ESSOMO 28
Laga nti Osiima Ekyo Yakuwa ne Yesu Kye Baakukolera
Owulira otya mukwano gwo bw’akuwa ekirabo ekirungi? Awatali kubuusabuusa, osanyuka nnyo era oba oyagala okulaga mukwano gwo oyo nti osiimye ekirabo ekyo. Yakuwa ne Yesu baatuwa ekirabo ekisingayo obulungi. Kirabo ki ekyo, era tuyinza tutya okulaga nti tukisiima?
1. Engeri emu gye tulagamu nti tusiima ekyo Katonda ne Kristo kye baatukolera y’eruwa?
Bayibuli egamba nti ‘buli muntu yenna akkiririza mu Yesu’ asobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Kitegeeza ki okukkiririza mu Yesu? Tetulina kukoma ku kugamba bugambi nti tumukkiririzaamu. Tulina okwoleka okukkiriza okwo mu bintu bye tusalawo ne bye tukola. (Yakobo 2:17) Bye twogera ne bye tukola bwe bikyoleka nti tulina okukkiriza, enkolagana yaffe ne Yesu awamu ne Kitaawe, Yakuwa, yeeyongera okunywera.—Soma Yokaana 14:21.
2. Mukolo ki omukulu ennyo ogutusobozesa okulaga nti tusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera?
Mu kiro kye yasembayo okuba n’abatume be nga tannattibwa, Yesu yabuulira abagoberezi be engeri endala gye bandirazeemu nti basiima ssaddaaka gye yawaayo. Yatandikawo omukolo ogw’okujjukira okufa kwe Bayibuli gw’eyita ‘eky’Ekiro kya Mukama Waffe.’ (1 Abakkolinso 11:20) Yesu yatandikawo omukolo ogwo kisobozese abatume be, awamu n’Abakristaayo abalala bonna ab’amazima, okujjukiranga nti yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Bwe yatandikawo omukolo ogwo, Yesu yagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (Lukka 22:19) Bw’obeerawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu, oba okiraga nti osiima Yakuwa ne Yesu olw’okwagala okungi kwe baatulaga.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri endala gy’oyinza okukyolekamu nti osiima Yakuwa ne Yesu olw’okwagala okungi kwe baatulaga. Laba ensonga lwaki omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu mukulu nnyo.
3. Okusiima kutuleetera okubaako kye tukolawo
Ka tugambe nti obadde ogenda kubbira mu mazzi omuntu n’ajja n’akutaasa. Wandyerabidde omuntu oyo ky’akukoledde? Oba wandibaddeko ky’okolawo ekiraga nti osiimye ekyo ky’akukoledde?
Yakuwa ye yatuwa obulamu. Soma 1 Yokaana 4:8-10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki ssaddaaka ya Yesu kirabo kya muwendo nnyo?
Owulira otya bw’olowooza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye baakukolera?
Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera? Soma 2 Abakkolinso 5:15 ne 1 Yokaana 4:11; 5:3. Oluvannyuma lw’okusoma buli kimu ku byawandiikibwa ebyo, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, kiki kye tuyinza okukola okulaga nti tusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera?
4. Koppa Yesu
Engeri endala gye tulagamu nti tusiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera kwe kukoppa Yesu. Soma 1 Peetero 2:21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Oyinza otya okutambulira mu bigere bya Yesu?
5. Beerangawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu
Okusobola okumanya ekyaliwo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe ogwasookera ddala, soma Lukka 22:14, 19, 20. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Kiki ekyaliwo ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe?
Omugaati n’envinnyo bikiikirira ki?—Laba olunyiriri 19, 20.
Yesu yali ayagala abayigirizwa be bakwatenga eky’Ekiro kya Mukama Waffe omulundi gumu buli mwaka ku lunaku lwe yafiirako. N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakuŋŋaana buli mwaka okujjukira okufa kwa Kristo, era ng’omukolo ogwo bagukwata mu ngeri gye yalagira gukwatibwemu. Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku mukolo ogwo omukulu ennyo, laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Kiki ekibaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu?
Omugaati n’envinnyo birina kye bikiikirira. Omugaati gukiikirira omubiri gwa Yesu ogutuukiridde gwe yawaayo nga ssaddaaka ku lwaffe. Envinnyo ekiikirira omusaayi gwe
ABAMU BAGAMBA NTI: “Ekintu kyokka kye weetaaga okukola okusobola okulokolebwa kwe kukkiririza mu Yesu.”
Oyinza otya okukozesa Yokaana 3:16 ne Yakobo 2:17 okubalaga nti okukkiririza mu Yesu kyokka tekimala?
MU BUFUNZE
Tukiraga nti tusiima ekyo Yesu kye yatukolera nga tumukkiririzaamu era nga tubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwe.
Okwejjukanya
Kitegeeza ki okukkiririza mu Yesu?
Kiki kye wandyagadde okukola okulaga nti osiima ekyo Yakuwa ne Yesu kye baakukolera?
Lwaki kikulu nnyo okubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu?
LABA EBISINGAWO
Okuba nti Kristo yatufiirira kyanditukubirizza kukola ki?
Yiga ebisingawo ebikwata ku kukkiriza n’engeri gye tusobola okukwolekamu.
“Kirage nti Okkiririza mu Bisuubizo bya Yakuwa” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 2016)
Mu kitundu ekirina omutwe, “Omutima Tegukyannumiriza olw’Ebibi Bye Nnakola, era Nnyumirwa Obulamu,” laba engeri okuyiga ebikwata ku ssaddaaka ya Kristo gye kyakwata ku bulamu bw’omukyala omu.
“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Agusito 1, 2011)
Laba ensonga lwaki batono nnyo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu.