ESSUULA 17
“Mwezimbire ku Musingi ogw’Okukkiriza Kwammwe Okutukuvu Ennyo”
“Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo . . . [mwekuumire] mu kwagala kwa Katonda.”—YUDA 20, 21.
1, 2. Mulimu ki ogw’okuzimba gwe wenyigiddemu, era lwaki engeri gy’ozimbamu nkulu nnyo?
KA TUGAMBE nti olina ekizimbe ky’ozimba. Omulimu ogukola na maanyi, era gujja kutwala ekiseera ekiwerera ddala. Wadde omulimu ogwo muzibu naye gukuleetera essanyu. Ka kibe ki ekinaabaawo, oli mumalirivu obutalekulira wadde okuddirira olw’okuba engeri gy’ozimbamu ekizimbe ekyo erina kinene ky’ejja okukola ku bulamu bwo kati era ne mu biseera eby’omu maaso. Lwaki? Kubanga ekizimbe ekyo ekizimbibwa ye ggwe kennyini!
2 Omuyigirizwa Yuda yalaga obukulu bw’okwezimba mu ngeri eyo, bwe yagamba nti: “Mwezimbire ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo.” (Yuda 20, 21) Abakristaayo bwe bakola ekyo, bajja kusigala mu “kwagala kwa Katonda.” Tuyinza tutya ‘okwezimba’ ne tuba n’okukkiriza okunywevu? Ka twekenneenye ebintu bisatu ebiyinza okutuyamba okukola ekyo.
WEEYONGERE OKWESIGA AMATEEKA GA YAKUWA
3-5. (a) Sitaani ayagala obeere na ndowooza ki ku mateeka ga Yakuwa? (b) Twanditunuulidde tutya amateeka ga Katonda, era ekyo kinaatuleetera kuwulira tutya? Waayo ekyokulabirako.
3 Okusookera ddala, tulina okwongera okwesiga amateeka ga Katonda. Bw’obadde osoma akatabo kano, otegedde amateeka ga Yakuwa agakwata ku mpisa. Ogatwala otya? Sitaani ayagala okukulimbalimba olowooze nti amateeka ga Yakuwa, emisingi gye, n’emitindo gye bikugira era binyigiriza. Sitaani amaze ebbanga ddene ng’akozesa akakodyo ako era yakakozesa okulimbalimba Kaawa mu Adeni. (Olubereberye 3:1-6) Naawe anaasobola okukulimbalimba ng’akozesa akakodyo ako? Ekyo kijja kusinziira ku ndowooza gy’olina ku mateeka ga Yakuwa.
4 Okuwaayo ekyokulabirako: Ka tugambe nti obadde otambulatambulako mu kifo ekirabika obulungi, n’olaba ekikomera ekiwanvu ekikugira abantu okugenda ku luuyi olumu olw’ekifo ekyo. Kyokka by’olengera ku luuyi olwo bisikiriza nnyo. Okusooka, oyinza okulowooza nti ekikomera ekyo tekyetaagisa kubanga kikulemesa okugenda ku luuyi olwo. Kyokka, bwe weeyongera okwetegereza ebiri ku luuyi olwo, olaba empologoma ng’eriko ensolo gy’esooberera. Awo okitegeera nti ekikomera ekyo kyateekebwawo ku lwa bulungi bwo. Waliwo omulabe yenna akusooberera mu kiseera kino? Ekigambo kya Katonda kitulabula nti: “Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala. Omulabe wammwe Omulyolyomi atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”—1 Peetero 5:8.
5 Sitaani, omulabe waffe, mukambwe nnyo. Olw’okuba Yakuwa tayagala Sitaani atulye, ataddewo amateeka agatukuuma tuleme okugwa mu ‘nkwe’ za Sitaani. (Abeefeso 6:11) N’olwekyo, tusaanidde okijjukiranga nti amateeka ga Katonda gooleka okwagala kwe. Singa tutunuulira amateeka ga Katonda mu ngeri eyo, tujja kugatwala ng’agatukuuma era agatuleetera essanyu. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Oyo eyeetegereza amateeka agaatuukirira, ag’eddembe, era n’aganyiikiriramu . . . ajja kuba musanyufu mu kukola bw’atyo.”—Yakobo 1:25.
6. Kiki ekiyinza okutuyamba okwesiga amateeka ga Katonda? Waayo ekyokulabirako.
6 Bwe tugondera amateeka ga Katonda twongera okugeesiga era n’okukiraba nti ga muganyulo gye tuli. Ng’ekyokulabirako, “etteeka lya Kristo” lizingiramu ekiragiro kya Yesu eky’okuyigiriza abalala ‘byonna bye yalagira.’ (Abaggalatiya 6:2; Matayo 28:19, 20) Abakristaayo era bagondera ekiragiro ky’okukuŋŋaananga awamu okusobola okusinza n’okuzimbagana. (Abebbulaniya 10:24, 25) Ate era, mu biragiro bya Katonda, mulimu ebitukubiriza okusaba Yakuwa obutayosa okuviira ddala ku mutima. (Matayo 6:5-8; 1 Abassessalonika 5:17) Bwe tugondera ebiragiro ng’ebyo, tweyongera okukiraba nti bituganyula era nti kitusobozesa n’okufuna essanyu n’obumativu bye tutayinza kufuna walala wonna mu nsi eno embi. Bw’ofumiitiriza ku ngeri gy’oganyuddwa mu kugondera amateeka ga Katonda, tekikuleetera kweyongera kugeesiga?
7, 8. Ekigambo kya Katonda kizzaamu kitya amaanyi abo abatya nti ekiseera kiyinza okutuuka ne balemererwa okunywerera ku mateeka ga Yakuwa?
7 Oluusi abamu batya nti oluvannyuma lw’ekiseera bayinza okulemererwa okugondera amateeka ga Yakuwa. Bwe kiba nti naawe olina endowooza ng’eyo, fumiitiriza ku bigambo bino: “Nze Yakuwa, nze Katonda wo, akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata. Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” (Isaaya 48:17, 18) Wali osiriikiriddemu n’ofumiitirizza ku ngeri ebigambo ebyo gye bizzaamu amaanyi?
8 Mu bigambo ebyo Yakuwa atujjukiza nti tuganyulwa bwe tumugondera. Asuubiza okutuwa emikisa gya mirundi ebiri singa tumugondera. Okusooka, emirembe gyaffe gijja kuba ng’omugga, kwe kugamba, tujja kuba bateefu, nga tulina emirembe mingi. Eky’okubiri, obutuukirivu bwaffe bujja kuba ng’amayengo g’ennyanja. Bw’oyimirira ku lubalama lw’ennyanja n’olaba amayengo, awatali kubuusabuusa oba mukakafu nti amayengo ago gajja kubeerawo ekiseera kyonna. Yakuwa agamba nti obutuukirivu bwo busobola okubeera ng’amayengo ago. Bw’onoofuba okuba omwesigwa gy’ali, tajja kukuleka kugwa. (Soma Zabbuli 55:22.) Ebigambo ng’ebyo tebikuleetera kweyongera kwesiga Yakuwa n’amateeka ge?
‘FUBA OKUKULA’
9, 10. (a) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okuba n’ekiruubirirwa eky’okukula mu by’omwoyo? (b) Lwaki omuntu atunuulira ebintu mu ngeri ey’eby’omwoyo aba musanyufu?
9 Ekintu eky’okubiri ky’olina okukola okusobola okwezimba n’oba n’okukkiriza okunywevu kiragibwa mu bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Ka tufube okukula.” (Abebbulaniya 6:1) Kikulu nnyo Abakristaayo okuba n’ekiruubirirwa eky’okukula mu by’omwoyo. Wadde nga tetusobola kubeera bantu abatuukiridde mu kiseera kino, tusobola okubeera abakulu mu by’omwoyo. Ate era Abakristaayo bafuna essanyu ppitirivu bwe baweereza Yakuwa nga bakulu mu by’omwoyo. Lwaki kiri bwe kityo?
10 Omukristaayo akuze mu by’omwoyo atunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira. (Yokaana 4:23) Pawulo yawandiika nti: “Abo abagoberera omubiri balowooza bya mubiri, naye abo abagoberera omwoyo balowooza bya mwoyo.” (Abaruumi 8:5) Omuntu atunuulira ebintu mu ngeri ey’omubiri taba musanyufu, kubanga aba yeerowoozaako yekka, aba talaba wala, era ebirowoozo bye biba ku bya bugagga. Kyokka, omuntu atunuulira ebintu mu ngeri ey’eby’omwoyo aba musanyufu, kubanga aba alowooza ku Yakuwa, “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:1) Omuntu afaayo ku by’omwoyo aba ayagala nnyo okusanyusa Yakuwa era aba musanyufu ne bw’aba ng’agezesebwa. Lwaki? Ebigezo bimuwa akakisa okulaga nti Sitaani mulimba era n’okweyongera okwesiga Yakuwa; ekyo kisanyusa nnyo Kitaffe ow’omu ggulu.—Engero 27:11; Soma Yakobo 1:2, 3.
11, 12. (a) Kiki Pawulo kye yayogera ku “busobozi bw’okutegeera” obw’Omukristaayo, era makulu ki agali mu kigambo ekyavvuunulwa “okutendeka”? (b) Omwana omuto n’omuzannyi w’emizannyo batendekebwa batya?
11 Okusobola okukula mu by’omwoyo kyetaagisa okwetendeka. Lowooza ku lunyiriri luno: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu, abo abakozesa obusobozi bwabwe obw’okutegeera, bwe batyo ne babutendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.” (Abebbulaniya 5:14) Pawulo bwe yali ayogera ku ‘kutendeka’ obusobozi bwaffe obw’okutegeera, yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekisobola okutegeeza ‘okutendekebwa ng’omuzannyi,’ era kirabika kyakozesebwanga nnyo mu kyasa ekyasooka mu Buyonaani mu bifo abazannyi b’emizannyo gye beetendekeranga. Kati lowooza ku ebyo ebizingirwa mu kutendekebwa okwo.
12 Bwe twali twakazaalibwa, emibiri gyaffe tegyali mitendeke. Ng’ekyokulabirako, omwana omuwere tasobola kutegeera w’aba atadde ebigere bye oba emikono gye. Eyo ye nsonga lwaki amala gawuuba emikono gye, ne yeekuba ne mu maaso, era ekyo oluusi kirumya omwana oyo omuwere. Naye mpolampola agenda yeeyongera okukozesa ebitundu bye eby’omubiri, bw’atyo n’atendeka omubiri gwe. Oluvannyuma, omwana oyo atandika okwavula, okutambula, n’okudduka.a Naye ate kiri kitya eri abazannyi b’emizannyo? Bw’olaba omuzannyi ng’abuuka era ne yeefuula mu bbanga mu ngeri eyoleka obukugu, toba na kubuusabuusa kwonna nti omubiri gwe agutendese okumala ebbanga ddene. Obumanyirivu bw’omuzannyi oyo buba tebwajja buzzi bwokka—yamala ebbanga ddene nga yeetendeka. Bayibuli egamba nti okutendeka omubiri mu ngeri ng’eyo “kugasa kitono.” Nga kikulu nnyo n’okusingawo okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera!—1 Timoseewo 4:8.
13. Tusobola tutya okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera?
13 Mu katabo kano twogedde ku bintu bingi ebijja okukuyamba okutendeka obusobozi bwo obw’okutegeera osobole okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa era ng’ofaayo ku by’omwoyo. Mu byonna by’osalawo saba era ofumiitirize ku mateeka ge. Mu buli ky’oba ogenda okusalawo, weebuuze: ‘Mateeka ki oba misingi ki egya Bayibuli egikwata ku nsonga eno? Nnyinza ntya okugissa mu nkola? Kiki ekinaasanyusa Kitange ow’omu ggulu?’ (Soma Engero 3:5, 6; Yakobo 1:5.) Buli lw’onoosalawo ng’osoose kulowooza ku misingi n’amateeka ga Katonda, ojja kuba otendeka obusobozi bwo obw’okutegeera. Ekyo kijja kukuyamba okukula mu by’omwoyo era n’okusigala ng’oli munywevu.
14. Twetaaga kuba na kuyoya ki okusobola okukula mu by’omwoyo, naye kiki kye tulina okwegendereza?
14 Wadde ng’omuntu asobola okulekera awo okukula mu mubiri, okukula mu by’omwoyo kwo tekukoma. Omuntu tasobola kukula bw’aba talya mmere. Bwe kityo Pawulo yagamba nti: “Emmere enkalubo ya bantu bakulu.” N’olwekyo, okusobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi weetaaga okweyongera okulya emmere enkalubo ey’eby’omwoyo. Bw’onooteeka mu nkola by’oyiga, kijja kulaga nti oli wa magezi, era Bayibuli egamba nti: “Amagezi kye kintu ekisinga obukulu.” N’olwekyo, twetaaga okuba n’ennyonta ey’okufuna amazima agava eri Kitaffe. (Engero 4:5-7; 1 Peetero 2:2) Kyokka, okuba n’okumanya n’amagezi agava eri Katonda tekirina kutufuula ba malala. Twetaaga okwekebera buli kiseera si kulwa nga tufuna amalala oba obunafu obw’engeri endala ne busimba amakanda mu mitima gyaffe. Pawulo yagamba nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.”—2 Abakkolinso 13:5.
15. Lwaki kitwetaagisa okuba n’okwagala okusobola okukula mu by’omwoyo?
15 Omulimu gw’okuzimba ennyumba guyinza okuggwa, naye emirimu gy’okugikuuma ng’eri mu mbeera nnungi gyeyongera bweyongezi. Kikulu nnyo okugiddaabiriza, era wayinza n’okubaawo embeera ezitwetaagisa okwongerako ebisenge ebirala. Kiki kye twetaaga okusobola okukula mu by’omwoyo era n’okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo? Ekisinga byonna obukulu kwe kwagala. Twetaaga okweyongera okukulaakulanya okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaffe. Bwe tutaba na kwagala, byonna bye tumanyi n’ebyo bye tukola biba tebigasa. (1 Abakkolinso 13:1-3) Naye bwe tuba n’okwagala, tusobola okweyongera okukula mu by’omwoyo.
EBIROWOOZO BYO BITEEKE KU SSUUBI YAKUWA LY’ATUWA
16. Sitaani aleetera abantu kuba na ndowooza ki enkyamu, naye kiki Yakuwa ky’atuwa ekisobola okutukuuma?
16 Ka twogere ku kintu ekirala ekikwata ku mulimu gwo ogw’okuzimba. Omugoberezi wa Kristo yenna okusobola okwezimba, alina okufuga ebirowoozo bye. Sitaani, omufuzi w’ensi eno, aleetera abantu okulowooza ebintu ebimalamu amaanyi, obutaba na ssuubi, era n’obuteesiga balala. (Abeefeso 2:2) Ebintu ng’ebyo bya kabi nnyo eri Omukristaayo ng’embaawo eziwumbye bwe ziba ez’akabi eri ekizimbe eky’embaawo. Naye ekirungi kiri nti, Yakuwa atuwadde ekintu ekisobola okutuyamba, nga lino lye ssuubi.
17. Ekigambo kya Katonda kiraga kitya obukulu bw’okuba n’essuubi?
17 Bayibuli eyogera ku by’okulwanyisa eby’omwoyo bye twetaaga okusobola okulwanyisa Sitaani n’ensi eno. Ekimu ku by’okulwanyisa ebyo ekikulu ennyo y’enkoofiira, nga lino lye ‘ssuubi ery’obulokozi.’ (1 Abassessalonika 5:8) Omusirikale ow’omu biseera bya Bayibuli yabanga akimanyi nti tayinza kuwonawo mu lutalo nga tayambadde nkoofiira. Enkoofiira ezo okusinga zaakolebwanga mu kyuma nga munda waazo waliyo ekigoye ekigumu ennyo oba eddiba, era zaali zisobola bulungi okukuuma omutwe. Ng’enkoofiira bwe yakuumanga omutwe, n’essuubi nalyo lisobola okukuuma ebirowoozo byo.
18, 19. Yesu yakiraga atya nti kikulu okuba n’essuubi, era tuyinza tutya okumukoppa?
18 Yesu kye kyokulabirako ekisinga ekiraga nti kikulu okuba n’essuubi. Lowooza ku bizibu bye yayolekagana nabyo mu kiro ekyasembayo alyoke attibwe. Mukwano gwe ow’oku lusegere yamulyamu olukwe olw’okwagala ssente. Omulala yamwegaana ate abalala baamwabulira. Abantu b’eggwanga lye baamwefuulira, era ne bapikiriza amagye g’Abaruumi okumutta. Awatali kubuusabuusa Yesu yayolekagana n’ebigezo eby’amaanyi ennyo ffe bye tutagenda kwolekagana nabyo. Kiki ekyamuyamba? Abebbulaniya 12:2, wagamba nti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona, okuswala n’atakutwala ng’ekikulu, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” Yesu yassa ebirowoozo bye ku ‘ssanyu eryateekebwa mu maaso ge.’
19 Ssanyu ki eryateekebwa mu maaso ga Yesu? Yesu yali akimanya nti okugumira ebizibu ebyo kyandimuviiriddeko okutukuza erinnya lya Yakuwa. Kyandimusobozesezza okuwa obukakafu obusingirayo ddala obulaga nti Sitaani mulimba. Tewali ssuubi lya ngeri ndala yonna eryandireetedde Yesu okufuna essanyu erisinga awo! Ate era yali akimanyi nti Yakuwa yandimuwadde empeera nnene olw’okubeera omwesigwa—mu kaseera katono yali agenda kuddamu okubeera ne Kitaawe ow’omu ggulu. Yesu ebirowoozo bye yabissa ku ssuubi eryo bwe yali mu mbeera enzibu. Naffe twetaaga okukola kye kimu. Naffe tulina essanyu eriteekeddwa mu maaso gaffe. Yakuwa awa buli omu ku ffe enkizo ey’okutukuza erinnya lye ekkulu. Tusobola okulaga nti Sitaani mulimba nga tulondawo Yakuwa okuba Omufuzi waffe era nga twekuumira mu kwagala kwe ka tube nga twolekaganye na kigezo ki oba kikemo ki.
20. Kiki ekinaakuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu era n’essuubi?
20 Yakuwa ayagala nnyo okuwa abaweereza be abeesigwa empeera. (Isaaya 30:18; soma Malaki 3:10.) Kimusanyusa okuwa abaweereza be ebintu ebirungi omutima gwabwe bye gwagala. (Zabbuli 37:4) N’olwekyo, ebirowoozo byo biteeke ku ssuubi eriteekeddwa mu maaso go. Totwalirizibwanga ndowooza nkyamu ezimalamu amaanyi eziri mu nsi ya Sitaani eno. Bw’olaba ng’omwoyo gw’ensi gutandise okusensera ebirowoozo byo n’omutima gwo, weegayirire nnyo Yakuwa akuwe ‘emirembe egisingira ewala okutegeera kwonna.’ Emirembe gya Katonda egyo gijja kukuuma omutima gwo n’obusobozi bwo obw’okutegeera.—Abafiripi 4:6, 7.
21, 22. (a) Biki ‘ab’ekibiina ekinene’ bye beesunga? (b) Kiki ky’osinga okwesunga mu biseera eby’omu maaso, era omaliridde kukola ki?
21 Nga tulina ebintu ebirungi bingi bye tusuubira! Bw’oba oli omu ku ‘b’ekibiina ekinene’ abajja ‘okuyita mu kibonyoobonyo ekinene,’ lowooza ku bulamu bw’onootera okufuna. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Sitaani ne badayimooni be bwe banaggibwawo, ojja kufuna obuweerero bw’otosobola na kuteebereza mu kiseera kino. Ggwe ate, ani ku ffe eyali abaddeko mu bulamu obutaliimu bizibu Sitaani by’aleeta? Ebizibu ebyo bwe binaaba bimaze okuggwaawo, nga kinaaba kya ssanyu okwenyigira mu kufuula ensi eno olusuku lwa Katonda nga tufugibwa Yesu awamu ne 144,000 abanaafugira awamu naye mu ggulu! Twesunga nnyo okulaba abʼezaffe ne mikwano gyaffe abanaazuukizibwa, okulaba ng’obulwadde bwonna buggiddwawo, n’okubeera mu bulamu Katonda bwe yali atwagaliza okubeeramu! Bwe tunaagenda tufuulibwa abatuukiridde, empeera esingako n’awo ejja kugenda yeeyongera okusembera, nga lino lye ssuubi eriragibwa mu Abaruumi 8:21—Essuubi ery’okufuna “[e]ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.”
22 Yakuwa ayagala ofune eddembe lingi nnyo okusinga ne ku eryo ly’osuubira. Naye okusobola okufuna eddembe eryo, kikwetaagisa okuba omuwulize. Ddala tewandifubye nnyo buli lunaku okugondera Yakuwa? Awatali kubuusabuusa. N’olwekyo, weeyongere okwezimbira mu kukkiriza kwo okutukuvu ennyo, kikusobozese okwekuumira mu kwagala kwa Katonda emirembe gyonna!
a Bannasayansi bagamba nti tufuna obusobozi obw’enjawulo obutusobozesa okumanya wa we tuteeka emikono gyaffe n’ebigere byaffe. Ng’ekyokulabirako, olw’obusobozi obwo osobola okukuba mu ngalo ng’ozibiridde. Omukyala omu eyalwala n’aba nga takyalina busobozi buno yali tasobola kuyimirira, kutambula, wadde okutuula.