’ abaafukibwako amafuta, ng’abo be balala abali mu ‘zzadde’ eryasuubizibwa. Abaafukibwako amafuta bajja ‘kubikkulibwa’ nga bakolera wamu ne Kristo okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani. (Kub. 2:26, 27) Ekyo kijja kusobozesa ab’endiga endala abanaayita mu kibonyoobonyo ekinene okulokolebwa.—Kub. 7:9, 10, 14.
12. Mikisa ki abantu gye bajja okufuna mu kubikkulibwa kw’abaafukibwako amafuta?
12 Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bujja kuleetera abantu obuweerero obw’amaanyi! Mu kiseera ekyo, “abaana ba Katonda” bajja kwongera ‘okubikkulibwa’ nga baweereza nga bakabona awamu ne Kristo, nga bayamba abantu okuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, abantu abawulize bajja “kusumululwa” mpolampola “okuva mu buddu bw’okuvunda.” Bajja kununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Singa banaasigala nga beesigwa eri Yakuwa mu myaka olukumi era ne mu kugezesebwa okunaabaawo ku nkomerero y’emyaka egyo, amannya gaabwe gajja kusigala mu “muzingo ogw’obulamu.” Bajja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Kub. 20:7, 8, 11, 12) Ng’eryo ssuubi lya kitalo!
KUUMIRA ESSUUBI LYO MU BIROWOOZO
13. Essuubi lyaffe lyesigamiziddwa ku ki, era Kristo anaabikkulibwa ddi?
13 Mu bbaluwa ze ebbiri ze yawandiika, Peetero yayogera ku bintu ebisobola okuyamba abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala okunyweza essuubi lyabwe. Yalaga nti essuubi lye balina teryesigamiziddwa ku bikolwa byabwe, wabula lyesigamiziddwa ku kisa kya Katonda eky’ensusso. Yagamba nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi; essuubi lyammwe mulisse ku kisa eky’ensusso ekijja okubalagibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.” (1 Peet. 1:13) Kristo ajja kubikkulibwa bw’anajja okuwa abagoberezi be abeesigwa empeera n’okuzikiriza abantu ababi.—Soma 2 Abassessaloniika 1:6-10.
14, 15. (a) Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukuumira essuubi lyaffe mu birowoozo? (b) Kiki Peetero kye yatukubiriza okukola?
14 Bwe tuba ab’okukuumira essuubi lyaffe mu birowoozo, tusaanidde bulijjo okukijjukira nti “olunaku lwa Yakuwa” luli kumpi. Era ekyo tusaanidde okukyoleka mu ngeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Yakuwa ajja kuzikiriza “eggulu” eririwo kati oba gavumenti z’abantu, ‘n’ensi’ eriwo kati oba abantu ababi awamu ‘n’ebintu’ ebiri mu nsi. Peetero yagamba nti: “Mube bantu abalina empisa entukuvu . . . , nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa, eggulu mwe ligenda okwokebwa omuliro lisaanuuke n’ebintu byonna bisaanuuke olw’ebbugumu eringi!”—2 Peet. 3:10-12.
15 “Eggulu” ‘n’ensi’ ebiriwo kati bijja kuzikirizibwa waddewo “eggulu eriggya [Obwakabaka bwa Kristo] n’ensi empya [abantu abasiimibwa Katonda].” (2 Peet. 3:13) Peetero yatubuulira ekyo kye tulina okukola nga bwe “tulindirira” eggulu eriggya n’ensi empya. Yagamba nti: “Abaagalwa, okuva bwe mulindirira ebintu ebyo, mufube nnyo okusangibwa nga temuliiko bbala wadde akamogo era nga muli mu mirembe.”—2 Peet. 3:14.
KIRAGE NTI OKUUMIRA ESSUUBI LYO MU BIROWOOZO
16, 17. (a) ‘Empisa entukuvu n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ bye tulina okuba nabyo bye biruwa? (b) Kiki kye tusuubira okufuna mu biseera eby’omu maaso?
16 Engeri gye tweyisaamu esobola okulaga obanga ebirowoozo byaffe tubikuumidde ku ssuubi lyaffe. Tusaanidde okufuba okweyisa mu ngeri Katonda gy’asiima. Okuba ‘n’empisa entukuvu’ kizingiramu okuba “n’empisa ennungi mu b’amawanga.” (2 Peet. 3:11; 1 Peet. 2:12) Tusaanidde okwagala baganda baffe mu nsi yonna. Kino kizingiramu okukola kyonna ekisoboka okulaba nti tukuuma emirembe n’obumu mu bibiina gye tukuŋŋaanira. (Yok. 13:35) “Ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda” bye bintu bye tulina okukola okusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu bintu ebyo mwe muli okusaba, okusoma Bayibuli buli lunaku, okwesomesa Bayibuli, okusinza ng’amaka, n’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka’ n’obunyiikivu.—Mat. 24:14.
17 Ffenna twagala okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa era tuwonyezebwewo ng’azikiriza enteekateeka eno ey’ebintu. Bwe tusiimibwa mu maaso ga Katonda, tujja kufuna “obulamu obutaggwaawo, Katonda atayinza kulimba bwe yasuubiza edda ennyo.”—Tit. 1:2.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]
Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘bazaalibwa buggya ne bafuna essuubi eddamu’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Mukuumire essuubi lyammwe mu birowoozo ng’amaka