Nuuwa Yasiimibwa Katonda Kino Kitukwatako Kitya?
ABASINGA obungi ku ffe tujjukira emirundi egitali gimu lwe twafuna obubaka obukulu ennyo. Tujjukira ekifo we twali, kye twali tukola n’engeri gye bwatukwatako. Awatali kubuusabuusa, Nuuwa teyeerabira lunaku lwe yafuna obubaka okuva eri Yakuwa Katonda, Omufuzi w’obutonde bwonna. Gwe ate waliwo obubaka obwali buyinza okusinga obwo obukulu? Yakuwa yagamba nti yali asazeewo okuzikiriza “buli ekirina omubiri.” Nuuwa yagambibwa okuzimba eryato eddene ennyo ye n’ab’omu maka ge mwe bandiwonedde, wamu n’ebisolo ebya buli ngeri.—Olubereberye 6:9-21.
Nuuwa yakwatibwako atya bwe yafuna amawulire ago? Gaamusanyusa oba nedda? Yatuusa atya amawulire gano ku mukazi we n’ab’omu maka ge? Ebyo Baibuli tebitubuulira, wabula ky’etubuulira kye kino: “Nuuwa n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.”—Olubereberye 6:22.
Eyo ye nsonga enkulu, kubanga ebigambo ebyo biraga ekimu ku bintu ebyaleetera Nuuwa okusiimibwa mu maaso ga Katonda; Nuuwa yali mwetegefu okukola Katonda bye yamulagira. (Olubereberye 6:8) Kiki ekirala ekyaleetera Nuuwa okusiimibwa mu maaso ga Katonda? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikulu kubanga tulina okukoppa Nuuwa bwe tuba ab’okuwonawo Katonda bw’anaddamu okumalawo obubi ku nsi. Naye ka tusooke twetegereze engeri obulamu gye bwali mu kiseera kya Nuuwa ng’Amataba tegannajja.
Dayimooni Zijja ku Nsi
Nuuwa yaliwo ng’abantu baakatandika okubeera ku nsi. Yazaalibwa nga wayise emyaka nga lukumi oluvannyuma lw’okutondebwa kw’omuntu eyasooka. Abantu b’omu kiseera ekyo baali tebabeera mu mpuku ng’abamu bwe balowooza—tebaalina mibiri egijjudde ebyoya, ab’amagezi amatono era abatambula bakutte emiggo. Baali bamanyi okuweesa ebikozesebwa eby’ekyuma n’eby’ekikomo, era Nuuwa ayinza okuba nga bye yakozesa mu kuzimba eryato. Baalina n’ebivuga. Abantu abo baawasanga, baazaalanga, baalinga balimi era nga balunzi. Baalinga bagula era nga batunda ebintu. Mu ngeri ezo zonna, obulamu bw’omu biseera ebyo bufaananako obw’omu biseera bino.—Olubereberye 4:20-22; Lukka 17:26-28.
Kyokka obulamu mu biseera ebyo bwali bwa njawulo mu ngeri ezimu. Emu ku zo kwe kuba nti abantu baali bawangaala nnyo okusinga bwe kiri leero. Kyali kya bulijjo omuntu okuwangaala emyaka egisukka 800. Nuuwa yawangaala emyaka 950; Adamu, emyaka 930; ate Mesuseera, jjajja wa Nuuwa ye yawangaala emyaka 969.a—Olubereberye 5:5, 27; 9:29.
Ekirala ekyali eky’enjawulo kyogerwako mu Olubereberye 6:1, 2 awagamba nti: “Awo abantu bwe basooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab’obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.” “Abaana ba Katonda” bano baali bamalayika abaava mu ggulu ne beeyambaza emibiri era ne batandika okubeera ku nsi ng’abantu. Katonda si ye yabatuma ku nsi; era tebajja kuyamba lulyo lwa muntu; wabula ‘baaleka ekifo kyabwe’ mu ggulu basobole okwetaba n’abakazi abalungi ku nsi. Baafuuka dayimooni.—Yuda 6.
Bamalayika bano abajeemu, aboonoonyi, era abalina amaanyi n’amagezi agasinga ag’abantu baakola kinene nnyo mu kukyamya abantu. Kirabika nti baakakanga abantu okukola bye baagala. Baakolanga mu lujjudde ebintu ebibi era ebikontana n’emitindo gya Katonda.
Abaana ba Katonda bano ab’omwoyo beetaba n’abakazi, era baazaala abaana abaali ab’amaanyi agatali ga bulijjo. Mu Lwebbulaniya baayitibwanga “Abanefuli.” Baibuli egamba nti: “Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b’abantu, ne babazaalira abaana: bano be b’amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira.” (Olubereberye 6:4) Abanefuli baali ba ntiisa nnyo. Ekigambo “Abanefuli” kitegeeza “Abasuula abalala wansi.” Baali bassi era kirabika nti ebikolwa byabwe eby’ettemu by’ebyo ebyogerwako mu ngero n’enfumo ez’edda.
Ennaku y’Abatuukirivu
Baibuli eraga nti mu mulembe ogwo obubi bwali buli wamu era nti bwali busimbye amakanda. Egamba nti: ‘Obubi bw’omuntu bwali bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo by’omutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. Ensi yali ejjudde ettemu. Ekirina omubiri kyonna kyali kyonoonye ekkubo lyakyo ku nsi.’—Olubereberye 6:5, 11, 12.
Obulamu bwe butyo bwe bwali mu biseera bya Nuuwa. Obutafaananako abo abaali bamwetoolodde, “Nuuwa yali mutuukirivu” era ‘yatambula wamu ne Katonda.’ (Olubereberye 6:9) Omuntu omutuukirivu azibuwalirwa nnyo okubeera mu bantu abatali batuukirivu. Nuuwa ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo olw’ebyo abantu bye baali boogera ne bye baali bakola. Ayinza okuba nga yawulira nga Lutti, omusajja omulala omutuukirivu eyaliwo oluvannyuma lw’Amataba. Lutti, eyabeeranga mu bantu abajeemu ab’omu Sodomu, ‘yanyolwa nnyo olw’ebikolwa byabwe eby’obugwenyufu bye yalabanga ne bye yawuliranga ng’abeera mu bantu abo buli lunaku, era yalumwanga nnyo olw’ebikolwa byabwe ebimenya amateeka.’ (2 Peetero 2:7, 8, NW) Nuuwa ateekwa okuba nga naye bw’atyo bwe yawulira.
Oyisibwa bubi olw’enneeyisa y’abantu embi oba olw’ebintu ebyesisiwaza ebifulumira mu mawulire? Bwe kiba kityo, osobola okutegeera engeri Nuuwa gye yawuliramu. Teeberezaamu obuzibu bwe yasanga ng’abeera mu nsi ejjudde obutali butuukirivu okumala emyaka 600, ng’egyo gye myaka gye yalina Amataba we gajjira. Ng’ateekwa okuba yali yeesunga nnyo ekiseera obubi lwe bwandiggiddwawo!—Olubereberye 7:6.
Nuuwa Yali Muvumu era Yali wa Njawulo
Nuuwa ‘teyaliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’omu mulembe gwe.’ (Olubereberye 6:9, NW) Weetegereze nti Baibuli egamba nti Nuuwa teyaliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’omulembe gwe, so si nti abantu b’omulembe gwe baali bamutwala nti taliiko kya kunenyezebwa. Kino kitegeeza nti teyaliiko kya kunenyezebwa mu maaso ga Katonda, naye abantu abaaliwo ng’Amataba tegannajja bo baali balowooza nti Nuuwa aliko ekikyamu. Tuli bakakafu nti teyagoberera ebyo abasinga obungi bye baali bakola, era nti yeewalanga okwenyigira mu byakwesanyusaamu ebibi ne mu bintu ebirala ebyakolebwanga ennyo mu biseera ebyo. Teeberezaamu bwe balowooza bwe baamulaba ng’azimba eryato! Balina okuba nga baamusekerera n’okumujerega. Baali bamanyi nti by’ayogera tebisobola kutuukirira.
Ate era, Nuuwa yabuuliranga abalala ebikwata ku nzikiriza ye. Baibuli egamba nti yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Awatali kubuusabuusa, Nuuwa yali amanyi nti wandibaddewo abawakanya by’akola. Jjajjaawe Enoka omusajja omutuukirivu yali yalagula nti Katonda ajja kusalira ababi omusango. Kino kirabika kyaleetera Enoka okuyigganyizibwa, naye Katonda teyakkiriza balabe be kumutta. (Olubereberye 5:18, 21-24; Abaebbulaniya 11:5; 12:1; Yuda 14, 15) Olw’okuba Setaani, dayimooni, Abanefuli, n’abantu abasinga obungi baali bamuyigganya oba nga tebeefiirayo, Nuuwa yalina okuba omuvumu era n’okukkiriza nti Yakuwa yali asobola okumukuuma.
Abaweereza ba Katonda bulijjo babadde baziyizibwa abo abatamuweereza. Yesu Kristo naye yakyayibwa, era n’abagoberezi be bwa batyo bwe baayisibwa. (Matayo 10:22; Yokaana 15:18) Nuuwa yali muvumu era yaweereza Katonda wadde ng’ekyo abasinga obungi kyali tekibasanyusa. Yali akimanyi nti okusanyusa Katonda kya muwendo nnyo okusinga okusanyusa abalabe ba Katonda. Nuuwa bw’atyo yasiimibwa mu maaso ga Katonda.
Nuuwa Yafaayo
Nga bwe tulabye, Nuuwa yabuulira abalala n’obuvumu. Obubaka bwe yababuulira baabutwala batya? Baibuli egamba nti ng’Amataba tegannajja, abantu baali ‘balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, ne batafaayo okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna.’ Abantu tebaawuliriza kulabula okwo.—Matayo 24:38, 39.
Yesu yagamba nti ne mu kiseera kyaffe bwe kityo bwe kyandibadde. Okumala emyaka egisoba mu kikumi, Abajulirwa ba Yakuwa babadde balabula abantu nti Yakuwa agenda kuleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi asobole okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okuteekawo ensi empya ey’obutuukirivu. Wadde ng’abantu abatemera mu bukadde bakkirizza obubaka obwo, abalala buwumbi na buwumbi tebafuddeeyo n’akatono. ‘Beerabidde’ nti Amataba gaaliyo era nti gaalina amakulu gye tuli.—2 Peetero 3:5, 13.
Kyokka Nuuwa ye yafaayo era yakolera ku ekyo Yakuwa Katonda kye yamugamba. Okuba omuwulize kyamuyamba okuwonawo. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Olw’okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n’atya bulungi n’asiba eryato olw’okulokola ennyumba ye.”—Abaebbulaniya 11:7.
Kyakulabirako Kirungi Okukoppa
Eryato Nuuwa lye yazimba lyali ddene nnyo—mu buwanvu lyali lisinga ekisaawe ky’omupiira, ate mu bugulumivu lyali lyenkana kalina ey’emyaliiro essatu. Lyali ddene okusinga emmeeri eyitibwa Wyoming eyali eweza ffuuti 100 obuwanvu era egambibwa okuba nti y’ekyasinzeeyo obunene mu ezo zonna ezaakolebwa mu mbaawo. Kya lwatu nti eryato lya Nuuwa teryalina kuba nga mmeeri; lyali lyetaaga kuba nga lisobola kutuula butuuzi ku mazzi. Wadde kyali kityo, okulizimba kyali kyetaagisa obukugu obw’ekika ekya waggulu. Ate lyalina okussibwako envumbo lyonna munda n’ebweru. Kirabika kyatwala emyaka egissuka 50 okulizimba.—Olubereberye 6:14-16.
Ng’oggyeko ekyo, Nuuwa yalina okukuŋŋaanya emmere ya mwaka mulamba okuliisa ab’omu maka ge n’ebisolo. Ng’Amataba tegannajja, ensolo zaalina okukuŋŋaanyizibwa n’okuyingizibwa mu lyato. ‘Bino byonna Nuuwa yabikola nga Katonda bwe yamulagira.’ Ng’ateekwa okuba yawulira bulungi nga buli kimu kiwedde, era Yakuwa n’aggalawo eryato!—Olubereberye 6:19-21; 7:5, 16.
Ebyo bwe byaggwa, Amataba ne gajja. Enkuba yatonnya emisana n’ekiro okumala ennaku 40. Bonna baalina okusigala mu lyato omwaka mulamba okutuusa amazzi lwe gaakalira. (Olubereberye 7:11, 12; 8:13-16) Abantu bonna ababi baazikirira. Nuuwa n’ab’omu maka ge be bokka abaawonawo okubeera mu nsi erongooseddwa.
Baibuli egamba nti Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa ‘kyakulabirako eky’ebintu ebigenda okujja.’ Mu ngeri ki? Baibuli egamba nti: “Eggulu erya kaakano n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda.” Nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, ne ku luno wajja kubaawo abawonawo. Beera mukakafu nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.”—2 Peetero 2:5, 6, 9, NW; 3:7.
Nuuwa yeemalira ku Katonda, era yali mutuukirivu mu mulembe omubi. Yatuukiriza byonna Katonda bye yamulagira okukola. Yalaga obuvumu n’akola ekituufu wadde nga yali akimanyi nti ekyo kyandimuleetedde okunyoomebwa n’okukyayibwa abo abaali batayagala kuweereza Katonda. Bwe tukoppa Nuuwa, naffe tujja kusanyusa Katonda era tufune essuubi ery’okununulibwa n’okuyingira mu nsi empya eneetera okujja.—Zabbuli 37:9, 10.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitundu “Ddala Baawangaalanga Nnyo bwe Batyo?” mu Awake! eya Jjulaayi 2007 olupapula 30.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 5]
Kyandiba nti ebikolwa by’Abanefuli eby’ettemu byogerwako mu nfumo ez’edda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Bwe tukoppa okukkiriza kwa Nuuwa, tujja kusiimibwa Katonda
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Alinari/Art Resource, NY