Omwoyo Guwa Obujulirwa n’Omwoyo Gwaffe
“Omwoyo gwennyini guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda.”—BAR. 8:16.
1-3. Bintu ki ebikulu ebyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti, era ebyo ebyaliwo byatuukiriza bunnabbi ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)
LWALI lwa Ssande ku ssaawa nga ssatu ez’oku makya. Olunaku olwo lwali lwa njawulo nnyo eri abo abaali mu Yerusaalemi. Lwali lunaku lwa mbaga ate era yali ssabbiiti. Ssaddaaka ezaaweebwangayo buli ku makya ku yeekaalu zaali zimaze okuweebwayo. Kati kabona asinga obukulu yali ateekateeka okuwaayo ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eky’emigaati ebiri emizimbulukuse egyakolebwa mu mmere ey’empeke eyali yaakakungulwa. (Leev. 23:15-20) Ekiweebwayo ekyo kyalaga nti amakungula g’eŋŋaano gaali gatandise. Omwaka gwali gwa 33 E.E., era lwali lunaku lwa Pentekooti.
2 Ebintu ebyo bwe byali bigenda mu maaso ku yeekaalu, waliwo ekintu ekikulu ennyo ekyali kinaatera okubaawo, si ku yeekaalu, wabula mu kisenge ekimu ekya waggulu mu Yerusaalemi. Waaliwo Abakristaayo nga 120 abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekyo nga basaba. (Bik. 1:13-15) Ekyo kabona asinga obukulu kye yakolanga ku lunaku lwa Pentekooti kyalina akakwate n’ekyo ekyali kinaatera okutuuka ku Bakristaayo abo, era ekyo ekyali kinaatera okubatuukako kyali kigenda kutuukiriza obunnabbi obwayogerwa nnabbi Yoweeri emyaka nga 800 emabega. (Yo. 2: 28-32; Bik. 2:16-21) Kintu ki ekikulu ekyali kigenda okubaawo?
3 Soma Ebikolwa 2:2-4. Omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku Bakristaayo abo abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu. (Bik. 1:8) Baatandika okwogera obunnabbi, kwe kugamba, okuwa obujulirwa ku bintu eby’ekitalo bye baali balabye era bye baali bawulidde. Peetero yayogera eri ekibiina ky’abantu abaakuŋŋaana n’abannyonnyola ebyo ebyali bibaddewo. Oluvannyuma yabagamba nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musobole okusonyiyibwa ebibi byammwe, era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.” Ku olwo, abantu nga 3,000 baakolera ku bigambo ebyo, ne babatizibwa, era ne bafuna omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa.—Bik. 2:37, 38, 41.
4. (a) Lwaki ebyo ebyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti bikulu nnyo gye tuli? (b) Kintu ki ekirala ekikulu ekiyinza okuba nga kyaliwo ku lunaku olwo lwe lumu emyaka mingi emabega? (Laba eby’okwetegereza.)
4 Lwaki olunaku lwa Pentekooti 33 E.E. lukulu nnyo gye tuli? Ekirufuula olukulu si by’ebyo ebyali bibaddewo ku yeekaalu mu Yerusaalemi. Wabula kwe kuba nti ku olwo Yesu Kristo, Kabona Asinga Obukulu, yatuukiriza ebyo ebyakolebwanga ku lunaku lwa Pentekooti.[1] Ku lunaku olwo kabona asinga obukulu yawaayo eri Yakuwa emigaati ebiri. Emigaati ebiri emizimbulukuse egyaweebwayo ku yeekaalu gyali gikiikirira abayigirizwa ba Yesu abaafukibwako amafuta abaalondebwa mu bantu abatatuukiridde okufuuka abaana ba Katonda. Bwe kityo, ekkubo lyaggulwawo okusobozesa ‘ebibala ebibereberye’ okuva mu bantu okugenda mu ggulu basobole okufuga mu Bwakabaka bwa Katonda obujja okuleetera abantu abawulize emikisa. (Yak. 1:18; 1 Peet. 2:9) N’olwekyo, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ebyo ebyaliwo ku lunaku olwo bikulu nnyo gye tuli!
ENGERI ABANTU GYE BAFUKIBWAKO OMWOYO OMUTUKUVU
5. Tumanya tutya nti abo bonna abafukibwako omwoyo omutukuvu tegubafukibwako mu ngeri y’emu?
5 Abayigirizwa abaali mu kisenge ekya waggulu baali tebasobola kwerabira lunaku olwo. Buli omu ku bo yatuulwako olulimi olulinga olw’omuliro era Yakuwa yabasobozesa okwogera ennimi ez’enjawulo. Tebaalimu kubuusabuusa kwonna nti baali bafukiddwako omwoyo omutukuvu. (Bik. 2:6-12) Naye, abo bonna abafukibwako omwoyo omutukuvu bafukibwako mu ngeri y’emu ng’abayigirizwa abo 120 bwe baafukibwako? Nedda. Abantu abalala abaali mu Yerusaalemi abaafukibwako omwoyo omutukuvu ku olwo, gwabafukibwako nga baakamala okubatizibwa. (Bik. 2:38) Ennimi ezaalinga ez’omuliro tezaabatuulako. Ate era tetuyinza kugamba nti abafukibwako omwoyo omutukuvu bonna gubafukibwako ku olwo lwe babatizibwa. Ng’ekyokulabirako, Abasamaliya baafukibwako omwoyo omutukuvu nga wayise ekiseera nga bamaze okubatizibwa. (Bik. 8:14-17) Ate ye Koluneeriyo n’ab’omu nnyumba ye baafukibwako omwoyo omutukuvu nga tebannaba na kubatizibwa, ekintu ekitaali kya bulijjo.—Bik. 10:44-48.
6. Kiki Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta kye baweebwa, era ekyo kibakwatako kitya?
6 N’olwekyo, abo bonna abafukibwako omwoyo omutukuvu tegubafukibwako mu ngeri y’emu. Abamu bakitegeererawo nti balondeddwa okugenda mu ggulu ate abalala bagenda bakimanya mpolampola. Naye ka kibe nti bakitegeereddewo oba nga bagenze bakitegeera mpolaampola, omutume Pawulo yalaga ekyo ekibatuukako. Yagamba nti: “Bwe mwamala okukkiriza mwateekebwako akabonero, kwe kugamba, omwoyo omutukuvu ogwasuubizibwa, nga buno bwe bukakafu obulaga nti tujja kufuna obusika bwaffe.” (Bef. 1:13, 14) N’olwekyo, Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa Abakristaayo abo akakalu oba obukakafu obulaga nti balondeddwa okugenda mu ggulu. Mu ngeri eyo, omwoyo omutukuvu gubaleetera okuba abakakafu nti mu biseera eby’omu maaso bajja kugenda mu ggulu babeere eyo emirembe gyonna.—Soma 2 Abakkolinso 1:21, 22; 5:5.
7. Kiki buli Mukristaayo eyafukibwako amafuta ky’alina okukola okusobola okufuna empeera ye mu ggulu?
7 Omukristaayo bw’afuna obukakafu obwo kiba kiraga nti mu buli ngeri ajja kugenda mu ggulu? Nedda. Omukristaayo oyo aba mukakafu nti alondeddwa. Naye bw’aba ow’okufuna empeera eyo ey’okugenda mu ggulu aba ateekwa okusigala nga mwesigwa. Peetero yagamba nti: “Olw’ensonga eyo ab’oluganda, mufube nnyo okunyweza okuyitibwa kwammwe n’okulondebwa kwammwe; kubanga bwe mweyongera okukola ebintu bino, temuligwa. Mu ngeri eyo, muliyingizibwa n’ekitiibwa mu bwakabaka obutaliggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.” (2 Peet. 1:10, 11) N’olwekyo, buli omu ku baafukibwako amafuta alina okufuba okusigala nga mwesigwa, kubanga ekyo bw’atakikola aba ajja kufiirwa empeera eyo.—Beb. 3:1; Kub. 2:10.
OMUNTU AMANYA ATYA?
8, 9. (a) Lwaki bangi kibazibuwalira okutegeera ekyo ekibaawo ng’omuntu afukiddwako amafuta? (b) Omuntu amanya atya nti alondeddwa okugenda mu ggulu?
8 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi leero kibazibuwalira okutegeera ekyo ekibaawo ng’omuntu afukiddwaako amafuta. Ekyo tekyewuunyisa kubanga bo baba tebaafukibwako mafuta. Katonda yatonda abantu nga ba kubeera ku nsi, so si mu ggulu. (Lub. 1:28; Zab. 37:29) Naye Katonda aliko abantu abamu b’alonze nga ba kuba bakabaka era bakabona mu ggulu. Omuntu bw’amala okulondebwa, engeri gy’alowoozaamu, engeri gy’atunuuliramu ebintu, n’essuubi ly’aba nalyo bikyuka.—Soma Abeefeso 1:18.
9 Naye omuntu amanya atya nti alondeddwa okugenda mu ggulu? Eky’okuddamu kiri mu bigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu Rooma, “abaayitibwa okubeera abatukuvu.” Yabagamba nti: “Temwaweebwa mwoyo gwa buddu oguddamu okuleeta okutya, naye mwaweebwa omwoyo ogw’okubafuula abaana, era olw’omwoyo ogwo twogerera waggulu nti, ‘Abba, Kitaffe!’ Omwoyo gwennyini guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda.” (Bar. 1:7; 8:15, 16) Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Katonda ayamba omuntu oyo okukimanya nti alondeddwa okuba omu ku abo abanaafugira awamu ne Kristo mu ggulu.—1 Bas. 2:12.
10. Bayibuli eba etegeeza ki bw’egamba nti Omukristaayo eyafukibwako amafuta teyeetaaga muntu yenna kumuyigiriza?
10 Abo Katonda b’aba alonze okugenda mu ggulu baba tebeetaaga bujulizi bulala okuva walala wonna. Tebeetaaga muntu mulala kubategeeza nti baafukibwako amafuta. Yakuwa tabalekaamu kubuusabuusa kwonna nti baalondebwa. Omutume Yokaana yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Oyo omutukuvu abafuseeko amafuta; mmwenna mumanyi amazima.” Yagattako nti: “Katonda yabafukako omwoyo gwe era omwoyo ogwo gusigala mu mmwe, era temwetaaga muntu yenna kubayigiriza; kubanga omwoyo gwe yabafukako gubayigiriza ebintu byonna, era gwa mazima era si gwa bulimba; era nga bwe gwabayigiriza, musigale nga muli bumu naye.” (1 Yok. 2:20, 27) Abaafukibwako amafuta nabo beetaaga okuyigirizibwa Yakuwa ng’abaweereza ba Yakuwa abalala bonna. Naye tebeetaaga muntu yenna kubakakasa nti ddala baafukibwako amafuta. Yakuwa aba yakozesa omwoyo gwe omutukuvu, nga gano ge maanyi agasingayo mu butonde bwonna, okubakakasa nti baalondebwa okufugira awamu ne Yesu mu ggulu!
‘BAZAALIBWA BUGGYA’
11, 12. Biki Omukristaayo aba afukiddwako amafuta by’ayinza okwebuuza, naye kiki ky’aba tabuusabuusa?
11 Omukristaayo bw’afukibwako omwoyo omutukuvu, wabaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ezimutuukako. Ekyo Yesu yakiyita ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,’ oba okuzaalibwa okuva waggulu.[2] (Yok. 3:3, 5) Era yagamba nti: “Teweewuunya kubanga nkugambye nti muteekwa okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri. Embuyaga ekuntira gy’eyagala, era owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva na gy’egenda. Bwe kityo bwe kiri eri oyo yenna azaaliddwa omwoyo.” (Yok. 3:7, 8) Mu butuufu, tekisoboka muntu ataafukibwako mafuta kutegeera ngeri oyo eyafukibwako amafuta gy’awuliramu.
12 Omuntu aba afukiddwako amafuta ayinza okwebuuza: ‘Lwaki Yakuwa alonze nze? Lwaki talonze muntu mulala?’ Oluusi ayinza n’okuwulira ng’atagwanira nkizo eyo. Naye taba na kubuusabuusa kwonna nti alondeddwa. Aba musanyufu nnyo era enkizo eyo agitwala nga ya muwendo nnyo. Awulira nga Peetero eyaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe, kubanga olw’obusaasizi bwe yatuzaala buggya ne tuba n’essuubi eddamu okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo ne tuba n’obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo. Obusika obwo bubaterekeddwa mu ggulu.” (1 Peet. 1:3, 4) Omuntu eyafukibwako amafuta bw’asoma ebigambo ebyo, tabaamu kubuusabuusa kwonna nti Kitaawe ow’omu ggulu ayogera gy’ali.
13. Omuntu bw’afukibwako omwoyo omutukuvu endowooza ye ekyuka etya, era kiki ekigikyusa?
13 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baali tebannalondebwa, baalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Baali beesunga ekiseera Yakuwa lw’ajja okutereeza ensi, era nga beesunga okubeera mu nsi eyo. Bayinza okuba nga baakubanga n’akafaananyi nga baaniriza abantu baabwe abaafa abanaaba bazuukiziddwa. Beesunganga okubeera mu mayumba ge bandibadde bazimbye n’okulya ku bibala by’emiti gye bandibadde basimbye. (Is. 65:21-23) Naye kiki ekyabaleetera okukyusa endowooza yaabwe? Tekiri nti baalekera awo okusiima emikisa abo abanaabeera ku nsi gye banaafuna. Ebizibu n’okweraliikirira si bye byabaleetera okukyusa endowooza yaabwe. Tebaakyusa ndowooza yaabwe lwa kuba nti baalowooza nti ekiseera kyandituuse ensi n’ebatama; era tebaayagala bwagazi kutuukako mu ggulu kulaba bwe wafaanana. Naye Katonda ye yakozesa omwoyo gwe n’akyusa endowooza yaabwe awamu n’essuubi lye baalina.
14. Abaafukibwako amafuta batwala batya obulamu bwe balina nga bakyali ku nsi?
14 Kati olwo tugambe nti abaafukibwako amafuta baagala okufa? Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Mu butuufu, ffe abali mu weema eno tusinda, nga tuzitoowererwa; si lwa kuba nti twagala okugyeyambulako naye lwa kuba twagala okwambala eri endala, obulamu obutaggwaawo busobole okumira omubiri ogufa.” (2 Kol. 5:4) Tekiri nti abaafukibwako amafuta bakooye obulamu buno era nti baagala bafe mangu batere bagende mu ggulu. Mu kifo ky’ekyo, baagala okukozesa buli kakisa ke bafuna okuweereza Yakuwa nga bali wamu ne mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe. Wadde kiri kityo, tebasobola kwerabira ssuubi lyabwe ery’ekitalo ery’okugenda mu ggulu.—1 Kol. 15:53; 2 Peet. 1:4; 1 Yok 3:2, 3; Kub. 20:6.
KATONDA YAKULONDA?
15. Biki omuntu by’atayinza kusinziirako kugamba nti yafukibwako amafuta?
15 Oyinza okuba nga weebuuza obanga naawe Yakuwa yakulonda. Bwe kiba nti olowooza bw’otyo, fumiitiriza ku bibuuzo bino. Owulira ng’oli munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira? Onyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda era oyagala nnyo okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba’? (1 Kol. 2:10) Okiraba nti Yakuwa awa obuweereza bwo omukisa? Owulira ng’oyagala nnyo okukola Katonda by’ayagala? Owulira ng’oyagala nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa? Okiraba nti Yakuwa akuyambye nnyo mu bulamu bwo? Bwe kiba nti ebibuuzo ebyo byonna obiddamu nti yee, ekyo kitegeeza nti wafukibwako amafuta? Nedda. Lwaki? Kubanga abaweereza ba Katonda bonna basobola okuwulira bwe batyo, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nedda. Yakuwa awa abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi omwoyo omutukuvu mu ngeri y’emu nga bw’aguwa n’abaafukibwako amafuta. Mu butuufu, bwe kiba nti olimu okubuusabuusa kwonna nti walondebwa okugenda mu ggulu, ekyo ku bwakyo kiba kiraga nti tewalondebwa. Abo Katonda b’alonda tebabaamu kubuusabuusa kwonna nti yabalonda! Baba bakakafu ddala!
16. Tumanya tutya nti si buli muntu aweebwa omwoyo gwa Katonda nti wa kugenda mu ggulu?
16 Ebyawandiikibwa byogera ku bantu abatali bamu abaali abeesigwa Yakuwa be yawa omwoyo gwe omutukuvu, naye nga tebaalina ssuubi lya kugenda mu ggulu. Yokaana Omubatiza y’omu ku bantu abo. Yesu yamwogerako bulungi naye era n’alaga nti Yokaana teyali omu ku abo abajja okufugira awamu naye mu ggulu. (Mat. 11:10, 11) Dawudi naye Yakuwa yamuwanga omwoyo gwe omutukuvu. (1 Sam. 16:13) Omwoyo omutukuvu gwamuyamba okutegeera ebintu eby’ebuziba ebikwata ku Katonda era gwamusobozesa n’okuwandiika ebitundu ebimu ebiri mu Bayibuli. (Mak. 12:36) Wadde kiri kityo, ku lunaku lwa Pentekooti, Peetero yagamba nti Dawudi “teyagenda mu ggulu.” (Bik. 2:34) Omwoyo omutukuvu gwasobozesa abasajja ng’abo okukola ebintu eby’ekitalo naye tegwabawa bujulirwa nti baali balondeddwa okuba mu abo abanaagenda mu ggulu. Ekyo tekitegeeza nti abaweereza ba Katonda abo tebaali beesigwa kimala. Wabula kitegeeza nti bajja kuzuukizibwa babeere mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi.—Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15.
17, 18. (a) Ssuubi ki abaweereza ba Katonda abasinga obungi leero lye balina? (b) Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
17 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi leero tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu. Essuubi lye balina lifaananako n’eryo Dawudi, Yokaana Omubatiza, n’abaweereza ba Yakuwa abalala abeesigwa abasajja n’abakazi lye baalina. Okufaananako Ibulayimu, beesunga okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Beb. 11:10) Leero abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi batono ddala. (Kub. 12:17) Ekyo kitegeeza nti abasinga obungi ku baafukibwako amafuta 144,000 baamala dda okufa era kati bali mu ggulu.
18 Kati olwo abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi banditunuulidde batya abo abagamba nti balina essuubi ery’okugenda mu ggulu? Bwe wabaawo mu kibiina kyaffe atandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, twandimuyisizza tutya? Twandifuddeyo nnyo ku ky’okuba nti omuwendo gw’abo abalya ku mugaati era abanywa ne ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo gweyongedde? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
^ [1] (akatundu 4) Kirabika olunaku lwa Pentekooti lukwatagana n’olunaku Yakuwa lwe yaweerako Abaisiraeri Amateeka ku lusozi Sinaayi. (Kuv. 19:1) Bwe kiba kityo, kiba kitegeeza nti nga Musa bwe yakozesebwa okuyingiza Abaisiraeri mu ndagaano y’Amateeka ku lunaku olwo, ne Yesu Kristo ku olwo lwe yayingiza eggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo, mu ndagaano empya.
^ [2] (akatundu 11) Okumanya ebisingawo ku kye kitegeeza okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, laba Omunaala gw’Omukuumi, Jjulaayi 1, 2009, lup. 3-11.