“Obwakabaka Bwo Bujje” Naye Bunajja Ddi?
“Bwe mulabanga ebintu bino nga bibaawo, mumanyanga nti ali kumpi, ku luggi.”—MAT. 24:33.
1, 2. (a) Kiki ekiyinza okutulemesa okulaba ebintu ebimu? (b) Kiki kye tumanyi ku Bwakabaka bwa Katonda?
OYINZA okuba nga naawe okyetegerezza nti ekintu kiyinza okubaawo naye abantu ne bakijjukira mu ngeri za njawulo. Mu ngeri y’emu, omuntu ayinza obutajjukira bulungi bintu byonna omusawo bye yamugambye oluvannyuma lw’okumukebera. Ate era omuntu ayinza n’okulemererwa okulaba ebisumuluzo bye oba galubindi ze ate nga zimuli kumpi awo. Lwaki ekyo kitera okubaawo? Abanoonyereza ku nsonga eyo bagamba nti ekyo kibaawo singa omuntu akola ebintu bingi omulundi gumu. Ekyo kiraga nti bwe tukola ebintu ebisukka mu kimu mu kiseera kye kimu, ebirowoozo byaffe bisobola okuwuguka.
2 Ekintu ekifaananako bwe kityo kye kituuse ne ku bantu bangi leero. Bangi tebategeera makulu g’ebintu ebiriwo mu nsi leero. Bakiraba nti ensi ekyuse nnyo okuva mu 1914, naye tebamanyi nsonga lwaki kiri bwe kityo. Kyokka okwekenneenya Bayibuli kituyambye okukimanya nti, mu ngeri emu, Obwakabaka bwa Katonda bwajja mu 1914, Yesu bwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu. Naye era tukimanyi nti ebigambo ‘Obwakabaka bwo bujje, by’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu,’ tebinnaba kutuukirira mu bujjuvu. (Mat. 6:10) Ebigambo ebyo bijja kutuukirira mu bujjuvu ng’ensi eno embi ezikiriziddwa. Ekyo bwe kinaabaawo, Katonda by’ayagala bijja kukolebwa mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
3. Okusoma Bayibuli kituganyudde kitya?
3 Okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa kituyambye okukiraba nti waliwo obunnabbi bungi obukirimu obutuukirira mu kiseera kyaffe. Naye ekyo abantu bangi leero tebakimanyi. Balina bingi bye beemaliddeko ne kiba nti tebasobola kulaba bukakafu obw’amaanyi obulaga nti Kristo yatandika okufuga nga Kabaka mu 1914 era nti mu kiseera ekitali kya wala agenda kuzikiriza ensi eno embi. Bwe kiba nti omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa weebuuze, ‘Nkyali mukakafu nti enkomerero eneetera okutuuka era nti ebintu ebiriwo mu nsi leero bukakafu obulaga nti eri kumpi?’ Ka kibe nti omaze ekiseera kitono ng’oweereza Yakuwa, kikulu okwebuuza, ‘Ebirowoozo byange mbimalidde ku ki?’ Kati ka tusooke tulabe ebintu bisatu ebitukakasa nti Katonda by’ayagala binaatera okukolebwa mu nsi.
ABEEBAGAZI B’EMBALAASI BALABIKA
4, 5. (a) Kiki Yesu ky’abadde akola okuva mu 1914? (Laba ekifaananyi ku lupapula 27.) (b) Abeebagazi b’embalaasi abasatu abagoberera Yesu bakiikirira ki, era obunnabbi obwo butuukiriziddwa butya?
4 Yesu yafuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914. Mu bunnabbi obuli mu Okubikkulirwa essuula 6 Yesu ayogerwako nga eyeebagadde embalaasi enjeru. Bwe yamala okufuuka Kabaka, Yesu yeebagala embalaasi asobole okuwangula ensi ya Sitaani embi. (Soma Okubikkulirwa 6:1, 2.) Obunnabbi obwo era bulaga nti oluvannyuma lw’Obwakabaka bwa Katonda okutandika okufuga, embeera ku nsi yandyeyongedde okwonooneka. Entalo, enjala, endwadde, n’ebintu ebirala ebiviirako abantu okufa byandibaddewo ku kigero ekitabangawo. Ebintu ebyo bikiikirirwa abeebagazi b’embalaasi abalala abasatu abagoberera Yesu Kristo.—Kub. 6:3-8.
5 Nga bwe kyalagulwa, entalo ‘zaggyawo emirembe ku nsi.’ Wadde ng’amawanga mangi gakoze endagaano ez’emirembe era ne gasuubiza okukolera awamu, tegasobodde kuleetawo mirembe. Ssematalo I bwe yabalukawo, eyo ye yali entandikwa y’entalo ez’amaanyi ezaggyawo emirembe ku nsi. Era wadde ng’ensi ekulaakulanye nnyo mu by’enfuna ne mu bya sayansi okuva mu 1914, enjala yeeyongera bweyongezi mu nsi yonna. Ate era endwadde, obutyabaga, n’ebintu ebirala bingi bitta abantu bangi buli mwaka. Ebintu ebyo biri ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Ekyo kitegeeza ki?
6. Baani abaafuba okwetegereza obunnabbi bwa Bayibuli, era kiki kye baakola ng’obunnabbi bwa Bayibuli butuukiridde?
6 Ssematalo I bwe yatandika era n’obulwadde bwa Sseseeba ne bubalukawo, abantu bangi ebirowoozo byabwe baabimalira ku bintu ebyo. Kyokka bo Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali bamanyi nti “ebiseera ebigereke eby’amawanga” byali bya kuggwaako mu 1914. (Luk. 21:24) Wadde nga baali tebamanyidde ddala ekyo kyennyini ekyali kigenda okubaawo, baali bakimanyi nti waliwo ekintu ekikulu ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ekyali kigenda okubaawo mu 1914. Bwe baakiraba nti obunnabbi bwa Bayibuli bwali butuukiridde, baatandikirawo okubuulira abalala nti Obwakabaka bwa Katonda bwali butandise okufuga mu ggulu. Bangi ku abo abaali babuulira ku Bwakabaka bwa Katonda baayigganyizibwa nnyo. Naye okuyigganyizibwa okwo nakwo kwatuukiriza obunnabbi bwa Bayibuli. Okumala emyaka mingi abalabe b’Obwakabaka baagezaako okukomya omulimu gw’okubuulira. Ekyo baakikola nga bayitira mu mateeka, nga basiba ababuulizi mu makomera, nga babatulugunya, era nga n’abamu babatta.—Zab. 94:20; Kub. 12:15.
7. Lwaki abantu abasinga obungi tebategeera makulu g’ebyo ebigenda mu maaso mu nsi leero?
7 Okuva bwe kiri nti waliwo ebintu bingi ebiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwamala dda okuteekebwawo mu ggulu, lwaki ekyo abantu bangi tebakitegeera? Lwaki tebakiraba nti ebyo ebiriwo mu nsi leero bituukiriza obunnabbi bwa Bayibuli, wadde ng’ekyo abantu ba Katonda bamaze emyaka mingi nga bakyogerako? Kyandiba nti abasinga obungi bakkiririza mu ebyo byokka bye basobola okulabako n’amaaso gaabwe? (2 Kol. 5:7) Kyandiba nti balina ebintu bingi bye bakola ebibaleetera okubuusa amaaso ebyo Katonda by’akola? (Mat. 24:37-39) Oba kyandiba nti abamu bawuguliddwa endowooza n’ebiruubirirwa by’ensi ya Sitaani? (2 Kol. 4:4) Okusobola okutegeera ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bukola, twetaaga okuba n’okukkiriza awamu n’obusobozi obw’okulaba ebyo ebitalabika. Nga tulina enkizo ya maanyi okuba nti tutegeera bulungi amakulu g’ebyo ebiriwo leero!
EBIKOLWA EBIBI BYEYONGEDDE NNYO
8-10. (a) Ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:1-5 bituukirira bitya leero? (b) Kiki ekiraga nti ebikolwa ebibi byeyongedde nnyo leero?
8 Ekintu eky’okubiri ekiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutandika okufuga ensi kiri nti: Ebikolwa ebibi byeyongedde nnyo mu nsi. Okumala kumpi emyaka 100 ebintu ebyayogerwako mu 2 Timoseewo 3:1-5 bibadde byeyoleka. Mu butuufu ebintu ebyo byeyongedde obungi era bibunye buli wamu. Ekyo naawe okiraba? Ka tulabeyo ebyokulabirako ebikakasa ensonga eyo.—Soma 2 Timoseewo 3:1, 13.
9 Ebintu ebyatwalibwanga okuba ebibi mu myaka gya 1940 oba mu 1950, leero bitwalibwa ng’ebitalina kabi konna. Kino kyeyolekera mu ebyo ebigenda mu maaso leero ku mirimu gye tukolera, mu by’okwesanyusaamu, mu by’emizannyo, ne mu nnyambala. Ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu biri buli wamu. Abantu beenyumiriza mu bikolwa eby’obukambwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu. Programu za ttivi ezaatwalibwanga okuba embi ennyo mu 1950 kati abantu baziraba kyere nga bali wamu n’abaana baabwe. Era leero abalyi b’ebisiyaga beeyongedde okutumbula endowooza yaabwe nga bayitira mu by’okwesanyusaamu ne mu misono egitali gimu. Nga tulina enkizo ya maanyi okuba nti tumanyi endowooza ya Katonda ku bintu ng’ebyo!—Soma Yuda 14, 15.
10 Ate era lowooza ku bintu ebibi abavubuka bye baakolanga mu biseera by’edda n’ebyo bye bakola leero. Ng’ekyokulabirako, mu myaka gya 1950, abavubuka bwe baanywanga ssigala, omwenge, oba bwe baazinanga obubi, ekyo kyayisanga bubi nnyo bazadde baabwe. Naye leero tuwulira ebintu nga bino ebibi ennyo abavubuka bye bakola: Omuyizi omu ow’emyaka 15 yakuba bayizi banne amasasi, 2 ne bafiirawo ate 13 ne bafuna ebisago eby’amaanyi. Ekibinja ky’abavubuka abaali batamidde, batta omuwala ow’emyaka omwenda era ne bakuba kitaawe ne kizibwe we emiggo. Kigambibwa nti mu nsi emu ey’omu Asiya ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebyakolebwa mu myaka ekkumi egiyise, ebitundu 50 ku buli 100 ku byo byakolebwa bavubuka. Tewali kubuusabuusa nti ebikolwa ebibi byeyongedde nnyo leero.
11. Lwaki abantu bangi tebakiraba nti ebikolwa ebibi byeyongedde nnyo leero?
11 Omutume Peetero yagamba nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja nga bagoberera okwegomba kwabwe era nga bagamba nti: ‘Okubeerawo kwe okwasuubizibwa kuliwa? Laba, kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri ddala nga bwe bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.’” (2 Peet. 3:3, 4) Lwaki abantu abamu beeyisa bwe batyo? Kirabika nti abantu gye bakoma okulaba ebintu ebibi gye bakoma okubimanyiira. Ng’ekyokulabirako, singa empisa za mukwano gwaffe zikyuka omulundi gumu, ekyo tukiraba mangu, naye singa zigenda zikyuka mpolampola, ekyo kiyinza obutatwanguyira kukiraba. Mu ngeri y’emu, okuva bwe kiri nti empisa z’abantu zizze zoonooneka mpolampola, ekyo abantu bangi tebakiraba. Naye ekituufu kiri nti ebikolwa byabwe ebyo bya kabi nnyo gye tuli.
12, 13. (a) Lwaki ebyo ebiriwo mu nsi leero tebisaanidde kutweraliikiriza? (b) Kiki ekinaatuyamba okugumira “ebiseera ebizibu” bye tulimu?
12 Omutume Pawulo yagamba nti “mu nnaku ez’oluvannyuma” wandibaddewo “ebiseera ebizibu.” (2 Tim. 3:1) Naye ekyo tekitegeeza nti tetusobola kwaŋŋanga biseera ebyo ebizibu. Yakuwa asobola okutuyamba okugumira embeera yonna gye tuyinza okwesangamu ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu awamu n’ekibiina kye. Tusobola okusigala nga tuli beesigwa, kubanga Katonda asobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”—2 Kol. 4:7-10.
13 Bwe yali atandika okwogera obunnabbi obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma, Pawulo yagamba nti “tegeera kino.” Ebigambo ebyo biraga nti obunnabbi bwe yali agenda okwogera bwali bwa kutuukirira. Tewali kubuusabuusa nti abantu ababi bajja kweyongera okuba ababi okutuusa Yakuwa lw’anaabazikiriza. Bannabyafaayo bagamba nti empisa z’abantu bwe zoonooneka ennyo, kitera okuviirako amawanga gaabwe okusaanawo. Empisa z’abantu zoonoonese nnyo leero okusinga bwe kyali kibadde. Wadde ng’abantu bangi ekyo bayinza okukibuusa amaaso, ebintu ebibaddewo okuva mu 1914 bikyoleka kaati nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo abantu ababi n’ebikolwa byabwe ebibi.
OMULEMBE GUNO TEGULIGGWAAWO
14-16. Kintu ki eky’okusatu ekiraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera ‘okujja’?
14 Ekintu eky’okusatu ekiraga nti enkomerero eri kumpi bye byafaayo by’abantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, Obwakabaka bwa Katonda bwe bwali tebunnateekebwawo mu ggulu, waaliwo Abakristaayo abaafukibwako amafuta abatonotono abaali baweereza Katonda. Naye ebintu ebimu bye baali basuubira okubaawo mu 1914 bwe bitaatuukirira, kiki kye baakola? Abasinga obungi ku bo beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga baafuna ebizibu bingi era nga baayigganyizibwa nnyo. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, bangi ku baafukibwako amafuta abo, si na kindi bonna, baaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuukira ddala okufa.
15 Bwe yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu, Yesu yagamba nti: “Omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.” (Soma Matayo 24:33-35.) Tukimanyi nti mu kwogera ku ‘mulembe guno,’ Yesu yali ayogera ku bibinja bibiri eby’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Ekibinja ekisooka kye ky’abo abaaliwo mu 1914, era abaalaba akabonero k’okubeerawo kwa Kristo nga katandika okweyoleka mu mwaka ogwo. Abo abali mu kibinja ekyo beebo abaafukibwako amafuta ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka oba abaafukibwako amafuta mu mwaka ogwo gwennyini.—Bar. 8:14-17.
16 Ekibinja eky’okubiri ekiri mu ‘mulembe guno’ be baafukibwako amafuta abaabaawoko mu kiseera kye kimu n’abo abaafukibwako amafuta abaali mu kibinja ekisooka. Bateekwa okuba nga baafukibwako amafuta ng’abamu ku abo abaali mu kibinja ekisooka bakyali ku nsi. N’olwekyo, si buli Mukristaayo eyafukibwako amafuta aliwo leero nti ali mu ‘mulembe’ Yesu gwe yayogerako. Leero, abo abali mu kibinja eky’okubiri nabo bagenze bakaddiwa. Kyokka ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:34 bitukakasa nti abamu ku abo abali mu ‘mulembe guno tebajja kuggwaawo’ ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Ekyo kiraga bulungi nti Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda anaatera okuzikiriza ensi ya Sitaani era aleete ensi empya ey’obutuukirivu.—2 Peet. 3:13.
KRISTO ANAATERA OKUMALIRIZA OKUWANGULA KWE
17. Obunnabbi bwa Bayibuli obw’emirundi esatu bwe twetegerezza bulaga ki?
17 Kati olwo obunnabbi bwa Bayibuli obw’emirundi esatu bwe tulabye bulaga ki? Nga Yesu bwe yagamba, tetumanyi lunaku wadde essaawa enkomerero kw’enejjira. (Mat. 25:13) Naye nga Pawulo bwe yagamba, ‘tumanyi ekiseera’ kye tulimu. (Soma Abaruumi 13:11.) Ekiseera ekyo ze nnaku ez’oluvannyuma. Bwe tussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Bayibuli ne ku ebyo Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bye bakola, tusobola okulaba obukakafu obw’amaanyi obulaga nti ddala enkomerero y’ensi eno embi eneetera okutuuka.
18. Kiki ekinaatuuka ku abo abagaanye okukkiriza Yesu Kristo okuba Kabaka waabwe?
18 Abo abagaanye okukkiriza Yesu Kristo, omwebagazi w’embalaasi enjeru, okuba Kabaka waabwe, mu kiseera ekitali kya wala bajja kukiraba nti baakola nsobi ya maanyi. Tebajja kuba na buddukiro. Mu kiseera ekyo, bangi ku bo bajja kujjula entiisa bakaabe nga bagamba nti: “Ani ayinza okuyimirirawo?” (Kub. 6:15-17) Naye Okubikkulirwa essuula 7 eddamu ekibuuzo ekyo. Abaafukibwako amafuta n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bajja ‘kuyimirira’ olw’okuba bajja kuba basiimibwa mu maaso ga Katonda. Oluvannyuma ‘ab’ekibiina ekinene’ eky’ab’endiga endala bajja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene bayingire mu nsi ya Katonda empya.—Kub. 7:9, 13-15.
19. Bwe kiba nti okkiriza nti enkomerero eneetera okutuuka, kiki kye weesunga mu biseera eby’omu maaso?
19 Bwe tweyongera okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Bayibuli obutuukirira mu kiseera kyaffe, tetujja kuwugulibwa ebyo ebiri mu nsi ya Sitaani. Tujja kumanya amakulu g’ebyo ebigenda mu maaso mu nsi. Kristo anaatera okumaliriza okuwangula kwe era azikirize ensi eno embi mu lutalo olutukuvu Kalumagedoni. (Kub. 19:11, 19-21) Lowooza ku ssanyu lye tujja okufuna oluvannyuma lwa Kalumagedoni!—Kub. 20:1-3, 6; 21:3, 4.