Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
“Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”—MATAYO 22:39.
1. Tulaga tutya nti twagala Katonda?
KIKI Yakuwa kye yeetaaza abo abamusinza? Mu bigambo bitono, Yesu yawa eky’okuddamu. Yagamba nti etteeka erisingayo obukulu kwe kwagala Yakuwa n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna era n’amaanyi go gonna. (Matayo 22:37; Makko 12:30) Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, okwagala Katonda kuzingiramu okumugondera era n’okukuuma amateeka ge olw’okwagala kw’atulaze. Eri abo abaagala Katonda, tebakitwala nti mugugu okukola by’ayagala; kibawa essanyu.—Zabbuli 40:8; 1 Yokaana 5:2, 3.
2, 3. Lwaki twandifuddeyo ku tteeka erikwata ku kwagala muliraanwa, era bibuuzo ki ebijjawo?
2 Yesu yagamba nti etteeka ery’okubiri ekkulu likwataganyizibwa n’erisooka: “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:39) Etteeka lino lye tugenda okwekenneenya, era waliwo ensonga ennungi okulyekenneenya. Mu kiseera kino kye tulimu, abantu balina endowooza enkyamu ku kwagala. Omutume Pawulo yagamba nti mu ‘nnaku ez’oluvannyuma,’ abantu bandibadde tebaagala balala, wabula nga beeyagala bokka, baagala ssente era n’amasanyu. Bangi bandibadde ‘tebaagalana,’ oba ng’enzivvuunula ya Baibuli emu bw’egamba, bandibadde ‘tebaagala ba mu maka gaabwe.’ (2 Timoseewo 3:1-4) Yesu Kristo yalagula nti: “Bangi . . . baliwaŋŋanayo, balikyawagana. . . . okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”—Matayo 24:10, 12.
3 Kyokka, kyetegereze nti Yesu teyagamba nti okwagala kwa buli omu kuliwola. Bulijjo wabaddewo abantu abooleka okwagala era wajja kweyongera okubaawo abantu abooleka okwagala ng’okwo Yakuwa kw’atwetaaza era kwagwanidde okulagibwa. Abo abaagala Yakuwa bajja okufuba okutunuulira abalala nga Yakuwa bw’abatunuulira. Naye, muliraanwa waffe gwe tuteekwa okwagala y’ani? Tuyinza tutya okulaga muliraanwa waffe okwagala? Ebyawandiikibwa bisobola okutuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo ebikulu.
Muliraanwa Wange y’Ani?
4. Okusinziira ku Eby’Abaleevi essuula 19, Abayudaaya baalina kulaga ani okwagala?
4 Bwe yagamba Omufalisaayo nti etteeka ery’okubiri ekkulu kwe kwagala muliraanwa nga bwe weeyagala wekka, Yesu yali ayogera ku limu ku mateeka agaaweebwa Isiraeri. Lisangibwa mu Eby’Abaleevi 19:18. Mu ssuula eyo y’emu Abayudaaya baagambibwa okutwala abantu abalala nga baliraanwa baabwe so si Baisiraeri bannaabwe bokka. Olunyiriri 34 lugamba: “Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng’enzaalwa mu mmwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y’e Misiri.” Bwe kityo, abataali Bayudaaya, naddala abakyufu baalina okulagibwa okwagala.
5. Abayudaaya baategeera batya etteeka ery’okwagala muliraanwa?
5 Kyokka, abakulembeze b’Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Yesu, ensonga eyo baagitegeera bulala. Abamu baayigiriza nti ebigambo “ow’omukwano” ne “muliraanwa,” birina kukozesebwa ku Bayudaaya bokka. Abo bataali Bayudaaya baalina okukyayibwa. Abasomesa ng’abo baagamba nti abo abasinza Katonda balina okunyooma abo abatamusinza. Ekitabo ekimu kigamba nti, “mu mbeera ng’eyo, obukyayi bwali bulina okweyongera. Waaliwo ekyali kisibukako obukyayi.”
6. Bintu ki ebibiri Yesu bye yayogerako bwe yali ayogera ku kwagala muliraanwa?
6 Mu Kubuulira kwe okw’oku Lusozi, Yesu yayogera ku nsonga eno era n’alaga ani alina okulagibwa okwagala. Yagamba: “Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno, okyawanga mulabe wo: naye mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Matayo 5:43-45) Wano Yesu yayogera ku bintu bibiri. Ekisooka, Yakuwa mugabi era alaga ekisa bombi abalungi n’ababi. Eky’okubiri, tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kye.
7. Kiki kye tuyiga okuva ku lugero lw’Omusamaliya omulungi?
7 Ku mulundi omulala, Omuyudaaya eyali amanyi obulungi Amateeka yabuuza Yesu nti: “Muliraanwa wange ye ani?” Yesu yamuddamu ng’amugerera olugero olukwata ku Musamaliya eyasanga omusajja Omuyudaaya eyali agudde mu batemu era ne bamunyagako n’ebintu bye. Wadde ng’okutwalira awamu Abayudaaya baali banyooma Abasamaliya, Omusamaliya yasiba ebiwundu by’omusajja oyo era n’amutwala mu nnyumba y’abagenyi, ajjanjabibwe. Kiki kye tuyigamu? Okwagala kwaffe eri muliraanwa tekusaanidde kukoma ku bantu ba langi yaffe, ggwanga oba ddiini.—Lukka 10:25, 29, 30, 33-37.
Tuyinza Tutya Okulaga Muliraanwa Waffe Okwagala?
8. Eby’Abaleevi essuula 19 eyogera ki ku ngeri y’okulagamu okwagala?
8 Okwagala muliraanwa, okufaananako okwagala Katonda, si nneewulira bwewulira; kizingiramu ebikolwa. Kya muganyulo okweyongera okwekenneenya ebyawandiikibwa ebiriraanye etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 19 erikubiriza abantu ba Katonda okwagala baliraanwa baabwe nga bwe beeyagala bokka. Mu ssuula eyo tusoma nti Abaisiraeri baali balina okukkiriza abaavu ne bannaggwanga okugabana ku makungula gaabwe. Tebaalina kubba, kulimba oba okulyazamanya. Mu kusala emisango Abaisiraeri baali tebalina kwekubiira. Wadde nga baalina okukangavvula nga kyetaagisizza, baagambibwa nti: “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo.” Ebiragiro bino n’ebirala biwuumbibwawuumbibwako mu bigambo bino: “Onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.”— Eby’Abaleevi 19:9-11, 15, 17, 18.
9. Lwaki Yakuwa yalagira Abaisiraeri okweyawula ku mawanga amalala?
9 Wadde ng’Abaisiraeri baalina okulaga abalala okwagala, tebaalina kukolagana n’abo abaali basinza ba katonda ab’obulimba. Yakuwa yalabula ku kabi n’ebyandivudde mu kuba n’emikwano emibi. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku mawanga Abaisiraeri ge baalina okugoba mu nsi Katonda gye yali abasuubiza, Yakuwa yagamba: “So tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo. Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga ba Katonda abalala: Obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe.”—Ekyamateeka 7:3, 4.
10. Baani be tusaanidde okwewala?
10 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo beewala okukola omukwano n’abo abayinza okunafuya okukkiriza kwabwe. (1 Abakkolinso 15:33) Tukubirizibwa bwe tuti: “Temwegattanga na batakkiriza,” abo abatali mu kibiina Ekikristaayo. (2 Abakkolinso 6:14) Ate era, Abakristaayo bakubirizibwa okuwasanga “mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 7:39) Kyokka, tetunyoomanga abo bwe tutali bumu mu kukkiriza. Kristo yafiiririra aboonoonyi, era abantu bangi abeenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu baakyusa amakubo gaabwe ne batabagana ne Katonda.—Abaruumi 5:8; 1 Abakkolinso 6:9-11.
11. Ngeri ki esingayo obulungi ey’okulagamu okwagala abo abataweereza Yakuwa era lwaki?
11 Engeri esingayo obulungi ey’okulagamu okwagala abo abataweereza Katonda, kwe kukoppa Yakuwa kennyini. Wadde nga tayagala bubi, alaga bonna ekisa eky’ensusso ng’abakolera enteekateeka ezibasobozesa okuva mu makubo gaabwe amabi basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Ezeekyeri 18:23) Yakuwa ayagala “bonna batuuke okwenenya.” (2 Peetero 3:9) Ayagala ‘abantu bonna okulokoka, era n’okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Eno ye nsonga lwaki Yesu yawa abagoberezi be omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza ‘n’okufuula abantu ab’amawanga gonna abayigirizwa.’ (Matayo 28:19, 20) Bwe twenyigira mu mulimu guno, tulaga Katonda ne muliraanwa okwagala, nga mw’otwalidde n’abalabe baffe!
Okwagala Baganda Baffe Abakristaayo
12. Kiki omutume Yokaana kye yawandiika ekikwata ku kwagala baganda baffe?
12 Omutume Pawulo yagamba: “Tubakolerenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Ng’Abakristaayo, tuvunaanyizibwa okulaga okwagala abo bwe tuli obumu mu kukkiriza—baganda baffe ab’eby’omwoyo. Okwagala kuno kukulu kwenkana wa? Ng’ayogera ku nsonga eno, omutume Yokaana yawandiika: “Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi . . . Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yokaana 3:15; 4:20) Ebigambo bino bya maanyi. Yesu Kristo yakozesa ebigambo ‘omussi,’ ne ‘omulimba’ ku Setaani Omulyolyomi. (Yokaana 8:44) Tetwandyagadde n’akamu ebigambo ebyo okukozesebwa ku ffe!
13. Tuyinza tutya okulaga bakkiriza bannaffe okwagala?
13 Abakristaayo ab’amazima ‘bayigirizibwa Katonda okwagalananga.’ (1 Abasessaloniika 4:9) Tulina okwagala si mu ‘bigambo n’olulimi, naye mu bikolwa ne mu mazima.’ (1 Yokaana 3:18) Okwagala kwaffe kwandibadde “kwa mazima.” (Abaruumi 12:9) Okwagala kutukubiriza okuba ab’ekisa, abasaasizi, okusonyiwa, okuba abagumiikiriza, obutaba ba buggya, obutaba ba malala, obuteekulumbaza, oba obuteerowoozaako. (1 Abakkolinso 13:4, 5; Abaefeso 4:32) Kutukubiriza ‘okuweerezegana ffekka na ffekka.’ (Abaggalatiya 5:13) Yesu yagamba abayigirizwa be okwagalana nga ye bwe yabaagala. (Yokaana 13:34) N’olwekyo Omukristaayo yandibadde mwetegefu okufiirira bakkiriza banne bwe kiba nga kyetaagisa.
14. Tuyinza tutya okulaga okwagala mu maka?
14 Okusingira ddala okwagala kwandyeyolese mu maka Amakristaayo naddala wakati w’omwami n’omukyala. Omukwano wakati w’abafumbo gwa ku lusegere nnyo ne kiba nti Pawulo yatuuka n’okugamba: “Abasajja [basaanidde] okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini.” Yagattako: “Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka.” (Abaefeso 5:28) Pawulo addiŋŋana okubuulirira okwo mu Abaefeso 5:33. Omwami ayagala mukazi we tajja kukoppa Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Malaki abaakuusakuusa bannaabwe mu bufumbo. (Malaki 2:14) Ajja kulaga mukyala we okwagala. Ajja kumwagala nga Kristo bwe yayagala ekibiina. Mu ngeri y’emu, okwagala kujja kuleetera omukyala okussa ekitiibwa mu mwami we.—Abaefeso 5:25, 29-33.
15. Okwagalana ffekka na ffekka okwalagibwa mu bikolwa kwaviirako abamu kwogera ki na kukola ki?
15 Kya lwatu, okwagala okw’ekika kino, kwawulawo Abakristaayo ab’amazima. Yesu yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Okwagalana ffekka na ffekka kusikiriza abantu eri Katonda gwe twagala era gwe tukiikirira. Ng’ekyokulabirako, mu Mozambique twafuna alipoota eno ekwata ku maka agamu ag’Abajulirwa. “Twali tetulabangako kintu kikyefaananyirizaako. Olweggulo, embuyaga ey’amaanyi yatandika okukunta era oluvannyuma enkuba ey’amaanyi erimu n’omuzira yatandika okutonnya. Embuyaga ey’amaanyi yasuula ennyumba yaffe ey’emmuli era n’ettikulako n’amabaati. Baganda baffe okuva mu bibiina eby’omuliraano bwe bajja okutuyamba okuddamu okuzimba ennyumba yaffe, baliraanwa baffe beewuunya era ne bagamba nti: ‘Eddiini yammwe nnungi nnyo. Tetufunaangako buyambi ng’obwo okuva mu makanisa gaffe.’ Twabikkula Baibuli ne tubasomera Yokaana 13:34, 35. Kati bangi ku baliraanwa baffe basoma Baibuli.”
Okwagala Abantu Kinnoomu
16. Njawulo ki eriwo wakati w’okwagala abantu awamu ng’ekibinja n’okwagala abantu kinnoomu?
16 Si kizibu okwagala baliraanwa baffe bonna awamu, ng’ekibinja. Kyokka, kiyinza obutaba kyangu okwagala abantu kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, abamu balaga okwagala eri baliraanwa baabwe nga bawaayo buwi ssente oba ebintu eri ebibiina ebigaba obuyambi. Mazima ddala, kiba kyangu okugamba nti twagala muliraanwa waffe okusinga okulaga okwagala mukozi munnaffe alabika ng’atatufaako, muliraanwa waffe omubi ennyo oba mukwano gwaffe atunyiiza.
17, 18. Yesu yagala atya okwagala eri abantu kinnoomu era yalina kiruubirirwa ki mu kukola ekyo?
17 Ku nsonga eno ey’okwagala abantu kinnoomu, tulina kye tuyigira ku Yesu eyakoppera ddala engeri za Katonda. Wadde yajja ku nsi okuggyawo ebibi by’ensi, yalaga okwagala eri abantu kinnoomu—omukazi omulwadde, omugenge era n’omwana. (Matayo 9:20-22; Makko 1:40-42; 7:26, 29, 30; Yokaana 1:29) Mu ngeri y’emu tulaga baliraanwa baffe okwagala okuyitira mu ngeri gye tukolaganamu n’abantu kinnoomu be tusanga buli lunaku.
18 Kyokka, tetwerabiranga nti okwagala muliraanwa kulina akakwate n’okwagala Katonda. Wadde Yesu yayamba abaavu, yawonnya abalwadde n’aliisa abayala, ekiruubirirwa kye mu kukola ebintu bino byonna wamu n’okuyigiriza ebibiina by’abantu, kyali okubatabaganya ne Yakuwa. (2 Abakkolinso 5:19) Yesu yakola ebintu byonna okugulumiza Katonda, nga teyeerabira nti yali akiikirira era ng’ayoleka engeri za Katonda gwe yali ayagala. (1 Abakkolinso 10:31) Bwe tukoppa Yesu, naffe tusobola okulaga baliraanwa baffe okwagala okwannamaddala ate mu kiseera kye kimu ne tutaba kitundu kya nsi eno embi.
Tuyinza Tutya Okwagala Baliraanwa nga bwe Tweyagala Ffekka?
19, 20. Kitegeeza ki okwagala muliraanwa nga bwe tweyagala ffekka?
19 Yesu yagamba: ‘Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Kya bulijjo okwefaako n’okwewa ekitiibwa mu ngeri esaanidde. Singa tekyali bwe kityo, etteeka eryo teryandibadde na makulu. Okwefaako mu ngeri eno si kye kimu n’okweyagala ffekka omutume Pawulo kwe yayogerako mu 2 Timoseewo 3:2. Wabula kwe kwerowoozaako mu ngeri etegudde lubege. Omwekenneenya omu owa Baibuli yakwogerako nga “okwagala okutagudde lubege, okuviirako omuntu obuteetwala kuba ‘wa waggulu’ oba okuba ‘owa wa nsi.’”
20 Okwagala abalala nga bwe tweyagala ffekka kitegeeza okutunuulira abalala nga bwe twandyagadde batutunuulire era n’okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise. Yesu yagamba: “Byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Weetegereze Yesu teyagamba nti twandyemalidde ku ebyo abalala bye baatukola mu biseera eby’emabega tusobole okubayisa nga bo bwe baatuyisa. Wabula, twandirowoozezza ku ngeri gye twagala okuyisibwamu olwo ne tulyoka tuyisa abalala mu ngeri eyo. Era weetegereze nti Yesu ebigambo bye tebikwata ku mikwano gyaffe na baluganda bokka. Yakozesa ekigambo ‘abantu’ oboolyawo okulaga nti twandyeyisizza mu ngeri eyo eri abantu bonna, kwe kugamba, buli muntu gwe tusanga.
21. Bwe tulaga abalala okwagala twoleka ki?
21 Okwagala muliraanwa kijja kutuziyiza okukola ekibi. Omutume Pawulo yagamba: “[Ekiragiro] kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n’etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. Okwagala tekukola bubi muntu munne.” (Abaruumi 13:9, 10) Okwagala kujja kutuleetera okunoonya engeri ey’okukoleramu abalala ebirungi. Bwe twagala bantu bannaffe, tulaga nti twagala oyo eyatonda omuntu mu kifaananyi kye, Yakuwa Katonda.—Olubereberye 1:26.
Wandizzeemu Otya?
• Ani gwe twandiraze okwagala era lwaki?
• Tuyinza tutya okulaga okwagala abo abataweereza Yakuwa?
• Baibuli eyogera etya ku kwagala kwe twandiraze baganda baffe?
• Kitegeeza ki okwagala baliraanwa baffe nga bwe tweyagala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
“Muliraanwa wange y’ani?”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Yesu ayagala abantu kinnoomu