Essuula Eyomunaana
‘Okulwanyisa Emyoyo Emibi’
1. Lwaki ebikolwa by’emyoyo emibi bitukwatako nnyo?
ABANTU bangi tebakkiriza nti waliyo emyoyo emibi. Naye eno si nsonga erina okubuusibwa amaaso. Ka kibe nti abantu bakikkiriza oba nga tebakikkiriza, emyoyo emibi gye giri, era gigezaako okunyigiriza buli omu. Abasinza ba Yakuwa nabo banyigirizibwa. Mu butuufu be gisinga n’okwagala okunyigiriza. Omutume Pawulo atulabula ku nsonga eyo ng’agamba: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.” (Abeefeso 6:12) Mu kiseera kyaffe, okunyigirizibwa okuleetebwa emyoyo emibi kweyongedde nnyo kubanga Setaani yagobebwa mu ggulu era alina obusungu bungi, ng’amanyi nti alina ekiseera kitono.—Okubikkulirwa 12:12.
2. Tuyinza tutya okutuuka ku buwanguzi nga tulwanyisa emyoyo emibi?
2 Tusobola okutuuka ku buwanguzi nga tulwanyisa emyoyo emibi? Yee, singa twesiga Yakuwa mu bujjuvu. Tuteekwa okumuwuliriza n’okugondera Ekigambo kye. Bwe tukola bwe tutyo, tuyinza okwewala ebintu bingi ebirumya abantu mu nneewulira ey’omunda ne mu mubiri, ebituuka ku abo abafugibwa Setaani.—Yakobo 4:7.
Abafuzi b’Ensi mu Bifo Ebya Waggulu
3. Baani Setaani b’ayigganya ennyo, era atya?
3 Yakuwa atunnyonnyola bulungi embeera eri mu nsi ng’asinziira mu ggulu gy’ali. Yawa Omutume Yokaana okwolesebwa, Setaani mw’ayogerwako ‘ng’ogusota ogumyufu ogunene.’ Yali mwetegefu okusaanyawo Obwakabaka bwa Katonda obwa Masiya amangu ddala nga bwakazaalibwa mu ggulu mu 1914. Ng’alemereddwa okukola ekyo, Setaani yaleetera abakiikirira Obwakabaka obwo ku nsi okuyigganyizibwa ennyo. (Okubikkulirwa 12:3, 4, 13, 17) Setaani ekyo akikoze atya? Ng’ayitira mu bantu be abamukiikirira.
4. Ani nsibuko y’obuyinza bwa gavumenti z’abantu, era ekyo tukimanya tutya?
4 Yokaana ate yalagibwa ensolo erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi, eyalina obuyinza “ku buli kika, n’abantu n’olulimi n’eggwanga.” Ensolo eyo ekiikirira enteekateeka y’eby’obufuzi ey’ensi yonna. Yokaana yategeezebwa nti “ogusota [Setaani Omulyolyomi] gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n’entebe yaayo ey’obwakabaka.” (Okubikkulirwa 13:1, 2, 7) Yee, Setaani ye nsibuko y’amaanyi n’obuyinza bwa gavumenti z’abantu. Bwe kityo, ng’omutume Pawulo bwe yawandiika, ‘abafuga ensi’ bennyini, gye ‘myoyo emibi mu bifo ebya waggulu, era girina obuyinza ku gavumenti z’abantu.’ Bonna abaagala okusinza Yakuwa balina okutegeera obulungi ensonga eyo.—Lukka 4:5, 6.
5. Abafuzi bakuŋŋaanyizibwa eri ki?
5 Wadde abafuzi bangi beeyita bannaddiini, tewali ggwanga na limu ligondera bufuzi bwa Yakuwa oba obwa Kabaka gwe yateekawo, Yesu Kristo. Bakola kyonna kye basobola okusigala mu buyinza. Leero, ng’ekitabo ky’Okubikkulirwa bwe kiraga, “emizimu gya balubaale” gikuŋŋaanya abafuzi b’ensi eri “olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna,” ku Kalumagedoni.—Okubikkulirwa 16:13, 14, 16; 19:17-19.
6. Lwaki kyetaagisa obwegendereza okusobola okwewala okuwagira enteekateeka ya Setaani?
6 Buli lunaku, obulamu bw’abantu bukosebwa olw’obukuubagano mu by’obufuzi, eby’enfuna, n’eby’eddiini. Mu bukuubagano buno, kya bulijjo abantu okuwagira abo bwe bafaananya eggwanga, ekika oba olulimi, ka kibe mu bigambo oba mu bikolwa. Ne bwe kiba nti tebeenyigidde butereevu mu kakuubagano, bayinza okwesanga nga balina oludda lwe bawagira. Naye, ka babe nga bawagira muntu ki oba luuyi ki, ani ddala gwe baba bawagira? Baibuli eyogera kaati: ‘Ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi.’ (1 Yokaana 5:19, NW) Kati olwo, omuntu ayinza atya okwewala okubuzaabuzibwa wamu n’abantu abalala bonna? Ng’awagira Obwakabaka bwa Katonda mu bujjuvu era nga talina ludda lwonna lw’awagira mu bukuubagano bw’ensi.—Yokaana 17:15, 16.
Enkwe z’Omubi
7. Obukujjukujju bwa Setaani bulabibwa butya mu ngeri gy’akozesaamu eddiini ez’obulimba?
7 Mu bbanga lyonna eriyiseewo, Setaani akozesezza okuyigganyizibwa okusobola okuggya abantu mu kusinza okw’amazima. Era akozesezza engeri enneekusifu, obukujjukujju n’enkwe. Akuumidde abantu bangi mu kizikiza ng’akozesa eddiini ez’obulimba, n’abalowoozesa nti baweereza Katonda. Olw’obutamanya kituufu kikwata ku Katonda ate nga tebaagala mazima, bayinza okusikirizibwa emikolo gy’eddiini oba ne bawuniikirira olw’ebyamagero. (2 Abasessalonika 2:9, 10) Naye tulabulwa nti ne mu kusinza okw’amazima, “walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa basetaani.” (1 Timoseewo 4:1) Ekyo kiyinza kitya okubaawo?
8. Setaani ayinza atya okutusendasenda eri eddiini ez’obulimba wadde nga tusinza Yakuwa?
8 Mu ngeri ey’obukujjukujju, Omulyolyomi akozesa obunafu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, tutya abantu? Bwe kiba bwe kityo, bwe tupikirizibwa ab’eŋŋanda oba baliraanwa, tuyinza okwekkiriranya ne twenyigira mu bikolwa by’eddiini ez’obulimba. Tulina amalala? Bwe kiba bwe kityo, tuyinza okunyiiga nga tuwabuddwa oba abalala bwe batakkiriza ndowooza zaffe. (Engero 15:10; 29:25; 1 Timoseewo 6:3, 4) Mu kifo ky’okukyusa endowooza yaffe tukoppe ekyokulabirako kya Kristo, tuyinza okuwuliriza abo abagamba nti okusoma obusomi Baibuli n’okweyisa obulungi bimala. (2 Timoseewo 4:3) Ka tube nga twegasse ku ddiini endala oba nga tusigadde mu ddiini yaffe si kikulu eri Setaani. Ye ky’ayagala kwe kuba nti tetusinza Yakuwa mu ngeri gy’atulagira okuyitira mu Kigambo kye n’entegeka ye.
9. Setaani akozesa atya okwetaba okutuukiriza ebiruubirirwa bye?
9 Setaani era asendasenda abantu okutuukiriza okwegomba kwabwe okw’omu butonde mu ngeri enkyamu. Bw’atyo bw’akoze ku bikwata ku kwegomba okw’okwetaba. Nga beesamba emitindo gy’empisa egy’omu Baibuli, bangi mu nsi batunuulira okwetaba kw’abantu abatannafumbiriganwa ng’engeri ekkirizibwa ey’okwesanyusaamu oba ey’okulagamu nti bakuze. Ate abafumbo? Bangi benda. Ne bwe watabaawo butali bwesigwa mu bufumbo bwabwe, bangi baagala okugattululwa oba okwawukana basobole okubeera n’omuntu omulala. Ekiruubirirwa kya Setaani kwe kusendasenda abantu okwemalira ku masanyu kati, n’okubuusa amaaso akabi akayinza okubatuukako bo bennyini n’abalala, naye ate n’okusingira ddala ku nkolagana yaabwe ne Yakuwa awamu n’Omwana we.—1 Abakkolinso 6:9, 10; Abaggalatiya 6:7, 8.
10. Setaani akozesa ngeri ki okutusendasenda eri obugwenyufu n’ettemu?
10 Okwegomba okulala okw’omu butonde kwe kwagala okwesanyusaamu. Bwe kuba nga kuzimba, kuyinza okuganyula omuntu mu mubiri, mu birowoozo ne mu nneewulira ye ey’omunda. Naye tukola ki singa Setaani mu bukujjukujju akozesa eby’amasanyu okutuggya ku Katonda? Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti Yakuwa akyawa obugwenyufu n’ettemu. Firimu, programu z’oku ttivi, oba emizannyo gya katemba bwe mubaamu ebintu bino, tweyongera okubiraba? Kijjukire nti ebintu ng’ebyo Setaani ajja kwongera okubifuula ebibi ennyo ng’ekiseera kye eky’okuzikirizibwa kigenda kisembera, okuva “abantu ababi n’abeetulinkirira [bwe] balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:13) N’olwekyo tuteekwa okwekuuma enkwe za Setaani.—Olubereberye 6:13; Zabbuli 11:5; Abaruumi 1:24-32.
11. Mu ngeri ki n’omuntu amanyi ekituufu ekikwata ku by’obusamize gy’ayinza okutwalirizibwamu singa teyeegendereza?
11 Era tukimanyi nti abo abeenyigira mu busamize, nga balagula, nga baloga, oba nga bagezaako okwogera n’abafu ba muzizo eri Yakuwa. (Ekyamateeka 18:10-12) N’olw’ensonga eyo, tetusaanidde kwebuuza ku basamize wadde okubasembeza mu maka gaffe bakoleremu eby’obusamize. Naye twandibawulirizza nga bali ku ttivi oba ku Internet? Wadde nga tetuyinza kukkiriza bujjanjabi kuva eri omusamize, twandisibye akawuzi ku mukono gw’omwana eyakazaalibwa, nga tulowooza nti kajja kumukuuma aleme kutuukibwako kabi? Nga tumanyi nti Baibuli evumirira okuloga, twandyenyigidde mu ngeri yonna ey’obulogo?—Abaggalatiya 5:19-21.
12. (a) Ennyimba zikozesebwa zitya okutusendasenda eri ebintu bye tumanyi nti bikyamu? (b) Engeri omuntu gy’ayambalamu, omusono gw’enviiri ze, oba engeri gy’ayogeramu biraga bitya nti yeegomba abo Yakuwa b’akyawa? (c) Kiki kye tulina okukola bwe tuba ab’okwewala okutwalirizibwa enkwe za Setaani?
12 Baibuli egamba nti obwenzi n’obutali buyonjo obw’engeri zonna tebisaanidde na kwogerwako mu ffe nga tulina ebigendererwa ebibi. (Abeefeso 5:3-5) Naye kiba kitya singa ebintu ebyo bibeera mu nnyimba ezirina endongo ennungi? Tunaayimba ennyimba ng’ezo eziwagira omuntu okwetaba nga si mufumbo, okwekamirira amalagala olw’okwesanyusaamu, n’ebikolwa ebirala ebibi? Wadde nga tukimanyi nti tetusaanidde kukoppa nneeyisa y’abantu abenyigira mu bintu ng’ebyo, tukoppa engeri gye bambalamu, emisono gyabwe egy’enviiri oba engeri gye boogeramu? Nga Setaani akozesa engeri enneekusifu ennyo okusendasenda abantu bagoberere endowooza ye embi! (2 Abakkolinso 4:3, 4) Okwewala okutwalirizibwa enkwe ze, tuteekwa okwewala okukoppa ebiri mu nsi. Tuteekwa okujjukira baani ‘abafuga ensi ab’ekizikiza’ era ne tubalwanyisa.—1 Peetero 5:8.
Tulina Ebitusobozesa Okutuuka ku Buwanguzi
13. Tuyinza tutya okuwangula ensi Setaani gy’afuga wadde nga tetutuukiridde?
13 Nga tannafa, Yesu yagamba abatume be: “Mugume; nze mpangudde ensi.” (Yokaana 16:33) Nabo baali basobola okutuuka ku buwanguzi. Nga wayiseewo emyaka 60, omutume Yokaana yawandiika: “Awangula ensi ye ani, wabula [oyo] akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda?” (1 Yokaana 5:5) Okukkiriza ng’okwo tukulaga nga tugondera ebiragiro bya Yesu era nga twesigama ku Kigambo kya Katonda, nga Yesu bwe yakola. Kiki ekirala ekyetaagisa? Tusaanidde okusigala okumpi n’ekibiina ky’akulembera. Bwe tukola ekibi, tuteekwa okwenenya mu bwesimbu era ne tusaba Katonda okutusonyiwa okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Mu ngeri eno, wadde nga tetutuukiridde era nga tukola ensobi, naffe tuyinza okutuuka ku buwanguzi.—Zabbuli 130:3, 4.
14. Soma Abeefeso 6:13-17, era okozese ebibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa mu katundu kano okukubaganya ebirowoozo ku buli eky’okulwanyisa eky’eby’omwoyo.
14 Okusobola okutuuka ku buwanguzi, tuteekwa okubeera ‘n’eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda.’ Osabibwa okubikkula Baibuli yo mu Abeefeso 6:13-17, osome ku by’okulwanyisa ebyo. Ng’oddamu ebibuuzo ebyo wammanga, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuganyulwa mu bukuumi bwa buli kya kulwanyisa.
“Nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima”
Wadde nga tumanyi amazima, okwesomesa obutayosa, okufumiitiriza ku mazima g’omu Baibuli, n’okubaawo mu nkuŋŋaana bitukuuma bitya? (1 Abakkolinso 10:12, 13; 2 Abakkolinso 13:5; Abafiripi 4:8, 9)
“Eky’omu kifuba [eky’]obutuukirivu”
Ani ateekawo omutindo guno ogw’obutuukirivu? (Okubikkulirwa 15:3)
Laga engeri okulemererwa okugoberera emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu bwe kiyinza okuleetera omuntu akabi mu by’omwoyo. (Ekyamateeka 7:3, 4; 1 Samwiri 15:22, 23)
“Nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw’enjiri ey’emirembe”
Tukuumibwa tutya bwe tukozesa ebigere byaffe okugendanga eri abantu ne tubategeeza ku nteekateeka ya Katonda ey’emirembe? (Zabbuli 73:2, 3; Abaruumi 10:15; 1 Timoseewo 5:13)
“Engabo [ennene] ey’okukkiriza”
Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu, tunaakola tutya nga twolekaganye n’embeera ezituleetera okubuusabuusa oba okutya? (2 Bassekabaka 6:15-17; 2 Timoseewo 1:12)
“Sseppewo ey’obuloko[zi]”
Essuubi ery’obulokozi lituyamba litya obutatwalirizibwa bya bugagga? (1 Timoseewo 6:7-10, 19)
“Ekitala eky’omwoyo”
Kiki kye twandyesigamyengako nga tulwanyisa ebintu eby’akabi eri embeera yaffe ey’eby’omwoyo oba ey’abalala? (Zabbuli 119:98; Engero 3:5, 6; Matayo 4:3, 4)
Kiki ekirala ekyetaagisa okusobola okutuuka ku buwanguzi mu lutalo olw’eby’omwoyo? Twandikikozesezza kwenkana wa? Ku lw’ani? (Abeefeso 6:18, 19)
15. Tuyinza tutya okulwanyisa omulabe mu lutalo olw’eby’omwoyo?
15 Ng’abaserikale ba Kristo, tuli mu ggye eddene erirwana olutalo olw’eby’omwoyo. Bwe tusigala nga tuli bulindaala era ne tukozesa bulungi buli kya kulwanyisa ekiva eri Katonda, tetujja kufiira mu lutalo luno. Wabula, tujja kuzzaamu amaanyi baweereza bannaffe. Tujja kuba beetegefu okulwanyisa omulabe, nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda obwa Masiya, gavumenti ey’omu ggulu Setaani gy’aziyiza ennyo.
Eby’Okwejjukanya
• Lwaki abasinza ba Yakuwa tebalina ludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi?
• Nkwe ki Setaani z’akozesa okuleetera Abakristaayo okuddirira mu by’omwoyo?
• Eby’okulwanyisa eby’eby’omwoyo Katonda by’atuwa bitukuuma bitya mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 76]
Amawanga gakuŋŋaanyizibwa eri olutalo lwa Kalumagedoni