-
Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna)—2017 | Na. 3
-
-
OYO ATUDDE KU MBALAASI ENSIIWUUFU
“Ne ndaba era laba! embalaasi ensiiwuufu; oyo eyali agituddeko yali ayitibwa Kufa. Era amagombe gaali gamuvaako emabega. Ne biweebwa obuyinza ku kitundu eky’okuna eky’ensi, okutta n’ekitala ekiwanvu, n’enjala, n’endwadde ez’amaanyi, era n’ensolo ez’omu nsiko.”—Okubikkulirwa 6:8.
Omwebagazi w’embalaasi ey’okuna akiikirira okufa okuleetebwa endwadde ez’amaanyi n’ebintu ebirala. Amangu ddala nga ssematalo eyasooka yaakaggwa, waabalukawo obulwadde obw’omutawaana obuyitibwa Spanish flu. Obulwadde obwo bwakwata abantu ng’obukadde 500; kumpi omuntu omu ku buli bantu basatu abaaliwo mu kiseera ekyo!
Ng’oggyeeko obulwadde obwo, wabaddewo n’endwadde endala ez’amaanyi. Abakugu bagamba nti obulwadde bwa kawaali bwatta abantu bukadde na bukadde mu kyasa eky’amakumi abiri. N’okutuusa leero, abantu bangi bafa siriimu, akafuba, omusujja gw’ensiri, n’endwadde endala wadde nga wabaddewo okukulaakulana kwa maanyi mu by’obujjanjabi.
Wadde ng’abantu bangi bafa olw’entalo, enjala, endwadde, n’ebintu ebirala, amagombe tegakkuta.
-