Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Okubikkulirwa—I
NGA musibe ku kizinga ky’e Patumo, Omutume Yokaana akaddiye afuna okwolesebwa kwa mirundi 16. Mu kwolesebwa okwo, Yokaana alaba ebyo Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bye bakola mu lunaku lwa Mukama waffe—okuva Obwakabaka bwa Katonda lwe bussibwawo mu 1914 okutuukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Ekitabo ky’Okubikkulirwa ekyawandiikibwa Yokaana awo nga mu 96 E.E., kirimu ebintu ebiwuniikiriza.
Ka twetegereze ebimu ku bikulu ebiri mu Okubikkulirwa 1:1–12:17, omuli okwolesebwa okw’emirundi omusanvu Yokaana kwe yasooka okufuna. Ebiri mu kwolesebwa okwo bitukwatako kubanga biraga ebintu ebiriwo mu kiseera kino, n’ebyo Yakuwa by’agenda okukola mu biseera ebitali bya wala. Abo abasoma ababisoma era ne babikkiririzaamu babudaabudibwa nnyo era baddamu amaanyi.—Beb. 4:12.
KU BUBONERO OMUSANVU “OMWANA GW’ENDIGA” ABEMBULAKO MUKAAGA
Okusooka, Yokaana alaba Yesu Kristo eyagulumizibwa, era aweebwa obubaka bw’alina ‘okuwandiika mu kitabo akiweereze ekkanisa omusanvu.’ (Kub. 1:10, 11) Addako okwolesebwa entebe y’Obwakabaka ng’eri mu kifo kyayo mu ggulu. Ku mukono ogwa ddyo ogw’Oyo agituddeko waliyo ekitabo ekisibiddwa obubonero musanvu. Omuntu ‘asaanidde okwanjuluza ekitabo’ ekyo si mulala wabula ye “Empologoma ow’omu kika kya Yuda,” oba “Omwana gw’endiga . . . alina amayembe [o]musanvu, n’amaaso [o]musanvu.”—Kub. 4:2; 5:1, 2, 5, 6.
Okwolesebwa okw’okusatu kulaga ekyo ekibaawo ‘ng’Omwana gw’endiga’ abembudde obubonero omukaaga obusooka kamu ku kamu. Bw’abembula akabonero ak’omukaaga, wabaawo ekikankano ekinene era olunaku olukulu olw’obusungu lutuuka. (Kub. 6:1, 12, 17) Naye okwolesebwa okuddako kulaga ‘bamalayika bana nga bakutte empewo nnya ez’ensi,’ okutuusa nga 144,000 bamaze okuteekebwako akabonero. “Ekibiina ekinene” eky’abo abatateekeddwako kabonero balabibwa nga “bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga.”—Kub. 7:1, 9.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:4; 3:1; 4:5; 5:6—Ebigambo “emyoyo omusanvu” bitegeeza ki? Mu Baibuli, nnamba musaanvu ekiikirira ekintu ekijjuvu. N’olwekyo, obubaka eri “ekkanisa omusanvu” bukwata ku bantu ba Katonda bonna abali mu bibiina ebisukka mu 100,000 okwetooloola ensi. (Kub. 1:11, 20) Olw’okuba Katonda agaba omwoyo omutukuvu okusinziira ku ekyo ky’aba ayagala gutuukirize, ebigambo “emyoyo omusanvu” biraga nti omwoyo omutukuvu gukola mu bujjuvu nga guyamba abo abassaayo omwoyo ku bunnabbi buno okubutegeera era ne bafuna emikisa. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, bingi ku bintu ebyogerwako biri musanvu musanvu. Ennamba musanvu mu kitabo kino ekiikirira ekintu ekijjuvu, era mu butuufu, ebiri mu kitabo kino bikwata ku ‘kutuukirizibwa,’ oba okumalirizibwa, ‘kw’ekyama kya Katonda.’—Kub. 10:7.
1:8, 17—“Alufa ne Omega” ne “ow’[O]lubereberye era ow’[E]nkomerero” be baani? Ekitiibwa “Alufa ne Omega” kya Yakuwa, era kiraga nti tewaali Katonda muyinza wa bintu byonna okusooka ye era tewaliba alimuddirira. Ye kwe ‘kusooka era ye nkomerero.’ (Kub. 21:6; 22:13) Wadde nga Yakuwa y’ayogerwako nga “ow’olubereberye era ow’enkomerero” mu Okubikkulirwa 22:13 (NW), kwe kugamba nti teri yamusooka oba alimuddirira, kyeyoleka bulungi nti ekitiibwa “ow’[O]lubereberye era ow’[E]nkomerero” ekisangibwa mu ssuula esooka ey’ekitabo ky’Okubikkulirwa kya Yesu Kristo. Ye yali ow’olubereberye era ow’enkomerero Yakuwa kennyini gwe yazuukiza ng’omuntu ow’omwoyo n’amuwa obutafa.—Bak. 1:18.
2:7—‘Olusuku lwa Katonda’ kye ki? Olw’okuba ebigambo bino byawandiikirwa Bakristaayo abaafukibwako amafuta, olusuku olwo lulina okuba nga lukiikirira ettwale ery’omu ggulu—wennyini Katonda w’abeera. Abaafukibwako amafuta abeesigwa bajja kuweebwa omukisa okulya ku “muti ogw’obulamu.” Bajja kwambala obutafa.—1 Kol. 15:53.
3:7—Yesu yaweebwa ddi “ekisumuluzo kya Dawudi,” era abadde akikozesa atya? Bwe yabatizibwa mu 29 E.E., Yesu yatongozebwa nga Kabaka ow’omu lunyiriri lwa Dawudi. Kyokka, Yesu teyaweebwa kisumuluzo kya Dawudi okutuusa mu 33 E.E., lwe yatuuzibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu ggulu. Olwo lwe yasikira Obwakabaka bwa Dawudi mu bujjuvu. Okuva olwo, Yesu abadde akozesa ekisumuluzo ekyo okuggulawo emikisa n’enkizo ez’obuweereza obukwata ku Bwakabaka. Mu 1919, Yesu yateeka “ekisumuluzo eky’ennyumba ya Dawudi” ku kibegabega ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ ng’amulonda okulabirira “ebintu bye byonna.”—Is. 22:22; Mat. 24:45, 47.
3:12—‘Erinnya eriggya’ erya Yesu lye liruwa? Erinnya lino likwata ku kifo kya Yesu ekiggya awamu n’enkizo endala. (Baf. 2:9-11) Wadde ng’erinnya eryo tewali ayinza kulitegeera nga Yesu bw’alitegeera, Yesu aliwandiika ku baganda be abeesigwa abagenda mu ggulu, n’ateekawo enkolagana ey’okulusegere nabo. (Kub. 19:12) Era n’enkizo z’alina azigabana nabo.
Bye Tuyigamu:
1:3. Olw’okuba ‘ekiseera kiri kumpi’ omusango Katonda gwe yasalira ensi ya Setaani okuteekebwa mu nkola, kyetaagisa okutegeera mu bwangu obubaka obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa n’okubukolerako.
3:17, 18. Okusobola okuba abagagga mu by’omwoyo, twetaaga okugula ku Yesu ‘zaabu eyalongoosebwa mu muliro.’ Kino kitegeeza nti tulina okufuba okuba abagagga mu bikolwa ebirungi. (1 Tim. 6:17-19) Era tulina okwambala “engoye enjeru” eziraga nti tuli bagoberezi ba Kristo, n’okukozesa “eddagala ery’okusiiga ku maaso,” gamba ng’okubuulirira okufulumira mu Omunaala gw’Omukuumi, tusobole okutegeera eby’omwoyo.—Kub. 19:8.
7:13, 14. Abakadde 24 bakiikirira 144,000 nga bali mu bitiibwa byabwe mu ggulu, gye baweerereza nga bakabaka era nga bakabona. Mu Isiraeri ey’edda, abakadde bano baali bakiikirirwa bakabona, Kabaka Dawudi be yayawulamu ebibinja 24. Omu ku bakadde abo abikkulira Yokaana ebikwata ku kibiina ekinene. N’olwekyo, okuzuukizibwa kw’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kuteekwa okuba nga kwatandika ng’omwaka 1935 tegunnatuuka. Lwaki? Kubanga mu mwaka ogwo abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta abaali ku nsi we baategeerera ekibiina ekinene.—Luk. 22:28-30; Kub. 4:4; 7:9.
AKABONERO AK’OMUSANVU KABEMBULWA, OBUGOMBE MUSANVU NE BUFUUYIBWA
Omwana gw’endiga abembula akabonero ak’omusanvu. Bamalayika musanvu baweebwa obugombe musanvu. Mukaaga ku bo bafuuwa obugombe bwabwe nga balangirira obubaka obw’omusango ku ‘kitundu eky’okusatu’ eky’abantu—Kristendomu. (Kub. 8:1, 2, 7-12; 9:15, 18) Ebyo Yokaana by’alaba mu kwolesebwa okw’okutaano. Mu kwolesebwa okuddako, Yokaana alagirwa okulya akatabo era apima Yeekaalu ya Katonda. Akagombe ak’omusanvu bwe kafuuyibwa, amaloboozi ag’omwanguka galangirira nti: “Obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we.”—Kub. 10:10; 11:1, 15.
Okwolesebwa okw’omusanvu kutangaaza ku ebyo ebiri mu Okubikkulirwa 11:15, 17. Akabonero akakulu kalabibwa mu ggulu. Omukazi ow’omu ggulu azaala omwana ow’obulenzi. Omulyolyomi asuulibwa okuva mu ggulu. Olw’okusunguwalira ennyo omukazi, agenda “okulwana n’ab’omu zzadde lye abaasigalawo.”—Kub. 12:1, 5, 9, 17.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
8:1-5—Lwaki waaliyo akasiriikiriro mu ggulu, era oluvannyuma kiki ekyasuulibwa ku nsi? Mu ggulu waaliwo akasiriikiriro ak’akabonero kisobozese ‘okusaba kw’abatukuvu’ abali ku nsi okuwulirwa. Kino kyaliwo ku nkomerero ya ssematalo eyasooka. Ku nkomerero y’Ebiseera by’Ab’amawanga, Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebaatwalibwa mu ggulu nga bangi ku bo bwe baali basuubira. Baafuna ebizibu bingi nnyo mu kiseera ekyo. Bwe kityo baasaba nnyo okufuna obulagirizi. Okusaba kwabwe kwaddibwamu malayika bwe yasuula ku nsi omuliro ogw’akabonero ne gubayamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo. Wadde nga baali batono, baatandika kaweefube ow’okubuulira Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna, mu ngeri eyo ne bakuma omuliro ku Kristendomu. Waaliwo okulabula okuva mu Baibuli okubwatuka ng’eggulu, ebintu bingi ebiri mu Byawandiikibwa byamanyisibwa, era eddiini ez’obulimba zakankanyizibwa ng’ebizimbe bwe bikankanyizibwa musisi.
8:6-12; 9:1, 13; 11:15—Bamalayika omusanvu baateekateeka ddi okufuuwa obugombe bwabwe, baabufuuwa ddi era mu ngeri ki? Okuteekateeka okufuuwa obugombe omusanvu kwaliwo okuva mu 1919 okutuuka mu 1922, era kwazingiramu okuwa obulagirizi ab’ekibiina kya Yokaana ku nsi abaali bazziddwamu amaanyi. Mu kiseera ekyo abaafukibwako amafuta abo baddamu okuteekateeka omulimu gw’okubuulira era n’okuzimba ebifo awakubirwa ebitabo. (Kub. 12:13, 14) Okufuuwa obugombe kukiikirira okulangirira n’obuvumu emisango Yakuwa gye yasalira ensi ya Setaani okukolebwa abantu ba Katonda nga bakolera wamu ne bamalayika. Okulangirira okwo kwatandikira mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwaliwo mu Cedar Point, Ohio, mu 1922, era kujja kugenda mu maaso okutuusiza ddala mu kibonyoobonyo ekinene.
8:13; 9:12; 11:14 (NW)—Mu ngeri ki obugombe obusatu obusembayo gye buli “ekibonyoobonyo”? Obugombe obuna obusooka okufuuyibwa bwanika engeri Kristendomu gy’eri enfu mu by’omwoyo, ng’ate bwo obusatu obusembayo bibonyoobonyo olw’okuba bukwatira ddala ku bintu ebituukawo. Akagombe ak’okutaano kakwata ku kuteebwa kw’abantu ba Katonda okuva mu ‘bunnya obutakoma,’ ng’eno ye mbeera gye baalimu mu 1919 nga tebamanyi kya kukola, ne batandika okuwa obujulirwa awatali kuddirira, ekintu ekyafuuka ekibonyoobonyo eri Kristendomu. (Kub. 9:1) Akagombe ak’omukaaga kakwata ku ggye ery’amaanyi ennyo eriri ku mbalaasi, ne ku kaweefube ow’okubuulira mu nsi yonna eyatandikibwa mu 1922. Akagombe akasembayo kakwata ku kuzaalibwa kwa Bwakabaka bwa Masiya.
Bye Tuyigamu:
9:10, 19. Obubaka obuva mu Baibuli obuli mu bitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bulinga obusagwa. (Mat. 24:45) Obubaka buno bwogerwako ng’emikira gy’enzige “egifaanana ng’enjaba ez’obusagwa,” era ng’embalaasi ezirina “emikira gyazo [nga] gifaanana ng’emisota.” Lwaki? Kubanga ebitabo bino byogera ku ‘lunaku lwa Yakuwa olw’okuwalaniramu eggwanga.’ (Is. 61:2) Ka tube bavumu era banyiikivu mu kugaba ebitabo bino.
9:20, 21. Abantu abawombeefu bangi abali mu mawanga agatakkiririza mu Baibuli bakkiriza obubaka bwe tubabuulira. Kyokka, tetukisuubira nti abantu abali mu mawanga ago, aboogerwako ‘ng’abantu abasigaddewo,’ bajja kukyuka kirindi bafuuke abakkiriza. Wadde kiri kityo, tugenda mu maaso n’omulimu gwaffe ogw’okubuulira.
12:15, 16. “Ensi”—ebitundu by’enteekateeka ya Setaani, oba ab’obuyinza mu nsi ezitali zimu—ewagidde eddembe ly’okusinza. Okuviira ddala mu 1940, ab’obuyinza abo babadde ‘banywa omugga ogwawandulwa okuva mu kamwa k’ogusota,’ nga kuno kwe kuyigganyizibwa. Kino kiraga nti Yakuwa asobola bulungi okukozesa ab’obuyinza okutuukiriza ky’ayagala. Eno ye nsonga lwaki Engero 21:1 wagamba nti: “Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng’emigga: agukyusa gy’ayagala yonna.” Kino kinyweza okukkiriza kwe tulina mu Katonda.